LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
Announcement
New language available: Betsileo
  • Leero

Lwakuna, Okitobba 30

Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.—Baf. 3:16.

Yakuwa tajja kukitwala nti tosobola kutuuka ku biruubirirwa byo. (2 Kol. 8:12) Baako by’oyigira ku ebyo ebikulemesa. Teweerabira by’osobodde okutuukako. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe.” (Beb. 6:10) Naawe tosaanidde kwerabira. Fumiitiriza ku ebyo by’otuuseeko. Kuyinza okuba okubuulira, okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, oba okubatizibwa. Nga bwe wasobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo, osobola n’okutuuka ku kiruubirirwa kye weeteereddewo. Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ng’ofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, laba engeri Yakuwa gy’akuyambamu. (2 Kol. 4:7) Bw’onoofuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo, Yakuwa ajja kweyongera okukuwa emikisa.—Bag. 6:9. w23.05 31 ¶16-18

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwakutaano, Okitobba 31

Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.—Yok. 16:27.

Yakuwa ayagala nnyo okukiraga nti asiima abo b’ayagala. Bayibuli eyogera ku mirundi ebiri Yakuwa lwe yagamba Yesu nti yali amwagala nnyo era nti yali amusiima. (Mat. 3:17; 17:5) Wandyagadde okuwulira Yakuwa ng’akugamba nti akusiima? Yakuwa tayogera naffe butereevu, wabula ayogera naffe okuyitira mu Bayibuli. Bwe tusoma ebigambo ebyoleka okwagala Yesu bye yagamba abayigirizwa be, tuba ng’abawulira Yakuwa ng’atugamba ebigambo ebyo. Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe. Bwe tusoma ku bigambo Yesu bye yayogera ng’asiima abagoberezi be abaali batatuukiridde, tusobola okukuba akafaananyi nga Yakuwa y’alinga atugamba ebigambo ebyo. (Yok. 15:​9, 15) Bwe tufuna ebizibu kiba tekitegeeza nti Yakuwa takyatusiima. Mu kifo ky’ekyo, ebizibu bituwa akakisa okukyoleka nti twagala nnyo Yakuwa era nti tumwesiga.—Yak. 1:12. w24.03 28 ¶10-11

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025

Lwamukaaga, Noovemba 1

Oleetedde akamwa k’abaana abato n’abawere okukutendereza.—Mat. 21:16.

Bw’oba oli muzadde, yamba abaana bo okutegeka eby’okuddamu ng’osinziira ku myaka gyabwe. Emirundi egimu ensonga eziba zikubaganyizibwako ebirowoozo, gamba ng’ezikwata ku bizibu ebibaawo mu maka oba ezikwata ku nneeyisa, ziyinza okuzibuwalira abaana okutegeera. Kyokka wayinza okubaawo akatundu kamu oba bubiri ng’omwana asobola okubaako ne kyaddamu. Ate era yamba abaana bo okutegeera ensonga lwaki emirundi egimu bayinza obutalondebwa nga bawanise. Ekyo kijja kubayamba obutaggwamu maanyi singa bawanika omukono ne batalondebwa. (1 Tim. 6:18) Ffenna tusobola okuteekateeka eby’okuddamu ebiweesa Yakuwa ekitiibwa era ebizzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. (Nge. 25:11) Wadde ng’emirundi egimu tuyinza okuwaayo ekyokulabirako ekitukwatako, tusaanidde okwewala okweyogerako ennyo. (Nge. 27:2; 2 Kol. 10:18) Mu kifo ky’ekyo, essira tusaanidde kulissa ku Yakuwa, ku Kigambo kye, ne ku bantu be.—Kub. 4:11. w23.04 24-25 ¶17-18

Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2025
Tukwanirizza.
Ku layibulale eno kuliko ebitabo ebikubiddwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nnimi ez’enjawulo ebisobola okukuyamba ng’oliko ky’onoonyereza.
Bw'oba olina by'oyagala okuwanula, genda ku jw.org.
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share