LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 7/1 lup. 14-19
  • Weeyongere Okunywera ng’Alaba Oyo Atalabika!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okunywera ng’Alaba Oyo Atalabika!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kikulu Nnyo Okusiima Ebintu eby’Omwoyo
  • Kiki Ekitunyweza?
  • Oyo Atalabika Awa Abantu Be Obulagirizi
  • Okutwala Katonda ng’Omuyigiriza Waffe ow’Ekitalo
  • Tuvunaanyizibwa gy’Ali
  • Okusaba Yakuwa Atukebere
  • Olaba “Oyo Atalabika”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Osobola Okulaba Katonda Atalabika?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Weeyongere Okuweereza Yakuwa n’Omutima Omunywevu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Musa​—Omusajja Eyalina Okukkiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 7/1 lup. 14-19

Weeyongere Okunywera ng’Alaba Oyo Atalabika!

“[Musa] yanywera ng’alaba oyo atalabika.”​—ABAEBBULANIYA 11:27, NW.

1. Yesu yayogera bigambo ki eby’enkukunala ebikwata ku Katonda mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi?

YAKUWA ye Katonda atalabika. Musa bwe yamusaba alabe ekitiibwa Kye, Yakuwa yaddamu: “Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n’aba omulamu.” (Okuva 33:20) Era omutume Yokaana yawandiika: “Tewali yali alabye ku Katonda wonna wonna.” (Yokaana 1:18) Ne Yesu Kristo bwe yali omuntu ku nsi, naye yali tasobola kulaba Katonda. Kyokka, mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda.” (Matayo 5:8) Yesu yali ategeeza ki?

2. Lwaki tetusobola kulaba Katonda n’amaaso gaffe?

2 Ebyawandiikibwa byogera ku Yakuwa ng’Omwoyo ogutalabika. (Yokaana 4:24; Abakkolosaayi 1:15; 1 Timoseewo 1:17) Bwe kityo, Yesu yali tategeeza nti ffe abantu tusobola okulaba Yakuwa n’amaaso gaffe. Kyo kituufu nti, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kulaba Yakuwa Katonda mu ggulu oluvannyuma lw’okuzuukizibwa ng’ebitonde eby’omwoyo. Naye abantu abalina “omutima omulongoofu” era nga balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo basobola ‘okulaba’ Katonda. Kino kisoboka kitya?

3. Abantu bayinza batya okutegeera ezimu ku ngeri za Katonda?

3 Tulina kye tuyiga ku Yakuwa bwe twekenneenya ebintu bye yatonda. Mu ngeri eyo tuyinza okuwuniikirira olw’amaanyi ge era ne tukubirizibwa okumutegeera nti ye Katonda Omutonzi waffe. (Abaebbulaniya 11:3; Okubikkulirwa 4:11) Ku nsonga eyo, omutume Pawulo yawandiika: ‘Engeri za Katonda ezitalabika okuva ku kutonda ensi zirabikira ddala nga zitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n’Obwakatonda bwe.’ (Abaruumi 1:20) N’olwekyo, ebigambo bya Yesu ebikwata ku kulaba Katonda bizingiramu okutegeera ezimu ku ngeri ze. Okulaba okwo kwesigamye ku kumanya okutuufu era kubaawo mu ngeri y’eby’omwoyo nga tukozesa ‘amaaso ag’omutima.’ (Abaefeso 1:18) Ebigambo n’ebikolwa bya Yesu bitutegeeza bingi ku Katonda. Bwe kityo Yesu yagamba: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) Yesu yayolekera ddala engeri za Yakuwa. Bwe kityo, okumanya ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’okuyigiriza kwe biyinza okutuyamba okulaba, oba okutegeera ezimu ku ngeri za Katonda.

Kikulu Nnyo Okusiima Ebintu eby’Omwoyo

4. Abantu bangi leero balaga batya nti tebasiima bya mwoyo?

4 Leero, okukkiriza n’okusiima ebintu eby’eby’omwoyo bya kkekwa. Omutume Pawulo yagamba: “Okukkiriza si kwa bonna.” (2 Abasessaloniika 3:2) Bangi beemalidde ku bintu ebyabwe ku bwabwe era tebakkiririza mu Katonda. Enneeyisa yaabwe embi n’obutasiima bintu bya mwoyo bibalemesa okulaba n’amaaso ag’okutegeera. Kiri kityo kubanga omutume Yokaana yawandiika: “Akola obubi nga talabanga Katonda.” (3 Yokaana 11) Olw’okuba abantu ng’abo tebalaba Katonda n’amaaso gaabwe, engeri gye beeyisaamu eba ng’eraga nti Katonda talaba bye bakola. (Ezeekyeri 9:9) Olw’okuba banyooma ebintu eby’omwoyo, tebasobola kufuna ‘kumanya okukwata ku Katonda.’ (Engero 2:5) Nga kituukirawo bulungi, Pawulo yawandiika: “Omuntu ow’omukka obukka takkiriza bya [m]woyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy’ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.”​—1 Abakkolinso 2:14.

5. Abantu abasiima eby’omwoyo bamanyi ki?

5 Kyokka, singa tufaayo nnyo ku bintu eby’eby’omwoyo, tujja kukimanya nti wadde Yakuwa si Katonda anoonya ensobi, amanyi lwe tuba n’ebirowoozo n’okwegomba okubi. Mazima ddala, ‘amakubo g’abantu gali mu maaso ga Mukama, era yeetegereza eŋŋendo zaabwe zonna.’ (Engero 5:21, NW) Singa tusobya, tukubirizibwa okwenenya n’okusaba Yakuwa okutusonyiwa kubanga tumwagala era tetwagala kumunakuwaza.​—Zabbuli 78:41; 130:3.

Kiki Ekitunyweza?

6. Kitegeeza ki okubeera abanywevu?

6 Wadde nga ffe tetuyinza kulaba Yakuwa n’amaaso gaffe, tukijjukirenga nti ye atulaba. Okumanya nti waali era nti ali kumpi n’abo abamukaabirira kijja kutunyweza, tubeere beesigwa gy’ali. (Zabbuli 145:18) Tuyinza okubeera nga Musa, Pawulo gwe yayogerako: “Olw’okukkiriza yaleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yanywera ng’alaba oyo atalabika.”​—Abaebbulaniya 11:27, NW.

7, 8. Kiki ekyaleetera Musa okwoleka obuvumu mu maaso ga Falaawo?

7 Mu kutuukiriza omulimu ogwamuweebwa Katonda, ogw’okukulembera Abaisiraeri okuva mu busibe e Misiri, Musa yagendanga ewa Falaawo mu lubiri olwali lujjude abakulu b’amadiini n’abamagye. Kyandiba ng’ebisenge by’olubiri byaliko ebifaananyi ebisinzibwa. Kyokka, wadde nga Yakuwa yali talabika, yali wa ddala eri Musa, okwawukana ku bifaananyi ebisinzibwa ebyali bikiikirira bakatonda ba Misiri abataalina bulamu. Tekyewuunyisa nti Musa teyatya Falaawo!

8 Kiki ekyawa Musa obuvumu okugendanga ewa Falaawo? Ebyawandiikibwa bitugamba nti “omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.” (Okubala 12:3) Kya lwatu, okusiima okw’amaanyi kwe yalina eri ebintu eby’omwoyo n’obwesige nti Katonda yali naye, by’awa Musa amaanyi ageetaagisa okukiikirira ‘Oyo atalabika’ mu maaso ga kabaka wa Misiri omukambwe. Engeri ezimu abo ‘abalaba’ Katonda mwe balagira nti bamukkiririzaamu ze ziruwa?

9. Ngeri ki emu mwe tuyinza okweyongera okubeera abanywevu?

9 Engeri emu ey’okwolekamu okukkiriza n’okwongera okubeera omunywevu ng’alaba Oyo atalabika, kwe kubuulira n’obuvumu wadde nga waliwo okuyigganyizibwa. Yesu yalabula abayigirizwa be: “Mulikyayibwa bonna olw’erinnya lyange.” (Lukka 21:17) Era yabagamba: “Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe bannabayigganyanga.” (Yokaana 15:20) Nga Yesu bwe yali ayogedde, oluvannyuma lw’okufa kwe, abagoberezi be baayigganyizibwa nga batiisibwatiisibwa, nga basibibwa mu makomera era nga bakubibwa. (Ebikolwa 4:1-3, 18-21; 5:17, 18, 40) Wadde nga waaliwo okuyigganyizibwa okwa maanyi, abatume ba Yesu n’abayigirizwa be beeyongera okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.​—Ebikolwa 4:29-31.

10. Obwesige bwe tulina mu bukuumi bwa Yakuwa butuyamba butya mu buweereza?

10 Okufaananako Musa, abagoberezi ba Yesu abaasooka tebaatya balabe baabwe abangi abaali balabika. Abayigirizwa ba Yesu baali bakkiririza mu Katonda, era n’ekyavaamu baasobola okugumiikiriza okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Yee, beeyongera okunywera ng’abalaba Oyo atalabika. Leero, okumanya nti Yakuwa atukuuma, kituwa obuvumu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka. Ekigambo kya Katonda kigamba nti “okutya abantu kuleeta ekyambika: naye buli eyeesiga Mukama [anaakuumibwanga].” (Engero 29:25) N’olwekyo, tetutya kuyigganyizibwa; era tetukwatibwa nsonyi olw’obuweereza bwaffe. Okukkiriza kwaffe kutukubiriza okubeera n’obuvumu nga tubuulira baliraanwa baffe, be tukola nabo, be tusoma nabo n’abalala.​—Abaruumi 1:14-16.

Oyo Atalabika Awa Abantu Be Obulagirizi

11. Okusinziira ku Peetero ne Yuda, abamu abaali bakolagana n’ekibiina Ekikristaayo, baalaga batya nti tebasiima bya mwoyo?

11 Okukkiriza kutuyamba okulaba Yakuwa ng’oyo awa obulagirizi entegeka ye ey’oku nsi. N’olwekyo, twewala okuvumirira abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina. Omutume Peetero ne Yuda muganda wa Yesu, baalabula ku abo abaali batasiima bya mwoyo abavumirira abo abaalina obuvunaanyizibwa mu Bakristaayo. (2 Peetero 2:9-12; Yuda 8) Abanoonyereza ensobi ng’abo bandyogedde bwe batyo mu maaso ga Yakuwa singa baali basobola okumulaba? N’akatono! Naye kubanga Katonda talabika, abantu abo abalowooza eby’omubiri baalemererwa okutegeera nti bavunaanyizibwa gy’ali.

12. Twanditutte tutya abo abatwala obukulembeze mu kibiina?

12 Kyo kituufu nti ekibiina Ekikristaayo kirimu bantu abatatuukiridde. Abo abaweereza ng’abakadde bakola ensobi oluusi eziyinza okutukosa kinnoomu. Wadde kiri kityo, Yakuwa akozesa abantu ng’abo okulunda ekisibo kye. (1 Peetero 5:1, 2) Abasajja n’abakazi abasiima eby’omwoyo bategeera nti eno y’engeri Yakuwa mw’ayitira okuwa abantu be obulagirizi. N’olwekyo, ng’Abakristaayo, twewala okubavumirira n’okwemulugunya era ne tussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Katonda ey’okuwa abantu be obulagirizi. Nga tugondera abo abatwala obukulembeze mu ffe, tulaga nti tulaba Oyo atalabika.​—Abaebbulaniya 13:17.

Okutwala Katonda ng’Omuyigiriza Waffe ow’Ekitalo

13, 14. Okutwala Yakuwa ng’Omuyigiriza ow’Ekitalo kitegeeza ki gy’oli?

13 Waliwo ekifo ekirala ekyetaagisa okutegeera okw’eby’omwoyo. Isaaya yalagula: “Amaaso gammwe galiraba Omuyigiriza wammwe ow’Ekitalo.” (Isaaya 30:20, NW) Kyetaagisa okukkiriza okusobola okutegeera nti Yakuwa y’atuyigiriza okuyitira mu ntegeka ye ey’oku nsi. (Matayo 24:45-47) Okutwala Katonda ng’Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo kitegeeza ekisingawo ku kuba n’enkola ennungi ey’okuyiga Baibuli n’okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. Kitegeeza okweyambisa mu bujjuvu enteekateeka Katonda z’atukoledde okutuganyula mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, twetaaga okussaayo omwoyo mu ngeri esinga ku ya bulijjo ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Yesu, tuleme okuddirira mu by’omwoyo.​—Abaebbulaniya 2:1.

14 Emirundi egimu kyetaagisa okufuba okw’enjawulo okusobola okuganyulwa mu mmere ey’eby’omwoyo mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuyita obuyisi mu bintu ebimu mu Baibuli ebituzibuwalira okutegeera. Nga tusoma Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! oboolyawo tubuuka ebitundu ebimu kubanga tubitwala nti tebitukwatako nnyo. Oba tuyinza okuleka ebirowoozo byaffe okuwugulibwa nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Kyokka, tuyinza okussaayo omwoyo bwe tufumiitiriza ku nsonga ezoogerwako. Bwe tusiima ennyo ebintu eby’eby’omwoyo bye tuyigirizibwa, kiraga nti tutwala Yakuwa okuba Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo.

Tuvunaanyizibwa gy’Ali

15. Abamu beeyisizza batya ng’abatalabibwa Yakuwa?

15 Naddala olw’okuba obubi bucaase nnyo mu ‘kiseera kino eky’enkomerero,’ kikulu nnyo okukkiririza mu Oyo atalabika. (Danyeri 12:4) Obutali bwesigwa n’empisa ez’obugwenyufu bicaase nnyo. Kya lwatu, kiba ky’amagezi okujjukira nti Yakuwa alaba ebikolwa byaffe wadde ng’abantu bayinza obutabiraba. Abamu beerabidde ensonga eno. Abalala bwe baba tebabalaba, bayinza okwenyigira mu mpisa ezitali za mu Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, abamu tebaziyiza kukemebwa okw’okulaba ebintu eby’akabi era eby’obugwenyufu ku Internet, ttivi, ne ku mikutu emirala. Okuva ebintu ng’ebyo bwe biyinza okulabibwa mu kyama, abamu beeyisizza ng’abatalabibwa Yakuwa.

16. Kiki ekiyinza okutuyamba okugoberera emitindo gya Yakuwa egya waggulu?

16 Kirungi okujjukira ebigambo by’omutume Pawulo: “Buli omu ku ffe avunaanyizibwa mu maaso ga Katonda.” (Abaruumi 14:12, NW) Tulina okukimanya nti buli lwe tusobya, tuba tusobeza mu maaso ga Yakuwa. Okumanya kino kyandituyambye okugoberera emitindo gye egya waggulu n’okwewala empisa ezitali nnongoofu. Baibuli etujjukiza: “Siwali kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.” (Abaebbulaniya 4:13) Kituufu nti, tuvunaanyizibwa mu maaso ga Katonda, naye okwagala okungi kwe tulina eri Katonda ye nsonga enkulu lwaki tukola by’ayagala era ne tugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu. N’olwekyo, ka tukozese amagezi nga tulondawo eby’okwesanyusaamu era ne mu ngeri gye tweyisaamu ne be tutafaananya kikula.

17. Yakuwa atufaako mu ngeri ki?

17 Yakuwa ayagala nnyo okumanya ebitukwatako, naye ekyo tekitegeeza nti atulindirira tukole ensobi alyoke atubonereze. Wabula, atufaako mu ngeri ey’okwagala, nga taata ayagala okuwa abaana be abawulize empeera. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Kitaffe ow’omu ggulu asanyukira okukkiriza kwaffe era ‘n’agabira empeera abo abamunoonya’! (Abaebbulaniya 11:6) Ka twoleke okukkiriza okwa nnamaddala mu Yakuwa era ‘tumuweereze n’omutima ogutuukiridde.’​—1 Ebyomumirembe 28:9.

18. Olw’okuba Yakuwa atutunuulira era ne yeetegereza ebikolwa byaffe eby’obwesigwa, tulina bukakafu ki okuva mu Byawandiikibwa?

18 Engero 15:3 lugamba: “Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, nga galabirira ababi n’abalungi.” Yee, Katonda atunuulira abantu ababi era abakolako okusinziira ku nneeyisa yaabwe. Kyokka, bwe tubeera mu ‘balungi,’ tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa yeetegereza ebikolwa byaffe eby’obwesigwa. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti ‘okufuba kwaffe si kwa bwereere mu Mukama waffe’ era nti oyo atalabika tayinza ‘kwerabira mulimu gwaffe n’okwagala kwe tulaze erinnya lye’!​—1 Abakkolinso 15:58; Abaebbulaniya 6:10.

Okusaba Yakuwa Atukebere

19. Miganyulo ki egimu egiva mu kubeera n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa?

19 Ng’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, tuli ba muwendo gy’ali. (Matayo 10:29-31) Wadde talabika, ayinza okuba owa ddala gye tuli, era tuyinza okusiima enkolagana gye tulina naye. Okuba n’endowooza ng’eyo ku Kitaffe ow’omu ggulu kituleetera emiganyulo mingi. Okukkiriza kwaffe okw’amaanyi kutuyamba okubeera n’omutima omuyonjo era n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Yakuwa. Okukkiriza okutaliimu bunnanfuusi kutuziyiza okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. (1 Timoseewo 1:5, 18, 19) Bwe tuba n’okukkiriza okunywevu mu Katonda, tussaawo ekyokulabirako ekirungi era kiyinza okuzzaamu amaanyi abatwetoolodde. (1 Timoseewo 4:12) Ate era, okukkiriza ng’okwo kutumbula enneeyisa esiimibwa Yakuwa, ne kisanyusa omutima gwe.​—Engero 27:11.

20, 21. (a) Lwaki kirungi Yakuwa okututeekako eriiso lye? (b) Tuyinza tutya okugoberera Zabbuli 139:23, 24?

20 Bwe tuba ab’amagezi, tuba basanyufu okumanya nti Yakuwa atutaddeko amaaso ge. Tetwagala atuteekeko maaso kyokka, naye era twagala akebere ebirowoozo byaffe n’ebikolwa byaffe. Okuyitira mu kusaba, twegayirira Yakuwa atukebere alabe obanga tulina endowooza enkyamu. Mazima ddala ayinza okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu byaffe n’okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Nga kituukirawo bulungi, omuwandiisi wa Zabbuli yayimba: “Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: onkeme, omanye ebirowoozo byange: olabe [oba] ng’ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze, era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.”​—Zabbuli 139:23, 24.

21 Dawudi yeegayirira Yakuwa amukebere alabe obanga yalina ‘ekkubo lyonna ery’obubi.’ Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tetwandyagadde Katonda akebere emitima gyaffe alabe obanga tulina ebiruubirirwa ebikyamu? N’olwekyo, tusabe Yakuwa atukebere. Naye kiba kitya singa tweraliikirira olw’ekisobyo ekimu oba nga waliwo ekintu ekitulumiriza? Bwe kiba bwe kityo, tweyongere okusaba Yakuwa, Katonda waffe ow’okwagala, era n’obwetoowaze tukkirize obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu n’okubuulirira kw’Ekigambo kye. Tuyinza okuba abakakafu nti ajja kutuwagira era atuyambe okugoberera ekkubo erinaatutuusa mu bulamu obutaggwaawo.​—Zabbuli 40:11-13.

22. Twandibadde na bumalirivu ki ku bikwata ku Oyo atalabika?

22 Yee, Yakuwa ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo singa tutuukiriza by’atwetaagisa. Kya lwatu, tuteekwa okutegeera amaanyi ge n’obuyinza bwe, ng’omutume Pawulo bwe yakola, bwe yawandiika: “Kabaka ow’emirembe n’emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n’ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.” (1 Timoseewo 1:17) Tussenga ekitiibwa mu Yakuwa nga Pawulo bwe yakola. Era ne bwe tufuna bizibu ki, tetusagaasagananga mu bumalirivu bwaffe obw’okweyongera okunywera ng’abalaba Oyo atalabika.

Wandizzeemu Otya?

• Kisoboka kitya eri abantu okulaba Katonda?

• Yakuwa bw’aba nga wa ddala gye tuli, tuneeyisa tutya nga tuyigganyizibwa?

• Kitegeeza ki okutwala Yakuwa ng’Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo?

• Lwaki twandyagadde Yakuwa okutukebera?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Awatali kutya Falaawo, Musa yeeyisa ng’eyali alaba Yakuwa, Katonda atalabika

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Tetweyisanga mu ngeri eraga nti Yakuwa talaba kye tukola

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Mu bwesimbu tunoonya okumanya okukwata ku Katonda

kubanga tumutwala ng’Omuyigiriza waffe ow’Ekitalo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share