Lwakusatu, Jjulaayi 30
Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.—Bik. 4:20.
Tusaanidde okukoppa abatume nga tweyongera okubuulira ab’obuyinza ne bwe batugamba okulekera awo okubuulira. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe. N’olwekyo, saba Yakuwa akuwe obuvumu n’amagezi era akuyambe okugumira ebizibu. Bangi ku ffe twolekagana n’ebizibu gamba ng’obulwadde, okufiirwa omuntu waffe, embeera y’omu maka enzibu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu ebirala. Ate ebintu gamba ng’ebirwadde eby’amaanyi ebibaluseewo, n’entalo, bikifudde kizibu nnyo okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu, weeyabize Yakuwa. Mutegeeze embeera gy’oyitamu nga bwe wandibadde otegeeza mukwano gwo ow’oku lusegere. Mwesige nti “ajja kukuyamba.” (Zab. 37:3, 5) Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutuyamba ‘okugumiikiriza nga tubonaabona.’ (Bar. 12:12) Yakuwa amanyi ebyo abaweereza be bye bayitamu, era “awulira okuwanjaga kwabwe.”—Zab. 145:18, 19. w23.05 5-6 ¶12-15
Lwakuna, Jjulaayi 31
Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.—Bef. 5:10.
Bwe wabaawo ebintu ebikulu bye tulina okusalawo, tusaanidde okumanya ekyo “Yakuwa ky’ayagala” era ne tukikolerako. (Bef. 5:17) Bwe tuzuula omusingi gwa Bayibuli ogukwata ku mbeera yaffe, tuba tunoonya endowooza Katonda gy’alina ku mbeera eyo. Era bwe tukolera ku misingi gye, kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omulabe waffe Sitaani ayagala twemalire ku bintu by’ensi tuleme kufuna biseera bya kuweereza Katonda waffe. (1 Yok. 5:19) Kyangu nnyo Omukristaayo okukulembeza ssente, obuyigirize, oba omulimu, mu kifo ky’okwenyigira mu bintu ebitali bimu bye tukola nga tuweereza Yakuwa. Ekyo bwe kibaawo, kiba kiraga nti atwaliriziddwa endowooza y’ensi. Kyo kituufu nti ebintu ebyo si bikyamu, naye tetusaanidde kubikulembeza. w24.03 24 ¶16-17
Lwakutaano, Agusito 1
Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi, naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.—Zab. 34:19.
Weetegereze ensonga bbiri eziri mu lunyiriri olwo: (1) Abantu abatuukirivu boolekagana n’ebizibu. (2) Yakuwa atuyisa mu bizibu bye twolekagana nabyo. Ekyo akikola atya? Engeri emu gy’akikolamu kwe kutuyamba okukimanya nti, nga tukyali mu nteekateeka y’ebintu eno tujja kwolekagana n’ebizibu. Wadde nga Yakuwa atusuubiza okufuna essanyu nga tumuweereza, tagamba nti tetujja kwolekagana na bizibu mu kiseera kino. (Is. 66:14) Atukubiriza okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso, lwe tuliba mu bulamu obweyagaza emirembe n’emirembe. (2 Kol. 4:16-18) Naye mu kiseera kino, buli lunaku atuyamba okweyongera okumuweereza. (Kung. 3:22-24) Kiki kye tuyinza okuyigira ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda, n’ab’omu kiseera kyaffe? Tuyinza okufuna ebizibu bye tuba tutasuubira. Naye bwe twesiga Yakuwa, tayinza kulekayo kutuyamba.—Zab. 55:22. w23.04 14-15 ¶3-4