EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
Beera Mukakafu Nti Yakuwa Asonyiwa
“Wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.”—ZAB. 32:5.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebyawandiikibwa okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa asonyiwa aboonoonyi abeenenya, era n’ensonga lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa atusonyiwa.
1-2. Tuwulira tutya bwe tukimanya nti Yakuwa atusonyiye ebibi byaffe? (Laba ddiba.)
KABAKA Dawudi yali amanyi kye kitegeeza okulumirizibwa omutima olw’ebibi omuntu by’aba yakola. (Zab. 40:12; 51:3; obugambo obuli waggulu) Yakola ensobi ez’amaanyi mu bulamu bwe. Kyokka yeenenya mu bwesimbu era Yakuwa yamusonyiwa. (2 Sam. 12:13) N’ekyavaamu, Dawudi yafuna obuweerero bwe yakitegeera nti Yakuwa yali amusonyiye.—Zab. 32:1.
2 Okufaananako Dawudi, naffe tufuna obuweerero Yakuwa bw’atulaga obusaasizi, n’atusonyiwa ebibi byaffe. Ne bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tubudaabudibwa bwe tukimanya nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa singa twenenya mu bwesimbu, ne twatula ekibi kyaffe, era ne tukola kyonna kye tusobola obutakiddamu! (Nge. 28:13; Bik. 26:20; 1 Yok. 1:9) Ate era kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa bw’atusonyiwa, taddamu kutuvunaana olw’ekibi ekyo era kiba ng’ekitabangawo!—Ezk. 33:16.
Kabaka Dawudi yayiiya zabbuli nnyingi eziraga engeri Yakuwa gy’asonyiwamu (Laba akatundu 1-2)
3-4. Mwannyinaffe omu yawulira atya oluvannyuma lw’okubatizibwa, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ebiseera ebimu, abamu kiyinza okubazibuwalira okuba abakakafu nti Yakuwa yabasonyiwa. Lowooza ku mmwanyinaffe Jennifer, eyakulira mu mazima. Bwe yatuuka mu myaka gye egy’obuvubuka, yeenyigira mu bikolwa ebibi era n’atandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Naye oluvannyuma lw’emyaka, yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe, yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa. Agamba nti: “Nga sinnakomawo eri Yakuwa nnakulembezanga kunoonya ssente, nneenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu, nnali muntu mukambwe, era nnali mutamiivu. Muli nnali nkimanyi nti olw’okuba nnali nsabye Yakuwa ansonyiwe era ne nneenenya, ssaddaaka ya Yesu yansobozesa okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Wadde kiri kityo, kyanzibuwalira okukakasa omutima gwange nti ddala Yakuwa yansonyiwa.”
4 Oluusi naawe kikuzibuwalira okukikkiriza nti ddala Yakuwa yakusonyiwa ebibi bye wakola mu biseera eby’emabega? Yakuwa ayagala obe mukakafu nti musaasizi era nti asobola okukusonyiwa nga bwe yasonyiwa Dawudi. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe, era tulabe n’ebisobola okutuyamba okuba abakakafu ku ekyo.
LWAKI KIKULU OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA ASONYIWA?
5. Kiki Sitaani ky’ayagala tulowooze? Waayo ekyokulabirako.
5 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe, tusobola okwewala okugwa mu kamu ku butego bwa Sitaani. Kijjukire nti Sitaani mwetegefu okukola kyonna ky’asobola okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. Okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kye ekyo, Sitaani ayinza okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa bibi byaffe. Lowooza ku musajja ow’omu Kkolinso eyaggibwa mu kibiina olw’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (1 Kol. 5:1, 5, 13) Oluvannyuma omusajja oyo bwe yeenenya, Sitaani yali ayagala abo abali mu kibiina baleme kumusonyiwa era baleme okumwaniriza ng’akomyewo. Ate era, Sitaani yali ayagala omusajja oyo eyali yeenenyezza alowooze nti Yakuwa teyamusonyiwa, bw’atyo ‘atendewalirwe olw’okunakuwala ennyo’ alekere awo okuweereza Yakuwa. Ne leero Sitaani akyakozesa akakodyo ke kamu. Naye “tumanyi enkwe ze.”—2 Kol. 2:5-11.
6. Tuyinza tutya okufuna obuweerero omutima bwe guba nga gutulumiriza olw’ebibi bye twakola?
6 Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa yatusonyiwa ebibi byaffe, tufuna obuweerero era omutima gulekera awo okutulumiriza. Bwe twonoona, kya bulijjo omutima okutulumiriza. (Zab. 51:17) Ekyo kiba kirungi kubanga kiba kisobola okutuleetera okukola enkyukakyuka, ne tukola ekituufu. (2 Kol. 7:10, 11) Kyokka bwe tweyongera okulumirizibwa omutima oluvannyuma lw’okwenenya, tusobola okuggwaamu amaanyi ne tulekera awo okuweereza Yakuwa. Naye bwe tuba abakakafu nti Yakuwa yatusonyiwa, omutima gulekera awo okutulumiriza. Bwe kityo tuba tusobola okuweereza Yakuwa nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo era nga tuli basanyufu. (Bak. 1:10, 11; 2 Tim. 1:3) Naye tuyinza tutya okukakasa omutima gwaffe nti Yakuwa yatusonyiwa?
BIKI EBISOBOLA OKUTUYAMBA OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA ASONYIWA?
7-8. Yakuwa yeeyogerako atya eri Musa, era kyo kitukakasa ki? (Okuva 34:6, 7)
7 Fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yeeyogerako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yakuwa kye yagamba Musa ku lusozi Sinaayi.a (Soma Okuva 34:6, 7.) Wadde nga Yakuwa yalina bingi by’asobola okwogera ku ngeri ze n’amakubo ge, yeeyogerako nga “Katonda omusaasizi era ow’ekisa.” Ddala Yakuwa Katonda omusaasizi era ow’ekisa, asobola okugaana okusonyiwa omuweereza we akoze ensobi naye ne yeenenya mu bwesimbu? Nedda! Yakuwa bw’atasonyiwa muntu ng’oyo, aba mukambwe era taba musaasizi. Naye Yakuwa tali bw’atyo.
8 Olw’okuba Yakuwa talimba, tuli bakakafu nti bw’agamba nti musaasizi aba ayogera mazima. (Zab. 31:5) N’olwekyo tusobola okukkiriza ekyo ky’atugamba. Bw’oba owulira nti Yakuwa teyakusonyiwa bibi bye wakola mu biseera eby’emabega, weebuuze nti: ‘Nkikkiriza nti Yakuwa musaasizi, wa kisa, era nti asonyiwa omwonoonyi yenna eyeenenya mu bwesimbu?’ Bwe kiba kityo, beera mukakafu nti naawe Yakuwa yakusonyiwa.
9. Zabbuli 32:5 watuyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu ebibi byaffe?
9 Fumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika ku ngeri gy’asonyiwamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo Dawudi bye yawandiika ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu. (Soma Zabbuli 32:5.) Yagamba nti:“Wansonyiwa ensobi zange n’ebibi byange.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya “Okusonyiwa” ekikozesebwa mu lunyiriri luno era kisobola okutegeeza “okuggyawo,” oba “okutwala.” Yakuwa bwe yasonyiwa Dawudi, yalinga amuggyeeko ebibi bye n’abitwala. Ekyo bwe kyabaawo, Dawudi yafuna obuweerero obw’amaanyi. (Zab. 32:2-4) Naffe tuwulira obuweerero obw’amaanyi Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe. Bwe twenenya mu bwesimbu, tetusaanidde kweyongera kwetikka mugugu ogw’okulumirizibwa omutima kubanga Yakuwa aba agututikkudde.
10-11. Ebigambo “mwetegefu okusonyiwa” bituyigiriza ku Yakuwa? (Zabbuli 86:5)
10 Soma Zabbuli 86:5. Mu lunyiriri olwo, Dawudi bw’aba ayogera ku Yakuwa, agamba nti “mwetegefu okusonyiwa.” Ekitabo ekimu bwe kiba kyogera ku bigambo ebyo kigamba nti: “[Yakuwa] asonyiwa—bw’atyo bw’ali.” Lwaki Yakuwa bw’atyo bw’ali? Olunyiriri olwo era lugamba nti: “Abo bonna abakukoowoola obalaga okwagala okutajjulukuka kungi.” Nga bwe twayiga mu kitundu ekyayita, okwagala okutajjulukuka Yakuwa kw’alina kumuleetera okunywerera ku baweereza be abeesigwa. Okwagala okwo kwe kumuleetera ‘okusonyiyira ddala’ aboonoonyi bonna abeenenya. (Is. 55:7) Bwe kiba nga kikuzibuwalira okukikkiriza nti Yakuwa yakusonyiwa, weebuuze nti: ‘Nkikkiriza nti Yakuwa musaasizi era nti mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi bonna abeenenya?’ Bwe kiba kityo, beera mukakafu nti olw’okuba Yakuwa musaasizi, naawe yakusonyiwa.
11 Ate era tubudaabudibwa bwe tukimanya nti Yakuwa ategeera bulungi engeri gye twakolebwamu era nti tetutuukiridde. (Zab. 139:1, 2) Ka tulabe ebigambo bya Dawudi ebirala, ebitukakasa nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa.
TEWEERABIRA EKYO YAKUWA KY’AJJUKIRA
12-13. Okusinziira ku Zabbuli 103:14, kiki Yakuwa ky’ajjukira ku bantu, era kimuleetera kutuyisa atya?
12 Soma Zabbuli 103:14. Mu lunyiriri olwo, Dawudi bw’aba ayogera ku Yakuwa agamba nti: “Ajjukira nti tuli nfuufu.” Mu bigambo ebyo, Dawudi yalaga emu ku nsonga lwaki Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abaweereza be abeenenya: Akimanyi nti boonoonyi. Okusobola okutegeera ensonga eyo, ka twekkenneenye ebigambo bya Dawudi ebyo.
13 Dawudi yagamba nti Yakuwa “amanyi bulungi bwe twakolebwa.” Yakuwa yatonda Adamu mu “nfuufu y’ensi,” era yali akimanyi nti wadde nga Adamu yali atuukiridde, yali alina ebintu bye yeetaaga gamba ng’okulya, okwebaka, n’okussa. (Lub. 2:7) Naye Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, okuba nti baatondebwa mu nfuufu kyafuna amakulu amalala. Olw’okuba tuli bazukkulu baabwe, twasikira ekibi ekituleetera okukola ebintu ebibi. Dawudi yalaga nti Yakuwa takoma ku kukimanya nti tuli boonoonyi, naye era ‘akijjukira.’ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okujjukira” era kisobola okutegeeza nti Yakuwa abaako ky’akolawo okutuyamba. Tuyinza okuwumbawumbako ebigambo bya Dawudi nga tugamba nti: Yakuwa akimanyi nti emirundi egimu tujja kukola ensobi, naye bw’akiraba nti twenenyezza mu bwesimbu, atulaga obusaasizi n’atusonyiwa.—Zab. 78:38, 39.
14. (a) Okusinziira ku bigambo bya Dawudi, Yakuwa asonyiwa kwenkana wa? (Zabbuli 103:12) (b) Ebyo bye tuyigira ku Dawudi biraga bitya nti Yakuwa asonyiyira ddala? (Laba akasanduuko “Yakuwa Asonyiwa era ne Yeerabira.”)
14 Yakuwa asonyiwa kwenkana wa? (Soma Zabbuli 103:12.) Dawudi agamba nti Yakuwa bw’atusonyiwa, ebibi byaffe abiteeka wala nnyo, “ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba.” Mu ngeri endala, ebuvanjuba kye kifo ekisingayo okuba ewala okuva ebugwanjuba; byombi tebiyinza kusisinkana. Ekyo kituyigiriza ki ku ngeri Yakuwa gy’atusonyiwamu ebibi byaffe? Ekyo kituyigiriza nti Yakuwa bw’atusonyiwa ebibi byaffe, abiteeka wala nnyo okuva we tuli. Abitwala wala nnyo ne kiba nti takkiriza kintu kyonna kumuleetera kubijjukira, wadde okutuvunaana oba okutubonereza olw’ebibi ebyo.—Ezk. 18:21, 22; Bik. 3:19.
15. Kiki kye tusaanidde okukola omutima gwaffe bwe guba nga gutulumiriza olw’ebibi bye twakola mu biseera ebyayita?
15 Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 103 bituyamba bitya okuba abakakafu nti Yakuwa asonyiwa? Bwe tuba nga tuwulira nti Yakuwa teyatusonyiwa olw’ebibi bye twakola mu biseera eby’emabega, tusobola okwebuuza nti: ‘Nneerabidde ekyo Yakuwa ky’ajjukira, kwe kugamba, nneerabidde nti Yakuwa akimanyi nti ndi mwonoonyi era nti asonyiwa aboonoonyi abeenenya nga nze? Nzijjukira ekyo Yakuwa kye yasalawo okwerabira, kwe kugamba, nzijjukira ebibi Yakuwa bye yamala edda okunsonyiwa era nga taliddamu kubinvunaana?’ Yakuwa tassa birowoozo ku bibi bye twakola mu biseera eby’emabega era naffe tetusaanidde kubimalirako birowoozo. (Zab. 130:3) Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa yatusonyiwa, tulekera okulumirizibwa omutima era ne tweyongera okumuweereza nga tuli basanyufu.
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga akabi akali mu kumalira ebirowoozo byaffe ku bibi Yakuwa bye yatusonyiwa. (Laba n’ekifaananyi.)
16 Lowooza ku kyokulabirako kino. Okumalira ebirowoozo byaffe ku nsobi ze twakola mu biseera eby’emabega kiba ng’okuvuga emmotoka ng’egenda mu maaso naye ng’otunudde mu kalabirwamu akakulaga ebiri emabega. Si kibi okutunulako mu kalabirwamu ako, kubanga ekyo kisobola okukuyamba okulaba akabi akaba kakwolekedde ng’oli ku luguudo. Naye okusobola okuvuga obulungi, ebirowoozo byo olina kubimalira mu maaso gy’ogenda. Mu ngeri y’emu, emirundi egimu tekiba kibi okulowooza ku nsobi ze twakola mu biseera eby’emabega kubanga ekyo kisobola okutuyamba okuziyigirako, n’okuba abamalirivu obutaddamu kuzikola. Naye bwe tumalira ebirowoozo byaffe ku bibi bye twakola mu biseera eby’emabega, omutima gusobola okutulumiriza ekisukkiridde, n’ekivaamu, tusobola okuddirira mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. N’olwekyo, ebirowoozo byo bimalire ku kuweereza Yakuwa. Tuli mu kkubo eritutwala mu bulamu mu nsi empya Katonda gye yatusuubiza era mu kiseera ekyo, ebintu ebibi ebyatutuukako mu biseera ebyayita “tebirijjukirwa.”—Is. 65:17; Nge. 4:25.
Ng’omuvuzi w’ekidduka bw’asaanidde okutunula mu maaso gy’agenda mu kifo ky’okutunuulira akalabirwamu akamulaga ebiri emabega, tusaanidde okumalira ebirowoozo byaffe ku mikisa Yakuwa gy’agenda okutuwa mu biseera eby’omu maaso okusinga okubimalira ku bibi bye twakola mu biseera eby’emabega (Laba akatundu 16)
WEEYONGERE OKUKAKASA OMUTIMA GWO
17. Lwaki tusaanidde okweyongera okukakasa omutima gwaffe nti Yakuwa atwagala era asonyiwa?
17 Tusaanidde okweyongera okukakasa omutima gwaffe nti Yakuwa atwagala era nti yatusonyiwa. (1 Yok. 3:19) Lwaki? Kubanga Sitaani ajja kweyongera okutuleetera okulowooza nti Yakuwa tatwagala era nti tasobola kutusonyiwa. Ky’ayagala kwe kutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. Sitaani ajja kweyongera okukola kyonna ky’asobola okutuleetera okuva ku Yakuwa kubanga akimanyi nti asigazza akaseera katono. (Kub. 12:12) Tetusaanidde kukkiriza Sitaani kutuwangula!
18. Biki by’osobola okukola okukakasa omutima gwo nti Yakuwa akwagala era asonyiwa?
18 Okusobola okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala, kolera ku ebyo bye twayiga mu kitundu ekyayita. Ate nga bwe tulabye mu kitundu kino, weeyongere okukakasa omutima gwo nti Yakuwa asonyiwa ng’ofumiitiriza ku ngeri gye yeeyogerako, ne ku ebyo bye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika ku ngeri gy’asonyiwamu. Teweerabira nti Yakuwa akimanyi bulungi nti tetutuukiridde era ajja kutulaga obusaasizi. Ate era kijjukire nti bw’asonyiwa, asonyiyira ddala. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba mukakafu nti Yakuwa musaasizi, era okufaananako Dawudi, naawe ojja kuba osobola okugamba nti, “Weebale nnyo Yakuwa okunsonyiwa ‘ensobi zange n’ebibi byange’!”—Zab. 32:5.
OLUYIMBA 1 Engeri za Yakuwa
a Laba ekitundu “Draw Close to God—When Jehovah Described Himself” mu Watchtower eya Maayi 1, 2009.