LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 26 lup. 312-323
  • Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ensonga Lwaki Yakuwa ‘Mwetegefu Okusonyiwa’
  • Yakuwa Asonyiwa Kwenkana Wa?
  • “Siriddamu Kujjukira Bibi Byabwe”
  • Yakuwa Atukuuma ne Tutatuukibwako Ebiva mu Kwonoona?
  • Oganyulwa Otya Yakuwa bw’Akusonyiwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Beera Mukakafu Nti Yakuwa Asonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Katonda bw’Atusonyiwa, Yeerabira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yakuwa Katonda y’Asingayo Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 26 lup. 312-323
Omusajja ng’asaba.

ESSUULA 26

Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’

1-3. (a) Kiki ekyali kimazeeko Dawudi emirembe, era kiki ekyamubudaabuda? (b) Bwe twonoona, tuyinza kuwulira tutya, naye Yakuwa atukakasa ki?

DAWUDI, omuwandiisi wa Zabbuli, yawandiika bw’ati: “Ensobi zange zeetuumye ku mutwe gwange. Ziringa omugugu omuzito, siyinza kuzeetikka. Nsannyaladde era mmenyesemenyese.” (Zabbuli 38:4, 8) Dawudi bwe yali alumirizibwa omuntu ow’omunda, yali awulira ng’eyetisse omugugu omuzito ennyo. Naye waliwo ekyamubudaabuda. Yakitegeera nti wadde nga Yakuwa akyawa ekibi, takyawa mwonoonyi kasita yeenenya mu bwesimbu era n’aleka ekkubo ebbi. Nga mukakafu nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abo abeenenya, Dawudi yagamba nti: “Ai Yakuwa . . . oli mwetegefu okusonyiwa.”—Zabbuli 86:5.

2 Bwe twonoona, naffe tuyinza okulumirizibwa omuntu waffe ow’omunda. Kiba kirungi okulumizibwa mu ngeri eyo, kubanga kitukubiriza okubaako kye tukolawo okutereeza ensobi zaffe. Kyokka eky’akabi kiri nti tuyinza okulumirizibwa ennyo omutima ne tutuuka n’okulowooza nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa ne bwe tuba nga twenenyezza. Singa ‘tutendewalirwa olw’okunakuwala ennyo’ nga tukoze ekibi, Sitaani ayinza okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa, nga tulowooza nti Yakuwa atutwala ng’abatalina mugaso, era abatasaanira kumuweereza.—2 Abakkolinso 2:5-11.

3 Bw’atyo Yakuwa bw’atutwala? Nedda! Okusonyiwa y’emu ku ngeri Yakuwa gy’akiragamu nti atwagala. Okuyitira mu Kigambo kye, atukakasa nti bwe twenenya mu bwesimbu, aba mwetegefu okutusonyiwa. (Engero 28:13) Okusobola okweggyamu endowooza nti Yakuwa tayinza kutusonyiwa, ka tulabe ensonga lwaki asonyiwa era n’engeri gy’asonyiwamu.

Ensonga Lwaki Yakuwa ‘Mwetegefu Okusonyiwa’

4. Kiki Yakuwa ky’ajjukira ku ngeri gye twakolebwamu, era kino kikwata kitya ku ngeri gy’akolaganamu naffe?

4 Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma. Zabbuli 103:14, wagamba nti: “Amanyi bulungi bwe twakolebwa, ajjukira nti tuli nfuufu.” Teyeerabira nti tuli bitonde ebyakolebwa mu nfuufu era ebirina obunafu olw’okuba tetutuukiridde. Ebigambo “Amanyi bulungi bwe twakolebwa,” bituyamba okukijjukira nti Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku mubumbi ate ffe ku bintu by’abumba. (Yeremiya 18:2-6) Omubumbi Omukulu akolagana naffe okusinziira ku bunafu bwaffe era ne ku ngeri gye tugobereramu oba gye twesambamu obulagirizi bwe.

5. Ekitabo ky’Abaruumi kyogera kitya ku maanyi g’ekibi?

5 Yakuwa amanyi bulungi nti ekibi kirina amaanyi mangi. Ekigambo kye kyogera ku kibi ng’ekintu eky’amaanyi ekinywezezza abantu. Ekibi kya maanyi kwenkana wa? Mu kitabo ky’Abaruumi, omutume Pawulo yakyogerako bw’ati: ‘Tufugibwa ekibi,’ ng’abaserikale bwe bafugibwa omuduumizi waabwe (Abaruumi 3:9); ekibi ‘kifuze’ abantu nga kabaka (Abaruumi 5:21); ekibi “kiri” mu ffe (Abaruumi 7:17, 20); ‘etteeka lyakyo’ likolera mu ffe, nga kigezaako okufuga obulamu bwaffe. (Abaruumi 7:23, 25) Mazima ddala ekibi kirina amaanyi mangi nnyo ku bantu abatatuukiridde!—Abaruumi 7:21, 24.

6, 7. (a) Yakuwa atunuulira atya abo abamenyese emitima era abaagala okusonyiyibwa? (b) Lwaki tetwandyeyinudde nti Katonda ajja kutusaasira nga tukoze ekibi?

6 N’olwekyo, Yakuwa akimanyi nti tetuyinza kumugondera mu ngeri etuukiridde, ne bwe tuba nga twagala tutya okukikola. Atukakasa nti singa twenenya mu bwesimbu era ne tumusaba atusonyiwe, atusonyiwa. Zabbuli 51:17, wagamba nti: “Ssaddaaka ezisanyusa Katonda gwe mwoyo oguboneredde; omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.” Yakuwa tayinza kugaana oba kwesamba mutima “ogumenyese era oguboneredde” olw’okulumirizibwa ekibi.

7 Kyokka kino tekitegeeza nti tuyinza okwekwasa obunafu bwaffe ne tukola ekibi nga tweyinula nti Katonda ajja kutusaasira. Yakuwa tawagira bantu bakola bintu bibi. Obusaasizi bwe buliko ekkomo. Tayinza kusonyiwa abo aboonoona mu bugenderevu, ne bateenenya. (Abebbulaniya 10:26) Kyokka bw’alaba omutima ogumenyese, aba mwetegefu okusonyiwa. Kati ka twekenneenye ebigambo ebimu ebikozesebwa mu Bayibuli okwogera ku ngeri eno ey’ekitalo eyoleka okwagala kwa Yakuwa.

Yakuwa Asonyiwa Kwenkana Wa?

8. Kiki Yakuwa ky’akola ng’atusonyiye ebibi byaffe, era ekyo kituleetera kuba bakakafu ku ki?

8 Dawudi eyali yeenenyezza yagamba nti: “Kyaddaaki nnakwatulira ekibi kyange; saabikka ku nsobi yange . . . era wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.” (Zabbuli 32:5) Ekigambo “wansonyiwa” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza ‘okusitula’ oba ‘okutwala.’ Engeri gye kikozesebwamu wano kitegeeza okuggyawo “ekibi.” N’olwekyo, Yakuwa yasitula ebibi bya Dawudi n’abitwala. Awatali kubuusabuusa kino kyakendeeza ku kulumirizibwa Dawudi kwe yalina. (Zabbuli 32:3) Naffe tusobola okuba abakakafu nti Katonda asitula ebibi byaffe n’abitwala bwe tumusaba nga tusinziira ku ssaddaaka ya Yesu.—Matayo 20:28.

9. Yakuwa ebibi byaffe abiteeka wala kwenkana wa okuva we tuli?

9 Dawudi yakozesa ebigambo ebirala okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’asonyiwamu. Yagamba nti: “Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba, bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.” (Zabbuli 103:12) Ebuvanjuba weesudde ebugwanjuba bbanga ki? Ebuvanjuba kye kifo ekisingayo okuba ewala okuva ebugwanjuba; byombi tebiyinza kusisinkana. Omwekenneenya omu yagamba nti ebigambo ebyo bitegeeza “ewala ennyo nga bwe kisoboka; ewala ennyo nga bwe tuyinza okuteebereza.” Ebigambo bya Dawudi ebyaluŋŋamizibwa biraga nti Yakuwa bw’atusonyiwa, ebibi byaffe abiteeka wala nnyo ddala.

Ensozi eziriko omuzira.

“Ebibi byammwe . . . bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira”

10. Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, lwaki tetwandirowoozezza nti tuba tukyaliko ebbala ly’ebibi ebyo?

10 Wali ogezezzaako okuggya ebbala mu lugoye? Oboolyawo wadde nga wafuba nnyo, ebbala lyasigalamu. Weetegereze Yakuwa bw’ayogera ku ngeri gy’asonyiwamu. Agamba nti: “Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira; ne bwe binaaba bitwakaavu ng’olugoye olumyufu, bijja kufuuka byeru ng’ebyoya by’endiga.” (Isaaya 1:18) Langi emmyufu yali emu ku ezo ze bannyikangamu engoye.a (Nakkumu 2:3) Ffe ku bwaffe tetusobola kuggyawo bbala lya kibi. Wadde ng’ebibi bigeraageranyizibwa ku langi emmyufu oba entwakaavu, Yakuwa asobola okubifuula ebyeru ng’omuzira. Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, tetusaanidde kulowooza nti tusigazza ebbala ly’ebibi ebyo.

11. Mu ngeri ki Yakuwa gy’asuulamu ebibi byaffe emabega we?

11 Mu luyimba Keezeekiya lwe yayimba ng’asiima Yakuwa okumuwonya obulwadde obwali bugenda okumutta, yagamba nti: “Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.” (Isaaya 38:17) Wano Yakuwa ayogerwako ng’atwala ebibi by’omwonoonyi eyeenenyezza n’abisuula emabega we gy’atabirabira wadde okubyekenneenya. Okusinziira ku kitabo ekimu, ebigambo ebyo biyinza okuba n’amakulu gano: “[Ebibi byange] obiggiddewo ddala ne biba ng’ebitabangawo.” Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi!

12. Nnabbi Mikka yakiraga atya nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe?

12 Bwe yali ayogera ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okukomyawo abo abaali mu buwaŋŋanguse, nnabbi Mikka yali mukakafu nti Yakuwa yandisonyiye abantu be abandyenenyezza. Yagamba nti: “Katonda ki alinga ggwe asonyiwa ensobi n’okwonoona kw’abo abasigaddewo ab’obusika bwo? . . . Ebibi byabwe byonna olibisuula ebuziba mu nnyanja.” (Mikka 7:18, 19) Teeberezaamu ebigambo ebyo kye byategeeza eri abantu abaaliwo mu kiseera ekyo. Kyali tekisoboka kufuna kintu kyonna ekyabanga kisuuliddwa “ebuziba mu nnyanja.” Bwe kityo, ebigambo bya Mikka biraga nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe.

13. Ebigambo bya Yesu nti “tusonyiwe amabanja gaffe” bitegeeza ki?

13 Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’ababanja n’ababanjibwa okulaga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu. Yesu yatukubiriza okusaba nti: “Tusonyiwe amabanja gaffe.” (Matayo 6:12) Mu ngeri eyo, Yesu yageraageranya ebibi ku mabanja. (Lukka 11:4) Bwe twonoona, tuba ‘tubanjibwa’ Yakuwa. Ekitabo ekimu kyogera kiti ku makulu agamu ag’ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okusonyiwa’: “Okusazaamu ebbanja n’otoddamu kulisaba gw’obanja.” Mu ngeri y’emu, Yakuwa bw’atusonyiwa, asazaamu ebbanja eryandibadde litubanjibwa. Ekyo kizzaamu nnyo amaanyi aboonoonyi abeenenya. Yakuwa tagenda kukusaba kusasula bbanja ly’asazizzaamu!—Zabbuli 32:1, 2.

14. Ebigambo “ebibi byammwe bisangulwe” bikuwa kifaananyi ki?

14 Engeri Yakuwa gy’asonyiwamu era eyogerwako mu Ebikolwa by’Abatume 3:19, awagamba nti: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulwe.” Ekigambo ekisembayo mu kyawandiikibwa ekyo kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza ‘okusazaamu oba okusaanyaawo.’ Okusinziira ku beekenneenya abamu, ekigambo ekyo kirina amakulu ag’okusangula ebiwandiikiddwa. Ekyo kyasoboka kitya? Bwino eyakozesebwanga mu biseera eby’edda yabangamu langi enzirugavu, amasanda, n’amazzi. Oluvannyuma lw’okukozesa bwino oyo, omuntu yabanga asobola okukozesa akagoye akabisi n’asangula by’awandiise. Ekyo kifaananyi kirungi ekiraga obusaasizi bwa Yakuwa. Bw’asonyiwa ebibi byaffe, abanga akozesezza akagoye akabisi n’abisangula.

15. Kiki Yakuwa ky’ayagala tumumanyeeko?

15 Bwe tulowooza ku byokulabirako bino, kyeyoleka bulungi nti Yakuwa ayagala tumanye nti mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe kasita twenenya mu bwesimbu. Tekitwetaagisa kutya nti ajja kutuvunaana ebibi ebyo mu biseera eby’omu maaso. Kino tukirabira ku kintu ekirala Bayibuli ky’eyogera ku busaasizi bwa Yakuwa. Egamba nti bw’asonyiwa, yeerabira.

Yakuwa ayagala tutegeere nti “mwetegefu okusonyiwa”

“Siriddamu Kujjukira Bibi Byabwe”

16, 17. Bayibuli bw’egamba nti Yakuwa yeerabira ebibi byaffe, eba etegeeza ki, era lwaki oddamu bw’otyo?

16 Yakuwa yasuubiza bw’ati abo abali mu ndagaano empya: “Ndibasonyiwa ensobi zaabwe, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.” (Yeremiya 31:34) Kino kitegeeza nti Yakuwa bw’asonyiwa aba takyasobola kujjukira bibi? Nedda. Bayibuli eyogera ku bibi by’abantu bangi Yakuwa be yasonyiwa, nga mw’otwalidde ne Dawudi. (2 Samwiri 11:1-17; 12:13) Kya lwatu Yakuwa amanyi ebibi bye baakola. Ebibi byabwe, engeri gye beenenyamu, era n’engeri Katonda gye yabasonyiwamu, byawandiikibwa tusobole okubiganyulwamu. (Abaruumi 15:4) Kati olwo Bayibuli etegeeza ki bw’egamba nti Yakuwa ‘tajjukira’ bibi by’abo b’asonyiwa?

17 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “siriddamu kujjukira” tekitegeeza kujjukira bya mabega kyokka. Ekitabo Theological Wordbook of the Old Testament kigamba nti kizingiramu “okubaako ne ky’okolawo ekisaanira.” N’olwekyo, ‘okujjukira’ ekibi kizingiramu okubonereza aboonoonyi. (Koseya 9:9) Naye Katonda bw’agamba nti “siriddamu kujjukira bibi byabwe,” aba atukakasa nti bw’asonyiwa omwonoonyi eyeenenyezza, aba tajja kumubonereza mu kiseera eky’omu maaso olw’ebibi ebyo. (Ezeekyeri 18:21, 22) Bwe kityo, Yakuwa yeerabira mu ngeri nti tajjukira bibi byaffe asobole okuddamu okutuvunaana oba okutubonereza olw’ebibi ebyo. Tekizzaamu maanyi okukimanya nti Katonda waffe asonyiwa era ne yeerabira?

Yakuwa Atukuuma ne Tutatuukibwako Ebiva mu Kwonoona?

18. Lwaki omwonoonyi bw’asonyiyibwa ebibi tekitegeeza nti tajja kutuukibwako bizibu biyinza kuva mu bibi bye yakola?

18 Okuba nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa kitegeeza nti omwonoonyi eyeenenyezza tatuukibwako bintu bibi ebiva mu kkubo lye ekkyamu? N’akatono. Tetuyinza kwonoona ne tulowooza nti tetujja kutuukibwako kabi konna. Pawulo yagamba nti: “Ekyo omuntu ky’asiga era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) Tuyinza okutuukibwako ebintu ebibi ebiva mu bikolwa byaffe. Kino tekitegeeza nti oluvannyuma lwa Yakuwa okutusonyiwa ate atuleetera ebintu ebibi. Omukristaayo bw’agwa mu mitawaana, teyandirowoozezza nti, ‘Oboolyawo Yakuwa ambonereza olw’ebibi byange eby’emabega.’ (Yakobo 1:13) Ku luuyi olulala, Yakuwa taziyiza bizibu byonna ebiyinza okuva mu bikolwa byaffe ebikyamu. Okugattululwa mu bufumbo, embuto abantu ze bateeyagalidde, endwadde ez’obukaba, okuweebuuka, bye bimu ku bintu ebibi ebiyinza okuva mu bibi bye tukola. Kijjukire nti wadde nga Yakuwa yasonyiwa Dawudi bwe yayenda ku Basuseba era n’akola olukwe okutta Uliya, teyaziyiza bizibu ebyatuuka ku Dawudi olw’ebikolwa bye ebyo.—2 Samwiri 12:9-12.

19-21. (a) Amateeka agali mu Eby’Abaleevi 6:1-7, gaaganyulanga gatya eyazzibwangako omusango n’oyo eyaguzzanga? (b) Bwe tulumya abalala olw’ekibi kyaffe, kiki Yakuwa ky’ayagala tukole?

19 Ebibi byaffe biyinza okuleetawo ebizibu ebirala naddala singa abalala bakosebwa olw’ebikolwa byaffe. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 6. Amateeka ga Musa wano googera ku muntu akola ekibi eky’amaanyi ng’abba, ng’alyazaamaanya, oba ng’anyaga Muyisirayiri munne. Omwonoonyi yeegaana ekibi kye, n’atuuka n’okulayira nti takikolanga. Olw’okuba tewaliiwo mujulizi amulumiriza, omwonoonyi oyo tabonerezebwa. Kyokka oluvannyuma alumirizibwa omuntu we ow’omunda era n’ayatula ekibi kye. Katonda okusobola okumusonyiwa, alina okukola ebintu ebirala bisatu: okukomyawo ebintu bye yatwala, okusasula omutango gwa kimu kya kutaano eky’ebintu bye yabba, era n’okuwaayo endiga ennume ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Ate era Amateeka gaagamba nti: “Kabona anaatangiriranga ekibi kye mu maaso ga Yakuwa, era . . . kinaamusonyiyibwanga.”—Eby’Abaleevi 6:1-7.

20 Etteeka lino lyali lyoleka obusaasizi bwa Yakuwa. Eyabanga abbiddwa yaganyulwanga ebintu bye bwe byakomezebwangawo, era awatali kubuusabuusa yawuliranga bulungi omwonoonyi bwe yakkirizanga ekibi kye. Mu kiseera kye kimu, amateeka gaaganyulanga nnyo n’oyo eyakkirizanga ekibi kye. Mu butuufu, singa teyakkirizanga nsobi ye, Katonda teyandimusonyiye.

21 Wadde nga tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, Amateeka ago gatuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa, nga mw’otwalidde n’eyo gy’alina ku kusonyiwa. (Abakkolosaayi 2:13, 14) Bwe tulumya abalala olw’ekibi kyaffe, Katonda asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okutereeza ensonga. (Matayo 5:23, 24) Kino kiyinza okuzingiramu okukkiriza ekibi kyaffe, okukkiriza nti tusobezza, era n’okwetonda. Awo tuba tusobola okusaba Yakuwa okutusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu.—Abebbulaniya 10:21, 22.

22. Ng’oggyeeko okutusonyiwa, kiki ekirala Yakuwa ky’ayinza okukola?

22 Okufaananako omuzadde ayagala abaana be, Yakuwa bw’atusonyiwa era ayinza n’okutukangavvula. (Engero 3:11, 12) Omukristaayo eyeenenyezza, ayinza okufiirwa enkizo ye ey’okuweereza ng’omukadde, omuweereza mu kibiina, oba ey’okuweereza nga payoniya. Kiyinza okumunakuwaza okufiirwa enkizo gy’abadde ayagala ennyo. Kyokka okukangavvulwa ng’okwo tekutegeeza nti Yakuwa tamusonyiye. Tulina okukijjukira nti Yakuwa bw’atukangavvula buba bukakafu obulaga nti atwagala. Bwe tukkiriza okukangavvula okwo era ne tukukolerako kiganyula ffe.—Abebbulaniya 12:5-11.

23. Lwaki tetwandirowoozezza nti Yakuwa tayinza kutosonyiwa, era lwaki twandikoppye engeri gy’asonyiwamu?

23 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda waffe “mwetegefu okusonyiwa”! Ka tube nga tukoze nsobi ki, tetulowoozanga nti Yakuwa tayinza kutusonyiwa. Bwe twenenya mu bwesimbu, ne tubaako ne kye tukolawo okutereeza ensobi, ne tusaba Yakuwa okutusonyiwa ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, tuba bakakafu nti ajja kutusonyiwa. (1 Yokaana 1:9) Ka tukoppe engeri Yakuwa gy’asonyiwamu nga naffe tusonyiwa bannaffe. Bwe kiba nti Yakuwa atakola kibi atusonyiwa, olwo ffe abantu aboonoonyi tetwandifubye nnyo okusonyiwa bannaffe?

a Omwekenneenya omu agamba nti langi emmyufu oba entwakaavu eyogerwako wano “yali ekwatira ddala mu lugoye. Tewali kyali kiyinza kugiggya mu lugoye, k’ebe nkuba ng’erukubye, ka kube kulwoza, oba ka lube nga lukozeseddwa ekiseera kiwanvu.”

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • 2 Ebyomumirembe 33:1-13 Lwaki Yakuwa yasonyiwa Manase, era ekyo kituyigiriza ki ku busaasizi bwa Yakuwa?

  • Matayo 6:12, 14, 15 Lwaki twandisonyiye abalala nga waliwo ensonga esinziirwako okubasonyiwa?

  • Lukka 15:11-32 Olugero luno lutuyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’ali omwetegefu okusonyiwa, era ekyo kikuleetera kuwulira otya?

  • 2 Abakkolinso 7:8-11 Kiki kye tuteekwa okukola okusobola okusonyiyibwa Katonda?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share