LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g21 Na. 1 lup. 14
  • Amagezi Agatuyamba Okusemberera Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amagezi Agatuyamba Okusemberera Katonda
  • Zuukuka!—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Katonda Alina Erinnya
  • Yakuwa Ye Katonda Alina Okwagala
  • Yakuwa Ye Katonda Asonyiwa
  • Yakuwa Addamu Essaala Zaffe
  • Yakuwa Katonda y’Asingayo Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Amazima Agakwata ku Katonda ge Galuwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Katonda y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Sonyiwanga Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Zuukuka!—2021
g21 Na. 1 lup. 14

Amagezi Agatuyamba Okusemberera Katonda

Katonda gyali era alina engeri ennungi. Ayagala tuyige ebimukwatako era tumusemberere. (Yokaana 17:3; Yakobo 4:8) Eyo ye nsonga lwaki atubuulira ebintu bingi ebimukwatako.

Katonda Alina Erinnya

“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”​—ZABBULI 83:18.

Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa ye Katonda omu yekka ow’amazima. Ye yatonda ensi n’ebintu byonna, era ye yekka gwe tulina okusinza.​—Okubikkulirwa 4:11.

Yakuwa Ye Katonda Alina Okwagala

Erinnya lya Katonda, Yakuwa, nga liwandiikiddwa mu Luyindi, mu Lupunjabi, mu Lugujarati, mu Lutelugu, ne mu Lungereza.

“Katonda kwagala.”​—1 YOKAANA 4:8.

Okuyitira mu Bayibuli n’ebitonde, Yakuwa atubuulira engeri ze. Engeri ya Yakuwa esinga obukulu kwe kwagala. Okwagala kwe kumuleetera okukola buli kimu ky’akola. Gye tukoma okumanya Yakuwa gye tukoma okumwagala.

Yakuwa Ye Katonda Asonyiwa

“Oli Katonda omwetegefu okusonyiwa.”​—NEKKEMIYA 9:17.

Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde. N’olwekyo ‘mwetegefu okutusonyiwa.’ Bwe twenenya mu bwesimbu era ne tufuba obutaddamu kukola bintu bibi, atusonyiwa era taddamu kutuvunaana olw’ebibi bye twakola emabaga.​—Zabbuli 103:12, 13.

Yakuwa Addamu Essaala Zaffe

“Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola . . . Awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.”​—ZABBULI 145:18, 19.

Yakuwa tayagala tumusinze nga tugoberera obulombolombo oba nga tukozesa ebifaananyi. Awuliriza essaala zaffe, ng’abazadde abalina okwagala bwe bawuliriza abaana baabwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share