Koppa Kristo mu Buweereza Bwo
1 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako kye tusaanidde okugoberera nga tuli mu buweereza bwaffe. Okwagala kwe yalina eri Katonda n’abantu kweyoleka emirundi mingi era mu ngeri nnyingi. Yayigiriza abawombeefu amazima era n’akola ebintu bingi ebyali byoleka ekisa eri abo abaali banyigirizibwa era nga bazitoowereddwa.—Mat. 9:35.
2 Ekyokulabirako kya Yesu n’Enjigiriza Ze: Yesu teyatwalirizibwa bya bufuzi oba okwemalira ennyo ku kulongoosa embeera z’abantu. Era teyakkiriza kintu kyonna, wadde ebyo ebyali birabika ng’ebirungi, okumuwugula okuva ku mulimu gwe omukulu. (Luk. 8:1) Essira yaliteeka ku kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda olw’okuba yali akimanyi nti bwe bwokka obujja okugonjoolera ddala ebizibu by’abantu. Yesu yalina omulimu omukulu ogw’okukola n’ekiseera kitono eky’okugukoleramu. Abantu ab’omu Kaperunawumu bwe baayagala Yesu asigale gye bali, yagamba abayigirizwa be nti: “Tugende awalala . . . mbuulire n’eyo, kubanga ekyo kye nnajjirira.”—Mak. 1:38.
3 Yesu ng’amaze okutendeka abayigirizwa be, yabawa obulagirizi buno ng’abatuma okugenda okubuulira: “Mubuulire nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Mat. 10:7) Yayigiriza abagoberezi be nti eby’Obwakabaka bye bisaanidde okutwala ekifo ekisooka mu bulamu bwabwe. (Mat. 6:33) Ebigambo Yesu bye yasembayo okwogera n’abayigirizwa be nga tannagenda mu ggulu byalaga bulungi omulimu gwe baali balina okukola. Yagamba nti: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.”—Mat. 28:19.
4 Obukulu bw’Obwakabaka: Obwakabaka bwa Katonda ye yali ensonga esinga obukulu Yesu gye yayogerangako, era yakubiriza abayigirizwa be okugoberera ekyokulabirako kye. Abantu ne bwe bafuba batya tebasobola kwegonjoolera bizibu byabwe. (Yer. 10:23) Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okutukuza erinnya lya Katonda era buleetere abantu okufuna obuweerero obw’olubeerera. (Mat. 6:9, 10) ‘Abantu abassa ebikkowe era abakaabira emizizo gyonna egikolebwa’ mu nsi bwe tubayigiriza amazima agakwata ku Bwakabaka, kibayamba okuba n’obulamu obw’essanyu era obulungi kaakano era n’okuba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso.—Ez. 9:4.
5 Yesu akyenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era atukakasa nti ajja kutuyamba. (Mat. 28:20) Obuweereza bwaffe butuukagana butya n’ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo? (1 Peet. 2:21) Mu nnaku zino enzibu ennyo ez’oluvannyuma, ka tukole kyonna kye tusobola okugoberera ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo mu buweereza!