SEMBERERA KATONDA
‘Yakuwa Yabasonyiyira Ddala’
“Oyo atasonyiwa balala aba amenye olutindo ye kennyini lw’alina okuyitako.” Ebigambo ebyo ebya Edward Herbert, munnabyafaayo eyaliwo emyaka nga 400 emabega, biraga ensonga lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala: Naffe tujja kuba twetaaga abalala okutusonyiwa. (Matayo 7:12) Naye waliwo ensonga esinga obukulu eyandituleetedde okusonyiwa abalala. Weetegereze ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu Abakkolosaayi 3:13.—Soma.
Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, oluusi tuyinza okunyiiza abalala, era nabo bayinza okutunyiiza. (Abaruumi 3:23) Tuyinza tutya okukuma emirembe ne bantu bannaffe abatatuukiridde? Ng’aluŋŋamiziddwa Katonda, Pawulo yagamba nti tusaanidde okugumiikiriza abalala n’okubasonyiwa. Okubuulirira okwo kukyali kwa mugaso nnyo leero nga bwe kwali emyaka ng’enkumi bbiri emabega. Ka twetegereze ebigambo bya Pawulo.
“Mweyongere okugumiikirizigananga.” Ekitabo ekimu kigamba nti ekyo Abakristaayo bakikola nga “bagumiikiriza engeri za bannaabwe ezitabasanyusa.” Ekigambo “okugumiikirizigananga” kiraga nti buli omu alina okugumiikiriza munne. Bwe tukijjukira nti naffe tulina engeri ezitasanyusa balala, engeri zaabwe ezitatusanyusa tezijja kutumalako mirembe. Watya singa abalala batunyiiza?
“Mweyongere . . . okusonyiwagananga.” Okusinziira ku mukugu omu, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusonyiwagananga” kitegeeza “okusonyiyira ddala.” Omukugu omulala agamba nti ekigambo ekyo kiyinza okutegeeza ‘okukolera omuntu ekintu ekimusanyusa, ekimuganyula, era eky’ekisa.’ N’olwekyo, tusaanidde okusonyiyira ddala omuntu wadde nga ‘tumulinako ensonga.’ Naye lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala mu ngeri eyo? Kubanga naffe tuyinza okunyiiza omuntu oyo ne tuba nga twagala atusonyiwe.
“Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” Ensonga esinga obukulu eyandituleetedde okusonyiyira ddala abalala kwe kuba nti Yakuwa Katonda atusonyiyira ddala. (Mikka 7:18) Lowooza ku kisa Yakuwa ky’alaga aboonoonyi ababa beenenyezza. Obutafaananako ffe, Yakuwa tayonoona. Wadde kiri kityo, asonyiyira ddala aboonoonyi ababa beenenyezza wadde ng’akimanyi nti talikola nsobi yonna ne kiba nti aboonoonyi abo beetaaga okumusonyiwa. Mu butuufu, Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kusonyiwa abalala!
Ekisa Yakuwa ky’atulaga kituleetera okumwagala n’okumukoppa. (Abeefeso 4:32–5:1) N’olwekyo tusaanidde okwebuuza, ‘Okuva bwe kiri nti Yakuwa ansonyiyira ddala, nange sisaanidde kusonyiyira ddala muntu munnange atatuukiridde nga nze aba anneetondedde?’—Lukka 17:3, 4.
Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Okitobba
Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kusonyiwa abalala!