OLUYIMBA 150
Noonya Katonda Akununule
Printed Edition
	- 1. ’Mawanga geekobye - Okuziyiza Kristo. - Ekiseera ky’obufuzi - Bw’abantu kiweddeko. - Bugenda kuvaawo, - ’Bwa Katonda buddewo; - Kristo aggyewo ’balabe be. - Kya kubaawo mangu nnyo. - (CHORUS) - Noonya Yakuwa Katonda; - Y’ajja okukununula. - Noonyanga - obutuukirivu bwe. - Londawo obufuzi bwe. - Ajja kkozesa ’maanyi ge - Akununule. 
- 2. ’Bantu babuulirwa - ’Mawulire ’malungi. - Kaakano okusalawo - Kusigadde gye bali. - Ebizibu bingi, - Naye tuleme kutya. - Yakuwa atulumirirwa; - Ajja kutwanukula. - (CHORUS) - Noonya Yakuwa Katonda; - Y’ajja okukununula. - Noonyanga - obutuukirivu bwe. - Londawo obufuzi bwe. - Ajja kkozesa ’maanyi ge - Akununule. 
(Laba ne 1 Sam. 2:9; Zab. 2:2, 3, 9; Nge. 2:8; Mat. 6:33.)