ESSOMO 20
Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa
EBYAWANDIIKIBWA kwe kwesigamizibwa ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana zaffe. Ate era ku Byawandiikibwa kwe twesigamya bye tuyigiriza mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka, Ebyawandiikibwa okusobola okutuukana n’ensonga gye twogerako, kisinziira ku ngeri gye tubyanjulamu.
Tekimala okwogera obwogezi ekyawandiikibwa n’okusaba akuwuliriza okugoberera ng’okisoma. Ng’oyanjula ekyawandiikibwa, gezaako okutuukiriza ebintu bibiri: (1) Leetera akuwuliriza okwesunga, era (2) mulage ensonga lwaki mugenda kukisoma. Ebintu bino biyinza okutuukirizibwa mu ngeri eziwerako.
Buuza Ekibuuzo. Engeri eno eba nnungi singa abawuliriza baba tebamanyi kya kuddamu. Buuza ekibuuzo mu ngeri ereetera abantu okulowooza. Ne Yesu bw’atyo bwe yakolanga. Abafalisaayo bwe baamutuukirira ng’ali mu yeekaalu era ne bamugezesa okulaba obanga yali amanyi Ebyawandiikibwa, Yesu yababuuza: “Kristo mumulowooza mutya? Ye mwana w’ani?” Ne bamuddamu nti: “[Mwana] wa Dawudi.” N’abagamba nti: “Kale, Dawudi mu [m]woyo kiki ekimu[mu]yisa Mukama we?” Awo Yesu n’ajuliza Zabbuli 110:1. Abafalisaayo ne bibakalira ku mimwa. Kyokka, kyo ekibiina kyeyongera okuwuliriza Yesu.—Mat. 22:41-46.
Ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, oyinza okukozesa ebibuuzo nga bino ng’oyanjula ebyawandiikibwa: “Nze naawe tulina amannya. Olowooza ne Katonda alina erinnya? Tusobola okufuna eky’okuddamu mu Zabbuli 83:18.” “Olowooza ekiseera kirituuka abantu bonna ne baba nga bafugibwa gavumenti emu? Weetegereze engeri kino gye kiddibwamu mu Danyeri 2:44.” “Olowooza Baibuli erina ky’eyogera ku mbeera eziriwo kati? Geraageranya ebyogerwako mu 2 Timoseewo 3:1-5 n’embeera eziriwo kati.” “Olowooza ekiseera kirituuka okubonaabona n’okufa ne biggwaawo? Baibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu Okubikkulirwa 21:4, 5.”
Bw’okozesa obulungi ebibuuzo okwanjula ebyawandiikibwa ng’owa emboozi, kiyinza okusikiriza abakuwuliriza okubyetegereza, wadde n’ebyo bye bamanyi. Naye banassaayo omwoyo ku kyawandiikibwa ekyo? Ekyo kijja kusinziira ku ngeri gy’okozesaamu ebibuuzo. Ka kibe nti ensonga gy’oyogerako ekwata ku bakuwuliriza, ebirowoozo byabwe biyinza okuwuguka ng’osoma ebyawandiikibwa bye basomye enfunda n’enfunda. Okusobola okubayamba okussaayo omwoyo, weetaaga okulowooza ennyo ku ngeri gy’onoobyanjulamu basobole okusikirizibwa.
Nokolayo Ekizibu. Oyinza okunokolayo ekizibu ate oluvannyuma n’osoma ekyawandiikibwa ekiraga engeri y’okukigonjoolamu. Abakuwuliriza tobaleetera kulowooza nti ekyawandiikibwa ekyo kye mugenda okusoma kijja kubayamba okumalirawo ddala ekizibu ekyo. Tekiri nti buli kyawandiikibwa ekisomwa kiraga mu bujjuvu engeri ekizibu gye kinaagonjoolebwamu. Kyokka, bw’oba ogenda okusoma ekyawandiikibwa, saba abakuwuliriza beetegereze engeri amagezi agaweereddwa mu kyawandiikibwa ekyo gye gayinza okubayamba okwolekagana n’ekizibu ekyo.
Mu ngeri y’emu, oyinza okubategeezaayo omusingi ogukwata ku nneeyisa esiimibwa Katonda era oluvannyuma n’okozesa Baibuli okulaga ensonga lwaki kya magezi okugugoberera. Singa ekyawandiikibwa kibaamu ensonga bbiri (oba okusingawo) ezikwata ku ekyo ekiba kyogerwako, aboogezi abamu batera okusaba abawuliriza okuzeetegereza nga bakisoma. Abakuwuliriza bwe baba n’ekizibu eky’amaanyi, oyinza okubayamba ng’oyogera ku ngeri ez’enjawulo ez’okugonjoolamu ekizibu ekyo, ate oluvannyuma n’oleka ekyawandiikibwa n’amagezi agakirimu okubalaga eky’okukola.
Juliza Baibuli. Bw’omala okutegeeza abakuwuliriza ensonga gy’oyogerako, oyinza okwanjula bw’oti ekyawandiikibwa: “Weetegereze Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku nsonga eno.” Okwogera bw’otyo kiraga nti ebigambo by’ogenda okusoma byesigika.
Yakuwa yakozesa abasajja nga Yokaana, Lukka, Pawulo ne Peetero okuwandiika ebitabo bya Baibuli ebimu. Wabula, Yakuwa ye Yabawa bye baawandiika. Naddala bwe tuba twogera n’abantu abatasoma Baibuli, okwanjula ekyawandiikibwa ng’ogamba nti “Peetero yawandiika” oba nti “Pawulo yagamba” kiyinza obutabakwatako nnyo nga bw’oyinza okugamba nti ekigambo kya Katonda kigamba. N’olwekyo, emirundi egimu Yakuwa yalagira Yeremiya okwanjula obubaka bwe yali amuwadde okulangirira ng’agamba nti: “Muwulire ekigambo kya Mukama.” (Yer. 7:2; 17:20; 19:3; 22:2) Ka kibeere nti tukozesa erinnya lya Yakuwa nga twanjula ekyawandiikibwa oba nedda, nga tetunnafundikira bye twogera tulina okukakasa abatuwuliriza nti Baibuli kigambo kye.
Weetegereze Ennyiriri Eziriraanyewo. Kiba kirungi okumanya ebiri mu nnyiriri eziriraanye ekyawandiikibwa ky’ogenda okusoma ng’osalawo engeri y’okukyanjulamu. Emirundi egimu oyinza okwogera ku nnyiriri ezo butereevu; oba okuzeeyambisa mu by’oyogera. Ng’ekyokulabirako, wandyanjudde ebigambo bya Yobu omusajja eyali atya Katonda mu ngeri y’emu gye wandyanjudde ebigambo ebyayogerwa omu ku mikwano gye abataali beesimbu? Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kyawandiikibwa Lukka, naye ebimu bye yawandiika byayogerwa bantu nga Yakobo, Peetero, Pawulo, Firipo, Suteefano, bamalayika, Gamalyeri n’Abayudaaya abalala abataali Bakristaayo. Kati olwo singa ojulizaamu olunyiriri onoogamba nti ebigambo by’osoma byali by’ani? Era jjukira nti zabbuli zonna Dawudi si ye yaziwandiika, era n’ekitabo ky’Engero kyonna Sulemaani si ye yakiwandiika. Ate era kikulu nnyo okumanya omuntu omuwandiisi wa Baibuli gw’aba ayogerako awamu n’ensonga ebeera eyogerwako.
Yogera ku Mbeera Eyaliwo. Kiyamba nnyo bw’oba osobola okulaga nti embeera eyogerwako mu kyawandiikibwa efaananako n’eyo gy’oyogerako. Oluusi kiyinza okukwetaagisa okumanya embeera eyaliwo okusobola okutegeera obulungi ekyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ogenda kukozesa Abebbulaniya 9:12, 24 ng’oyogera ku kinunulo, kiyinza okukwetaagisa okusooka okutegeeza abakuwuliriza ku kisenge kya yeekaalu eky’omunda, ekikiikirira ekifo Yesu kye yayingiramu ng’azzeeyo mu ggulu. Naye, toyogera bingi ne kiba nti obuutikira ensonga eri mu kyawandiikibwa ky’oyanjula.
Okusobola okulongoosa mu ngeri gy’oyanjulamu ebyawandiikibwa, weetegereze engeri aboogezi abalina obumanyirivu gye babyanjulamu. Weetegereze engeri ezitali zimu ze bakozesa. Laba engeri ezo gye zikolamu obulungi. Ng’oteekateeka emboozi yo, londamu ebyawandiikibwa ebikulu by’oyagala okukozesa, era weetegereze ensonga z’oyagala okuggumiza mu byawandiikibwa ebyo. Teekateeka engeri gy’onooyanjulamu buli kyawandiikibwa abakuwuliriza basobole okukiganyulwamu. Era n’ebyawandiikibwa ebirala by’okozesa mu mboozi yo byanjule mu ngeri y’emu. Bwe weeyongera okulongoosa mu ngeri gy’oyanjulamu ebyawandiikibwa, ojja kuba ossa essira ku Kigambo kya Katonda.