Lwaki Okuweereza Yakuwa Kye Tulina Okukulembeza?
“Akamwa kange kanaayogeranga ku butuukirivu bwo, n’obulokozi bwo okuzibya obudde.”—ZAB. 71:15, NW.
WANDIZZEEMU OTYA?
Lwaki Nuuwa, Musa, Yeremiya, ne Pawulo, okuweereza Yakuwa kye kintu kye baakulembeza mu bulamu bwabwe?
Kiki ekinaakuyamba okusalawo obulungi engeri gy’onookozesaamu obulamu bwo?
Lwaki oli mumalirivu okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwo?
1, 2. (a) Omuntu bwe yeewaayo eri Yakuwa kiba kiraga ki? (b) Okwekenneenya ekyokulabirako kya Nuuwa, Musa, Yeremiya, ne Pawulo kituganyula kitya?
BWE weewaayo eri Katonda era n’ofuuka omugoberezi wa Yesu omubatize, oba okoze ekintu ekisingayo obukulu mu bulamu bwo. Oba ng’agamba Yakuwa nti: ‘Njagala obeere Mukama wange mu buli kimu kye nkola mu bulamu bwange. Ndi muweereza wo. Njagala ggwe oba onsalirawo ebintu bye nsaanidde okukulembeza mu bulamu, engeri y’okukozesaamu ebiseera byange, n’engeri gye nsaanidde okukozesaamu ebitone byange n’ebintu bye nnina.’
2 Bw’oba ng’oli Mukristaayo mubatize, ekyo kyennyini kye wasuubiza Yakuwa. Ekyo kye wasalawo okukola kirungi nnyo. Wasalawo mu ngeri entuufu era ey’amagezi. Okuva bwe kiri nti wakkiriza Yakuwa okuba Mukama wo, kati olwo okozesa otya ebiseera byo? Okusobola okwekebera mu nsonga eyo, ka twetegereze ekyokulabirako kya Nuuwa, Musa, Yeremiya, n’omutume Pawulo. Abasajja abo bonna baaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Embeera gye tulimu leero efaananako n’eyo abasajja abo gye baalimu. Ebintu bye baasalawo okukola byalaga ebyo bye baali bakulembeza mu bulamu bwabwe, era ekyokulabirako kyabwe kisaanidde okutuyamba okulaba engeri gye tusaanidde okukozesaamu ebiseera byaffe.—Mat. 28:19, 20; 2 Tim. 3:1.
NG’AMATABA TEGANNAJJA
3. Ekiseera kyaffe kifaananako kitya n’ekiseera kya Nuuwa?
3 Yesu yalaga nti ekiseera kyaffe kyandifaananyeeko ekiseera kya Nuuwa. Yagamba nti: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kuliba.” Mu kiseera ekyo, “abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato; ne batafaayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.” (Mat. 24:37-39) Abantu abasinga obungi leero beeyisa mu ngeri eraga nti tebakkiriza nti Katonda anaatera okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu. Tebassaayo mwoyo ku kulabula abantu ba Katonda kwe babawa. Era okufaananako abantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, abantu bangi leero tebakkiriza nti Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi. Batuuka n’okusekerera abo aboogera ku nsonga eyo. (2 Peet. 3:3-7) Naye Nuuwa yakozesa atya ebiseera bye wadde ng’abantu abaaliwo mu kiseera kye baagaana okumuwuliriza?
4. Yakuwa bwe yamala okuwa Nuuwa omulimu omukulu ogw’okukola, Nuuwa yakozesa atya ebiseera bye, era lwaki?
4 Katonda bwe yabuulira Nuuwa nti yali agenda kuzikiriza abantu ababi era n’amuwa omulimu omukulu ogw’okukola, Nuuwa yazimba eryato okusobola okuwonyaawo abantu n’ebisolo. (Lub. 6:13, 14, 22) Nuuwa era yalabula abantu ku ekyo Yakuwa kye yali agenda okukola. Omutume Peetero yayita Nuuwa “omubuulizi w’obutuukirivu,” ekiraga nti Nuuwa yakola kyonna ekisoboka okuyamba abantu okumanya akabi ak’amaanyi akaali kaboolekedde. (Soma 2 Peetero 2:5.) Olowooza kyandibadde kya magezi Nuuwa n’ab’omu maka ge okumalira ebiseera byabwe mu kukola bizineesi, okwenoonyeza ettutumu, n’okwefunira ebintu ebingi? Ekyo tekyandibadde kya magezi. Nuuwa n’ab’omu maka ge beewala ebintu byonna ebyali biyinza okubawugula, olw’okuba baali bamanyi nti Yakuwa yali anaatera okuzikiriza ensi ey’omu kiseera ekyo.
EBYO OMULANGIRA WA MISIRI BYE YASALAWO OKUKOLA
5, 6. (a) Obuyigirize Musa bwe yafuna mu Misiri buyinza okuba nga bwali bumuteekateeka kukola ki? (b) Lwaki Musa yasalawo okugaana okusigala nga mulangira mu Misiri?
5 Kati ka tulabe ekyokulabirako kya Musa. Musa yakulira mu lubiri lwa Falaawo e Misiri era yali atwalibwa nga mutabani wa muwala wa Falaawo. Ng’omulangira wa Misiri, Musa yayigirizibwa “mu magezi gonna ag’e Misiri.” (Bik. 7:22; Kuv. 2:9, 10) Obuyigirize obwo buyinza okuba nga bwali bwa kumuteekateeka asobole okuweereza mu lubiri lwa Falaawo. Musa yali asobola okufuuka omuntu omututumufu ennyo mu gavumenti eyali esingayo okuba ey’amaanyi mu kiseera ekyo. Yandisobodde okufuna ebintu ebirungi bingi n’enkizo nnyingi. Naye okufuna ebintu ebyo Musa kye yali asinga okutwala ng’ekikulu mu bulamu bwe?
6 Musa bwe yali akyali muto, bazadde be baamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa era ekyo kiyinza okuba nga kyamuyamba okumanya ebintu Yakuwa bye yali asuubizza Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. Musa yali akkiririza mu bisuubizo Yakuwa bye yali yasuubiza bajjajjaabe abo. Ateekwa okuba nga yalowooza nnyo ku biseera bye eby’omu maaso ne ku ngeri gye yandisobodde okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Ekiseera bwe kyatuuka Musa okusalawo okusigala ng’omulangira wa Misiri oba okuba ng’omuddu awamu ne Baisiraeri banne, kiki kye yakola? Musa yasalawo “okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda, mu kifo ky’okubeera mu ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.” (Soma Abebbulaniya 11:24-26.) Oluvannyuma yakozesa obulamu bwe okukola Yakuwa by’ayagala. (Kuv. 3:2, 6-10) Lwaki Musa yasalawo bw’atyo? Kubanga yali akkiririza mu bisuubizo bya Katonda era yali akimanyi nti ebintu byonna bye yandisobodde okufuna mu Misiri tebyandibadde bya lubeerera. Ekyo Musa kye yasalawo okukola kyali kya magezi kubanga oluvannyuma lw’ekiseera kitono Yakuwa yabonereza Misiri ng’aleeta ebibonyoobonyo ekkumi. Ffenna abaweereza ba Yakuwa abeewaayo gy’ali tulina kye tuyigira ku Musa. Okuweereza Yakuwa kye kintu kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe mu kifo ky’okukulembeza ebintu ebiri mu nsi eno oba emirimu gyaffe.
YEREMIYA YALI AMANYI EKYO EKYALI KIGENDA OKUBAAWO
7. Embeera Yeremiya gye yalimu efaananako etya n’eyaffe?
7 Omusajja omulala eyatwala okuweereza Yakuwa ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwe yali nnabbi Yeremiya. Yakuwa yalonda Yeremiya okuweereza nga nnabbi we era n’amulagira okulangirira omusango gwe yali asalidde abantu b’omu Yerusaalemi ne Yuda abaali bafuuse bakyewaggula. Tuyinza okugamba nti Yeremiya yaliwo “mu nnaku ez’oluvannyuma.” (Yer. 23:19, 20) Yali akimanyi nti enteekateeka y’ebintu ey’omu kiseera kye yali eneetera okuzikirizibwa.
8, 9. (a) Lwaki endowooza ya Baluki yalina okutereezebwa? (b) Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tukola enteekateeka zaffe?
8 Okuva bwe kiri nti Yeremiya yali amanyi ekyo ekyali kinaatera okubaawo, kiki kye yeewala okukola? Yeewala okussa essuubi lye mu nteekateeka eyo ey’ebintu eyali eneetera okuzikirizibwa kubanga okukola ekyo tekyandibadde kya magezi. Kyokka ye Baluki, eyali omuwandiisi wa Yeremiya, yatandika okufuna endowooza enkyamu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagamba Yeremiya okugamba Baluki nti: “Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n’ekyo kye nnasimba ndikisimbula; era ndikola bwe ntyo mu nsi yonna. Era weenoonyeza ebikulu? Tobinoonya: kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, . . . naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy’onoogendanga.”—Yer. 45:4, 5.
9 Tetumanyidde ddala bintu ki “ebikulu” Baluki bye yali yeenoonyeza.a Naye kye tumanyi kiri nti ebintu ebyo byali bigenda kusaanyizibwawo ng’Abababulooni bawamba Yerusaalemi mu 607 E.E.T. Ekyo kituyigiriza ki? Kyo kituufu nti twetaaga okubaako enteekateeka ze tukola okusobola okufuna ebintu bye twetaaga mu bulamu. (Nge. 6:6-11) Naye ddala kiba kya magezi okumalira ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu kunoonya ebintu ebitagenda kutuganyula emirembe gyonna? Kituufu nti ekibiina kya Yakuwa kikola enteekateeka okwongera okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, ofiisi z’amatabi, n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka. Naye kikulu okukijjukira nti enteekateeka ezo za njawulo ku ezo abantu abalala ze bakola. Ekigendererwa ky’enteekateeka ekibiina kya Yakuwa kye zikola kwe kuwagira omulimu gw’Obwakabaka. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa bwe baba bakola enteekateeka zaabwe, bulijjo basaanidde okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda. Muli ddala owulira ng’okulembeza ‘Obwakabaka bwa Yakuwa n’obutuukirivu bwe’?—Mat. 6:33.
“MBITWALA NG’EBISASIRO”
10, 11. (a) Bintu ki Pawulo bye yali atwala ng’ebikulu bwe yali tannafuuka Mukristaayo? (b) Kiki ekyaleetera Pawulo okukyusa endowooza ye?
10 Kati ka twetegereze ekyokulabirako kya Pawulo. Pawulo bwe yali tannafuuka Mukristaayo, mu ndaba ey’obuntu, ebiseera bye eby’omu maaso byali bitangaavu. Yali ayigiriziddwa amateeka g’Ekiyudaaya era ng’ayigiriziddwa omu ku bayigiriza abaali basinga obulungi abaaliwo mu kiseera kye. Era kabona w’Abayudaaya asinga obukulu yali amuwadde obuyinza bungi. Yali akulaakulana nnyo mu ddiini y’Ekiyudaaya okusinga bangi ab’emyaka gye. (Bik. 9:1, 2; 22:3; 26:10; Bag. 1:13, 14) Naye obulamu bwa Pawulo bwakyuka bwe yakitegeera nti Yakuwa yali takyatwala Bayudaaya ng’eggwanga lye.
11 Bwe kityo, Pawulo yakiraba nti mu maaso ga Yakuwa, omulimu gwonna mu nteekateeka y’Ekiyudaaya tegwalina mugaso, kubanga enteekateeka eyo yali egenda kuzikirizibwa. (Mat. 24:2) Bwe yamala okutegeera ekigendererwa kya Yakuwa era n’okukiraba nti okukola omulimu gw’okubuulira nkizo ya maanyi nnyo, ebyo bye yali atwala ng’eby’omuwendo mu kusooka yatandika okubitwala “ng’ebisasiro.” Pawulo yava mu ddiini y’Ekiyudaaya era n’asalawo okukozesa obulamu bwe bwonna okubuulira amawulire amalungi.—Soma Abafiripi 3:4-8, 15; Bik. 9:15.
BINTU KI BY’OKULEMBEZA MU BULAMU BWO?
12. Kiki Yesu kye yakulembeza mu bulamu bwe oluvannyuma lw’okubatizibwa?
12 Nuuwa, Musa, Yeremiya, Pawulo, awamu n’abalala bangi baakozesa ebiseera byabwe ebisinga obungi n’amaanyi gaabwe okuweereza Yakuwa. Baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Kya lwatu nti Yesu ye yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi. (1 Peet. 2:21) Bwe yamala okubatizibwa, Yesu yakozesa obulamu bwe bwonna okubuulira amawulire amalungi n’okuweesa Yakuwa ekitiibwa. N’olwekyo, Omukristaayo yenna atwala Yakuwa nga Mukama we, okuweereza Yakuwa kye kintu ky’asaanidde okukulembeza mu bulamu bwe. Okuweereza Yakuwa naawe kye kintu ky’okulembeza mu bulamu bwo? Tuyinza tutya okwongera ku biseera bye tumala nga tuweereza Yakuwa ate mu kiseera kye kimu ne tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obulala?—Soma Zabbuli 71:15; 145:2.
13, 14. (a) Kiki Abakristaayo bonna kye basaanidde okulowoozaako ennyo? (b) Kiki ekiyinza okuleetera abaweereza ba Yakuwa essanyu?
13 Okumala emyaka mingi, ekibiina kya Yakuwa kibadde kikubiriza Abakristaayo okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya n’okusaba Yakuwa abayambe okusobola okukikola. Kyokka abaweereza ba Yakuwa abamu embeera zaabwe tezibasobozesa kubuulira kumala ssaawa 70 buli mwezi. Naye ekyo tekisaanidde kubamalamu maanyi. (1 Tim. 5:8) Ate kiri kitya eri ggwe? Embeera yo ekusobozesa okuweereza nga payoniya?
14 Lowooza ku ssanyu abaweereza ba Yakuwa bangi lye baafuna mu kiseera ky’Ekijjukizo mu mwaka guno. Mu mwezi gwa Maaki, waaliwo enteekateeka ey’enjawulo eyakolebwa nga bapayoniya abawagizi basobola okubuulira essaawa 30 oba 50. (Zab. 110:3) Ab’oluganda bangi baasobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, era ab’oluganda bangi mu bibiina baafuna essanyu lingi nnyo mu mwezi ogwo. Osobola okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zo osobole okuweereza nga payoniya omuwagizi emirundi egiwerako mu mwaka? Omukristaayo omubatize bw’aweereza nga payoniya, awulira essanyu lingi ku buli nkomerero y’olunaku, era aba asobola okugamba Yakuwa nti: “Yakuwa, nkoze kyonna kye nsobola okukuweereza olwa leero.”
15. Kiruubirirwa ki Abakristaayo abakyasoma kye basaanidde okuba nakyo?
15 Bw’oba onootera okumaliriza emisomo gyo, ng’oli mulamu bulungi, era nga tolina buvunaanyizibwa bungi, olowoozezza ku ky’okuweereza nga payoniya? Kyo kituufu nti abasomesa bo bayinza okuba nga bakukubiriza okuluubirira obuyigirize obwa waggulu nga bagamba nti ekyo kye kijja okukusobozesa okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso. Naye kijjukire nti essuubi lyabwe balitadde mu nteekateeka eno ey’ebintu etali ya lubeerera. Kyokka singa osalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, ojja kuba okozesezza bulungi ebiseera byo era ojja kuba okoze ekintu ekijja okukuganyula emirembe gyonna. Singa oyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, ojja kufuna essanyu lingi nnyo, kijja kuba kya bukuumi gy’oli, era kijja kulaga nti oli mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kukulemesa kutuukiriza obweyamo bwe wakola okuweereza Yakuwa.—Mat. 6:19-21; 1 Tim. 6:9-12.
16, 17. Bibuuzo ki Abakristaayo bye basaanidde okwebuuza bwe kituuka ku buweereza bwabwe eri Yakuwa?
16 Abaweereza ba Yakuwa bangi leero bamala ebiseera bingi nga bakola okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Kyokka, abamu bayinza okuba nga bakola nnyo okusinga bwe kyetaagisa. (1 Tim. 6:8) Abasuubuzi bakola kyonna ekisoboka okutuleetera okulowooza nti twetaaga okugula buli kintu ekipya ekiba kizze ku katale, era nti tetusobola kubaawo nga tetukirina. Naye Abakristaayo ab’amazima tebakkiriza nsi ya Sitaani kubasalirawo bintu bye balina kukulembeza mu bulamu. (1 Yok. 2:15-17) Ate kiri kitya eri ab’oluganda abaawummula ku mirimu? Engeri esingayo obulungi gye bayinza okukozesaamu ebiseera byabwe, kwe kuweereza nga bapayoniya n’okukulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwabwe.
17 Buli muweereza wa Yakuwa eyeewaayo gy’ali asaanidde okwebuuza: Kiki kye nkulembeza mu bulamu bwange? Ddala okuweereza Yakuwa kye kintu kye nkulembeza mu bulamu bwange? Okufaananako Yesu, nange njoleka omwoyo ogw’okwefiiriza? Ŋŋondera Yesu era nfuba okumugoberera? Kiki kye nnyinza okukola okusobola okwongera ku biseera bye mmala nga mbuulira oba nga nkola emirimu emirala egikwatagana n’Obwakabaka? Ne bwe kiba nti mu kiseera kino embeera yange tensobozesa kugaziya ku buweereza bwange, nfuba okwoleka omwoyo gw’okwefiiriza?
“ABAAGAZISE OKUKOLA ERA MUKOLE”
18, 19. Kintu ki ky’oyinza okusaba Yakuwa, era lwaki okusaba ekintu ekyo kijja kumusanyusa?
18 Nga kitusanyusa nnyo okulaba obunyiikivu abantu ba Katonda bwe booleka nga bamuweereza. Naye abamu embeera zaabwe be zisobozesa okuweereza nga bapayoniya, muli bayinza okuwulira nga tebaagala kuweereza nga bapayoniya oba bayinza okulowooza nti tebalina bisaanyizo kuweereza nga bapayoniya. (Kuv. 4:10; Yer. 1:6) Kati olwo kiki kye basaanidde okukola? Basaanidde okusaba Yakuwa abayambe. Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Katonda, y’akolera mu mmwe olw’ekyo ekimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” (Baf. 2:13) Bw’oba owulira nga toyagala kugaziya ku buweereza bwo, saba Yakuwa akwagazise era akusobozese okukikola.—2 Peet. 3:9, 11.
19 Nuuwa, Musa, Yeremiya, Pawulo, ne Yesu bonna baali baweereza ba Yakuwa abeesigwa. Baakozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okubuulira abantu obubaka bwa Yakuwa obw’omusango. Tebakkiriza kintu kyonna kubawugula kuva ku mulimu gwabwe. Enteekateeka y’ebintu eno enaatera okuzikirizibwa; n’olwekyo, ffenna abeewaayo eri Katonda twetaaga okweyongera okufuba okukoppa ebyokulabirako ebyo ebirungi ebiri mu Bayibuli. (Mat. 24:42; 2 Tim. 2:15) Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusanyusa Yakuwa era ajja kutuwa emikisa mingi.—Soma Malaki 3:10.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba akatabo God’s Word for Us Through Jeremiah, olupapula 104-106.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Abantu tebeefiirayo nga Nuuwa abalabula
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Olowoozezza ku ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo?