LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
Announcement
New language available: Betsileo
  • Leero

Lwakubiri, Okitobba 28

[Yakuwa] y’aleetawo obutebenkevu mu biseera byammwe.—Is. 33:6.

Wadde nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa, twolekagana n’ebizibu abantu bonna bye boolekagana nabyo. Ate era abantu abataagala baweereza ba Yakuwa bayinza okutuziyiza oba okutuyigganya. Wadde nga Yakuwa aleka ebizibu ng’ebyo okututuukako, atusuubiza okutuyamba. (Is. 41:10) Olw’obuyambi bw’atuwa, tusobola okusigala nga tuli basanyufu, okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu ebisingayo okuba eby’amaanyi. Yakuwa atusuubiza okutuwa ekyo Bayibuli ky’eyita “emirembe gya Katonda.” (Baf. 4:​6, 7) Emirembe egyo gitegeeza obuteefu n’obukkakkamu bwe tuwulira ku mutima olw’okukimanya nti tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa. “Gisingira ewala okutegeera kwonna”; misuffu nnyo era kizibu okugiteebereza. Wali owuliddeko ng’okkakkanye oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa? Egyo gye ‘mirembe gya Katonda!’ w24.01 20 ¶2; 21 ¶4

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakusatu, Okitobba 29

Ka ntendereze Yakuwa; ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.—Zab. 103:1.

Okwagala abantu abeesigwa kwe balina eri Katonda kubaleetera okutendereza erinnya lye n’omutima gwabwe gwonna. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti okutendereza erinnya lya Yakuwa kye kimu n’okutendereza Yakuwa kennyini. Erinnya lya Yakuwa likiikirira ekyo ky’ali. Bwe tuwulira nga lyogerwa kituyamba okulowooza ku ngeri ze zonna ennungi ne ku bintu eby’ekitalo by’akola. Dawudi yali ayagala okutwala erinnya lya Kitaawe nga ttukuvu n’okulitendereza. Ekyo yali ayagala okukikola n’omutima gwe gwonna. Mu ngeri y’emu, Abaleevi abaakulemberangamu abantu mu kutendereza Yakuwa, baagamba nti tebaalina bigambo bye baali bayinza kukozesa okuggirayo ddala mu bujjuvu ettendo erigwanidde okuweebwa erinnya lya Katonda ettukuvu. (Nek. 9:5) Kya lwatu nti okutendereza Yakuwa mu ngeri eyo ey’obwetoowaze, kyamusanyusa nnyo. w24.02 9 ¶6

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakuna, Okitobba 30

Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.—Baf. 3:16.

Yakuwa tajja kukitwala nti tosobola kutuuka ku biruubirirwa byo. (2 Kol. 8:12) Baako by’oyigira ku ebyo ebikulemesa. Teweerabira by’osobodde okutuukako. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.” (Beb. 6:10) Naawe tosaanidde kwerabira. Fumiitiriza ku ebyo by’otuuseeko. Kuyinza okuba okubuulira, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, oba okubatizibwa. Nga bwe wasobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, osobola n’okutuuka ku kiruubirirwa kye weeteereddewo. Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. (2 Kol. 4:7) Bw’onoofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa.—Bag. 6:9. w23.05 31 ¶16-18

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share