LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 8/15 lup. 3-7
  • “Ndi Wamu Nammwe”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Ndi Wamu Nammwe”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ABAKRISTAAYO AB’AMAZIMA BAZUULA “OKUMANYA OKUTUUFU”
  • “BANGI” BAFUNA “OKUMANYA OKUTUUFU”
  • ‘OKUMANYA OKUTUUFU KWEYONGERA’
  • ENSI ERIJJULA OKUMANYA KATONDA
  • Amazima Agali mu Bayibuli Gaddamu Gatya Okutegeerwa?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 8/15 lup. 3-7

“Ndi Wamu Nammwe”

“Bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya [okutuufu] kulyeyongera.”​—DAN. 12:4.

WANDIZZEEMU OTYA?

Mu kiseera kyaffe, abantu basobodde batya okuzuula “okumanya okutuufu”?

Abantu abakkiriza amazima basobodde batya okweyongera ‘obungi’?

Okumanya okutuufu ‘kweyongedde’ kutya leero?

1, 2. (a) Tumanyira ku ki nti Yesu ali wamu naffe leero era nti ajja kuba wamu naffe mu biseera eby’omu maaso? (b) Okusinziira ku Danyeri 12:4, abantu abamu bwe bandisomye Ebyawandiikibwa n’obwegendereza biki ebyandivuddemu?

KUBA akafaananyi ng’oli mu Lusuku lwa Katonda. Nga buli ku makya ozuukuka ng’owulira bulungi nnyo. Nga tolina wakuluma wonna. Nga buli kitundu kyonna eky’omubiri gwo kikola bulungi. Ng’olina amaanyi mangi, ng’onyumirwa emirimu gy’okola, ng’olina emikwano mingi, era nga tolina kintu kyonna kikweraliikiriza. Egyo gye gimu ku mikisa gy’ojja okufuna ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga ensi. Kabaka waffe Kristo Yesu ajja kuwa abantu emikisa egyo era ajja kubayamba okumanya Yakuwa.

2 Mu kiseera ekyo, Katonda n’Omwana we bajja kuyamba abantu abeesigwa nga bakola omulimu gw’okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa. Mu butuufu, bulijjo Yakuwa ne Yesu babaddenga wamu n’Abakristaayo abeesigwa. Bwe yali tannaba kuddayo mu ggulu, Yesu yagamba abayigirizwa be nti yandibaddenga wamu nabo. (Soma Matayo 28:19, 20.) Okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe mu kisuubizo kya Yesu ekyo, ka twetegereze obunnabbi Danyeri bwe yawandiika ng’ali mu Babulooni emyaka nga 2,500 egiyise. Ku bikwata ku ‘kiseera eky’enkomerero’ kye tulimu kati, nnabbi Danyeri yawandiika nti: “Bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya [okutuufu] kulyeyongera.” (Dan. 12:4) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “okuddiŋŋana embiro” kitegeeza okusoma ekintu n’obwegendereza. Obunnabbi obwo bulaga nti abo abasoma Ebyawandiikibwa n’obwegendereza bandizudde okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda. Era obunnabbi obwo bugamba nti “okumanya okutuufu kulyeyongera.” Abo abandizudde okumanya okwo oba amazima agali mu Byawandiikibwa bandigakkirizza era ne bagayigiriza n’abalala. Ate era abantu buli wamu bandisobodde okufuna okumanya okutuufu. Okwetegereza engeri obunnabbi obwo gye butuukiriziddwamu, kijja kutuyamba okukiraba nti Yesu ali wamu n’abayigirizwa be leero era nti Yakuwa asobola bulungi okutuukiriza ebintu byonna by’asuubizza.

ABAKRISTAAYO AB’AMAZIMA BAZUULA “OKUMANYA OKUTUUFU”

3. Kiki ekyaliwo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume?

3 Ng’obunnabbi bwe bwalaga, oluvannyuma lw’okufa kw’abatume wajjawo obwakyewaggula era bwasaasaana mangu ng’omuliro. (Bik. 20:28-30; 2 Bas. 2:1-3) Okumala ebyasa bingi, abantu bangi nga mw’otwalidde n’abo abaali beeyita Abakristaayo baali tebalina ‘kumanya kutuufu.’ Wadde ng’abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu baali bagamba nti bakkiririza mu Byawandiikibwa, baayigirizanga ‘njigiriza za badayimooni’ ezitaweesa Katonda kitiibwa. (1 Tim. 4:1) Bwe kityo, abantu abasinga obungi baakuumirwa mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Baabayigirizanga nti Katonda ali mu busatu, emmeeme tefa, era nti abantu ababi babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira emirembe n’emirembe.

4. Abakristaayo abatonotono abaaliwo mu myaka gya 1870 baatandika batya okunoonya “okumanya okutuufu”?

4 Kyokka mu myaka gya 1870, ng’ebula emyaka nga 40 ‘ennaku ez’oluvannyuma’ zitandike, waliwo Abakristaayo abatonotono abaali mu Pennsylvania mu Amerika, abaakuŋŋaananga awamu okwekenneenya Bayibuli basobole okufuna “okumanya okutuufu.” (2 Tim. 3:1) Baali bayitibwa Abayizi ba Bayibuli. Abantu abo si be bantu ‘abagezi era abayivu’ Yesu be yagamba nti bandiremeddwa okufuna okumanya okutuufu. (Mat. 11:25) Baali bantu bawombeefu abaali baagala okukola Katonda by’ayagala. Baasomanga Ebyawandiikibwa n’obwegendereza, ne babikubaganyaako ebirowoozo, ne babifumiitirizaako, era ne basaba Katonda abawe obulagirizi. Baageraageranyanga ebyawandiikibwa ebitali bimu era ne beekenneenya n’ebintu abalala abaali banoonya amazima bye baali bawandiise. Mpolampola, Abayizi ba Bayibuli abo baasobola okuzuula amazima abantu bangi ge baali batamanyi okumala ebyasa bingi.

5. Lwaki Abayizi ba Bayibuli baakuba tulakiti eziyitibwa The Old Theology?

5 Wadde ng’Abayizi ba Bayibuli baali basanyufu olw’ebintu ebingi bye baali bayize, ekyo tekyabaleetera kwegulumiza wadde okutandika okugamba abantu nti ebintu bye baali bayigiriza byali bipya. (1 Kol. 8:1) Mu kifo ky’ekyo, baakuba tulakiti ezitali zimu ezaali ziyitibwa The Old Theology okuyamba abantu okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Tulakiti eyasooka okufulumizibwa yayamba abantu okuyiga Bayibuli basobole okwekutula ku “bulombolombo bw’abantu bwonna obukyamu era basobole okukkiriza enjigiriza entuufu eza Mukama waffe n’abatume.”​—The Old Theology, Na. 1, Apuli 1889, lup. 32.

6, 7. (a) Bintu ki Abajulirwa ba Yakuwa bye basobodde okutegeera okuva mu myaka gya 1870? (b) Bintu ki by’osobodde okumanya ebikuleetedde essanyu?

6 Okuva mu myaka gya 1870, Abajulirwa ba Yakuwa bayize ebintu bingi okuva mu Bayibuli!a Ebintu ebyo bituganyudde nnyo mu bulamu bwaffe. Bituyambye okufuna essanyu mu bulamu era bituyambye okuba n’essuubi. Tusobodde okumanya engeri za Yakuwa n’ebigendererwa bye. Tusobodde okumanya Yesu, okutegeera ensonga lwaki yajja ku nsi, ensonga lwaki yalina okufa, n’ebyo by’akola kati. Tumanyi ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, lwaki tufa, engeri gye tuyinza okusabamu, n’engeri gye tuyinza okufuna essanyu erya nnamaddala.

7 Kati tutegeera bulungi amakulu g’obunnabbi obumaze enkumi n’enkumi z’emyaka nga ‘bubikkiddwako’ naye nga kati butuukirizibwa mu kiseera kino eky’enkomerero. (Dan. 12:9) Obunnabbi obwo okusingira ddala busangibwa mu bitabo by’Enjiri ne mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Era Yakuwa atuyambye okumanya ebintu ebyali mu ggulu gye tutaali. Kati tukimanyi nti Yesu yafuuka Kabaka, nti waaliwo olutalo mu ggulu, era nti Sitaani yasuulibwa ku nsi. (Kub. 12:7-12) Ate era Katonda atuyambye okutegeera amakulu g’ebintu bye tulaba leero. Tumanyi ensonga lwaki waliwo entalo, musisi, kawumpuli, enjala, era tumanyi n’ensonga lwaki abantu bakola ebintu ebifudde ebiseera bino okuba “ebizibu” ennyo.​—2 Tim. 3:1-5; Luk. 21:10, 11.

8. Ani atuyambye okutegeera amazima?

8 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Balina essanyu abo abalaba ebintu bye mulaba. Mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka baayagala okulaba ebintu bye mulaba, naye tebaabiraba, era baayagala okuwulira ebintu bye muwulira naye tebaabiwulira.” (Luk. 10:23, 24) Naffe tuli basanyufu olw’ebintu bye tuyize. Yakuwa Katonda y’atuyambye ‘okulaba n’okuwulira’ ebintu ebyo, oba okutegeera amazima. Tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda akozesa, “omuyambi,” omwoyo gwe omutukuvu, okutuyamba “okutegeerera ddala amazima”! (Soma Yokaana 16:7, 13.) Ka tweyongere okutwala amazima ge tuyize ng’ekintu eky’omuwendo n’okuyamba abalala okugayiga!

“BANGI” BAFUNA “OKUMANYA OKUTUUFU”

9. Ekitundu ekyafulumira mu magazini ya Watch Tower eya Apuli 1881 kyalaga bwetaavu ki?

9 Mu magazini ya Watch Tower eya Apuli 1881, mwafulumiramu ekitundu ekyalina omutwe ogugamba nti “Ababuulizi 1,000 Beetaagibwa.” Ekitundu ekyo kyalaga nti ababuulizi abaali basobola okuwaayo ebiseera ebiwerako mu mulimu gw’okubuulira baali beetaagibwa okuweereza nga bakolopoota, oba ababuulizi ab’ekiseera kyonna. Baasabibwa okugenda buli wamu okunoonya Abakristaayo abeesimbu abaali baagala Katonda naye nga tebalina kumanya kutuufu basobole okubayigiriza amazima agakwata ku Katonda awamu n’Ekigambo kye.

10. Kiki abantu bangi kye baakola nga basabiddwa okuweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna?

10 Olw’okuba baali bakimanyi nti Abakristaayo ab’amazima balina okubuulira amawulire amalungi, Abayizi ba Bayibuli baasaba abantu abalala okubeegattako mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka mu kiseera ekyo abantu batono nnyo abajjanga mu nkuŋŋaana z’Abayizi ba Bayibuli, bwe kityo, omuwendo gw’ababuulizi 1,000 be baali beetaaga gwali tegusobola kuwera. Naye abantu bangi abaasomanga tulakiti oba magazini baakiraba nti baali bazudde amazima, era baasalawo okutandika okubuulira. Ng’ekyokulabirako, mu 1882 waliwo omusajja eyali abeera mu kibuga London ekya Bungereza eyasoma magazini ya Watch Tower n’akatabo akaakubibwa Abayizi ba Bayibuli, eyabawandiikira ng’abagamba nti: “Mbasaba munjigirize okubuulira n’ebintu bye nnyinza okubuulira abantu nsobole okwenyigira mu mulimu Katonda gw’ayagala gukolebwe.”

11, 12. (a) Bakolopoota baabanga na kiruubirirwa ki? (b) Bakolopoota baatandikangawo batya ebibiina?

11 Omwaka gwa 1885 we gwatuukira, waaliwo Abayizi ba Bayibuli nga 300 abaali baweereza nga bakolopoota. Baalina ekiruubirirwa kye kimu nga naffe kye tulina leero. Baali baagala okufuula abantu abayigirizwa ba Yesu Kristo. Kyokka, engeri gye baabuulirangamu ya njawulo ku ngeri gye tubuuliramu leero. Leero, tusomesa omuntu omu ku omu. Omuntu gwe tuba tusomesa Bayibuli tumuyita okujja mu nkuŋŋaana mu kibiina ekyamala edda okutandikibwawo. Kyokka mu kiseera ekyo, bakolopoota baasomesanga abantu mu bibinja. Baagabiranga abantu ebitabo era ne babayita okukuŋŋaana okuyigira awamu Bayibuli. Mu ngeri eyo, bakolopoota baatandikangawo ebibiina.

12 Ng’ekyokulabirako, mu 1907, waliwo bakolopoota abaagenda mu kibuga ekimu okunoonya abantu abaalina ebitabo ebiyitibwa Millennial Dawn. Oluvannyuma lw’okuzuula abantu abo, bakolopoota baabayita okujja mu lukuŋŋaana ku Ssande mu maka g’omu ku bantu abaali baagala okuyiga amazima. Ku Ssande eyo kolopoota omu yamala olunaku lulamba ng’ayogera n’abantu ku kigendererwa kya Katonda, ate ku Ssande eyaddako yabakubiriza okutandika okubanga n’enkuŋŋaana obutayosa. Mu 1911, ab’oluganda baatandika okukozesa engeri endala okufuula abantu abayigirizwa. Ab’oluganda 58 baalondebwa okugenda mu bitundu eby’enjawulo eby’Amerika ne Canada okuwa emboozi ezitali zimu. Ab’oluganda abo baawandiikanga amannya g’abantu abaabanga baagala okuyiga Bayibuli abajjanga okuwuliriza emboozi ezo awamu n’endagiriro zaabwe era ne babayamba okutandika okuba n’enkuŋŋaana mu maka g’abamu ku bo. Mu ngeri eyo, baatandikangawo ebibiina. Omwaka gwa 1914 we gwatuukira, waaliwo ebibiina by’Abayizi ba Bayibuli 1,200 mu nsi yonna.

13. Kiki ekikwewuunyisa bw’olowooza ku mulimu gw’okubuulira ogukolebwa leero?

13 Leero, waliwo ebibiina nga 109,400 mu nsi yonna, era waliwo baganda baffe ne bannyinaffe nga 895,800 abaweereza nga bapayoniya. Kati waliwo abantu ng’obukadde munaana abafunye “okumanya okutuufu” era abakukolerako mu bulamu bwabwe. (Soma Isaaya 60:22.)b Ekyo kyewuunyisa kubanga Yesu yagamba nti abantu bangi bandikyaye abayigirizwa be. Bandibayigganyizza, bandibasudde mu makomera, era abamu bandibasse. (Luk. 21:12-17) Wadde nga Sitaani, badayimooni, awamu n’abantu bangi bagezezaako okukomya omulimu ogw’okubuulira, abaweereza ba Yakuwa beeyongedde okufuula abantu abayigirizwa era bafunye ebibala bingi nnyo. Leero, babuulira “mu nsi yonna etuuliddwamu.” Babuulira mu bitundu ebirimu ebbugumu eringi ne mu bitundu ebinnyogovu ennyo, mu nsonzi ne mu malungu, mu bibuga ne mu byalo ebyesudde. (Mat. 24:14) Ekyo tekyandisobose awatali buyambi bwa Yakuwa.

‘OKUMANYA OKUTUUFU KWEYONGERA’

14. “Okumanya okutuufu” kweyongedde kutya okuyitira mu bitabo byaffe ne magazini zaffe?

14 “Okumanya okutuufu” kweyongedde olw’okuba waliwo abantu bangi ababuulira amawulire amalungi. Era okumanya okwo kweyongedde okuyitira mu bitabo byaffe ne magazini zaffe. Mu Jjulaayi 1879, Abayizi ba Bayibuli baafulumya magazini ya Watchtower eyasookera ddala. Mu kiseera ekyo, magazini eyo yali eyitibwa Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence. Abayizi ba Bayibuli baasasula kampuni emu okubakubira kopi 6,000 eza magazini eyo mu Lungereza. Ow’oluganda Charles Taze Russell, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 27, yalondebwa okuba omuwandiisi omukulu owa magazini eyo era yakoleranga wamu n’ab’oluganda abalala bataano abaali abakuze mu by’omwoyo. Leero kopi za magazini ya Watchtower 42,182,000 ze zikubibwa buli mwezi mu nnimi 195. Ye magazini esinga okukubibwa mu kyapa mu nsi yonna. Magazini ya Awake! y’egiddirira. Kopi za magazini ya Awake! 41,042,000 ze zikubibwa buli mwezi mu nnimi 84. Ate era ebitabo ne Bayibuli ng’obukadde 100 bye bikubibwa buli mwaka.

15. Omulimu gwaffe ogw’okukuba ebitabo ne magazini guyimirizibwawo gutya?

15 Ssente ezikozesebwa mu mulimu ogwo ogw’okukuba ebitabo ne magazini ziweebwayo kyeyagalire. (Soma Matayo 10:8.) Ekyo kyewuunyisa nnyo abo abakola bizineesi ey’okukuba ebitabo, kubanga bakimanyi nti ebyuma ebikuba ebitabo, empapula, bwino, n’ebintu ebirala ebikozesebwa okukuba ebitabo bigula ssente nnyingi nnyo. Ow’oluganda omu agula ebintu ebikozesebwa mu mulimu gw’okukuba ebitabo byaffe yagamba nti: “Bannabizineesi abalaba ku byuma byaffe eby’omulembe ebikuba ebitabo ebingi ennyo, beewuunya nnyo bwe bakitegeera nti omulimu gwaffe guyimirizibwawo ssente eziweebwayo kyeyagalire. Ate era beewuunya nnyo bwe balaba abavubuka bangi abasanyufu abaweereza ku Beseri.”

ENSI ERIJJULA OKUMANYA KATONDA

16. Lwaki Yakuwa asobozesezza “okumanya okutuufu” okweyongera?

16 Yakuwa asobozesezza “okumanya okutuufu” okweyongera kubanga “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Yakuwa ayagala abantu bategeere amazima basobole okumusinza mu ngeri gy’asiima era bafune emikisa gye. Okuyitira mu mulimu gw’okubuulira, Yakuwa akuŋŋaanyizza ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Ate era akuŋŋaanya ‘ab’ekibiina ekinene’ okuva “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna.​—Kub. 7:9.

17. Okuba nti omuwendo gw’abaweereza ba Yakuwa gweyongedde nnyo kiraga ki?

17 Omuwendo gw’abaweereza ba Yakuwa gweyongedde nnyo mu myaka 130 egiyise. Ekyo kiraga nti Katonda awamu ne Kabaka gwe yalonda, Yesu Kristo, bali wamu n’abaweereza ba Yakuwa abali ku nsi, nga babawa obulagirizi, nga babakuuma, era nga babayigiriza. Ate era ekyo kiraga nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebintu byonna by’asuubizza. Mu butuufu, “ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” (Is. 11:9) Ng’abantu abanaabaawo mu kiseera ekyo bajja kufuna emikisa mingi!

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo, laba vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses​—Faith in Action, Part 1: Out of Darkness ne Jehovah’s Witnesses​—Faith in Action, Part 2: Let the Light Shine.

b Laba akatabo Isaiah’s Prophecy​—Light for All Mankind II, olupapula 320.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Abayizi ba Bayibuli baali bantu bawombeefu era nga baagala nnyo okukola Katonda by’ayagala

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna by’okola okuwagira omulimu gw’okubuulira

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share