Wa Abalala Ekitiibwa era Balage Okwagala ng’Ofuga Olulimi
“Buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n’omukazi atyenga bba.”—ABAEFESO 5:33.
1, 2. Kibuuzo ki ekikulu abafumbo bonna kye balina okwebuuza, era lwaki?
KA TUGAMBE nti ofunye ekirabo ekisabikiddwa obulungi nga kiriko ebigambo: “Kikwate n’Obwegendereza.” Wandikikute otya? Mazima ddala wandikoze kyonna ekisoboka okulaba nti okikwata bulungi. Kiri kitya eri ekirabo eky’obufumbo?
2 Nawomi nnamwandu Omuisiraeri yagamba bw’ati Olupa ne Luusi: “Yakuwa abawe ekirabo mulabe okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba.” (Luusi 1:3-9, NW) Baibuli eyogera bw’eti ku mukyala omulungi: “Ennyumba n’obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.” (Engero 19:14) Bw’oba oli mufumbo, munno olina okumutwala ng’ekirabo ekiva eri Katonda. Ekirabo ekyo Katonda ky’akuwadde okikwata otya?
3. Kubuulirira ki okwa Pawulo abaami n’abakyala kwe basaanidde okugoberera?
3 Ng’awandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yagamba: “Buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n’omukazi atyenga bba.” (Abaefeso 5:33) Weetegereze engeri abaami n’abakyala gye bayinza okugobereramu okubuulira okwo ku bikwata ku njogera yaabwe.
Weekuume ‘Ekintu Ekibi Ekitafugika’
4. Olulimi luyinza lutya okukozesebwa obulungi oba obubi?
4 Omuwandiisi wa Baibuli Yakobo agamba nti olulimi ‘kintu kibi ekitafugika,’ era nti “lujjudde obusagwa obutta.” (Yakobo 3:8) Yakobo yali amanyi ensonga eno: Olulimi olutafugika lwa kabi. Awatali kubuusabuusa, yali amanyi olugero lw’omu Baibuli olugeraageranya ebigambo ebimala googerwa ku ‘kufumita kw’ekitala.’ Ate era, olugero lwe lumu lugamba nti, ‘olulimi lw’ab’amagezi luwonya.’ (Engero 12:18) Mazima ddala, ebigambo birina kinene kye biyinza okukola. Biyinza okulumya oba biyinza okuwonya. Ebigambo byo biyisa bitya munno mu bufumbo? Singa omubuuza ekibuuzo ekyo yandikuzzeemu atya?
5, 6. Bintu ki ebiremesa abamu okufuga olulimi?
5 Bwe kiba nti mwogera ebigambo ebirumya mu bufumbo bwammwe, muyinza okulongoosaamu. Kyokka, kino kyetaagisa okufuba kwa maanyi. Lwaki? Ensonga emu eri nti, tetutuukiridde. Ekibi ekisikire kituleetera okulowooza oba okwogera ku muntu omulala ebitasaana. “Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza [okufuga] n’omubiri gwe gwonna.”—Yakobo 3:2.
6 Ng’oggyeko obutali butuukirivu, enneeyisa y’ab’omu maka omuntu mwe yakulira erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri gy’akozesaamu olulimi. Abamu baakulira mu maka omuli abazadde ‘abatatabagana, abateefuga era abakambwe.’ (2 Timoseewo 3:1-3) Emirundi mingi, abaana abakulira mu maka ng’ago booleka engeri ze zimu bwe bakula. Kya lwatu, obutali butuukirivu n’okukuzibwa obubi tebirina kuba kyekwaso okukozesa ebigambo ebirumya. Kyokka, bwe tutegeera ensonga ezo, kituyamba okutegeera ensonga lwaki abamu kibazibuwalira okufuga olulimi ne boogera ebigambo ebirumya abalala.
‘Mwewale Okwogera Obubi’
7. Kiki Peetero kye yali ategeeza bwe yakubiriza Abakristaayo ‘okwewala okwogera obubi’?
7 Ka kibe ki ekiviirako ekyo, okukozesa ebigambo ebirumya mu bufumbo kiba kiraga nti munno tomwagala era tomussaamu kitiibwa. N’olw’ensonga eyo, Peetero yakubiriza Abakristaayo ‘okwewala okwogera obubi.’ (1 Peetero 2:1) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okwogera obubi’ kitegeeza ‘olulimi oluvuma.’ Kiwa amakulu ‘ag’okwogera ebigambo kumukumu ate n’amaanyi.’ Ekyo nga kiraga bulungi nnyo ebiva mu butafuga lulimi!
8, 9. Kiki ekiyinza okuva mu kukozesa olulimi oluvuma, era lwaki abafumbo bandyewaze okulukozesa?
8 Olulimi oluvuma luyinza okulabika ng’olutali lwa kabi, naye lowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo singa omwami oba omukyala akozesa olulimi ng’olwo. Okuyita munno mu bufumbo omusiru, omugayaavu oba ayeefaako yekka, kiba kitegeeza nti talina kalungi konna k’akola era oba omumalamu ekitiibwa! Mazima ddala ekyo si kikolwa kya kwagala. Ate kiri kitya ku kumala googera bigambo ebyoleka obunafu bwa munno mu bufumbo? Ebigambo nga “Buli kiseera otuuka kikeerezi” oba “Bulijjo tompuliriza,” ddala tekuba kusavuwaza? Ebigambo ng’ebyo biyinza okuleetera munno okwerwanako. Ekyo ate ne kivaamu okuyomba.—Yakobo 3:5.
9 Okuvuma munno nga mubaddeko kye mwogera kiyinza okuleetawo ebizibu mu bufumbo era ebivaamu tebiba birungi. Engero 25:24 lugamba: “Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, olemenga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.” Kya lwatu, bwe kityo bwe kiba n’eri omwami omuyombi. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ebigambo ebirumya biyinza okwonoona enkolagana gye mulina mu bufumbo oboolyawo ne kiviirako omwami oba omukyala okuwulira nti tayagalibwa. Kya lwatu, kikulu nnyo okufuga olulimu. Naye kino kiyinza kukolebwa kitya?
‘Fuga Olulimi’
10. Lwaki kikulu okufuga olulimi?
10 Yakobo 3:8 lugamba: “Olulimi siwali muntu ayinza kulufuga.” Twandikoze kyonna kye tusobola okufuga olulimi lwaffe. “Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, bwataziyiza lulimi lwe, naye nga yeerimba omutima gwe, eddiini y’oyo teriiko ky’egasa.” (Yakobo 1:26; 3:2, 3) Ebigambo bino biraga nti engeri gy’okozesaamu olulimi lwo nsonga nkulu. Tekwata ku munno mu bufumbo yekka, naye ekwata ne ku nkolagana gy’olina ne Yakuwa Katonda.—1 Peetero 3:7.
11. Singa wabaawo obutakkaanya, kiki ekiyinza okukolebwa ne watabalukawo luyombo?
11 Kiba ky’amagezi okwegendereza engeri gy’oyogeramu ne munno mu bufumbo. Singa wabalukawo ekizibu, mugezeeko okukigonjoola. Lowooza ku mbeera eyajjawo mu bulamu bwa Isaaka ne mukyala we Lebbeeka nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 27:46–28:4. “Lebbeeka n’agamba Isaaka nti obulamu bwange bunkooyesezza olw’abawala ba Keesi: Yakobo bw’aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab’omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?” Tewali kyonna kiraga nti Isaaka yamuddamu bubi. Wabula, yasindika mutabani we Yakobo okufuna omukyala atya Katonda atandireetedde Lebbeeka nnaku. Ka tugambe nti wabalukawo obutategeeragana wakati w’omwami n’omukyala. Singa mu kifo kya buli omu okunenya munne, boogera ku kizibu ekiba kizzeewo, ekyo kiyinza okuziyiza enyombo okubalukawo. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okunenya munno nti, “Towaayo biseera kubeerako nange!” lwaki togamba nti “Tekyandibadde kirungi ne tubeerako wamu”? Mufube okugonjoola ekizibu mu kifo kya buli omu okunenya munne. Mwewale okunoonyereza ani mutuufu ani mukyamu. Abaruumi 14:19 lugamba: “Tugobererenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagananga fekka na fekka.”
Weewale ‘Obukyayi, n’Obusungu’
12. Okusobola okufuga olulimi, kiki kye twandisabye, era lwaki?
12 Okufuga olulimi tekikoma ku kwegendereza bye twogera. Mu butuufu, ebigambo byaffe bisibuka ku mutima so si mu kamwa. Yesu yagamba nti: “Omuntu omulungi ekirungi akiggya mu tterekero eddungi ery’omutima gwe; n’omubi ekibi akiggya mu tterekero ebbi: kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima akamwa ke bye koogera.” (Lukka 6:45) N’olwekyo, okusobola okufuga olulimi lwo kiyinza okukwetaagisa okusaba nga Dawudi bwe yasaba nti: “Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.”—Zabbuli 51:10.
13. Obukyayi, obusungu n’obukambwe biyinza bitya okuviirako omuntu okwogera ebigambo ebivuma?
13 Pawulo teyakubiriza Abaefeso kwewala kwogera ebigambo ebirumya kyokka naye era yabakubiriza n’okwewala ekiviirako okubyogera. Yagamba bw’ati: “Okukaawa [“obukyayi,” NW] kwonna n’obusungu n’obukambwe n’okukaayana n’okuvuma bibavengako, awamu n’ettima lyonna.” (Abaefeso 4:31) Weetegereze nti Pawulo bwe yali tannaba kwogera ku “okukaayana n’okuvuma,” yasooka kwogera ku ‘bukyayi, obusungu n’obukambwe.’ Obusungu bwe buyinza okuleetera omuntu okwogera ebigambo ebivuma. N’olwekyo, weebuuze: ‘Ndi mukambwe era njoleka obukyayi? Ndi muntu ‘wa busungu’?’ (Engero 29:22) Bw’oba nga bw’otyo bw’oli, saba Katonda akuyambe okuvvuunuka engeri ezo era akuyambe okufuga obusungu bwo buleme kubuubuuka. Zabbuli 4:4 lugamba: “Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire.” Singa osunguwala, n’olaba nti oyinza obutasobola kwefuga, goberera okubuulirira okuli mu Engero 17:14, NW, olugamba nti: “Nga temunnatandika kuyomba vaawo.” Vaawo okumala akaseera okutuusa ng’obusungu bwo bumaze okukkakkana.
14. Okusiba ekiruyi kuyinza kukola ki ku bufumbo?
14 Si kyangu kwewala busungu na ddala bwe buba nga busibuka ku ‘bukyayi’ Pawulo bwe yayogerako. Ekigambo ky’Oluyonaani Pawulo kye yakozesa kirina amakulu ‘ag’okusiba ekiruyi nga toyagala kutabagana na muntu’ era ‘n’obuteerabira bisobyo eby’emabega.’ Ebiseera ebimu obukyayi buyinza okuba ng’ekisenge ekiri wakati w’omwami n’omukyala era embeera eyo eyinza okubeerawo okumala ekiseera. Singa ekizibu tekigonjoolwa, abafumbo bayinza okutandika okunyoomagana. Naye okusiba ekiruyi olw’ebisobyo bye baakukolako emabega tekivaamu kalungi n’akamu. Ensobi eyakolebwa teyinza kuggibwawo. Bw’osonyiwa omuntu ekibi kye yakola, kiba kirungi n’okyerabira. Okwagala “Tekusiba bubi ku mwoyo.”—1 Abakkolinso 13:4, 5.
15. Kiki ekiyinza okuyamba abo abaamanyiira okukozesa ebigambo ebisongovu okulongoosaamu?
15 Watya nga mu maka gye wakulira mwakozesanga ebigambo ebisongovu era nga yafuuka mpisa yo okubikozesa? Osobola okukola enkyukakyuka. Wamala dda okusalawo engeri gy’oneeyisaamu mu mbeera nnyingi ez’obulamu. Onoosalawo otyo ku bikwata ku ngeri gy’oyogeramu? Oneefuga singa olaba ng’ogenda kutandika kwogera bigambo ebivuma? Ojja kwagala okugoberera okubuulirira okuli mu Abaefeso 4:29 awagamba nti: “Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe.” Kino kikwetaagisa ‘okweyambulako omuntu ow’edda wamu n’ebikolwa bye, n’oyambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw’okutegeera mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda.’—Abakkolosaayi 3:9, 10.
Muteekwa “Okuteesa”
16. Lwaki buli omu obutayogera na munne kyonoona obufumbo?
16 Si kirungi era kiyinza okuvaamu akabi singa omwami n’omukyala buli omu asalawo obutayogera na munne. Tekitegeeza nti buli omufumbo lw’asirika aba akulumya, okuva bwe kiri nti ayinza okuba asirise olw’okuba aweddemu amaanyi. Ate era, okugaana okwogera ne munno kyongera kuzibuwaza mbeera era tekiyinza kubasobozesa kugonjoola kizibu kiriwo. Omukyala omu yagamba nti “bwe tuddamu okwogera, twogera ku bintu birala nnyo mu kifo ky’okugonjoola ekizibu ekibaddewo.”
17. Abakristaayo abalina ebizibu mu bufumbo bandikoze ki?
17 Singa ebizibu biremerawo, mulina okweyongera okufuba okubigonjoola. Engero 15:22 lugamba: “Awatali magezi okuteesa kufa: naye kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo.” Mulina okutuula ne munno ne mukubaganya ebirowoozo ku kizibu ekiba kibaluseewo. Mu buli ngeri yonna, wuliriza munno ng’ayogera. Singa ekyo kirabika ng’ekitayinzika, lwaki teweeyambisa abakadde mu kibiina? Bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa era balina obumanyirivu mu kukozesa emisingi gya Baibuli. Abasajja ng’abo ‘balinga ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga.’—Isaaya 32:2.
Musobola Okutuuka ku Buwanguzi
18. Lutalo ki olwogerwako mu Abaruumi 7:18-23?
18 Kyetaagisa okufuba okusobola okufuga olulimi lwaffe. Era kyetaagisa okufuba okusobola okweyisa obulungi. Ng’ayogera ku buzibu bwe yayolekagana nabwo, omutume Pawulo yagamba nti: “Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali. Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola. Naye obanga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.” ‘Olw’etteeka ly’ekibi eriri mu bitundu byaffe,’ tusobola okukozesa obubi olulimi n’ebitundu ebirala eby’omubiri. (Abaruumi 7:18-23) Kyokka, olutalo tulina okululwana—era tusobola okuluwangula n’obuyambi bwa Katonda.
19, 20. Ekyokulabirako kya Yesu kiyinza kitya okuyamba abaami n’abakyala okufuga olulimi lwabwe?
19 Olw’okuba obufumbo bulina okubaamu okwagalana n’okussaŋŋanamu ekitiibwa, kiba tekyetaagisa kumala gakubawo bigambo oba okukozesa ebigambo ebisongovu. Lowooza ku kyokulabirako Yesu Kristo kye yassaawo ku nsonga eno. Yesu teyakozesa bigambo bivuma ng’ali n’abayigirizwa be. Ne mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, abatume be bwe baali nga bawakana ku ani asinga obukulu, Omwana wa Katonda teyabakambuwalira. (Lukka 22:24-27) Baibuli egamba nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.”—Abaefeso 5:25.
20 Ate kiri kitya eri omukazi? Alina ‘okuwa omwami we ekitiibwa.’ (Abaefeso 5:33) Ddala omukazi awa mwami we ekitiibwa yandibadde amuvuma? Pawulo yagamba nti: “Njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Abakazi balina okugondera abaami baabwe nga Kristo bw’agondera Katonda. (Abakkolosaayi 3:18) Wadde ng’abantu abatatuukiridde tebasobola kukoppa kyakulabirako kya Yesu mu ngeri etuukiridde, abaami n’abakyala bwe bafuba ‘okutambulira mu bigere bye,’ kijja kubayamba okuwangula olutalo olw’okukozesa obubi olulimi.—1 Peetero 2:21.
Kiki ky’Oyize?
• Obutafuga lulimi kiyinza kitya okwonoona obufumbo?
• Lwaki kizibu okufuga olulimi?
• Kiki ekituyamba okufuga olulimu lwaffe?
• Kiki kye wandikoze singa oba n’ebizibu mu bufumbo bwo?