Oluyimba 77
Sonyiwanga
Printed Edition
1. Yakuwa Katonda
Akoze ’nteekateeka,
Atusonyiwe ebibi
Era ’ggyewo n’okufa.
Singa twenenyeza ddala,
Talema kusonyiwa
Bwe tubeera tumusabye,
Mu linnya ly’Omwana we.
2. Ffenna tusaasirwa
Bwe tukoppa Katonda
Ne tusonyiwagananga,
Mu bwesimbu bulijjo.
Tugumiikirizagane,
Twesambe obukyayi;
Tuwaŋŋane ekitiibwa,
Twoleke okwagala.
3. Kitugwanidde ffe
Okuba ’basaasizi.
Ne tutasiba kiruyi,
Oba bubi ku mwoyo.
Bwe tunaakoppa Yakuwa,
Katonda ’w’okwagala,
Ne tusonyiwanga ddala;
Tujja kumufaanana.
(Era laba Mat. 6:12; Bef. 4:32; Bak. 3:13.)