Yakuwa Yabakuuma nga Bayita Mu Nsozi
OMUKYALA omu bw’aggulawo oluggi lw’ennyumba ye ku makya, asanga ebbaasa ennene ku mulyango gwe. Agiggyawo era n’atunula erudda n’erudda naye nga talina gw’alaba. Waliwo omuntu eyaleese ebbaasa eyo ekiro n’agireka ku mulyango gwe. Agibikkulako katono era n’akiraba nti erimu ebitabo ebyawerebwa. Amangu ago addayo mu nju n’aggalawo oluggi era n’asaba Yakuwa ng’amwebaza olw’okumuwa emmere ey’eby’omwoyo.
Mu myaka gya 1930, ab’oluganda mu Bugirimaani baafunanga ebitabo mu ngeri ng’eyo. Oluvannyuma lw’Abanazi okujja mu buyinza mu mwaka gwa 1933, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwawerebwa mu bitundu bya Bugirimaani ebisinga obungi. Ow’oluganda Richard Rudolph,a nga kati asussa mu myaka 100, yagamba nti: “Twali bakakafu nti ekiragiro eky’abantu obuntu kyali tekisobola kulemesa mulimu ogw’okubuulira abantu ebikwata ku Yakuwa n’erinnya lye kugenda mu maaso. Ebitabo byaffe byali bituyamba nnyo mu kwesomesa ne mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka olw’okuba kati byali biwereddwa, tekyali kyangu kubifuna. Twali twebuuza engeri gye twandyeyongedde okukola omulimu ogwo awatali bitabo ebyo.” Richard yakiraba nti yali asobola okubaako ky’akolawo okulaba nti ab’oluganda bafuna ebitabo ebyo. Ye ne banne baalina okukikola nga bayita mu bisiikirize by’ensozi.—Balam. 9:36.
MU BUKUBO BW’ABAKUKUSA EBINTU
Bw’otambula ng’odda ebukiikaddyo ng’oyitira ku lubalama lw’omugga Elbe (oba Labe), osanga ensozi eziyitibwa Giant Mountains (Krkonoše). Ensozi ezo ziri ku nsalo ya Czech Republic ne Poland. Wadde ng’ensozi ezo za ffuuti nga 5,250 zokka, abantu abasinga obungi baziyita ekizinga arctic ekiri mu massekati ga Bulaaya. Buli mwaka okumala emyezi nga mukaaga, ensozi ezo zigwako omuzira ne gwetuuma ne guweza ffuuti nga 10. Ensozi ezo zikwata olufu n’oba nga tosobola na kulengera gy’olaga.
Okumala ebyasa bingi, ensozi zino zibadde zikola ng’ensalo z’amawanga. Obukubo obuyita mu nsozi ezo bwabanga buzibu okulawuna era abantu bangi baabuyitangamu nga bakukusa eby’amaguzi. Mu myaka gya 1930, ensozi ezo bwe zaafuuka ensalo eyawula Czechoslovakia ne Bugirimaani, Abajulirwa ba Yakuwa abamu baatandika okukozesa obukubo obuyita mu nsozi ezo okukukusa ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Richard yali omu ku bo.
Ab’oluganda ne bannyinaffe baayambalanga ng’abalambuzi nga batwala ebitabo mu Bugirimaani nga bayitira mu nsozi
EŊŊENDO EZAALI EZ’OBULABE
Richard yagamba nti: “Ku wiikendi, twagendanga mu nsozi nga tuli mu bibinja bya bantu nga musanvu musanvu. Kyatutwaliranga essaawa nga ssatu okuva ku luuyi lwa Bugirimaani okuyita mu nsozi okutuuka e Špindlerův Mlýn,” ekifo ekiri mayiro nga kkumi ng’oyingidde mu Czech. Mu biseera ebyo, Abagirimaani bangi baabeeranga mu kifo ekyo. Omu ku bo yali mulimi era yakkiriza okukolagana n’ab’oluganda. Ng’akozesa ekigaali ekisikibwa embalaasi ekyakozesebwanga okutambuza abalambuzi, omusajja oyo yakimanga ebitabo byaffe mu kabuga akamu gye byatikulirwanga ku ggaali y’omukka eyavanga e Prague. Yatwalanga ebitabo byaffe n’abikweka ku faamu ye n’alinda ab’oluganda babikime babitwale e Bugirimaani.
Richard era yagamba nti: “Bwe twagendanga ku faamu eyo, twapakiranga ebitabo mu bisawo byaffe. Buli omu ku ffe yeetikkanga kiro nga 50.” Okusobola okwewala okukwatibwa, baatambulanga kiro. Ernst Wiesner, eyali aweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Bugirimaani mu kiseera ekyo, yayogera ku bintu ebimu bye baakolanga okusobola okwewala okukwatibwa. Yagamba nti: “Ab’oluganda babiri baakulemberangamu, era bwe baabangako omuntu yenna gwe beekengedde baalabulanga bannaabwe abaabanga babagoberera nga beetisse ebitabo. Bannaabwe beekwekanga okutuusa lwe baategeezebwanga nti embeera eteredde. Obukoddyo ab’oluganda bwe baakozesanga okulabula bannaabwe baabukyusakyusanga buli wiiki.” Ng’oggyeko okwewala abapoliisi Abagirimaani, waliwo n’ebizibu ebirala ab’oluganda bye baayolekagana nabyo.
Richard yagamba nti: “Lumu akawungeezi nnalina eby’okukola bingi ne kiba nti we nnasimbulira okugenda e Czech, ab’oluganda baali baagenze dda. Enzikiza yali ekutte, nga waliyo olufu lwa maanyi, era nnatambulanga nkankana olw’okuba omuzira gwali gugwa. Nnabulira mu kibira okumala essaawa eziwerako. Abantu bangi baafiiranga mu nsozi ezo mu ngeri eyo. Baganda bange nnabalaba obudde bunaatera okukya nga bakomawo n’ebitabo.”
Okumala emyaka ng’esatu, ab’oluganda baayitanga mu nsozi okugenda okukima ebitabo buli wiiki, ebiseera ne bwe byabanga bya butiti. Ebiseera ebimu, ab’oluganda baagendanga misana nga bali mu bibinja bya bantu nga 20 ne basala ensalo nga bayitira mu bukubo abalambuzi bwe baakozesanga. Okusobola okwewala okuleetera abantu okubeekengera, oluusi baganda baffe baagendanga wamu ne bannyinaffe. Bannyinaffe abamu baakulemberangamu era bwe baabangako gwe beekengedde, nga bakasuka enkufiira zaabwe mu bbanga okusobola okulabula bannaabwe.
Ensozi zaakwatanga omuzira ne kiba nga si kyangu kuziyitamu
Kiki ab’oluganda kye baakolanga nga bakomyewo n’ebitabo? Baakolanga enteekateeka okukakasa nti ebitabo ebyo bituuka ku b’oluganda bonna mu bwangu. Ekyo baakikolanga batya? Ebitabo baabipakiranga nga sabbuuni ne babitwala ku sitenseni y’eggaali y’omukka e Hirschberg. Ebitabo ebyo byasindikibwanga mu bitundu bya Bugirimaani eby’enjawulo ab’oluganda abalala gye baabifuniranga ne babituusa ku bakkiriza bannaabwe mu ngeri ey’amagezi nga bwe kiragiddwa ku ntandikwa. Okuva bwe kiri nti ab’oluganda abo baakoleranga wamu, omu bwe yakwatibwanga, kyabanga kyangu n’okukwata abalala. Era lumu bwe kityo bwe kyali.
Mu 1936, poliisi yagwa ku kifo ab’oluganda we baali batereka ebitabo okumpi n’ekibuga Berlin. Ebimu ku bintu bye baasanga mu kifo ekyo mwalimu bbookisi z’ebitabo ssatu ezaali zisindikiddwa omuntu eyali tamanyiddwa okuva mu Hirschberg. Poliisi yeekenneenya omukono ogwaliko n’esobola okutegeera omu ku b’oluganda abaali bakukusa ebitabo era n’emukwata. Nga wayise akaseera katono, n’ab’oluganda abalala babiri baakwatibwa, ng’omu ku bo yali Richard Rudolph. Olw’okuba ab’oluganda abo tebaayogera bannaabwe be baakukusanga nabo ebitabo, bannaabwe baagenda mu maaso nga bakola omulimu ogwo wadde ng’okukola ekyo kyali kyeyongedde okuzibuwala.
BYE TUYIGAMU
Ebitabo ebisinga obungi ab’oluganda mu Bugirimaani bye baafunanga byebyo ab’oluganda bye baakukusanga nga bayita mu nsozi. Kyokka ab’oluganda baalina n’amakubo amalala ge baakozesanga okuggya ebitabo mu Czechoslovakia, okutuusa mu 1939, amagye ga Bugirimaani lwe gaayingira mu nsi eyo. Ne mu nsi endala eziriraanye Bugirimaani, gamba nga Bufalansa, Nazalandi, ne Switzerland, Abajulirwa ba Yakuwa ku njuyi zombi baateekanga obulamu bwabwe mu kabi okusobola okulaba nti bakkiriza bannaabwe bafuna emmere ey’eby’omwoyo.
Abasinga obungi ku ffe tusobola okufuna ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli mu bungi era mu ngeri ez’enjawulo. Ka kibe nti tubifunira ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba ku mukutu gwaffe ogwa jw.org, tusaanidde okulowooza ku bintu ebitali bimu ebikolebwa okusobola okulaba nti tufuna ebitabo ebyo. Wadde ng’okubitutuusaako, kiyinza okuba nga tekyetaagisa ba luganda kubitambuza kiro nga bayita mu nsozi ezikutte omuzira, kikulu okukijjukira nti bakkiriza bannaffe bangi bakola butaweera era beefiiriza bingi okulaba nti tufuna ebitabo ebyo.
a Yaweerezaako mu kibiina ky’e Hirschberg eky’omu Silesia. Ekibuga Hirschberg kati kiyitibwa Jelenia Góra era kisangibwa mu bukiikaddyo bwa Poland.