-
Ezeekyeri 6:9Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Abo abanaawonawo bajja kunzijukira nga bali eyo mu mawanga gye banaatwalibwa mu buwambe.+ Bajja kumanya nga nnanakuwala olw’emitima gyabwe egitali myesigwa* egyanvaako,+ n’olw’amaaso gaabwe ageegomba* ebifaananyi ebyenyinyaza.+ Bajja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi era eby’omuzizo bye baakola era babyetamwe.+
-
-
Danyeri 9:5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 twayonoona, twakola ebikyamu, twakola ebintu ebibi, era twakujeemera;+ twawaba ne tuva ku biragiro byo ne ku mateeka go.
-