LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 42 lup. 230-lup. 233 kat. 5
  • Ebiganyula Abakuwuliriza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiganyula Abakuwuliriza
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Ennyanjula Esikiriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Kubiriza Abalala Okukozesa Baibuli
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwanjula Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 42 lup. 230-lup. 233 kat. 5

ESSOMO 42

Ebiganyula Abakuwuliriza

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yigiriza mu ngeri esobozesa abakuwuliriza okufumiitiriza era n’okuwulira nti baganyulwa mu by’obategeeza.

Lwaki Kikulu?

Singa otegeeza abantu ebintu bye bamanyi, bayinza obutassaayo mwoyo kumala kiseera kiwanvu.

TEKIMALA okwogera obwogezi ku nsonga ey’omuganyulo bw’oba ayagala abakuwuliriza okuganyulwa. Weebuuze: ‘Lwaki abantu bano beetaaga okuwuliriza ebintu bino? Biki bye nnyinza okwogera ebinaabasobozesa okuwulira nti baganyulwa mu bye njogera?’

Singa osabibwa okulaga engeri gy’oyinza okuwaamu omuntu obujulirwa mu ssomero ly’omulimu gwa Katonda, ojja kuba oyogera na muntu omu. Oluusi oyinza okuba ng’oyogera butereevu eri ekibiina kyonna.

Abakuwuliriza kye Bamanyi. Weebuuze, ‘Abampuliriza bamanyi ki ku nsonga gye ŋŋenda okwogerako?’ Ekyo kye bamanyi ky’olina okusinziirako ng’owa emboozi yo. Abakristayo abasinga obungi mu kibiina bwe baba nga bakulu mu by’omwoyo, takyetaagisa kuddiŋŋana njigiriza ezisookerwako abasinga obungi ze bamanyi. Wabula zizimbireko buzimbizi. Kyokka, bwe kiba nti mu abo abakuwuliriza mulimu abapya abawerako, n’abo balowoozeeko.

Ng’owa emboozi yo, sinziira ku ebyo abawuliriza bye bamanyi. Tomalira biseera ku bintu abasinga obungi bye bamanyi. Naye bw’oba oyogera ku bintu ebiyinza okuba nga bipya eri abasinga obungi, yogera mpolampola basobole okubitegeera obulungi.

Ekinaabaganyula. Okwogera ebiganyula abawuliriza tekitegeeza nti buli kiseera olina kubaako n’ekintu ekippya ky’oyogerako. Aboogezi abamu balina engeri gye bannyonnyolamu ebintu abawuliriza bye bamanyi ne kiba nti beeyongera okubitegeera obulungi.

Ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, tekimala kwogera bwogezi ku ebyo ebyabadde mu mawulire okusobola okulaga omuntu nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Kozesa Baibuli okulaga amakulu g’ekyo ekibaddewo. Awatali kubuusabuusa ekyo kijja kuganyula oyo akuwuliriza. Mu ngeri y’emu, bw’obaako by’oyogera ku mateeka agafuga obutonde oba ku bimera oba ebisolo, ekigendererwa kyo tekyandibadde kuwuniikiriza buwuniikiriza bakuwuliriza ng’oyogera ku kintu ekikwata ku sayansi kye batawulirangako. Wabula, kyandibadde okukwataganya obujulizi obw’omu butonde n’ebyo ebiri mu Baibuli okulaga akuwuliriza nti Omutonzi gy’ali era nti atwagala. Kino kijja kuyamba oyo awuliriza okufuna endowooza entuufu.

Si kyangu okwogera ku nsonga abantu gye bawuliddeko emirundi egiwera. Kyokka, okusobola okuba omusomesa omulungi, olina okuyiga engeri y’okugyogerako mu ngeri ematiza. Kino oyinza kukikola otya?

Kijja kuba kya muganyulo singa okola okunoonyereza. Mu kifo ky’okwogera ku ebyo byokka by’ojjukira, kozesa ebitabo ebyeyambisibwa mu kunoonyereza ebyogeddwako ku mpapula 33 okutuuka ku 38. Weeyambise amagezi agakuweereddwa ku mpapula ezo. Mu kunoonyereza kwo, oyinza okuzuulayo ekintu ekyaliwo edda ekitamanyiddwa nnyo ng’ate kikwatagana bulungi n’ekyo ky’ogenda okwogerako. Oba mu mawulire oyinza okusangamu ekintu ekiyinza okukuyamba okunnyonnyola ensonga gy’ogenda okwogerako.

Nga wekkenneenya by’ogenda okwogerako weebuuze ebibuuzo nga: kiki? lwaki? ddi? wa? ani? era ne mu ngeri ki? Ng’ekyokulabirako: Kye ŋŋenda okwogera kituufu? Nsobola ntya okukakasa nti kituufu? Ndowooza ki eziriwo ezizibuwalira abantu abamu okukkiriza ekintu kino ekiri mu Baibuli? Lwaki ekyo kikulu? Kikwata kitya ku bulamu bw’omuntu? Byakulabirako ki bye nnyinza okukozesa okulaga omuganyulo oguli mu kussa mu nkola bye njogerako? Amazima gano agali mu Baibuli gooleka ki ku ngeri za Yakuwa? Okusinziira ku ky’oyogerako, oyinza okubuuza: Kino kyaliwo ddi? Tuyinza tutya okukikozesa mu bulamu bwaffe? Emboozi yo yeeyongera okuba ennyuvu bw’obuuza era n’oddamu ebibuuzo ng’ebyo.

By’oyogerako biyinza okukwetaagisa okukozesa ebyawandiikibwa abakuwuliriza bye bamanyi obulungi. Kiki ky’oyinza okukola abakuwuliriza basobole okuganyulwa mu byawandiikibwa ng’ebyo? Tokoma ku kubisoma busomi; naye era binnyonnyole.

Ng’onnyonnyola ekyawandiikibwa ekimanyiddwa obulungi, abawuliriza bajja kuganyulwa nnyo singa olondamu obutundu obukwatagana n’omutwe gw’emboozi yo ate n’obunnyonnyola. Ka tugambe oyogera ku kyawandiikibwa nga Mikka 6:8 mu New World Translation. Weebuuze, “Obwenkanya” kye ki? Mitindo gy’ani egy’obwenkanya egyogerwako wano? Oyinza otya okulaga engeri ‘y’okwolekamu obwenkanya’? oba ‘okwagala ekisa’? Obuwombeefu kye ki? Oyinza otya okwoleka engeri ezo ng’okolagana ne nnamukadde? Kya lwatu nti by’onookozesa mu mboozi yo bisinziira ku mutwe gw’emboozi yo, ekiruubirirwa kyo, abakuwuliriza, n’ekiseera ky’olina.

Kiba kya muganyulo okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebimu. Abantu abamu beewuunya nnyo bwe bategeera amakulu ga “obwakabaka” obwogerwako mu Matayo 6:10. Bw’owa amakulu g’ebigambo kiyinza n’okuyamba Omukristaayo aludde mu mazima okweyongera okutegeera obulungi ekyawandiikibwa ekiba kisomeddwa. Bwe kityo bwe kiba bwe tusoma 2 Peetero 1:5-8 ate oluvannyuma ne tunnyonnyola ebintu eby’enjawulo ebyogerwako mu nnyiriri zino, kwe kugamba, okukkiriza, obulungi, okutegeera, okwefuga, obugumiikiriza, okutya Katonda, okwagala ab’oluganda, n’okwagala. Bw’onnyonnyola obulungi ebigambo ebifaanaganya amakulu ebiba bikozeseddwa mu kyawandiikibwa ky’osomye, kiyinza okuyamba abakuwuliriza okubyawula. Ng’ekyokulabirako, ebigambo ng’amagezi, okumanya, n’okutegeera, ebikozesebwa mu Engero 2:1-6 bisobola okwawulwa singa biba binnyonnyoddwa bulungi.

Abakuwuliriza bajja kuganyulwa nnyo singa onnyonnyola bulungi ebyawandiikibwa. Abantu bangi beewuunya bwe bakitegeera nti mu Olubereberye 2:7 mu nkyusa ezimu eza Baibuli, Adamu ayogerwako ng’emmeeme ennamu era ng’okusinziira ku Ezeekyeri 18:4, emmeeme efa. Lumu, Yesu yeewuunyisa Abasaddukaayo ng’ajuliza Okuva 3:6, ekyawandiikibwa kye baali bakkiririzaamu okubalaga nti abafu bajja kuzuukizibwa.​—Lukka 20:37, 38.

Oluusi kiba kya muganyulo okwogera ku nnyiriri eziriraanye ekyawandiikibwa ky’onnyonnyola, embeera eyaliwo mu kiseera we kyawandiikirwa, era n’omuntu eyayogera ebigambo ebirimu oba oyo gwe babiwandiikira. Abafalisaayo baali bamanyi bulungi Zabbuli 110. Wadde kyali kityo, Yesu yabanokolerayo ekintu ekikulu mu lunyiriri olusooka. Yababuuza: ‘Kristo mumulowoozaako mutya? Mwana w’ani?’ Ne bamugamba nti: ‘wa Dawudi.’ N’abagamba nti: ‘Kale, lwaki Dawudi ng’ajjudde omwoyo omutukuvu yamuyita Mukama we ng’agamba nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w’ebigere byo? Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, aba atya omwana we?’ (Mat. 22:41-45) Bw’onnyonnyola Ebyawandiikibwa nga Yesu, ojja kuyamba abantu okwongera okusoma Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza.

Omwogezi bw’ategeeza abamuwuliriza ekiseera ekitabo ekimu ekya Baibuli lwe kyawandiikibwa oba ekiseera ekintu ekimu we kyabeererawo, asaanidde n’okubategeeza embeera ezaaliwo mu kiseera ekyo. Mu ngeri eyo, abawuliriza bajja kutegeerera ddala bulungi omugaso gw’ekitabo ekyo oba ekyo ky’ayogerako.

Okugeraageranya ekintu ekimu n’ekirala nakyo kisobola okufuula ky’oyogerako okuba eky’omuganyulo. Osobola okulaga enjawulo eriwo wakati w’endowooza ecaase ennyo n’ekyo Baibuli ky’egyogerako. Oba oyinza okugeraageranya ebyawandiikibwa bibiri ebyogera ku nsonga y’emu. Waliwo enjawulo yonna? Lwaki weeri? Kya kuyiga ki ekibirimu? Bw’okola bw’otyo oyinza okuyamba abakuwuliriza okufuna eky’okuyiga ekirala.

Bw’oba ogenda kuwa mboozi ekwata ku buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo, by’oyogera bijja kweyongera okuba eby’omuganyulo singa osooka okwogera mu bufunze ensonga ezigirimu. Laga ekirina okukolebwa, ensonga lwaki kirina okukolebwa, era n’engeri gye kikwataganamu n’ebiruubirirwa byaffe ebikulu ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Oluvannyuma nnyonnyola engeri y’okukolamu ky’oba oyogerako, ekifo gye kirina okukolebwa, n’ekiseera we kirina okukolebwa.

Ate kiba kitya singa mu mboozi yo oba olina okwogera ku bimu ku ‘bintu bya Katonda eby’omunda ennyo’? (1 Kol. 2:10) Singa osooka n’omenya ensonga enkulu eziri mu mboozi yo oluvannyuma n’ozinnyonnyola, by’oyogera bijja kutegeerekeka mangu. Era singa ofundikira ng’owumbawumbako by’oyogedde, abakuwuliriza bajja kusigala nga bamativu nti balina kye bayize.

Okubuulirira okukwata ku bulamu bw’Ekikristaayo. Abakuwuliriza bajja kuganyulwa nnyo singa obayamba okulaba engeri ebiri mu mboozi yo gye bikwata ku bulamu bwabwe. Nga weekenneenya ebyawandiikibwa ebiri mu mboozi yo, weebuuze, ‘Lwaki ebintu bino byawandiikibwa era ne bikuumibwa ne kiba nga tukyabisomako n’okutuusa kati? (Bar. 15:4; 1 Kol. 10:11) Lowooza ku mbeera abakuwuliriza ze boolekagana nazo mu bulamu. Yogera ku mbeera ezo ng’osinziira ku kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa era n’emisingi egibirimu. Mu mboozi yo, nnyonnyola Ebyawandiikibwa ng’olaga engeri gye biyinza okuyambamu omuntu okwolekagana n’embeera ng’ezo. Tolandagga. Baako ekintu ekikakafu ky’oyogerako.

Sooka okozeseeko ekirowoozo kimu oba bibiri ku ebyo ebikuweereddwa waggulu ng’otegeka emboozi yo. Bw’ogenda ofuna obumanyirivu, oyinza okukozesa n’ebirala. Oluvannyuma lw’ekiseera, ojja kukisanga nti ab’oluganda beesunga emboozi zo, nga bakakafu nti bajja kuwulira ebintu ebinaabaganyula.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Lowooza ku ebyo abakuwuliriza bye bamanyi ku nsonga gy’ogenda okwogerako.

  • Genda mpolampola ng’oyogera ku bintu ebippya, naye ebyo ebimanyiddwa obulungi tobimalaako biseera bingi.

  • Ensonga tozoogerako bwogezi naye era zinnyonnyole era olage omugaso gwazo.

  • Weebuuze ebibuuzo nga: Kiki? Lwaki? Ddi? Wa? Ani? Mu ngeri ki?

  • Waayo ebiseera okunnyonnyola Ebyawandiikibwa; ssa essira ku bigambo ebimu ebikirimu.

  • Geraageranya oba laga enjawulo.

  • Yogera mu bufunze ensonga eziri mu mboozi yo.

  • Laga engeri by’oyogera gye biyinza okukozesebwamu okugonjoola ebizibu n’okukola okusalawo.

EBY’OKUKOLA: (1) Kola okunoonyereza osobole okunnyonnyola abawuliriza ekyawandiikibwa ekimanyiddwa obulungi, gamba nga Matayo 24:14 oba Yokaana 17:3. (2) Soma Engero 8:30, 31 ne Yokaana 5:20. Okufumiitiriza ku nkolagana eriwo wakati wa Yakuwa Katonda ne Kristo Yesu, nga bwe kyogerwako mu nnyiriri ezo, kinaakuyamba kitya okukozesa ebyawandiikibwa ebyo okuganyula ab’omu maka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share