Lwamukaaga, Okitobba 25
Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.—2 Byom. 34:18.
Kabaka Yosiya bwe yaweza emyaka 26, yatandika omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu. Yeekaalu bwe yali eddaabirizibwa, baazuula “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.” Yosiya bwe yawulira nga kisomebwa, yakwatibwako nnyo era n’atandikirawo okukolera ku ebyo ebyakirimu. (2 Byom. 34:14, 19-21) Wandyagadde okusoma Bayibuli obutayosa? Oboolyawo ogezezzaako okugisoma buli lunaku. Naye onyumirwa by’osoma? Ofuba okukwata ennyiriri ezisobola okukuyamba mu mbeera ezitali zimu? Yosiya bwe yali wa myaka nga 39, alina ensobi ey’amaanyi gye yakola eyamuviirako kufiirwa obulamu bwe. Lumu yeesigamu ku kutegeera kwe mu kifo ky’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa. (2 Byom. 35:20-25) Kino kituwa eky’okuyiga. Ka tube nga tulina emyaka emeka oba ka tube nga tumaze bbanga ki nga tusoma Bayibuli, bulijjo tulina okunoonyanga Yakuwa. Kino kizingiramu okumusabanga atuwe obulagirizi, okusoma Ekigambo kye, wamu n’okuwuliriza amagezi agatuweebwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwewala okukola ensobi ez’amaanyi era tuba basanyufu.—Yak. 1:25. w23.09 12 ¶15-16
Ssande, Okitobba 26
Katonda aziyiza ab’amalala, naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.—Yak. 4:6.
Bayibuli eyogera ku bakazi bangi abaali baagala ennyo Yakuwa era abaamuweereza n’obwesigwa. Abakazi abo ‘baalina empisa ezisaana’ era baali “beesigwa mu bintu byonna.” (1 Tim. 3:11) Ne mu bibiina byaffe mulimu bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo, bannyinaffe abato be basobola okukoppa. Bannyinaffe abato, mulinayo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo be mumanyi be musobola okukoppa? Mwetegereze engeri ennungi ze booleka. Oluvannyuma mulowooze ku ngeri nammwe gye muyinza okwoleka engeri ezo. Okusobola okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kyetaagisa okuba omwetoowaze. Omukazi bw’aba omwetoowaze aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayagala Yakuwa awagira enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. (1 Kol. 11:3) Enteekateeka eyo ekola mu kibiina ne mu maka. w23.12 18-19 ¶3-5
Bbalaza, Okitobba 27
Abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.—Bef. 5:28.
Yakuwa asuubira omwami okwagala mukyala we n’okufaayo ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira ye. Okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okussa ekitiibwa mu bakazi, n’okuba omuntu eyeesigika bijja kukuymaba okuba omwami omulungi. Oluvannyuma lw’okuwasa, oyinza okufuuka taata. Kiki ky’oyigira ku Yakuwa ku kuba taata omulungi? (Bef. 6:4) Yakuwa yagamba Omwana we, Yesu, mu lujjudde nti amwagala era nti amusiima. (Mat. 3:17) Bw’onoofuuka taata, fuba okulaba nti ogambanga abaana bo nti obaagala. Basiimenga olw’ebirungi bye banaabanga bakoze. Bataata abakoppa Yakuwa, bayamba abaana baabwe okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo. Osobola okweteekateeka okuba taata omulungi ng’olaga okwagala abo b’obeera nabo awamu ne bakkiriza banno mu kibiina, era ng’obagambanga nti obaagala era nti osiima bye bakola.—Yok. 15:9. w23.12 28-29 ¶17-18