Osobola Okufuna Emikisa gy’Obwakabaka
OMUTUME Omukristaayo, Pawulo, yali amanyi bulungi ennimi ezimu ezaali enkulu mu kiseera kye. Yali afunye obuyigirize obuyinza okugeraageranyizibwa n’obwa yunivaasite leero. Yalina enkizo zonna n’eddembe ly’omutuuze Omuruumi. (Ebikolwa 21:37-40; 22:3, 28) Bino byonna byandimusobozeseza okubeera omugagga era omumanyifu. Kyokka yagamba: “Byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo . . . era n’ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo.” (Abafiripi 3:7, 8) Lwaki Pawulo yayogera bw’atyo?
Eyali amanyiddwa nga Sawulo ow’e Taluso era omuyigganya w’abantu “ab’ekkubo,” Pawulo yafuuka omukkiriza oluvannyuma lw’okwolesebwa kwa Yesu eyazuukizibwa era eyagulumizibwa. (Ebikolwa 9:1-19) Eri Pawulo, ekyo ekyamutuukako ng’agenda e Ddamasiko kyamukakasiza ddala nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa, oba Kristo, omufuzi ow’omu biseera eby’omu maaso ow’Obwakabaka obwasuubizibwa. Era kyaleetawo enkyukakyuka eya’maanyi mu bulamu bwa Pawulo, nga bwe kiragiddwa mu bigambo bye waggulu. Mu ngeri endala, olw’okuba omwesimbu era omwesigwa mu mutima, Pawulo yeenenya.—Abaggalatiya 1:13-16.
Mu Baibuli, ekigambo “okwenenya” kitera okuvvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza “oluvannyuma lw’okumanya,” so si “okumanya nga tekunnabaawo.” Bwe kityo, okwenenya kutwaliramu enkyukakyuka mu ndowooza y’omuntu, oba ekigendererwa, okulekerayo ddala ebikolwa bye eby’emabega ebitasaanidde. (Ebikolwa 3:19; Okubikkulirwa 2:5) Ku bikwata ku Pawulo, ekyamutuukako ekikulu ng’agenda e Ddamasiko teyakireka kubeera bubeezi enneewulira ey’omunda oba okwolesebwa kw’eby’eddiini. Gy’ali kyamuyamba okutegeera nti obulamu bwe obw’emabega, nga tamanyi Kristo, tebwalina kigendererwa. Era yakitegeera nti, okusobola okuganyulwa mu kumanya okuppya okukwata ku Kristo kwe yali azudde, yali ateekwa okubaako ky’akola okutereeza obulamu bwe.—Abaruumi 2:4; Abaefeso 4:24.
Enkyukakyuka Eyaleeta Emikisa
Okumanya okukwata ku Katonda Pawulo kwe yalina okusooka, okusingira ddala kwali kwesigamye ku kadiini k’Abafalisaayo, ke yalimu. Enzikkiriza zaabwe zaalimu obufirosoofo n’obulombolombo bw’abantu. Olwa kyekubiira mu by’eddiini, obunyiikivu bwa Pawulo n’amaanyi yabikozesa mu bukyamu. Wadde yalowooza nti yali aweereza Katonda, amazima gali nti yali amulwanyisa.—Abafiripi 3:5, 6.
Oluvannyuma lw’okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Kristo n’ekifo ky’alina mu kigendererwa kya Katonda, Pawulo yalaba nti yali ayolekaganye n’okusalawo: Asigale nga Mufalisaayo, yeeyongere okubeera mu kifo ekyo era aweebwe ekitiibwa, oba akyuse engeri y’obulamu bwe era atandike okukola kyonna ekyali kyetaagisa okusobola okusiimibwa Katonda? Eky’essanyu, Pawulo yasalawo mu ngeri entuufu, kubanga yagamba: “Enjiri [“amawulire amalungi”, NW] tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n’eri Omuyonaani.” (Abaruumi 1:16) Pawulo yafuuka omubuulizi omunyiikivu ow’amawulire amalungi agakwata ku Kristo era n’Obwakabaka.
Nga wayiseewo emyaka mingi, Pawulo yagamba Bakristaayo banne: “Sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.” (Abafiripi 3:13, 14) Pawulo yaganyulwa mu mawulire amalungi kubanga kyeyagalire yayabulira ebyo ebyali bimuggya ku Katonda era n’omutima gwe gwonna atuukirize ebiruubirirwa ebyali bituukagana n’ebigendererwa bya Katonda.
Ggwe Wandikoze Ki?
Oboolyawo obadde ky’ojje owulire amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda likusikiriza? Bwe kityo bwe kyandibadde, kubanga ffenna tulina okwegomba okw’omu butonde okw’okubeera abalamu n’okunyumirwa obulamu mu mirembe n’obutebenkevu. Baibuli egamba nti Katonda ‘yateeka emirembe n’emirembe mu mitima gyaffe.’ (Omubuulizi 3:11, NW) N’olwekyo, kya mu butonde ffe okusuubira ekiseera abantu lwe bajja okubeerawo emirembe gyonna mu mirembe n’essanyu. Era ekyo amawulire amalungi ag’Obwakabaka kye gatuwa.
Kyokka, essuubi eryo okulifuula erya nnamaddala, olina okunoonyereza n’okuzuula amawulire amalungi kye gakwatako. Omutume Pawulo yabuulirira: “Mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) N’olwekyo, okufaanana Pawulo, oluvannyuma lw’okufuna okumanya n’okutegeera, oteekwa okubaako ky’osalawo.
Ku ludda olulala, oyinza okuba ng’olina by’okukkiriza ku bikwata ku biseera byo eby’omu maaso. Jjukira nti Sawulo yalina endowooza eyiye ku bubwe ekwata ku Katonda by’ayagala nga tannaba kufuuka omutume Pawulo. Naye, mu kifo ky’okusuubira okubikulirwa okw’eky’amagero okuva eri Katonda, lwaki ensonga togitunuulira n’obw’egendereza? Weebuuze: ‘Ddala mmanyi Katonda ky’ayagala ekikwata ku bantu n’ensi? Bukakafu ki bwe nnyinza okuwa okuwagira kye nzikiriza? Obukakafu bwange busigala nga bunywevu singa bwekenneenyezebwa okusinziira ku Kigambo kya Katonda, Baibuli? Tolina kyonna ky’ofiirwa bwe weekenneenya enzikiriza z’eddiini yo mu ngeri eno. Mazima ddala, wandyagadde okukola ekyo, kubanga Baibuli etukubiriza: “Mukakasenga ebintu byonna; munywererenga ku bintu ebirungi.” (1 Abasessaloniika 5:21, NW) Abaffe, okusiimibwa Katonda si kye kisinga obukulu?—Yokaana 17:3; 1 Timoseewo 2:3, 4.
Abakulembeze b’eddiini bayinza okutusuubiza ebiseera eby’omu maaso eby’olubeerera. Naye okuggyako ng’ekisuubizo ekyo kyesigamiziddwa ku njigiriza z’omu Baibuli, tekijja kutuyamba kufuna mikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalabula: “Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.”—Matayo 7:21.
Weetegereze nti Yesu essira alissa ku ‘kukola Kitaawe by’ayagala’ era nga kye kisinziirwako okufuna emikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda. Mu ngeri endala, ekiyinza okulabika ng’ekikolwa eky’okutya Katonda kiyinza obutasiimibwa Katonda. Mu butuufu, Yesu yeyongerayo okunnyonnyola ng’agamba: “Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abaakola eby’obujeemu.” (Matayo 7:22, 23) Mazima ddala, ekintu ekikulu kiri okukakasa nti tutegeerera ddala bulungi amawulire amalungi ag’Obwakabaka kye gali era n’okukola ebituukana nago.—Matayo 7:24, 25.
Obuyambi Weebuli
Okumala emyaka egisukka mu 100, Abajulirwa ba Yakuwa babadde babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Nga bakozesa ebitabo awamu n’ebigambo bye boogera, bayamba abantu okwetooloola ensi yonna okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Bwakabaka, emikisa gye bunaaleeta, era n’omuntu ky’alina okukola okufuna emikisa egyo.
Tukukubiriza okubaako ky’okolawo ku bubaka Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira. Bw’okkiriza era n’okolera ku mawulire amalungi, osobola okufuna emikisa egy’ekitalo—si kaakati kyokka naye era ne mu biseera eby’omu maaso ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga ensi yonna.—1 Timoseewo 4:8.
Baako ky’okola kati, kubanga emikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda giri kumpi!
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Nga bakozesa ebitabo awamu n’ebigambo bye boogera, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda