Oluyimba 66
Okuweereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
Printed Edition
1. Nze nkwagala nnyo Yakuwa
’Mufuzi w’obutonde bwonna.
Ŋŋwanidde okukusinza;
Obwesigwa nja kubukuuma.
Amateeka go ngagondera;
Nja kukola by’oyagala.
(CHORUS)
Ai Yakuwa ŋŋwanidde;
Okukwemalirako ddala.
2. Buli kimu kye wakola
Kikuweesa ggwe ekitiibwa.
Mpaayo obulamu bwange
Bwonna n’amaanyi gange gonna.
Nneewaayo okukuweereza,
Nze nja kukituukiriza.
(CHORUS)
Ai Yakuwa ŋŋwanidde;
Okukwemalirako ddala.
(Era laba Ma. 6:15; Zab. 40:8; 113:1-3; Mub. 5:4; Yok. 4:34.)