LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
Announcement
New language available: Betsileo
  • Leero

Ssande, Okitobba 26

Katonda aziyiza ab’amalala, naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.—Yak. 4:6.

Bayibuli eyogera ku bakazi bangi abaali baagala ennyo Yakuwa era abaamuweereza n’obwesigwa. Abakazi abo ‘baalina empisa ezisaana’ era baali “beesigwa mu bintu byonna.” (1 Tim. 3:11) Ne mu bibiina byaffe mulimu bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo, bannyinaffe abato be basobola okukoppa. Bannyinaffe abato, mulinayo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo be mumanyi be musobola okukoppa? Mwetegereze engeri ennungi ze booleka. Oluvannyuma mulowooze ku ngeri nammwe gye muyinza okwoleka engeri ezo. Okusobola okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kyetaagisa okuba omwetoowaze. Omukazi bw’aba omwetoowaze aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, omukazi ayagala Yakuwa awagira enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. (1 Kol. 11:3) Enteekateeka eyo ekola mu kibiina ne mu maka. w23.12 18-19 ¶3-5

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Bbalaza, Okitobba 27

Abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakyala baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe.—Bef. 5:28.

Yakuwa asuubira omwami okwagala mukyala we n’okufaayo ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira ye. Okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okussa ekitiibwa mu bakazi, n’okuba omuntu eyeesigika bijja kukuymaba okuba omwami omulungi. Oluvannyuma lw’okuwasa, oyinza okufuuka taata. Kiki ky’oyigira ku Yakuwa ku kuba taata omulungi? (Bef. 6:4) Yakuwa yagamba Omwana we, Yesu, mu lujjudde nti amwagala era nti amusiima. (Mat. 3:17) Bw’onoofuuka taata, fuba okulaba nti ogambanga abaana bo nti obaagala. Basiimenga olw’ebirungi bye banaabanga bakoze. Bataata abakoppa Yakuwa, bayamba abaana baabwe okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo. Osobola okweteekateeka okuba taata omulungi ng’olaga okwagala abo b’obeera nabo awamu ne bakkiriza banno mu kibiina, era ng’obagambanga nti obaagala era nti osiima bye bakola.—Yok. 15:9. w23.12 28-29 ¶17-18

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakubiri, Okitobba 28

[Yakuwa] y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe.—Is. 33:6.

Wadde nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo. Ate era abantu abataagala baweereza ba Yakuwa bayinza okutuziyiza oba okutuyigganya. Wadde nga Yakuwa aleka ebizibu ng’ebyo okututuukako, atusuubiza okutuyamba. (Is. 41:10) Olw’obuyambi bw’atuwa, tusobola okusigala nga tuli basanyufu, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Yakuwa atusuubiza okutuwa ekyo Bayibuli ky’eyita “emirembe gya Katonda.” (Baf. 4:​6, 7) Emirembe egyo gitegeeza obuteefu n’obukkakkamu bwe tuwulira ku mutima olw’okukimanya nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. “Gisingira ewala okutegeera kwonna”; misuffu nnyo era kizibu okugiteebereza. Wali owuliddeko ng’okkakkanye oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa? Egyo gye ‘mirembe gya Katonda!’ w24.01 20 ¶2; 21 ¶4

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share