Okkiriza Obuyambi bwa Yakuwa?
“Yakuwa ye muyambi wange; ssiityenga.”—ABAEBBULANIYA 13:6, NW.
1, 2. Lwaki kikulu okukkiriza obuyambi n’obulagirizi bwa Yakuwa mu bulamu bwaffe?
TEEBEREZAAMU ng’oli ku lusozi otambula. Kyokka, nga toli wekka, wabula ng’oli n’omuntu eyeewaddeyo okukuwa obulagirizi era nga y’asingayo okuwa obulagirizi obulungi. Alina obumanyirivu okukusinga era akusinga amaanyi, naye agumiikiriza n’atambulira wamu naawe. Akiraba nti enfunda n’enfunda weekoona. Olw’okuba tayagala otuukibweko kabi, akukwata ku mukono akuyambe okuyita mu kifo awali akabi. Wandigaanye obuyambi bwe? Kya lwatu nedda! Obulamu bwo buba buli mu kabi.
2 Ng’Abakristaayo, ekkubo lye tulimu zzibu nnyo okuyitamu. Ekkubo eryo tulina kuliyitamu nga tuli ffekka? (Matayo 7:14) Nedda. Baibuli etutegeeza nti Yakuwa Katonda, Omulagirizi asingirayo ddala, akkiriza abantu okutambula naye. (Olubereberye 5:24; 6:9) Yakuwa ayamba abaweereza be nga batambula? Agamba bw’ati: “Nze Mukama Katonda wo [n]naakwatanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya, nze [n]naakuyambanga.” (Isaaya 41:13) Okufaananako omuntu awa obulagirizi ayogeddwako, mu ngeri ey’ekisa, Yakuwa akwata ku mukono abo abamunoonya nga baagala okutambula naye era abalaga omukwano. Mazima ddala, tewali n’omu ku ffe eyandyagadde okugaana obuyambi bwe.
3. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
3 Mu kitundu ekivuddeko, twalabye engeri nnya Yakuwa ze yayitiramu okuyamba abantu be mu biseera eby’edda. Ne leero bw’atyo bw’ayamba abantu be? Tusobola tutya okukakasa nti tukkiriza obuyambi bw’atuwa? Ka twekenneenye ebibuuzo ebyo. Bwe tunaamala okubyekenneenya, kijja kutuyamba okweyongera okuba bakakafu nti ddala Yakuwa ye Muyambi waffe.—Abaebbulaniya 13:6.
Obuyambi bwa Bamalayika
4. Lwaki abaweereza ba Katonda leero basobola okuba abakakafu nti bamalayika babayamba?
4 Bamalayika bayamba abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino? Yee, babayamba. Kya lwatu, leero tebalabikira bantu okusobola okubayamba nga bali mu kabi. Ne mu biseera Baibuli we yawandiikirwa, mirundi mitono nnyo bamalayika gye baalabikira abantu okusobola okubayamba. Ebisinga obungi ku ebyo bye baakolanga abantu baali tebasobola kubiraba, era nga bwe kiri leero. Wadde kyali kityo, abaweereza ba Katonda baddangamu nnyo amaanyi bwe baakitegeeranga nti bamalayika baali babayamba. (2 Bassekabaka 6:14-17) Mu ngeri y’emu, naffe tuddamu amaanyi bwe tukimanya nti bamalayika batuyamba.
5. Baibuli eraga etya nti bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okubuulira leero?
5 Okusingira ddala, bamalayika bafaayo ku mulimu omukulu gwe twenyigiddemu. Mulimu ki ogwo? Eky’okuddamu tukisanga mu Okubikkulirwa 14:6: “Ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” Awatali kubuusabuusa, ‘enjiri eno ey’emirembe n’emirembe,’ ge ‘mawulire amalungi ag’obwakabaka,’ Yesu ge yayogerako nti ‘gajja kubuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba omujulirwa mu mawanga gonna’ ng’enteekateeka y’ebintu eno tennazikirizibwa. (Matayo 24:14) Kya lwatu, bamalayika tebabuulira butereevu. Omulimu guno omukulu Yesu yagukwasa bantu. (Matayo 28:19, 20) Tekituzzaamu amaanyi okumanya nti bwe tuba tukola omulimu guno tuyambibwako bamalayika, ebitonde eby’omwoyo ebirina amagezi amangi ennyo era eby’amaanyi ennyo?
6, 7. (a) Kiki ekiraga nti bamalayika batuyamba mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira? (b) Tusobola tutya okuba abakakafu nti tujja kufuna obuyambi bwa bamalayika?
6 Waliwo obukakafu obulaga nti bamalayika batuyamba mu mulimu gwaffe. Ng’ekyokulabirako, tutera okuwulira Abajulirwa ba Yakuwa ababa mu buweereza ne basanga omuntu aba yaakamala okusaba Katonda amuyambe azuule amazima. Eby’okulabirako ng’ebyo bibaawo nnyo ne kiba nti tekiyinza kugambibwa nti bigwawo bugwi. Olw’obuyambi bwa bamalayika ng’obwo, abantu bangi bayiga okukola ekyo ‘malayika abuuka mu bbanga’ ky’alangirira: ‘Okutya Katonda n’okumuwa ekitiibwa.’—Okubikkulirwa 14:7.
7 Wandyagadde okufuna obuyambi bwa bamalayika ba Yakuwa ab’amaanyi? Bwe kiba bwe kityo, fuba okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira. (1 Abakkolinso 15:58) Bwe twenyigira n’essanyu mu mulimu guno omukulu Yakuwa gw’atuwadde, tuba bakakafu nti tujja kufuna obuyambi bwa bamalayika.
Obuyambi bw’Oyo Akulira Bamalayika
8. Yesu alina kifo ki ekikulu mu ggulu, era lwaki ekyo kituzzaamu amaanyi?
8 Ate era waliwo engeri endala Yakuwa gy’atuyambamu ng’akozesa bamalayika. Okubikkulirwa 10:1 lwogera ku ‘Malayika ow’amaanyi’ nga mu ‘maaso alinga enjuba.’ Awatali kubuusabuusa, malayika ono eyalabibwa mu kwolesebwa, akiikirira Yesu Kristo ng’agulumiziddwa mu kitiibwa eky’omu ggulu. (Okubikkulirwa 1:13, 16) Ddala Yesu malayika? Mu ngeri emu, malayika, kubanga Baibuli emwogerako nti ye malayika omukulu. (1 Abasessaloniika 4:16) Ebigambo malayika omukulu birina makulu ki? Ebigambo ebyo bitegeeza ‘oyo akulira bamalayika.’ Yesu y’asinga obuyinza mu baana ba Yakuwa bonna ab’omwoyo. Yakuwa amufudde muduumizi w’eggye lya bamalayika lyonna. Mazima ddala, malayika ono omukulu atuwa obuyambi obw’amaanyi. Abutuwa atya?
9, 10. (a) Yesu akola atya ‘ng’omuyambi’ waffe nga tukoze ekibi? (b) Eky’okulabirako kya Yesu kiyinza kutuyamba kitya?
9 Omutume Yokaana eyali akaddiye yawandiika: “Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza [“omuyambi,” NW] eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (1 Yokaana 2:1) Lwaki Yokaana yagamba nti Yesu ye ‘muyambi’ waffe naddala bwe tuba nga ‘tukoze ekibi’? Buli lunaku tusobya, ate ng’ekyo kiyinza okutuviirako okufa. (Omubuulizi 7:20; Abaruumi 6:23) Kyokka, Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka olw’ebibi byaffe. Ate era, abeera kumpi ne Kitaffe omusaasizi ng’amwegayirira ku lwaffe. Buli omu ku ffe yeetaaga obuyambi ng’obwo. Tuyinza tutya okubufuna? Kitwetaagisa okwenenya ensobi zaffe era ne tusaba okusonyiyibwa okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu. Ate era tulina okwewala okuddamu okukola ensobi ze zimu.
10 Ng’oggyeko okutufiirira, Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. (1 Peetero 2:21) Ekyokulabirako kye kituyamba okutereeza obulamu bwaffe ne twewala okukola ensobi ez’amaanyi, bwe kityo ne tusanyusa Yakuwa Katonda. Tetuli basanyufu nnyo okufuna obuyambi ng’obwo? Yesu yasuubiza abagoberezi be nti bandiweereddwa omuyambi omulala.
Obuyambi bw’Omwoyo Omutukuvu
11, 12. Omwoyo gwa Yakuwa kye kiki, gwa maanyi kwenkana wa, era lwaki tugwetaaga leero?
11 Yesu yasuubiza: “Ndisaba Kitange, naye alibawa [o]mubeezi [“omuyambi,” NW] omulala, abeerenga nammwe emirembe n’emirembe. Omwoyo ow’amazima ensi gw’eteyinza kukkiriza.” (Yokaana 14:16, 17) ‘Omwoyo guno ogw’amazima,’ oba omwoyo omutukuvu, si muntu, wabula maanyi ga Yakuwa agakola. Maanyi agataliiko kkomo. Ge maanyi Yakuwa ge yakozesa mu kutonda, mu kukola eby’amagero ebiwuniikiriza, era n’okutegeeza abantu by’ayagala ng’ayitira mu kwolesebwa. Okuva Yakuwa bw’atakyakozesa mwoyo gwe mu ngeri eyo leero, ekyo kitegeeza nti tetugwetaaga?
12 Si bwe kiri. Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ twetaaga nnyo omwoyo gwa Yakuwa n’okusinga bwe kyali kibadde. (2 Timoseewo 3:1) Gutuwa amaanyi okusobola okugumiikiriza nga tugezesebwa. Gutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi ezitusobozesa okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era ne baganda baffe mu by’omwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) Kati olwo tusobola tutya okuganyulwa mu buyambi buno obw’ekitalo obuva eri Yakuwa?
13, 14. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okuwa abantu be omwoyo omutukuvu? (b) Nneeyisa ki eraga nti tetukkiriza buyambi bw’omwoyo omutukuvu?
13 Okusooka, twetaaga okusaba Katonda atuwe omwoyo omutukuvu. Yesu yagamba: “Oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.” (Lukka 11:13) Yee, Yakuwa ye Kitaffe asingayo obulungi. Bwe tumusaba mu bwesimbu okutuwa omwoyo omutukuvu, tasobola kugutumma. N’olwekyo, ekibuuzo ekijjawo kiri nti, Tusaba okuweebwa omwoyo omutukuvu? Tusaanidde obutayosa kusaba Katonda okutuwa omwoyo omutukuvu.
14 Ate era, tukkiriza obuyambi bw’omwoyo omutukuvu nga tugoberera obulagirizi bwagwo. Okuwaayo ekyokulabirako: Ka tugeze nti waliwo Omukristaayo afuba okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu. Asabye Katonda okumuwa omwoyo omutukuvu asobole okulekayo omuze guno omubi. Atuukiridde abakadde okufuna obuyambi era ne bamuwa amagezi nti afube okwewala ekintu kyonna ekyekuusa ku bintu ng’ebyo ebibi. (Matayo 5:29) Kiba kitya singa asuulayo gwa nnaggamba n’agenda mu maaso n’okulaba ebintu ng’ebyo? Ddala abeera akolera ku kusaba kwe okw’okufuna obuyambi bw’omwoyo omutukuvu? Aba tannakuwaza mwoyo gwa Katonda omutukuvu era n’asubwa okugufuna? (Abaefeso 4:30) Mazima ddala, ffenna twetaaga okukola kyonna kye tusobola okukakasa nti tweyongera okufuna obuyambi bwa Yakuwa buno obw’ekitalo.
Obuyambi bw’Ekigambo kya Katonda
15. Tusobola tutya okulaga nti Baibuli tugitwala ng’ekitabo ekikulu?
15 Baibuli ebadde nsibuko ya buyambi eri abaweereza ba Yakuwa okumala ebyasa bingi. Mu kifo ky’okutwala Baibuli ng’ekitabo ekitali kikulu, tusaanidde okukimanya nti nsibuko nkulu ey’obuyambi. Okusobola okukkiriza obuyambi obwo, kyetaagisa okufuba. Tusaanidde okugifuula enkola yaffe okusomanga Baibuli obutayosa.
16, 17. (a) Zabbuli 1:2, 3 ziraga zitya omuganyulo oguli mu kusoma amateeka ga Katonda? (b) Zabbuli 1:3 lulaga lutya nti tulina okukola n’obunyiikivu?
16 Zabbuli 1:2, 3 zoogera bwe ziti ku muntu atya Katonda: “Amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro. Naye alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo ez’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola akiweerwako omukisa.” Olaba ensonga enkulu mu nnyiriri ezo? Bw’osoma ennyiriri ezo, kyangu okulowooza ku muti oguwa obuwi ekisiikirize ogwasimbibwa okumpi n’omugga. Ng’omuntu awulira bulungi ng’awummuliddeko mu kisiikirize ng’ekyo mu ttuntu! Naye, zabbuli eno tetukubiriza kulowooza ku kuwummulako. Wabula, etukubiriza okukola n’obunyiikivu. Mu ngeri ki?
17 Weetegereze nti omuti ogwogerwako wano si gwegwo oguwa obuwi ekisiikirize era ogwamera okumpi n’omugga mu butanwa. Muti ogubala ebibala era “ogwasimbibwa” mu kifo ekyo ekiri “okumpi n’ensulo ez’amazzi.” Omuti ogumu gusobola gutya okumera okumpi n’ensulo ezisukka mu emu? Mu ssamba y’emiti egy’ebibala, nnyini yo ayinza okutemamu emifuleggye okuleeta amazzi eri emiti gye egyo egy’omugaso. Ng’ekyokulabirako ekyo kiggyayo bulungi ensonga! Singa mu by’omwoyo tutinta ng’omuti ogwogeddwako, kiba kitegeeza nti waliwo eky’amaanyi ekikoleddwa okutuyamba. Tuli mu kibiina ekituwa amazzi amayonjo ag’amazima. Kyokka, okusobola okugaganyulwamu tulina okubaako kye kukolawo. Tulina okulaba nti tunywa amazzi ago ag’omuwendo, nga tufumiitiriza era n’okunoonyereza, amazima g’omu Kigambo kya Katonda gasobole okutuuka ku mitima gyaffe. Bwe tukola bwe tutyo, naffe tujja kubala ebibala ebirungi.
18. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna eby’okuddamu okuva mu Baibuli mu bibuuzo bye tuba nabyo?
18 Baibuli tejja kutugasa singa tugitereka buteresi. Ate era si kitabo kya byamagero nti tulina kugisuula wansi yeebikkule, olwo tulyoke tufune kye twagala ku lupapula oluba lwebikkudde. Bwe tuba n’eby’okusalawo, tulina okunoonya ‘okumanya okukwata ku Katonda’ ng’omuntu anoonya eby’obugagga ebikusike. (Engero 2:1-5) Tulina okufuba okunoonyereza mu Byawandiikibwa okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye tuba nabyo. Tulina ebitabo bingi ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebituyamba mu kunoonyereza. Bwe tubikozesa okunoonya amagezi ag’omugaso agali mu Kigambo kya Katonda, tuba tukozesa obuyambi Yakuwa bw’atuwa.
Obuyambi bwa Bakkiriza Bannaffe
19. (a) Lwaki ebitundu okuva mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! biyinza okutwalibwa ng’obuyambi obutuweebwa bakkiriza bannaffe? (b) Mu ngeri ki gy’oyambiddwamu ekitundu ekimu okuva mu emu ku magazini zaffe?
19 Okuva edda n’edda abaweereza ba Yakuwa ab’oku nsi babadde bayambagana. Mu kiseera kino Yakuwa takyabakozesa kuyamba bannaabwe? Akyabakozesa. Kya lwatu, ffenna tujjukirayo omulundi lwe twayambibwa bakkiriza bannaffe mu kiseera kyennyini we twali twetaagira obuyambi. Ng’ekyokulabirako, osobola okujjukirayo ekitundu ekimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba mu Awake! ekyakubudaabuda oba ekyakuyamba okugonjoola ekizibu oba ekyakunyweza ng’okukkiriza kwo kugezesebwa? Yakuwa ye yakusobozesa okufuna obuyambi obwo ng’ayitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ gwe yassaawo okutuwa ‘emmere mu kiseera ekituufu.’—Matayo 24:45-47.
20. Mu ngeri ki abakadde Abakristaayo gye beeraze okuba ‘ebirabo mu bantu’?
20 Kyokka, emirundi egimu bakkiriza bannaffe batuyamba butereevu. Omukadde ayinza okuwa emboozi etutuuka ku mutima, oba ayinza okutukyalirako n’atuzzaamu amaanyi ne tusobola okwaŋŋanga ebizibu, oba ayinza okutubuulirira ne tusobola okuvvuunuka obunafu bwe tuba nabwo. Omukristaayo omu eyasiima obuyambi omukadde bwe yamuwa yagamba: “Nga tukola naye mu buweereza bw’ennimiro, yansaba okwogera ekyandi ku mutima. Mu kiro ekyakeesa olunaku olwo, nnali nsabye Yakuwa annyambe nfune omuntu gwe nnaabuulirako ekizibu kyange. Enkeera waalwo, ow’oluganda ono yayogera nange mu ngeri ey’ekisa. Yannyamba okulaba engeri Yakuwa gye yali annyambyemu okumala emyaka mingi. Nneebaza Yakuwa olw’okunsindikira omukadde ono.” Mu bintu bingi, abakadde Abakristaayo beeraze okuba ‘ebirabo mu bantu,’ Yakuwa b’atuwadde okuyitira mu Yesu Kristo okutuyamba okunywerera mu kkubo ery’obulamu.—Abaefeso 4:8.
21, 22. (a) Biki ebivaamu abo abali mu kibiina Ekikristaayo bwe bassa mu nkola okubuulira okuli mu Abafiripi 2:4? (b) Lwaki obuyambi bwe tufuna ne bwe buba butono nnyo buba bukulu?
21 Ng’oggyeko abakadde, buli Mukristaayo omwesigwa ayagala okugoberera ekiragiro kino ekya ‘buli muntu obutatunuuliranga bibye yekka naye n’ebya balala.’ (Abafiripi 2:4) Abo abali mu kibiina Ekikristaayo bwe bagoberera okubuulira okwo, booleka ebikolwa eby’ekisa. Ng’ekyokulabirako, amaka agamu gaafuna ebizibu eby’amaanyi bingi mu kiseera kye kimu. Taata yali agenze ne muwala we ku dduuka. Bwe baali bakomawo eka, baagwa ku kabenje. Omuwala yafiirawo; ate ye taata n’afuna ebisago eby’amaanyi. Bwe baamusiibula mu ddwaliro, yali munafu nnyo nga talina ky’asobola kwekolera. Mukazi we yali munakuwavu nnyo ne kiba nti yali tasobola kumulabirira yekka. N’olwekyo, omugogo ogumu ogw’abafumbo mu kibiina, gwabatwala mu maka gaabwe ne babalabirira okumala wiiki eziwerako.
22 Kya lwatu, ebikolwa ng’ebyo eby’ekisa tebiragibwa olwo lwokka nga waguddewo ebizibu eby’amaanyi ng’ebyo. Oluusi, ebintu bye tuyambibwamu tebiba bya maanyi. Kyokka, obuyambi ka bube butono butya, tubusiima nnyo. Ojjukira ekiseera muganda wo bwe yakugamba ekintu eky’akuyamba ennyo mu kiseera kyennyini we wali weetaagira obuyambi? Yakuwa atera okutuyamba ng’ayitira mu ngeri ng’ezo.—Engero 17:17; 18:24.
23. Yakuwa awulira atya bwe tufuba okuyambagana?
23 Wandyagadde Yakuwa akukozese okuyamba abalala? Enkizo eyo osobola okugifuna. Mu butuufu, Yakuwa asiima nnyo bw’ofuba okuyamba abalala. Ekigambo kye kitutegeeza nti: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” (Engero 19:17) Tufuna essanyu lya nsusso bwe tuyamba baganda baffe ne bannyina ffe. (Ebikolwa 20:35) Abo abeeyawula ku balala mu bugenderevu, tebafuna ssanyu eriva mu kuyamba oba okuyambibwa. (Engero 18:1) N’olwekyo, ka ffenna tufube okubangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo tusobole okuzziŋŋanamu amaanyi.—Abaebbulaniya 10:24, 25.
24. Lwaki tetusaanidde kuwulira nti tulekeddwa ttayo olw’okuba Yakuwa takola bya magero nga bwe yakolanga edda?
24 Tekituzzaamu nnyo amaanyi bwe tufumiitiriza ku ngeri ezitali zimu Yakuwa mw’atuweera obuyambi? Wadde nga mu kiseera kino Yakuwa takola bya magero okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye, tetuwulira nti tulekeddwa ttayo. Ekisinga obukulu kwe kuba nti Yakuwa atuwa obuyambi bwonna bwe twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa. Singa ffenna tunywerera mu kukkiriza, tujja kulaba ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ebijja okusinga ebyo byonna ebyali bibaddewo. Ka tubeere bamalirivu okukozesa mu bujjuvu obuyambi bwa Yakuwa, naffe tusobole okwogera ebigambo bino ebiri mu kyawandiikibwa ky’omwaka 2005: ‘Obuyambi bwange buva eri Yakuwa.’—Zabbuli. 121:2.
Kiki ky’Olowooza?
Yakuwa atuwa atya obuyambi bwe twetaaga leero—
• okuyitira mu bamalayika?
• okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu?
• okuyitira mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa?
• okuyitira mu bakkiriza bannaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Kizzaamu amaanyi okumanya nti bamalayika batuyamba mu mulimu gw’okubuulira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Yakuwa ayinza okukozesa omu ku bakkiriza bannaffe okutuwa obuyambi bwe twetaaga