LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 38 lup. 215-lup. 219 kat. 3
  • Ennyanjula Esikiriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ennyanjula Esikiriza
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ennyanjula Ennungi
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 38 lup. 215-lup. 219 kat. 3

ESSOMO 38

Ennyanjula Esikiriza

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yogera ebigambo ebitandika emboozi yo mu ngeri esikiriza abakuwuliriza okussaayo omwoyo era eneekusobozesa okutuukiriza ekiruubirirwa kyo.

Lwaki Kikulu?

Ennyanjula yo erina kinene nnyo ky’ekola mu kuyamba abantu okussaayo omwoyo ku by’ogenda okubagamba.

ENNYANJULA kitundu kikulu nnyo eky’emboozi. Ennyanjula yo bw’eba ng’esikiriza, abakuwuliriza bajja kwesunga okuwulira by’ogenda okwogera. Singa by’oyogera mu nnyanjula ng’oli mu buweereza bw’ennimiro biba tebisikiriza, abantu bayinza obutakuwuliriza. Ate bw’owa emboozi mu Kizimbe ky’Obwakaba ennyanjula yo n’eba nga tesikiriza, ebirowoozo by’abakuwuliriza bijja kuwugguka.

Ng’oteekateeka ennyanjula yo, lowooza ku bintu bino: (1) okuleetera abakuwuliriza okussaayo omwoyo, (2) okubategeeza ky’ogenda okwogerako, era (3) n’okubalaga lwaki ensonga gy’ogenda okwogerako nkulu nnyo gye bali. Ebintu bino byonsatule oyinza okubituukiriza omulundi gumu. Ate oluusi osooka kimu n’olyoka ozzaako ekirala.

Okuleetera Abawuliriza Okussaayo Omwoyo. Eky’okuba nti abantu bazze okuwuliriza emboozi tekitegeeza nti bajja kussaayo omwoyo ku buli ky’onooyogera. Lwaki? Olw’okuba balina eby’okulowoozaako bingi. Bayinza okuba n’ebizibu awaka oba ekintu ekirala ekibeeraliikiriza. Ggwe ng’omwogezi oba olina okufuba okulaba nti bassaayo omwoyo ku by’oyogera. Kino oyinza okukikola mu ngeri eziwerako.

Emu ku mboozi ezisingirayo ddala obulungi mu zonna ezaali ziweereddwa kwe Kubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi. Ennyanjula ye yali etya? Okusinziira ku Lukka, Yesu yagamba: “Mulina omukisa abaavu, . . . mulina omukisa abalumwa enjala, . . . mulina omukisa abakaaba, . . .  mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga.” (Luk. 6:20-22) Lwaki ennyanjula eyo yali esikiriza? Kubanga, mu bigambo ebyo ebitonotono, Yesu yayogera ku bizibu eby’amaanyi abaali bamuwuliriza bye baali boolekaganye nabyo. Mu kifo ky’okwogera ennyo ku bizibu ebyo, Yesu yalaga nti abo abaalina ebizibu ng’ebyo baali basobola okuba abasanyufu, era engeri gye yakikolamu yaleetera abamuwuliriza okwagala okuwulira ebisingawo.

Ebibuuzo bisobola okukozesebwa obulungi okuleetera abawuliriza okussaayo omwoyo, kyokka biteekwa okuba nga bituukirawo. Singa ebibuuzo byo biraga nti ogenda kwogera ku bintu bye baali bawuliddeko, bayinza obutassaayo nnyo mwoyo. Tokozesa bibuuzo bibaleetera kuswala. Wabula, fuba okulaba nti ebibuuzo by’obuuza abawuliriza bibaleetera okulowooza. Siriikiriramu katono buli lw’omala okubuuza ekibuuzo, abakuwuliriza basobole okulowooza ku ky’okuddamu. Bwe bakiraba nti olinga anyumya nabo, bajja kussaayo omwoyo.

Okwogera ku ebyo abamu bye bayiseemu mu bulamu nakyo kiyinza okuleetera abakuwuliriza okussaayo omwoyo. Naye singa by’oyogera bibaako gwe biswaza mu abo abakuwuliriza, oyinza obutatuukiriza ky’oyagala. Singa abakuwuliriza bajjukira ekyokulabirako ky’obanyumiza naye ne batajjukira kya kuyiga kikibaddemu, ekiruubirirwa kyo kiyinza okugwa obutaka. Bw’obaako n’ekyokulabirako ky’okozesa mu nnyanjula, kirina okuba nga kigenda kuzimbirwako emboozi yo. Wadde nga kiyinza okukwetaagisa okuggyayo ensonga ezitali zimu mu kyokulabirako ky’oba okozesezza, weegendereze ekyokulabirako kireme kuba kiwanvu nnyo.

Aboogezi abamu batandika emboozi nga boogera ku ebyo ebyabadde mu mawulire, oba ebigambo ebyayogerwa omuntu omumanyifu. Bino nabyo biyinza okuleetera ennyanjula yo okuba ng’esikiriza.

Singa emboozi yo eba emu ku ezo ezikwatagana oba singa oba n’ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, kyandibadde kirungi ennyanjula yo n’eba nnyimpimpi. Bw’oba owa emboozi ya bonna, weegendereze ennyanjula yo ereme kusussa mu biseera ebiragiddwa. By’ogenda okwogera oluvannyuma ku mutwe gwe nnyini ogw’emboozi yo bye bisinga obukulu.

Obw’olumu oyinza okwesanga ng’oyogera eri abantu ababuusabuusa ky’ogamba oba abakambwe. Oyinza kubayamba otya okussaayo omwoyo? Suteefano, Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka ayogerwako ng’eyali ‘ajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi,’ y’atwalibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Ng’ali mu maaso g’olukiiko olwo yayogera ebintu ebikulu ennyo ng’alwanirira Obukristaayo. Yatandika atya? Ng’ayogera mu ngeri eraga nti assa ekitiibwa mu abo abaali mu lukiiko era ng’ajuliza ku bintu bye baali bakkiriziganyaako. Yagamba bw’ati: “Abasajja ab’oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow’ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu.” (Bik. 6:3; 7:2) Ate ye omutume Pawulo bwe yali ku Aleyopaago mu Asene, yatuukaganya ennyanjula ye n’abantu abaali bamuwuliriza ng’agamba nti: “Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.” (Bik. 17:22) Ennyanjula zino ennungi zaaleetera abawuliriza okwagala okuwulira ebisingawo.

Bw’oba ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, weetaaga okuleetera abantu okukuwuliriza. Bw’oba nga tewasoose kulaga, gw’okyalidde ayinza okuba ng’alina ebirala eby’okukola. Mu nsi ezimu, abagenyi abatasoose kulaga baba basuubirwa okutuukira ku nsonga. Ate mu nsi endala, omuntu bw’akyala, tekiraga mpisa okutuukira ku nsonga.​—Luk. 10:5.

Mu mbeera ezo zombi, okwoleka omukwano kiyinza okukifuula ekyangu okutandika emboozi. Emirundi egisinga kiba kirungi okutandikira ku kintu ekinaasikiriza omuntu. Onoomanya otya eky’okwogera? Omuntu gw’okyalidde omusanze akola ki? Oboolyawo omusanze alima, alongoosa waka, akanika mmotoka, afumba, ayoza, oba ng’alabirira baana. Abadde asoma lupapula lw’amawulire oba ng’alina ky’atuunulira mu kkubo? Mu maka ge waliwo ekiraga nti anyumirwa okuvuba, emizannyo, ennyimba, oba ekintu ekirala kyonna? Abantu batera okulowooza ku kye baba bawulidde ku leediyo oba kye baba balabye ku ttivvi. Bw’obuuza ekibuuzo, oba n’obaako ky’oyogera ku bintu ng’ebyo emboozi eyinza okukwajja.

Engeri Yesu gye yatandikamu emboozi n’omukyala Omusamaliya ng’ali ku luzzi okumpi n’e Sukali kyakulabirako kirungi ekiraga engeri gye tuyinza okutandikamu emboozi nga twagala okuwa obujulirwa.​—Yok. 4:5-26.

Weetaaga okutegeka obulungi ennyanjula yo naddala singa ekibiina kyo kiba kibuulidde nnyo mu kitundu ekyo. Bw’otokola bw’otyo, oyinza okukisanga nga kizibu okunyumya n’abantu.

Laga Omutwe gw’Ogenda Okwogerako. Mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, ssentebe oba oyo gw’oba oddirira ku programu ajja kwogera omutwe gw’emboozi yo era akwanjule. Wadde kiri kityo, kiyinza okuba ekirungi singa oddiramu abakuwuliriza ky’ogenda okwogerako mu bigambo byo ebisooka. Kiyinza obutakwetaagisa kuddiramu ddala bigambo ebyo byennyini ebiri mu mutwe gw’emboozi yo. Wabula fuba okulaba nti by’oyogera bikwatagana n’omutwe gw’emboozi. Ekikulu kwe kulaga abawuliriza ensonga gy’ogenda okwogerako mu bigambo by’okozesa mu nnyanjula yo.

Yesu bwe yali atuma abayigirizwa be, yabategeeza obubaka bwe baalina okubuulira. “Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (Mat. 10:7) Ng’ayogera ku kyandibaddewo mu kiseera kyaffe, Yesu yagamba: “N’enjiri eno ey’Obwakabaka eribuulirwa.” (Mat. 24:14) Tukubirizibwa ‘okubuulira ekigambo’ kwe kugamba, okukozesa Baibuli nga tubuulira. (2 Tim. 4:2) Nga tonnabikkula Baibuli yo oba okwogera ku Bwakabaka, kiba kirungi okusooka okumanya ekiri ku mitima gy’abakuwuliriza. Oyinza okwogera ku bumenyi bw’amateeka, ebbula ly’emirimu, ebikolwa eby’obutali bwenkanya, entalo, engeri y’okuyambamu abavubuka, obulwadde oba okufa. Mu kifo ky’okussa essira ku bizibu ebibaluma, balage essuubi ly’Obwakabaka eriri mu Kigambo kya Katonda.

Laga Abawuliriza Ensonga Lwaki ky’Oyogerako Kikulu. Bw’oba owa emboozi mu kibiina, osobola okuba omukakafu nti abakuwuliriza baagala okuwulira by’oyogera. Naye, bannassaayo omwoyo mu ngeri y’emu ng’omuntu alina ky’ayagala okuyiga bwe yandikoze? Banaakuwuliriza olw’okuba by’onooba oyogera bijja kuba bibakwatako era nga bibakubiriza okubaako kye bakolawo? Abakuwuliriza okusobola okussaayo omwoyo, olina okuba nga bwe wabadde otegeka, walowoozezza ku mbeera zaabwe, ebibeeraliikiriza n’endowooza zaabwe. Bw’oba nga wakikoze, kyoleke mu nnyanjula yo.

Ka obe nti owa mboozi ku pulatifoomu oba ng’obuulira muntu, emu ku ngeri ezisingayo obulungi z’oyinza okukozesa okusikiriza abakuwuliriza okussaayo omwoyo kwe kubalaga nti by’oyogera bibakwatako. Laga engeri by’oyogerako gye bikwata ku bizibu byabwe, ku byetaago byabwe oba ku bibuuzo ebibabobbya emitwe. Singa olaga bulungi ensonga z’ogenda okussaako essira, abakuwuliriza bajja kussizaayo ddala omwoyo. Kino nno kiba kikwetaagisa okutegeka obulungi.

Engeri y’Okwanjulamu. Wadde nga by’oyogera mu nnyanjula bikulu nnyo, naye n’engeri gy’obyogeramu eyinza okusikiriza abawuliriza . N’olw’ensonga eyo okuteekateeka obulungi tekwandikomye ku by’ogenda kwogera byokka wabula n’engeri gy’ogenda okubyogeramu.

Olw’okuba kikulu nnyo okukozesa ebigambo ebituukirawo, kiyinza okuba ekirungi okuteekateeka n’obwegendereza sentensi bbiri oba ssatu ezisooka. Bulijjo kiba kirungi okukozesa sentensi ennyimpimpi era ennyangu okutegeera. Bw’oba ogenda kuwa mboozi mu kibiina, oyinza okusalawo okuwandiika sentensi ezo, oba okuzikwata mu mutwe, ebigambo byo ebisooka bisobole okuleetera abawuliriza okussaayo omwoyo. Singa mu nnyanjula yo oyogera nga toyanguyiriza, kijja kukuyamba obutafuna kiwuggwe, osobole okuwa emboozi yo obulungi.

Lwe Wandigitegese. Waliwo endowooza ezaawukana ku nsonga eno. Aboogezi abamu abalina obumanyirivu mu kuwa emboozi bagamba nti bw’oba oteekateeka emboozi kiba kirungi okutandikira ku nnyanjula. Ate abalala bagamba nti ennyanjula esaanidde kutegekebwa luvannyuma lwa kutegeka mboozi yonna.

Olina okuba ng’omanyi bulungi ky’ogenda okwogerako n’ensonga enkulu z’oteekateeka okulambulula nga tonnaba kuteekateeka nnyanjula. Naye ate kiba kitya singa oba oteekateeka emboozi ng’osinziira ku kiwandiiko ky’emboozi ekikuweereddwa? Oluvannyuma lw’okusoma ekiwandiiko ekyo, singa ofuna ennyanjula ey’okukozesa, kiba kirungi okubaako w’ogiwandiika. Era jjukira nti ennyanjula yo okusobola okuba ennungi, oteekwa okumanya ebikwata ku banaakuwuliriza n’ebyo ebiri mu mboozi gy’ogenda okuwa.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Lowooza ebikwata ku banaakuwuliriza​—embeera zaabwe, ebibeeraliikiriza, endowooza zaabwe, n’ebyo bye bamanyi ku nsonga gy’ogenda okwogerako.

  • Manya ensonga ezijja okuganyula abanaakuwuliriza.

EBY’OKUKOLA: (1) Nga tonnagenda kubuulira nnyumba ku nnyumba, teekateeka ennyanjula etuukagana ne ky’ogenda okwogerako awamu n’ekintu ekyakabaawo mu kitundu ky’obuuliramu. (2) Funa akatabo ka Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! Weetegereze buli katundu akanjula ekitundu era weebuuze ekireetera buli emu ku nnyanjula ezo okuba ennungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share