Lwakusatu, Okitobba 29
Ka ntendereze Yakuwa; ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.—Zab. 103:1.
Okwagala abantu abeesigwa kwe balina eri Katonda kubaleetera okutendereza erinnya lye n’omutima gwabwe gwonna. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti okutendereza erinnya lya Yakuwa kye kimu n’okutendereza Yakuwa kennyini. Erinnya lya Yakuwa likiikirira ekyo ky’ali. Bwe tuwulira nga lyogerwa kituyamba okulowooza ku ngeri ze zonna ennungi ne ku bintu eby’ekitalo by’akola. Dawudi yali ayagala okutwala erinnya lya Kitaawe nga ttukuvu n’okulitendereza. Ekyo yali ayagala okukikola n’omutima gwe gwonna. Mu ngeri y’emu, Abaleevi abaakulemberangamu abantu mu kutendereza Yakuwa, baagamba nti tebaalina bigambo bye baali bayinza kukozesa okuggirayo ddala mu bujjuvu ettendo erigwanidde okuweebwa erinnya lya Katonda ettukuvu. (Nek. 9:5) Kya lwatu nti okutendereza Yakuwa mu ngeri eyo ey’obwetoowaze, kyamusanyusa nnyo. w24.02 9 ¶6
Lwakuna, Okitobba 30
Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.—Baf. 3:16.
Yakuwa tajja kukitwala nti tosobola kutuuka ku biruubirirwa byo. (2 Kol. 8:12) Baako by’oyigira ku ebyo ebikulemesa. Teweerabira by’osobodde okutuukako. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.” (Beb. 6:10) Naawe tosaanidde kwerabira. Fumiitiriza ku ebyo by’otuuseeko. Kuyinza okuba okubuulira, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, oba okubatizibwa. Nga bwe wasobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, osobola n’okutuuka ku kiruubirirwa kye weeteereddewo. Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. (2 Kol. 4:7) Bw’onoofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa.—Bag. 6:9. w23.05 31 ¶16-18
Lwakutaano, Okitobba 31
Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.—Yok. 16:27.
Yakuwa ayagala nnyo okukiraga nti asiima abo b’ayagala. Bayibuli eyogera ku mirundi ebiri Yakuwa lwe yagamba Yesu nti yali amwagala nnyo era nti yali amusiima. (Mat. 3:17; 17:5) Wandyagadde okuwulira Yakuwa ng’akugamba nti akusiima? Yakuwa tayogera naffe butereevu, wabula ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Bwe tusoma ebigambo ebyoleka okwagala Yesu bye yagamba abayigirizwa be, tuba ng’abawulira Yakuwa ng’atugamba ebigambo ebyo. Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Bwe tusoma ku bigambo Yesu bye yayogera ng’asiima abagoberezi be abaali batatuukiridde, tusobola okukuba akafaananyi nga Yakuwa y’alinga atugamba ebigambo ebyo. (Yok. 15:9, 15) Bwe tufuna ebizibu kiba tekitegeeza nti Yakuwa takyatusiima. Mu kifo ky’ekyo, ebizibu bituwa akakisa okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa era nti tumwesiga.—Yak. 1:12. w24.03 28 ¶10-11