EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24
Yakuwa Katonda y’Asingayo Okusonyiwa
“Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa; abo bonna abakukoowoola obalaga okwagala okutajjulukuka kungi.”—ZAB. 86:5.
OLUYIMBA 42 Okusaba kw’Omuweereza wa Katonda
OMULAMWAa
1. Okusinziira ku Omubuulizi 7:20, mazima ki Kabaka Sulemaani ge yatubuulira?
KABAKA Sulemaani yagamba nti: “Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.” (Mub. 7:20) Ebigambo ebyo bituufu ddala! Ffenna tuli boonoonyi. (1 Yok. 1:8) N’olwekyo, ffenna twetaaga okusonyiyibwa Katonda ne bantu bannaffe.
2. Owulira otya mukwano gwo ow’oku lusegere bw’akusonyiwa?
2 Oboolyawo ojjukira ekiseera lwe wanyiiza mukwano gwo ow’oku lusegere. Wayagala okuzzaawo enkolagana yammwe ne mukwano gwo oyo era n’omwetondera. Wawulira otya mukwano gwo bwe yakusonyiwa? Awatali kubuusabuusa, wawulira bulungi!
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Twagala Yakuwa abe Mukwano gwaffe asingayo, naye ebiseera ebimu twogera oba tukola ebintu ebimunyiiza. Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa? Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu, eyawukana etya ku ngeri ffe abantu gye tusonyiwamu? N’ekisembayo, baani Katonda b’asonyiwa? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.
YAKUWA MWETEGEFU OKUSONYIWA
4. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa?
4 Bayibuli etukakasa nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa. Yakuwa bwe yeeyoleka eri Musa ku Lusozi Sinaayi okuyitira mu malayika, yagamba nti: “Yakuwa, Yakuwa, Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi, alaga okwagala okutajjulukuka eri enkumi n’enkumi, asonyiwa ensobi, okwonoona, n’ebibi.” (Kuv. 34:6, 7) Yakuwa wa kisa era musaasizi, era mwetegefu okusonyiwa omwonoonyi aba yeenenyezza.—Nek. 9:17; Zab. 86:15.
Yakuwa amanyi byonna ebitufuula ekyo kye tuli(Laba akatundu 5)
5. Okusinziira ku Zabbuli 103:13, 14, okuba nti Yakuwa amanyi bulungi abantu kimuleetera kukola ki?
5 Olw’okuba Yakuwa ye yatutonda, amanyi buli kimu ekitukwatako. Amanyi kalonda yenna akwata ku buli muntu ali ku nsi. (Zab. 139:15-17) N’olwekyo, amanyi obutali butuukirivu bwonna bwe twasikira okuva ku bazadde bwaffe. Ate era amanyi byonna bye tuyiseemu mu bulamu, ebituleetera okweyisa mu ngeri emu oba endala. Olw’okuba Yakuwa atumanyi bulungi, kiki ky’akola? Ekyo kimuleetera okutukwatirwa ekisa.—Zab. 78:39; soma Zabbuli 103:13, 14.
6. Yakuwa akiraze atya nti mwetegefu okutusonyiwa?
6 Yakuwa akiraze nti mwetegefu okutusonyiwa. Akimanyi nti olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu, ffenna tuli boonoonyi era tufa. (Bar. 5:12) Twali tetusobola kwenunula oba okununula omuntu yenna okuva mu kibi ekyo. (Zab. 49:7-9) Kyokka olw’okuba Katonda waffe atwagala nnyo, yatusaasira era n’akola enteekateeka okutununula. Nteekateeka ki gye yakola? Nga bwe tusoma mu Yokaana 3:16, Yakuwa yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka okutufiirira. (Mat. 20:28; Bar. 5:19) Yesu yafa asobole okununula abo bonna abamukkiririzaamu. (Beb. 2:9) Yakuwa ng’ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba Omwana we ng’aswazibwa era ng’afiira mu bulimu obutagambika! Awatali kubuusabuusa, Yakuwa teyandirese Mwana we kufa singa yali tayagala kutusonyiwa.
7. Abamu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli Yakuwa be yasonyiwa be baluwa?
7 Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu Yakuwa be yasonyiwa. (Bef. 4:32) Ani gw’oyinza okulowoozaako? Oboolyawo olowoozezza ku Kabaka Manase. Omusajja oyo yakola ebintu ebibi bingi nnyo ebyanyiiza Yakuwa. Yasinza bakatonda ab’obulimba era n’akubiriza n’abalala okukola kye kimu. Yayokya abaana be ng’abawaayo nga ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba. Yatuuka n’okuteeka ekifaananyi ekyole ekya katonda ow’obulimba mu nnyumba ya Yakuwa. Bayibuli bw’eba eyogera ku Manase, egamba nti: “Yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa, okumusunguwaza.” (2 Byom. 33:2-7) Kyokka Manase bwe yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa. Ate era Yakuwa yamukkiriza okuddamu okufuga nga kabaka. (2 Byom. 33:12, 13) Oboolyawo olowoozezza ne ku Kabaka Dawudi, eyakola ebibi eby’amaanyi mu maaso ga Yakuwa, omwali obwenzi n’okutta. (2 Sam. 12:9, 10, 13, 14) Naye Dawudi bwe yakkiriza ensobi ze era ne yeenenya mu bwesimbu, Yakuwa yamusonyiwa. N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa. Ate era nga bwe tugenda okulaba, engeri Yakuwa gy’asonyiwamu ya njawulo nnyo ku ngeri abantu gye basonyiwamu.
ENGERI YAKUWA GY’ASONYIWAMU YA NJAWULO NNYO
8. Okuba nti Yakuwa ye Mulamuzi asingayo obulungi kikwata kitya ku ngeri gy’asonyiwamu?
8 Yakuwa ye ‘Mulamuzi w’ensi yonna.’ (Lub. 18:25) Omulamuzi omulungi alina okuba ng’ategeera bulungi amateeka. Ne Yakuwa bw’atyo bw’ali. Ng’oggyeeko okuba nti ye mulamuzi waffe, era y’atuteerawo amateeka. (Is. 33:22) Tewali asinga Yakuwa okumanya ekituufu n’ekikyamu. Kiki ekirala ekifuula omuntu okuba omulamuzi omulungi. Alina okuba ng’amanyi byonna ebizingirwa mu musango nga tannaba kugusala. Ekyo kye kimu ku bifuula Yakuwa okuba omulamuzi omulungi, kubanga amanya byonna ebiba bizingirwamu.
9. Yakuwa bw’asalawo okusonyiwa omuntu oba obutamusonyiwa, biki by’aba amanyi?
9 Obutafaananako bantu, Yakuwa alina obusobozi bw’okumanya byonna ebizingirwa mu nsonga. (Lub. 18:20, 21; Zab. 90:8) Talinga bantu abasala omusango nga basinziira ku ekyo kyokka kye bawulira oba kye balaba. Akimanyi nti engeri omuntu gye yakuzibwamu, embeera gye yakuliramu, enneewulira ye, n’engeri ze yasikira okuva ku bazadde be, biyinza okumuleetera okweyisa mu ngeri emu oba endala. Ate era olw’okuba Yakuwa alaba ebiri mu mutima, asobola okutegeera obulungi ebiruubirirwa bya buli muntu. Tewali kiyinza kukwekebwa Yakuwa. (Beb. 4:13) N’olwekyo Yakuwa bw’asonyiwa omuntu, aba amanyi byonna ebizingirwamu.
Yakuwa mwenkanya era tasosola. Tasobola kugulirirwa(Laba akatundu 10)
10. Lwaki tuyinza okugamba nti bulijjo Yakuwa alamula mu bwenkanya? (Ekyamateeka 32:4)
10 Bulijjo Yakuwa alamula mu bwenkanya; tabaamu kyekubiira. Bw’aba asonyiwa omuntu, tasinziira ku ndabika y’omuntu oyo, ku bugagga bw’alina, ku bitiibwa by’alina, oba ku busobozi bw’alina. (1 Sam. 16:7; Yak. 2:1-4) Tewali ayinza kuwaliriza Yakuwa kukola kintu kyonna oba okumuwa enguzi. (2 Byom. 19:7) Tasala musango olw’okuba anyiize oba ng’agendera ku ndowooza z’abantu. (Kuv. 34:7) Olw’okuba Yakuwa amanyi byonna ebitukwatako, kimufuula okuba omulamuzi asingayo obulungi.—Soma Ekyamateeka 32:4.
11. Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu eyawukana etya ku ngeri abantu gye basonyiwamu?
11 Abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya baakiraga nti engeri Yakuwa gy’asonyiwamu ya njawulo nnyo. Okusinziira ku kitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli, emirundi egimu ekigambo ky’Olwebbulaniya kye baakozesa kikozesebwa “ku ngeri yokka Katonda gy’asonyiwamu omwonoonyi. Ekigambo ekyo tekikozesebwa ku ngeri omuntu gy’asonyiwamu omuntu omulala.” Yakuwa yekka y’alina obuyinza okusonyiyira ddala omwonoonyi aba yeenenyezza. Kiki ekibaawo Yakuwa bw’atusonyiwa?
12-13. (a) Omuntu aganyulwa atya Yakuwa bw’amusonyiwa? (b) Yakuwa asonyiwa ku kigero ki?
12 Bwe tukkiriza nti Yakuwa atusonyiye, tufuna “ekiwummulo,” kwe kugamba, tufuna emirembe mu mutima n’omuntu ow’omunda omuyonjo. “Yakuwa kennyini” y’asobola okutusonyiwa mu ngeri eyo so si bantu. (Bik. 3:19) Yakuwa bw’atusonyiwa, azzaawo enkolagana yaffe naye mu bujjuvu nga gy’obeera nti tetukolangako kibi kyonna.
13 Yakuwa bw’atusonyiwa taddamu kutuvunaana oba okutubonereza olw’ekibi kye twakola. (Is. 43:25; Yer. 31:34) Ebibi byaffe Yakuwa abiteeka wala nnyo “ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba.”b (Zab. 103:12) Bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atusonyiwamu, tukwatibwako nnyo era kituleetera okumusiima. (Zab. 130:4) Naye baani Yakuwa b’asonyiwa?
B’ANI YAKUWA B’ASONYIWA?
14. Biki bye twakayiga ebikwata ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu?
14 Nga bwe tulabye, Yakuwa bw’asalawo okusonyiwa omuntu, tasinziira ku ky’okuba nti ekibi omuntu oyo kye yakola kya maanyi oba si kya maanyi. Ate era tuyize nti Yakuwa akozesa okumanya kw’alina ng’Omutonzi waffe, oyo atuteerawo amateeka, era Omulamuzi waffe, okusalawo obanga anaasonyiwa omuntu oba nedda. Biki Yakuwa by’asinziirako okusonyiwa omuntu oba obutamusonyiwa?
15. Okusinziira ku Lukka 12:47, 48, kiki Yakuwa ky’asinziirako okusonyiwa omuntu oba obutamusonyiwa?
15 Ekimu ku bintu Yakuwa by’asinziirako okulaba obanga anaasonyiwa omuntu kwe kuba nti omuntu oyo yali amanyi nti ekintu ky’akola kibi oba nedda. Ekyo Yesu yakiraga bulungi mu bigambo ebiri mu Lukka 12:47, 48. (Soma.) Omuntu akola ekibi mu bugenderevu ng’amanyi nti ekintu ky’akola kinyiiza Yakuwa, aba akoze ekibi eky’amaanyi era omuntu ng’oyo ayinza obutasonyiyibwa. (Mak. 3:29; Yok. 9:41) Kyo kituufu nti oluusi tuyinza okukola ebintu bye tumanyi nti bikyamu. Bwe kiba bwe kityo, waliwo essuubi lyonna nti Yakuwa asobola okutusonyiwa? Yee. Era ekyo kitutuusa ku kintu ekirala Yakuwa ky’asinziirako okusonyiwa omuntu.
Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutusonyiwa bwe twenenya mu bwesimbu(Laba akatundu 16-17)
16. Okwenenya kye ki, era lwaki kikulu nnyo Yakuwa bw’aba ow’okutusonyiwa?
16 Ekintu ekirala Yakuwa ky’asinziirako okusonyiwa kwe kuba nti omwonoonyi yeenenyezza mu bwesimbu. Okwenenya kitegeeza ki? Okwenenya kitegeeza “okukyusa endowooza n’ekiruubirirwa.” Ate era omuntu aba yeenenyezza awulira bubi olw’ekibi ky’aba akoze oba olw’okulemererwa okukola ekituufu. Omuntu ng’oyo takoma ku kuwulira bubi olw’ekibi kye yakola, naye era awulira bubi olw’okuleka enkolagana ye ne Yakuwa okuddirira ne kimuviirako okukola ekibi ekyo. Kijjukire nti Kabaka Manase ne Kabaka Dawudi bombi baakola ebibi eby’amaanyi, naye Yakuwa yabasonyiwa olw’okuba beenenya mu bwesimbu. (1 Bassek. 14:8) Ekyo kiraga nti Yakuwa amala kulaba nti twenenyezza mu bwesimbu n’alyoka atusonyiwa. Naye okuwulira obuwulizi obubi olw’ekibi kye twakola tekimala. Tulina okubaako kye tukolawo.c Ekyo kitutuusa ku kintu ekirala Yakuwa ky’asinziirako okusonyiwa omuntu oba obutamusonyiwa.
17. Okukyuka kye ki, era lwaki kikulu nnyo bwe tuba ab’okwewala okuddamu okukola ekintu ekibi? (Isaaya 55:7)
17 Ekintu ekirala Yakuwa ky’asinziirako okusonyiwa omuntu kwe kuba nti omuntu oyo ‘akyuse.’ Ekyo kitegeeza nti omuntu oyo aba aleseeyo ebintu ebibi by’abadde akola n’atandika okukola Yakuwa by’ayagala. (Soma Isaaya 55:7.) Omuntu oyo aba alina okukyusa endowooza ye n’akola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. (Bar. 12:2; Bef. 4:23) Alina okuba omumalirivu okuleka ebintu ebibi by’abadde akola n’endowooza embi gy’abadde nayo. (Bak. 3:7-10) Kyo kituufu nti okukkiriza kwe tulina mu ssaddaaka ya Kristo Yakuwa kw’asinziira okutusonyiwa n’okutunaazaako ekibi. Yakuwa atusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka eyo singa akiraba nti naffe tufuba okukyusa enneeyisa yaffe.—1 Yok. 1:7.
BEERA MUKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUKUSONYIWA
18. Biki bye tulabye ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu?
18 Kati ka twejjukanye ezimu ku nsonga enkulu ze tulabye. Yakuwa y’asingayo okusonyiwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekisooka, bulijjo mwetegefu okusonyiwa. Eky’okubiri, atumanyi bulungi nnyo. Amanyi buli kimu ekitukwatako era asobola okumanya obanga twenenyezza mu bwesimbu. N’eky’okusatu, Yakuwa bw’atusonyiwa atusonyiyira ddala ne tuba ng’abatakolangako kibi. Ekyo kitusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era n’okuba n’enkolagana ennungi naye.
19. Wadde ng’oluusi n’oluusi tujja kukola ensobi olw’okuba tetutuukiridde, lwaki tusobola okuba abasanyufu?
19 Kyo kituufu nti olw’okuba tetutuukiridde, oluusi n’oluusi tujja kukola ensobi. Naye ebigambo ebiri mu Insight on the Scriptures, Omuzingo 2, olupapula 771, bituzzaamu amaanyi. Bigamba nti: “Olw’okuba Yakuwa amanyi obunafu bw’abaweereza be, tebasaanidde kweraliikirira nnyo olw’ensobi ze bakola olw’obutali butuukirivu bwabwe. (Zb 103:8-14; 130:3) Bwe bafuba okutambulira mu makubo ga Yakuwa basobola okuba abasanyufu. (Baf 4:4-6; 1Yo 3:19-22).” Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi!
20. Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
20 Kitusanyusa okukimanya nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa bwe tuba nga twenenyezza mu bwesimbu. Kati olwo tuyinza tutya okukoppa engeri Yakuwa gy’asonyiwamu? Engeri gye tusonyiwamu efaananako etya n’engeri Yakuwa gy’asonyiwamu, era eyawukana etya? Lwaki kikulu okumanya enjawulo eyo? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
OLUYIMBA 45 Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange
a Mu Kigambo kye, Yakuwa atukakasa nti mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi ababa beenenyezza. Kyokka oluusi tuyinza okuwulira nti Yakuwa tayinza kutusonyiwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Katonda mwetegefu okutusonyiwa bwe tuba twenenyezza mu bwesimbu.
b Laba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, sul. 26, kat. 9.
c EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Okwenenya” kitegeeza omuntu okukyusa endowooza ye n’okunakuwala olw’ebibi by’abadde akola oba olw’okulemererwa okukola ekituufu. Omuntu aba yeenenyezza mu bwesimbu abaako ky’akolawo okukyusa enneeyisa ye.