Lwakutaano, Okitobba 24
Okusinga byonna, mwagalanenga nnyo, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.—1 Peet. 4:8.
Ekigambo “nnyo” Peetero kye yakozesa, obutereevu kitegeeza “okunaanuuka.” Ekitundu ekyokubiri eky’olunyiriri olwo kiraga ekyo kye tukola bwe tuba nga tulina okwagala ng’okwo. Bwe tuba nga twagala nnyo abalala, kituyamba okubikka ku bibi byabwe. Okwagala okwo tuyinza okukugeraageranya ku lugoye lwe tukutte n’emikono gyaffe ebiri ne tulunaanuula ne luba nga lusobola okubikka, si ku kibi kimu kyokka oba bibiri, wabula ku “bibi bingi.” Ekigambo okubikka kikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza okusonyiwa. Ng’olugoye bwe lusobola okubikka amabala agali ku kintu, okwagala kusobola okubikka ku bunafu ne ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannaffe. Okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kulina okuba okw’amaanyi ennyo nga kutusobozesa okubasonyiwa ensobi zaabwe, ka kibe nti ekyo oluusi kyetaagisa okufuba ennyo. (Bak. 3:13) Bwe tusonyiwa abalala kiba kiraga nti okwagala kwe tulina kwa maanyi era kiraga nti twagala okusanyusa Yakuwa. w23.11 11-12 ¶13-15
Lwamukaaga, Okitobba 25
Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.—2 Byom. 34:18.
Kabaka Yosiya bwe yaweza emyaka 26, yatandika omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu. Yeekaalu bwe yali eddaabirizibwa, baazuula “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.” Yosiya bwe yawulira nga kisomebwa, yakwatibwako nnyo era n’atandikirawo okukolera ku ebyo ebyakirimu. (2 Byom. 34:14, 19-21) Wandyagadde okusoma Bayibuli obutayosa? Oboolyawo ogezezzaako okugisoma buli lunaku. Naye onyumirwa by’osoma? Ofuba okukwata ennyiriri ezisobola okukuyamba mu mbeera ezitali zimu? Yosiya bwe yali wa myaka nga 39, alina ensobi ey’amaanyi gye yakola eyamuviirako kufiirwa obulamu bwe. Lumu yeesigamu ku kutegeera kwe mu kifo ky’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa. (2 Byom. 35:20-25) Kino kituwa eky’okuyiga. Ka tube nga tulina emyaka emeka oba ka tube nga tumaze bbanga ki nga tusoma Bayibuli, bulijjo tulina okunoonyanga Yakuwa. Kino kizingiramu okumusabanga atuwe obulagirizi, okusoma Ekigambo kye, wamu n’okuwuliriza amagezi agatuweebwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwewala okukola ensobi ez’amaanyi era tuba basanyufu.—Yak. 1:25. w23.09 12 ¶15-16
Ssande, Okitobba 26
Katonda aziyiza ab’amalala, naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.—Yak. 4:6.
Bayibuli eyogera ku bakazi bangi abaali baagala ennyo Yakuwa era abaamuweereza n’obwesigwa. Abakazi abo ‘baalina empisa ezisaana’ era baali “beesigwa mu bintu byonna.” (1 Tim. 3:11) Ne mu bibiina byaffe mulimu bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo, bannyinaffe abato be basobola okukoppa. Bannyinaffe abato, mulinayo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo be mumanyi be musobola okukoppa? Mwetegereze engeri ennungi ze booleka. Oluvannyuma mulowooze ku ngeri nammwe gye muyinza okwoleka engeri ezo. Okusobola okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kyetaagisa okuba omwetoowaze. Omukazi bw’aba omwetoowaze aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayagala Yakuwa awagira enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. (1 Kol. 11:3) Enteekateeka eyo ekola mu kibiina ne mu maka. w23.12 18-19 ¶3-5