Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 21
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 21
Oluyimba 53 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 30 ¶19-23, akas. ku lup. 309 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 19-22 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Bassekabaka 20:12-21 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Olugero lw’Omusajja Omugagga ne Laazaalo Terulaga nti Eriyo Omuliro Ogutazikira—td-34C (Ddak. 5)
Na. 3: Ekigambo “Amiina” Kitegeeza Ki?—nwt-E lup. 1692 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Wa obujulirwa ku mawulire amalungi mu bujjuvu.’—Bik. 20:24.
Ddak. 10: Twakola Tutya mu Mwaka gw’Obuweereza Oguwedde? Kwogera nga kwa kuweebwa mulabirizi w’obuweereza. Yogera ku ebyo ekibiina kyammwe bye kyakola mu mwaka gw’obuweereza oguwedde. Essira lisse ku birungi bye baakola era beebaze. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ekibiina kyammwe bye kyetaaga okukolako mu mwaka guno ogw’obuweereza, era owe amagezi ku ngeri gye biyinza okukolebwamu.
Ddak. 10: Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu Kivaamu Ebirungi. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2015, olupapula 54, akatundu 1; olupapula 56, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 57, akatundu 1; n’olupapula 63, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 64, akatundu 1. Buli kyakulabirako ky’omala okwogerako, saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize. Bwe kiba nti ababuulizi abasinga tebaasobole kwenyigira mu kitundu kino nga bakozesa akatabo ako, musobola okukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Wa Obujulirwa mu Bujjuvu” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2013, olupapula 1 akatundu 1-5.
Ddak. 10: “Koppa Okukkiriza Kwabwe.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Bwe muba mugenda kukozesa kitabo kirala, kubiriza ab’oluganda okutegeka nga bukyali basobole okwenyigiramu. Yogera ezimu ku nsonga enkulu eziri mu kitabo ekyo.
Oluyimba 81 n’Okusaba