OLUYIMBA 125
“Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”
Printed Edition
1. Katonda waffe wa kisa;
’Kisa kye kingi nnyo ddala.
Abakola eby’ekisa
Abafaako; abaagala.
Aboonoonyi bwe beenenya
’Ssaala zaabwe ziwulirwa.
Asaasira abanafu;
Amanyi nti tuli nfuufu.
2. Bwe tumenya ’mateeka ge,
Tusaba atusonyiwe.
Naye nga tetunnasaba,
Tulina okujjukira
Nti tulina okuba nga
Twasonyiye abalala.
Bwe tuba tukoze tutyo,
Emirembe tuba nagyo.
3. Bwe tubaako bye tugaba,
’Kisa kye tuba tulaga.
Tetwefuuyira kkondeere
Lw’ebyo bye tuba tugabye.
Byonna Yakuwa ’biraba;
Y’ajja okutusasula.
Ba ssanyu nnyo ab’ekisa;
Basiimibwa nnyo Katonda.
(Laba ne Mat. 6:2-4, 12-14.)