LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 11/15 lup. 12-13
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Ddi Lwe Kyetaagisa Okubikka ku Mutwe era Lwaki?
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 11/15 lup. 12-13

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mwannyinaffe bw’aba ataputira bakiggala mu nkuŋŋaana z’ekibiina oba mu nkuŋŋaana ennene, alina okubikka ku mutwe?

Okutwalira awamu, omukazi Omukristaayo alina okubikka ku mu mutwe ng’akola ekintu ekyandibadde kikolebwa bba oba omusajja Omukristaayo mu kibiina. Kino kituukana n’omusingi oguli mu bigambo bya Pawulo bino: “Buli mukazi asaba oba alagula nga tabisse ku mutwe aswaza omutwe gwe,” kubanga “omutwe gw’omukazi ye musajja.” (1 Kol. 11:3-10) Mwannyinaffe bw’abikka ku mutwe mu mbeera ng’ezo, aba alaze nti agondera enteekateeka ya teyokulase mu kibiina Ekikristaayo.​—1 Tim. 2:11, 12.a

Ate kiri kitya mwannyinaffe bw’aba ataputira bakiggala ng’ow’oluganda awa emboozi? Kituufu nti mwannyinaffe aba ataputa butapusi ebyo omwogezi by’aba ayogera. Bwe kityo, si y’aba ayigiriza wabula ow’oluganda gw’aba ataputa. Kyokka okutaputa ng’ozza mu lulimi lwa bakiggala kya njawulo ku kutaputa ng’ozza mu lulimi olwogerwa. Mu kutaputa ennimi ezoogerwa, abawuliriza amaaso bagateeka ku mwogezi nga bwe bawuliriza omutaputa. Ate era bannyinnaffe ababa bataputa nga bazza mu nnimi ezoogerwa batera okubeera awantu we batalabikira nnyo. Oluusi bayinza n’okutaputa nga batudde oba nga bayimiridde naye nga batunuulidde mwogezi mu kifo ky’okutunuulira abawuliriza. Mu mbeera ng’eyo, kiba tekyetaagisa kubikka ku mutwe.

Ng’oggyeko ekyo, olwa tekinologiya akozesebwa ng’emboozi etaputibwa okuzzibwa mu lulimi lwa bakiggala, omutaputa bakiggala gwe basinga okutunuulira. Ekifaananyi ky’omutaputa kitera okulagibwa ku lutimbe, ate nga ye omwogezi bakiggala bayinza n’okuba nga tebamulaba. Olw’ensonga ezo, kiba kirungi mwannyinaffe ataputira bakiggala okubikka ku mutwe.

Obulagirizi buno obupya bukwata butya ku kutaputira bakiggala ebitundu ebiba mu Lukuŋŋaana lw’Essomero, ebyokulabirako, oba ng’omuntu aliko ky’addamu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, olw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, n’olw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi? Mwannyinaffe aba ataputira bakiggala mu nkuŋŋaana ezo aba alina okubikka ku mutwe? Mu mbeera ezimu kiyinza obuteetaagisa olw’okuba bonna baba bakiraba nti si y’akubiriza olukuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, tekimwetaagisa kubikka ku mutwe bw’aba ataputa abantu abaliko bye baddamu, bannyinaffe abawa emboozi, oba abalaga ebyokulabirako. Kyokka bw’ataputa ow’oluganda ng’awa emboozi mu nkuŋŋaana ezo, oba ng’akubiriza Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, oba ng’akubiriza Olukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, oba mwannyinaffe oyo bw’aba akulembera oluyimba mu lulimi lwa bakiggala, asaanidde okubikka ku mutwe. Olw’okuba mwannyinaffe ayinza okutaputa ab’oluganda, bannyinaffe, abaana, oba abakadde mu kibiina mu nkuŋŋaana ezo, kiba kirungi zonna n’azimalako ng’abisse ku mutwe.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku kubikka ku mutwe, laba olupapula 209-212 mu katabo “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share