Okuva 16:35 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 35 Abayisirayiri baalya emmaanu okumala emyaka 40,+ okutuusa lwe baatuuka mu nsi eyalimu abantu.+ Baalyanga emmaanu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo y’ensi ya Kanani.+ Okubala 14:33 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 33 Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40,+ era balisasulira ebikolwa byammwe eby’obutali bwesigwa,* okutuusa omulambo gwa buli omu ku mmwe lwe guligwa mu ddungu.+ Ekyamateeka 2:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Yakuwa Katonda wo akuwadde omukisa mu byonna by’okoze. Amanyi bulungi okutambula kwo mu ddungu lino eddene. Yakuwa Katonda wo abadde naawe emyaka gino 40 era obadde tojula kintu kyonna.”’+
35 Abayisirayiri baalya emmaanu okumala emyaka 40,+ okutuusa lwe baatuuka mu nsi eyalimu abantu.+ Baalyanga emmaanu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo y’ensi ya Kanani.+
33 Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40,+ era balisasulira ebikolwa byammwe eby’obutali bwesigwa,* okutuusa omulambo gwa buli omu ku mmwe lwe guligwa mu ddungu.+
7 Yakuwa Katonda wo akuwadde omukisa mu byonna by’okoze. Amanyi bulungi okutambula kwo mu ddungu lino eddene. Yakuwa Katonda wo abadde naawe emyaka gino 40 era obadde tojula kintu kyonna.”’+