EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | GAVUMENTI ETERIBAAMU KULYA NGUZI
Ebizibu Ebiva mu Kulya Enguzi
Omukungu wa gavumenti bw’akozesa obubi obuyinza bwe olw’okwagala okubaako bye yeefunira, aba alidde enguzi. Okukozesa obuyinza mu ngeri eyo kyava dda, emyaka egisukka mu 3,500 emabega. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli erimu etteeka eryali ligaana abalamuzi okulya enguzi. (Okuva 23:8, NW) Okulya enguzi tekukoma bukomi ku kukkiriza kugulirirwa. Oluusi abakungu ba gavumenti babba ebintu, baganyulwa mu nteekateeka za gavumenti eziba ziteekeddwawo okuganyula abantu aba bulijjo, era oluusi babba ssente enkalu. Ate era bwe wabaawo enteekateeka ey’okuganyula abantu bonna, abakungu abamu basooka kufa ku baŋŋanda zaabwe na mikwano gyabwe.
Wadde nga mu bitongole bingi mulimu obulyi bw’enguzi, ebitongole bya gavumenti bye bisinga okubaamu obulyi bw’enguzi. Lipoota eya 2013 eyafulumizibwa ekibiina ekinoonyereza ku bulyi bw’enguzi mu nsi yonna ekiyitibwa Transparency International, yalaga nti okwetooloola ensi yonna abantu bagamba nti obulyi bw’enguzi businga kuba mu bibiina bya bufuzi, mu poliisi, mu bakungu ba gavumenti, mu paliyamenti, ne mu balamuzi. Bino wammanga bye bimu ku biraga nti obulyi bw’enguzi bucaase.
AFIRIKA: Mu 2013, abakungu ba gavumenti ya South Africa nga 22,000 be baavunaanibwa olw’okulya enguzi.
AMERIKA OW’EBUKIIKA DDYO: Mu 2012, abantu 25 mu Brazil, baasibibwa olw’okukozesa ssente z’omuwi w’omusolo okugulirira abalonzi. Mu abo abaasibibwa mwe mwali n’eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga eryo.
ASIYA: Mu 1995, ekizimbe mu kibuga Seoul ekya South Korea, kyagwa ne kitta abantu 502. Okunoonyereza bwe kwakolebwa, kyazuulibwa nti abaali baddukanya ekibuga ekyo baalya enguzi ne bakkiriza kampuni eyazimba ekizimbe ekyo okukozesa ebizimbisibwa ebitali ku mutindo n’obutagoberera mateeka agakwata ku kuzimba.
BULAAYA: Cecilia Malmström akulira ekibiina ekiyitibwa European Commission Home Affairs, yagamba nti, “Engeri ekizibu [ky’obulyi bw’enguzi mu Bulaaya] gye kyeyongeramu yeeraliikiriza.” Yagattako nti “gavumenti zirabika ziremereddwa okumalawo obulyi bw’enguzi.”
Gavumenti z’abantu tezisobola kumalawo bulyi bwa nguzi. Pulofeesa Susan Rose-Ackerman, anoonyereza ku bulyi bw’enguzi yawandiika nti okusobola okumalawo ekizibu ekyo “gavumenti zirina okukola enkyukakyuka ez’omuggundu mu ngeri gye ziddukanyaamu emirimu gyazo.” Wadde ng’obulyi bw’enguzi bulabika ng’obutasobola kumalibwawo, Bayibuli eraga nti bujja kuggwaawo.