Oluyimba 30
Yakuwa Atandika Okufuga
1. Lunaku lwa kitiibwa. ’Bufuzi bwa Katonda,
Kati bumaze ’kuteekebwawo.
Ka bajaguze bonna, Bayimbire Katonda.
Yesu Kristo atuuziddwa ku ntebe ye.
(CHORUS)
’Bwakabaka, bulireeta ki?
’Buwanguzi bw’amazima.
Kirala ki, kye bulireeta?
’Bulamu era n’essanyu.
Tendanga Afuga Byonna
Wa kwagala, mwesigwa.
2. Kristo kati afuga, N’enkomerero ejja.
’Mbeera za Sitaani zinaavaawo.
Kati ka tubuulire, Bonna tubamanyise.
’Bawombeefu bamusseemu obwesige.
(CHORUS)
’Bwakabaka, bulireeta ki?
’Buwanguzi bw’amazima.
Kirala ki, kye bulireeta?
’Bulamu era n’essanyu.
Tendanga Afuga Byonna
Wa kwagala, mwesigwa.
3. Ffe tusuuta Kabaka, Katonda gw’ataddewo.
Ajjira mu linnya lya Katonda.
Sabanga Katonda ggwe; Akuwe ’mikisa gye.
Y’agenda okuba nga afuga byonna.
(CHORUS)
’Bwakabaka, bulireeta ki?
’Buwanguzi bw’amazima.
Kirala ki, kye bulireeta?
’Bulamu era n’essanyu.
Tendanga Afuga Byonna
Wa kwagala, mwesigwa.
(Era laba 2 Sam. 7:22; Dan. 2:44; Kub. 7:15.)