Oluyimba 13
Okusaba okw’Okwebaza
1. Yakuwa, otenderezebwenga,
Mukama waffe, tukukoowoola.
Ffenna tuvunnama mu maaso go,
Twesizza wansi w’obukuumi bwo.
Bulijjo ’lw’obunafu twonoona;
Tukusaba okutusonyiwa.
’Lw’omusaayi gwa Kristo twagulwa.
Twagala otuyigirizenga.
2. Basanyufu abo b’osembeza
Mu mpya zo okuyigirizibwa.
Tuluŋŋamizibwa ’Kigambo kyo.
Ka tubeerenga mu yeekaalu yo.
Amaanyi go nga ga kitalonnyo,
Ge ganyweza abaweereza bo.
Obwakabaka bwo tubutenda.
Kubanga tebuliremererwa.
3. ’Kufaayo kwo kutusanyusenga;
Okusinza kwo kubune wonna.
Obwakabaka bwo bujja kujja,
Bumalewo ennaku n’okufa.
’Bubi bunaggibwawo ’Mwana wo;
’Bitonde bijja kujaganya nnyo
N’essanyu, ka tukuyimbirenga:
“Ttendo liryo Yakuwa, Kabaka!”
(Era laba Zab. 65:2, 4, 11; Baf. 4:6.)