LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 23 lup. 276-287
  • “Ye Yasooka Okutwagala”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ye Yasooka Okutwagala”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekikolwa Ekyoleka Okwagala Ekisingirayo Ddala
  • Okwagala kwa Katonda Kunnyonnyolwa
  • “Katonda Kwagala”
  • Yakuwa Ye Yasooka Okutwagala
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Okwagala—Ngeri Nkulu Nnyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 23 lup. 276-287
Yesu ng’afiira ku muti ogw’okubonaabona.

ESSUULA 23

“Ye Yasooka Okutwagala”

1-3. Bintu ki ebifuula okufa kwa Yesu okuba okw’enjawulo ennyo ku kw’abantu abalala bonna?

Emyaka nga 2,000 egiyise, omusajja ataalina musango yawozesebwa n’asingisibwa emisango gye yali tazzangako, era n’attibwa. Ogwo si gwe mulundi ogwali gusoose mu byafaayo okutta omuntu mu ngeri etali ya bwenkanya, era eky’ennaku, si gwe gwasembayo. Kyokka okufa okwo kwali kwa njawulo nnyo ku kw’abantu abalala bonna.

2 Ng’omusajja oyo anaatera okufa era ng’ali mu bulumi bwa maanyi nnyo, engeri eggulu gye lyalabikamu nayo yalaga nti okufa kwe kwali kukulu nnyo. Wadde ng’obudde bwali bwa misana, ekizikiza kyabuutikira ensi. Munnabyafaayo omu yagamba nti, “enjuba yalekera awo okwaka.” (Lukka 23:44, 45) Ng’omusajja oyo tannassa gwa nkomerero, yayogera ekigambo kino ekikulu: “Kiwedde!” Mazima ddala bwe yawaayo obulamu bwe, yatuukiriza ekintu ekikulu ennyo. Okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingidde ddala ekyali kikoleddwa omuntu.—Yokaana 15:13; 19:30.

3 Omusajja oyo ye Yesu Kristo. Abantu bangi okwetooloola ensi bamanyi ebikwata ku kubonaabona n’okufa kwa Yesu ebyaliwo nga Nisaani 14, 33 E.E. Kyokka waliwo ekintu ekikulu ekitera okubuusibwa amaaso. Wadde nga Yesu yayita mu bulumi bungi, waliwo omulala eyalumwa ennyo n’okusingawo. Mu butuufu, yeefiiriza nnyo n’okusingawo ku lunaku olwo, era nga kye yakola kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingiddeyo ddala ekyali kikoleddwa. Kikolwa ki ekyo? Eky’okuddamu kitutuusa ku nsonga esingayo obukulu: Okwagala kwa Yakuwa.

Ekikolwa Ekyoleka Okwagala Ekisingirayo Ddala

4. Omusirikale Omuruumi yakitegeera atya nti Yesu teyali muntu wa bulijjo, era kiki kye yagamba?

4 Omusirikale Omuruumi eyaliwo nga Yesu afa yeewuunya nnyo ekizikiza ne musisi ow’amaanyi ebyaliwo nga Yesu yaakafa. Yagamba nti: “Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.” (Matayo 27:54) Kya lwatu, Yesu teyali muntu wa bulijjo. Omusirikale oyo yeenyigira mu kutta Omwana eyazaalibwa omu yekka, owa Katonda Asingayo Okuba Waggulu! Omwana oyo yali wa muwendo eri Kitaawe kwenkana wa?

5. Kiseera kyenkana wa Yakuwa ne Yesu kye baamala nga bali bonna mu ggulu? Waayo ekyokulabirako.

5 Bayibuli eyita Yesu “omubereberye ow’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Ekyo kitegeeza nti Omwana wa Yakuwa yaliwo ng’ebintu byonna tebinnatondebwa. Kati olwo Taata n’Omwana baali wamu kumala bbanga ki? Bannassaayansi abamu bateebereza nti obwengula bumaze emyaka obuwumbi 13 nga weebuli. Fumiitiriza ku buwanvu bw’ekiseera ekyo. Okuyamba abantu okutegeera obuwanvu bw’ekiseera obwengula kye bumaze nga weebuli, bannasayansi bakozesa ekipande ekimu ekiraga ebiseera era nga kiriko olukoloboze oluweza ffuuti 360. Buli luta lw’ekigere abagenyi lwe bakuba nga batambulira okumpi n’ekipande ekyo, lukiikirira emyaka ng’obukadde 75 ku kiseera obwengula kye bwakabeerawo. Ku nkomerero y’ekipande kino kuliko akalambe kamu akenkanankana n’oluviiri lw’omuntu lumu, nga kano kakiikirira ebbanga lyonna abantu lye baakamala ku nsi! Ne bwe kiba nti embalirira eyo ntuufu, olukoloboze olwo lwonna si luwanvu ekimala okukiikirira ekiseera Omwana wa Yakuwa kye yaakabeerawo! Yali akola ki mu kiseera ekyo ekiwanvu ennyo?

6. (a) Omwana wa Yakuwa yali akola ki nga tannajja ku nsi? (b) Nkolagana ki eriwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we?

6 Omwana yakola ne Kitaawe nga “omukozi omukugu.” (Engero 8:30) Bayibuli egamba nti: ‘Awataali Mwana tewali kintu kyonna kyakolebwa.’ (Yokaana 1:3) N’olwekyo, Yakuwa n’Omwana we baakolera wamu okutonda ebintu ebirala byonna. Nga bateekwa okuba nga baalina essanyu ppitirivu nga bali wamu! Bangi bakkiriza nti okwagala okubaawo wakati w’omuzadde n’omwana kuba kwa maanyi nnyo. Era okwagala “kunywereza ddala obumu.” (Abakkolosaayi 3:14) Olw’okuba Yakuwa n’Omwana we baali wamu okumala ekiseera kiwanvu nnyo bwe kityo, okwagala okwaliwo wakati waabwe kwali kwa maanyi nnyo ne kiba nti tewali n’omu ku ffe ayinza kukuteebereza. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa Katonda n’Omwana we baagalana nnyo era balina enkolagana ey’amaanyi ennyo etabangawo.

7. Yesu bwe yabatizibwa, Yakuwa yayoleka atya enneewulira gye yalina ku Mwana we?

7 Wadde kyali kityo, Yakuwa yasindika Omwana we okuzaalibwa ku nsi ng’omuntu. Ekyo kyali kitegeeza nti, okumala emyaka egisukka mu 30, Yakuwa yeefiiriza enkolagana ey’oku lusegere gye yalina n’Omwana we omwagalwa mu ggulu. Ng’ali mu ggulu, yalaba Yesu ng’akula era n’afuuka omusajja atuukiridde. Yesu bwe yaweza emyaka nga 30, yabatizibwa. Tekitwetaagisa kuteebereza ngeri Yakuwa gye yali atwalamu Yesu. Yayogera bw’ati ng’asinziira mu ggulu: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.” (Matayo 3:17) Nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa okulaba Omwana we Yesu ng’atuukiriza byonna ebyamulagulwako ne byonna bye yamutuma!—Yokaana 5:36; 17:4.

8, 9. (a) Biki Yesu bye yayitamu nga Nisaani 14, 33 E.E., era Kitaawe ow’omu ggulu yawulira atya? (b) Lwaki Yakuwa yaleka Omwana we okubonaabona n’okufa?

8 Olowooza Yakuwa yawulira atya ku lunaku lwa Nisaani 14, 33 E.E.? Yawulira atya nga Yesu aliiriddwamu olukwe era n’akwatibwa ekibinja ky’abantu mu kiro ekyo? Yawulira atya nga mikwano gya Yesu gimwabulidde era ng’awozesebwa mu ngeri emenya amateeka? Yawulira atya nga Yesu bamusekerera, bamuwandulira amalusu, era nga bamukuba ebikonde? Yawulira atya nga Yesu bamukuba embooko era n’atuusiibwako ebisago? Yawulira atya nga Yesu bamukomerera ku muti era n’alekebwa okwo abantu ne bamukudaalira? Yawulira atya ng’Omwana we omwagalwa akaaba olw’obulumi obungi? Yakuwa yawulira atya nga Yesu assa ogw’enkomerero, era ng’omulundi ogusookera ddala okuva ku ntandikwa y’okutonda, Omwana we omwagalwa talina bulamu?—Matayo 26:14-16, 46, 47, 56, 59, 67; 27:38-44, 46; Yokaana 19:1.

9 Bwe tulowooza ku ebyo ebyaliwo tubulwa n’eby’okwogera. Okuva bwe kiri nti Yakuwa alina enneewulira, obulumi bwe yawulira olw’okufa kw’Omwana we tetulina bigambo bye tusobola kukozesa ku bunnyonnyola. Ekiyinza okunnyonnyolwa ye nsonga lwaki yakkiriza ekikolwa ekyo okubaawo. Lwaki Yakuwa yakkiriza okuyita mu bulumi obungi bwe butyo? Ye kennyini atuwa ensonga mu Yokaana 3:16. Ekyawandiikibwa ekyo kikulu nnyo ne kiba nti abaamu bakiyita ekyawandiikibwa ekiwumbawumbako amawulire amalungi agakwata ku Yesu. Kigamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” N’olwekyo ekyaleetera Yakuwa okukola ekyo, kwe kwagala. Yakuwa okusindika Omwana we okutufiirira kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingiddeyo ddala.

‘Katonda yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka’

Okwagala kwa Katonda Kunnyonnyolwa

10. Abantu beetaaga ki, era kiki ekituuse ku makulu g’ekigambo “okwagala”?

10 Ekigambo “okwagala” kitegeeza ki? Bangi bagamba nti okwagala kye kintu abantu kye basinga okwetaaga. Okuva abantu lwe bazaalibwa okutuuka lwe bafa, bayaayaanira okulagibwa okwagala, basanyuka nyo nga balagiddwa okwagala, era bayinza n’okufa bwe batalagibwa kwagala. Wadde kiri kityo, kizibu nnyo okunnyonnyola okwagala kye kuli. Kyo kituufu, abantu boogera nnyo ku kwagala. Ebitabo, ennyimba, n’ebitontome bingi byogera ku kwagala. Kyokka tebiggirayo ddala bulungi makulu ga kwagala. Mu butuufu, ekigambo ekyo kikozeseddwa nnyo ne kiba nti amakulu gaakyo amatuufu tegasobose kufunika.

11, 12. (a) Wa we tuyinza okuyiga ebisingawo ebikwata ku kwagala? (b) Bika ki eby’okwagala ebyogerwako mu lulimi Oluyonaani olw’edda, era kigambo ki ekikyusibwa “okwagala” ekikozesebwa ennyo mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (c) Mu Byawandiikibwa emirundi mingi ekigambo a·gaʹpe kitegeeza ki?

11 Kyokka Bayibuli etuyamba okumanya obulungi okwagala kye kuli. Enkuluze eyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words egamba nti: “Okwagala kutegeererwa ku bikolwa bye kuleetera [abantu okukola].” Bayibuli by’eyogera ku bikolwa bya Yakuwa bituyigiriza bingi ku kwagala kw’alina eri ebitonde bye. Ng’ekyokulabirako, tutegeera bulungi okwagala kye kuli bwe tulowooza ku kikolwa kya Yakuwa eky’okwagala ekyogeddwako waggulu. Mu ssuula eziddako, tujja kulaba ebyokulabirako ebirala bingi ebiraga okwagala kwa Yakuwa. Ate era tujja kubaako ebirala bye tuyiga nga twekenneenya ebigambo ebyakozesebwa mu Bayibuli ebyavvuunulwa “okwagala.” Oluyonaani olw’edda, lwalina ebigambo bina ebivvuunulwa “okwagala.”a Ku bino ekisinga okukozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, kye kigambo a·gaʹpe. Enkuluze ya Bayibuli emu ekiyita “ekigambo ekisinga obukulu ekinnyonnyola okwagala.” Lwaki?

12 Mu Bayibuli emirundi mingi ekigambo a·gaʹpe kitegeeza okwagala okwesigamiziddwa ku misingi. N’olwekyo, si kwe kwagala okuleetera omuntu okubaako ne ky’akolawo olw’okukwatibwa obukwatibwa ekinyegenyege. Kugazi nnyo era kuba n’ekigendererwa. Okusingira ddala, okwagala okw’Ekikristaayo tekwerowoozaako. Ng’ekyokulabirako, ddamu weetegereze Yokaana 3:16. “Ensi” Katonda gye yayagala ennyo n’atuuka n’okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka y’eruwa? Be bantu abasobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. Mu abo mulimu abantu bangi nnyo abatagoberera mitindo gya Katonda mu bulamu bwabwe. Buli muntu Yakuwa amutwala nga mukwano gwe nga bwe yali atwala Ibulayimu? (Yakobo 2:23) Nedda. Naye akolera buli omu ebirungi, n’atuuka n’okwefiiriza ennyo. Ayagala bonna beenenye era bakyuse amakubo gaabwe. (2 Peetero 3:9) Bangi beenenyezza era bafuuse mikwano gye.

13, 14. Kiki ekiraga nti okwagala okw’Ekikristaayo emirundi mingi kuzingiramu okwoleka omukwano?

13 Kyokka abamu balina endowooza enkyamu ku kwagala okuyitibwa a·gaʹpe. Balowooza nti okwagala okwo tekuliimu mukwano. Ekituufu kiri nti okwagala okw’Ekikristaayo emirundi mingi kubaamu omukwano. Ng’ekyokulabirako, Yokaana bwe yawandiika nti, “Kitaawe w’omwana ayagala Omwana,” yakozesa ekigambo a·gaʹpe. (Yokaana 3:35) Okwagala okwo tekuliimu mukwano? Weetegereze nti mu Yokaana 5:20 Yesu yagamba nti, “Kitaawe w’omwana ayagala Omwana,” ng’akozesa ekigambo phi·leʹo. Okwagala kwa Yakuwa emirundi mingi kubaamu omukwano. Naye okwagala kwe tekwesigama ku nneewulira yokka. Kwesigama ne ku misingi gye egy’amagezi era egy’obwenkanya.

14 Nga bwe tulabye, engeri za Yakuwa zonna zituukiridde era zisikiriza. Naye okwagala kwe kusinga okusikiriza mu ngeri ze zonna. Okwagala kwa Yakuwa kwe kusingira ddala okutuleetera okuba mikwano gye. Eky’essanyu, okwagala era ye ngeri ye esinga obukulu. Ekyo tukimanya tutya?

“Katonda Kwagala”

15. Bigambo ki Bayibuli by’eyogera ku kwagala kwa Yakuwa, era mu ngeri ki gye biri eby’enjawulo? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

15 Bayibuli erina ky’eyogera ku kwagala ng’ate tekyogera ku ngeri za Yakuwa endala enkulu. Ebyawandiikibwa tebigamba nti Katonda maanyi, oba nti Katonda bwenkanya, oba nti Katonda magezi. Kyo kituufu nti alina engeri ezo, ye Nsibuko yaazo, era tewali azooleka kusinga ye. Kyokka Bayibuli bw’eba eyogera ku ngeri ey’okuna egamba nti: “Katonda kwagala.”b (1 Yokaana 4:8) Ekyo kitegeeza ki?

16-18. (a) Lwaki Bayibuli egamba nti “Katonda kwagala”? (b) Mu bitonde byonna ebiri ku nsi, lwaki omuntu y’asaanira okukiikirira engeri ya Yakuwa ey’okwagala?

16 Okugamba nti “Katonda kwagala” si kye kimu n’okugamba nti “Katonda yenkana okwagala.” Era tetuyinza kukyusa bigambo ebyo ne tugamba nti “okwagala ye Katonda.” Yakuwa asingira wala nnyo engeri ng’eyo. Alina enneewulira n’engeri endala nnyingi ng’oggyeeko okwagala. Kyokka mu ngeri zonna z’alina, okwagala kwe kuzisinga. Bwe kityo, ekitabo ekimu kyogera bwe kiti ku lunyiriri luno: “Engeri ya Katonda enkulu kwe kwagala.” Okutwalira awamu, tuyinza okukirowoozaako bwe tuti: Amaanyi ga Yakuwa gamusobozesa okubaako ne ky’akolawo. Obwenkanya bwe n’amagezi bimusobozesa okukola by’ayagala. Naye okwagala kwa Yakuwa kwe kumukubiriza okubaako ne ky’akolawo. Era bulijjo okwagala kwe kweyolekera mu ngeri gy’ayolekamu engeri ze endala.

17 Kitera okugambibwa nti Yakuwa ye nsibuko y’okwagala. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuyiga ebikwata ku kwagala okwesigamiziddwa ku misingi (a·gaʹpe), tulina okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Kya lwatu, abantu nabo basobola okwoleka engeri eno. Lwaki? Mu kiseera ky’okutonda, Yakuwa yagamba bw’ati Omwana we: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe ng’alinga ffe.” (Olubereberye 1:26) Mu bitonde byonna ebiri ku nsi, abantu bokka be basobola okulaga okwagala ne bakoppa Kitaabwe ow’omu ggulu. Jjukira nti Yakuwa yakozesa ebitonde ebitali bimu okukiikirira engeri ze enkulu. Kyokka Yakuwa yalonda omuntu, ekitonde ekisingayo okuba eky’ekitiibwa mu bintu bye yatonda ku nsi, okukiikirira engeri ye esinga obukulu.—Ezeekyeri 1:10.

18 Bwe twoleka okwagala okutaliimu kwefaako, tuba twoleka engeri ya Yakuwa enkulu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Ffe tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Naye, mu ngeri ki Yakuwa gye yasooka okutwagala?

Yakuwa Ye Yasooka Okutwagala

19. Kiki ekyaleetera Yakuwa okutandika okutonda ebintu ebirina obulamu?

19 Okwagala si kintu kipya. Kiki ekyaleetera Yakuwa okutandika okutonda? Tekyali nti yalina ekiwuubaalo nga yeetaaga ow’okubeera naye. Yakuwa alina buli kye yeetaaga era talina kimubulako. Naye okwagala kwe, engeri ye esinga obukulu, kwe kwamukubiriza okuwa ebitonde ebirala ebitegeera obulamu. Omwana we eyazaalibwa omu yekka, ye ‘mubereberye w’ebitonde bya Katonda.’ (Okubikkulirwa 3:14) Oluvannyuma Yakuwa yakozesa omukozi ono omukulu okutonda ebintu ebirala byonna, ng’atandika ne bamalayika. (Yobu 38:4, 7; Abakkolosaayi 1:16) Yakuwa yabawa eddembe ery’okwesalirawo era yabatonda nga bategeera era nga balina enneewulira. Olw’ensonga eyo bamalayika abo ab’amaanyi baali basobola okulagaŋŋana okwagala, okufuuka ab’omukwano, n’ekisinga obukulu, okwagala Yakuwa. (2 Abakkolinso 3:17) Bwe kityo, baalaga okwagala kubanga Yakuwa ye yasooka okubaagala.

20, 21. Adamu ne Kaawa baalina bukakafu ki obwali bulaga nti Yakuwa abaagala, kyokka baakola ki?

20 Bwe kityo bwe kyali n’eri abantu. Okuva ku ntandikwa, Adamu ne Kaawa baalagibwa okwagala kungi nnyo. Wonna we baatunulanga mu Lusuku Edeni, baalabanga ebintu ebyoleka okwagala kwa Kitaabwe. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa Katonda n’asimba olusuku mu Edeni, ku ludda olw’ebuvanjuba, n’ateeka omwo omuntu gwe yali atonze.” (Olubereberye 2:8) Wali obaddeko mu kifo ekifaanana obulungi ennyo? Kiki ekyasinga okukusanyusa? Ekitangaala ekyayita mu bikoola by’emiti ne kimulisa wansi? Ebimuli ebya langi ez’enjawulo? Amaloboozi g’amazzi agakulukuta, ebinyonyi ebiyimba, oba ebiwuka ebikaaba? Ate akawoowo k’emiti, ebibala, n’ebimuli? Ka kibe ng’ekifo ekyo kyakusanyusa kitya, teri kifo kyonna leero kiyinza kugeraageranyizibwa ku lusuku Edeni. Lwaki?

21 Olusuku olwo, lwasimbibwa Yakuwa kennyini! Luteekwa okuba nga lwali lulabika bulungi nnyo. Buli muti ogulabika obulungi oba oguliko ebibala ebiwooma ennyo gwaliyo. Olusuku olwo lwalimu amazzi agamala, nga lugazi bulungi era nga lulimu ebisolo ebitali bimu. Adamu ne Kaawa baalina buli kimu ekyali kiyinza okubasanyusa, nga mw’otwalidde n’omulimu oguleeta essanyu era nga bombi bakolaganira wamu. Yakuwa ye yasooka okubaagala, era nabo baali balina okumwagala. Kyokka baalemererwa okukola ekyo. Mu kifo ky’okugondera Kitaabwe ow’omu ggulu, baamujeemera.—Olubereberye, essuula 2.

22. Engeri Yakuwa gye yakwatamu obujeemu obwaliwo mu Edeni yalaga etya nti okwagala kwe tekujjulukuka?

22 Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyaleetera Yakuwa obulumi bungi nnyo! Naye obujeemu bwabwe bwamuleetera okukyawa abantu? Nedda! “Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.” (Zabbuli 136:1) Bwe kityo, mangu ddala yakola enteekateeka okununula bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abandibadde abawulize. Nga bwe twalabye, enteekateeka eyo yazingiramu ssaddaaka y’Omwana we omwagalwa, era yaviirako Yakuwa okulumwa ennyo.—1 Yokaana 4:10.

23. Emu ku nsonga lwaki Yakuwa ayitibwa “Katonda omusanyufu” y’eruwa, era kibuuzo ki ekikulu ekijja okuddibwamu mu ssuula eddako?

23 Mazima ddala, okuviira ddala ku ntandikwa, Yakuwa ye yasooka okubaako ne ky’akolawo okulaga abantu okwagala. Mu ngeri nnyingi, “ye yasooka okutwagala.” Okwagala kuleetawo obumu n’essanyu. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakuwa ayitibwa “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11) Kyokka wajjawo ekibuuzo ekikulu. Ddala Yakuwa atwagala ng’abantu kinnoomu? Essuula eddako ejja kwogera ku nsonga eyo.

a Ekigambo phi·leʹo, kitegeeza “okwagala okubaawo wakati w’ab’emikwamo,” era kikozesebwa nnyo mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Ekigambo stor·geʹ, kitegeeza okwagala omuntu kw’aba nakwo eri ab’omu maka oba ab’eŋŋanda ze. Nga bwe kiragibwa mu 2 Timoseewo 3:3, bangi tebandiraze kwagala okwo mu nnaku ez’enkomerero. Eʹros, kitegeeza okwagala okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi. Ekigambo ekyo tekikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, wadde ng’okwagala okw’engeri eyo kwogerwako mu Bayibuli.—Engero 5:15-20.

b Waliwo ebyawandiikibwa ebirala ebifaanaganako n’ekyo. Ng’ekyokulabirako, “Katonda kitangaala” ne “Katonda . . . muliro ogusaanyaawo.” (1 Yokaana 1:5; Abebbulaniya 12:29) Eno njogera ya kabonero, kubanga egeraageranya Yakuwa ku bintu ebitalina bulamu. Yakuwa ageraageranyizibwa ku kitangaala, kubanga mutukuvu era mutuukirivu. Taliimu “kizikiza” wadde obutali buyonjo. Era ayinza okugeraageranyizibwa ku muliro olw’obusobozi bw’alina obw’okuzikiriza.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Zabbuli 63:1-11 Okwagala kwa Yakuwa twandikututte tutya, era kwandituleetedde kuba bakakafu ku ki?

  • Koseya 11:1-4; 14:4-8 Yakuwa yalaga atya Isirayiri (oba Efulayimu) okwagala, era Isirayiri yali ajeemye mu ngeri ki?

  • Matayo 5:43-48 Yakuwa akiraga atya nti ayagala abantu bonna?

  • Yokaana 17:15-26 Ebyo Yesu bye yayogera ng’asabira abagoberezi be, biraga bitya nti Yakuwa atwagala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share