LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 10/1/07 lup. 4-8
  • ‘Kitammwe Musaasizi’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Kitammwe Musaasizi’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obusaasizi eri Abo Abali mu Bwetaavu
  • Obusaasizi eri Aboonoonyi
  • Katonda Omusaasizi era ow’Obwenkanya
  • Lwaki Tusaanidde Okuba Abasaasizi?
  • “Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala”
  • Tuweereza Katonda “ow’Okusaasira Okungi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Oyinza Otya Okulaganga Obusaasizi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Ba Ssanyu ab’Ekisa!
    Muyimbire Yakuwa
  • “Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 10/1/07 lup. 4-8

‘Kitammwe Musaasizi’

“Mweyongere okuba abasaasizi nga Kitammwe bw’ali omusaasizi.”​—LUKKA 6:36, NW.

1, 2. Ebigambo Yesu bye yagamba abawandiisi, Abafalisaayo n’abagoberezi be biraga bitya nti obusaasizi kintu kikulu nnyo?

AMATEEKA Katonda ge yawa Musa gonna awamu gaali nga 600. Wadde ng’Abaisiraeri baalina okukwata Amateeka gano, kyali kibeetaagisa okulaga obusaasizi. Lowooza ku ekyo Yesu kye yagamba Abafalisaayo abataalina busaasizi. Emirundi ebiri yabavumirira nga bw’abajjukiza Katonda kye yagamba nti: “Njagala kisa [“busaasizi,” NW] so si ssaddaaka.” (Matayo 9:10-13, 12:1-7; Koseya 6:6) Ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obuweereza bwe, Yesu yagamba nti: “Ziribasanga mmwe, abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky’ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby’amateeka, obutalyanga nsonga, n’ekisa [“obusaasizi,” NW], n’okukkirizanga.”​—Matayo 23:23.

2 Kyeyoleka bulungi nti okuba omusaasizi Yesu yali akitwala nga kintu kikulu nnyo. Yagamba abagoberezi be nti: “Mweyongere okuba abasaasizi nga Kitammwe ow’omu ggulu bwali omusaasizi.” (Lukka 6:36, NW) Kyokka, okusobola ‘okugobereranga Katonda’ mu nsonga eno, twetaaga okumanya obulungi kye kitegeeza okulaga obusaasizi. (Abaefeso 5:1) Ate era okutegeera emiganyulo egiri mu kuba omusaasizi kijja kutuyamba okwoleka ennyo engeri eno mu bulamu bwaffe.

Obusaasizi eri Abo Abali mu Bwetaavu

3. Lwaki Yakuwa gwe tusaanidde okuyigirako obusaasizi obwa nnamaddala?

3 Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi. Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.” (Zabbuli 145:8, 9) Yakuwa ye “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okusanyusa kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3) Omuntu omusaasizi ayisa abalala mu ngeri ey’ekisa. Eno y’emu ku ngeri za Katonda enkulu. Atuteereddewo ekyokulabirako n’obulagirizi ebituyamba okutegeera obusaasizi obwa nnamaddala.

4. Ebiri mu Isaaya 49:15 bituyigiriza ki ku busaasizi?

4 Mu Isaaya 49:15, Yakuwa agamba: “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye?” Ekireetera Yakuwa okulaga obusaasizi kye kireetera omukazi okukwatirwa omwana we ayonka ekisa. Omwana ayinza okuba ng’enjala emuluma oba ng’alina ekirala kye yeetaaga. Olw’okuba maama ono akwatirwa omwana we ekisa, kimuleetera okumukolera ky’aba yeetaaga. Yakuwa naye bw’atyo bw’awulira eri abo b’alaga obusaasizi.

5. Yakuwa yalaga atya Abaisiraeri nti “mugagga mu busaasizi”?

5 Okukwatirwa omuntu ekisa kya njawulo ku kubaako ky’omukolera ng’ali mu bwetaavu. Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yakola ng’abantu be bali mu buddu e Misiri emyaka nga 3,500 egiyise. Yagamba Musa nti: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw’abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; era nzise okubawonya mu mukono ogw’Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki.” (Okuva 3:7, 8) Nga wayise emyaka nga 500 bukya Abaisiraeri banunulibwa okuva e Misiri, Yakuwa yabajjukiza nti: “N[n]aggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw’Abamisiri ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga.” (1 Samwiri 10:18) Emirundi mingi Abaisiraeri baabeeranga mu mbeera enzibu olw’okuva ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Naye, Yakuwa yabakwatirwanga ekisa era yabanunula enfunda n’enfunda. (Ekyabalamuzi 2:11-16; 2 Ebyomumirembe 36:15) Kino kiraga engeri Katonda ow’okwagala gy’adduukiriramu abo ababa bali mu bwetaavu, mu kabi, oba mu bizibu. Yakuwa “mugagga mu busaasizi.”​—Abaefeso 2:4, NW.

6. Yesu yayoleka atya obusaasizi ng’obwa Kitaawe?

6 Bwe yali ku nsi, Yesu Kristo yayoleka obusaasizi ng’obwa Kitaawe. Yesu yakola ki ng’abasajja babiri abazibe b’amaaso bamulaajanidde nti: “Mukama waffe, tusaasire, omwana wa Dawudi”? Baali beegayirira Yesu abazibule amaaso. Yesu yabakolera kye baamusaba, naye teyamala gakikola atyo. Baibuli egamba nti “Yesu n’akwatibwa ekisa, n’akoma ku maaso gaabwe: amangu ago ne balaba.” (Matayo 20:30-34) Yesu yakola ebyamagero bingi ng’ayamba bamuzibe, abaliko dayimooni, abagenge, n’abazadde abaalina abaana abalwadde olw’okuba yabakwatirwa ekisa.​—Matayo 9:27; 15:22; 17:15; Makko 5:18, 19; Lukka 17:12, 13.

7. Ebyokulabirako bya Yakuwa Katonda n’Omwana we bituyigiriza ki ku busaasizi?

7 Ebyokulabirako Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bye baatekawo biraga nti obusaasizi bwetaagisa ebintu bibiri​—okukwatirwa omuntu ekisa era n’okubaako ky’okola okumuyamba. Okulaga obusaasizi kyetaagisa ebintu ebyo byombi. Obusaasizi obusinga okwogerwako mu Byawandiikibwa bukwata ku kuyamba abo abali mu bwetaavu. Naye ate, obusaasizi buyinza butya okulagibwa ng’omuntu akoze ekibi? Okubulaga kitwaliramu n’ekyo abamu kye bayinza okulaba ng’okuttira omuntu ku liiso, gamba ng’obutabonereza oyo aba akoze ekikyamu?

Obusaasizi eri Aboonoonyi

8, 9. Dawudi yalagibwa atya obusaasizi ng’ayenze ne Basuseba?

8 Lowooza ku ekyo ekyaliwo oluvannyuma lwa nnabbi Nasani okunenya Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda olw’okwenda ne Basuseba. Dawudi yeenenya era n’asaba nti: “Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; mu bungi obw’okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna. Onnaalize ddala mu bubi bwange, onnongoose mu kwonoona kwange. Kubanga njatula ebyonoono byange; n’ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo. Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go.”​—Zabbuli 51:1-4.

9 Dawudi yawulira bubi nnyo era ne yeenenya. Yakuwa yamusonyiwa ekibi kye era n’amulaga obusaasizi bwe yali amubonereza ne Basuseba. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, Dawudi ne Basuseba baali bateekwa kuttibwa. (Ekyamateeka 22:22) Wadde nga tebattibwa, baafuna ebizibu bingi olw’obwonoonyi bwabwe. (2 Samwiri 12:13) Obusaasizi bwa Katonda butwaliramu okusonyiwa ebibi. Kyokka, kino tekitegeeza nti tabonereza muntu nga bwe kiba kisaanira.

10. Wadde nga Yakuwa alaga obusaasizi ng’alamula, lwaki tetulina kukola bibi nga tulowooza nti tajja kutubonereza?

10 ‘Olw’okuba ekibi kyayingira mu nsi ku lw’omuntu omu,’ Adamu, era ‘ng’empeera y’ekibi kwe kufa,’ abantu bonna basaanidde okufa. (Abaruumi 5:12; 6:23) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa alaga obusaasizi ng’atulamula! Kyokka, tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba Katonda musaasizi tajja kutubonereza nga tukoze ekibi. Ekyamateeka 32:4, NW, wagamba nti: ‘Amakubo ga Yakuwa gonna ga bwenkanya.’ Katonda bw’asalawo okulaga obusaasizi, tekitegeeza nti omutindo gwe ogw’obwenkanya aba agubuusizza maaso.

11. Yakuwa yalaga atya obwenkanya mu ngeri gye yakwatamu Dawudi ng’ayenze ne Basuseba?

11 Dawudi ne Basuseba baalina okusooka okusonyiyibwa ekibi kyabwe ng’ekibonerezo ky’okuttibwa tekinnakendeezebwako. Abalamuzi Abaisiraeri baali tebalina buyinza kusonyiwa bibi. Singa be baali balamudde omusango ogwo, tebandibadde na kirala kyonna kya kukola okuggyako okubasalira ogw’okufa. Amateeka bwe gatyo bwe gaali gagamba. Kyokka olw’endagaano gye yali akoze ne Dawudi, Yakuwa yayagala okulaba obanga waliwo ensonga kw’ayinza okusinziira okusonyiwa ekibi kya Dawudi. (2 Samwiri 7:12-16) N’olwekyo, Yakuwa Katonda, “Omulamuzi w’ensi zonna,” oyo ‘akema omutima,’ yasalawo ye kennyini ensonga azeekwatiremu. (Olubereberye 18:25; 1 Ebyomumirembe 29:17) Katonda yali asobola okulaba ekiri mu mutima gwa Dawudi, n’asalawo obanga yali yeenenyezza mu bwesimbu, era n’amusonyiwa.

12. Abantu aboonoonyi bayinza batya okuganyulwa mu busaasizi bwa Katonda?

12 Obusaasizi bwa Yakuwa obutusobozesa okuggyibwako ekibonerezo ky’ekibi kye twasikira butuukana n’obwenkanya bwe. Okutusobozesa okusonyiyibwa ekibi ekyo nga tassizza mutindo gwe ogw’obwenkanya, Yakuwa yateekawo ekinunulo ky’Omwana we, Yesu Kristo​—ekikolwa ekisingayo okuba eky’obusaasizi. (Matayo 20:28; Abaruumi 6:22, 23) Bwe tuba ab’okuganyulwa mu busaasizi bwa Katonda buno ne tuggibwako ekibonerezo eky’okufa olw’ekibi kye twasikira, tuteekwa ‘okukkiririza mu Mwana we.’​—Yokaana 3:16, 36.

Katonda Omusaasizi era ow’Obwenkanya

13, 14. Obusaasizi bwa Katonda bwe bujjuuliriza obwenkanya bwe? Nnyonnyola.

13 Wadde ng’obusaasizi bwa Yakuwa tebumuleetera kussa mutindo gwe ogw’obwenkanya, bulina engeri yonna gye bukyusa mu ngeri gy’asalamu emisango? Obusaasizi bwa Katonda bumulemesa okwoleka obwenkanya mu bujjuvu ng’asala emisango? Nedda si bwe kiri.

14 Ng’ayitira mu nnabbi Koseya, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango [“bwenkanya,” NW] ne mu kisa ne mu kusaasira.” (Koseya 2:19) Ebigambo bino bikyoleka bulungi nti Yakuwa okulaga obusaasizi bulijjo kituukana bulungi n’engeri ze endala nga mw’otwalidde obwenkanya. Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, . . . asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi: era atalimuggyako omusango n’akatono oyo aligubaako.” (Okuva 34:6, 7) Yakuwa ye Katonda omusaasizi era ow’obwenkanya. Ng’emwogerako, Baibuli egamba nti: “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna musango [“bwenkanya,” NW].” (Ekyamateeka 32:4) Nga bwe kiri nti obwenkanya bwa Katonda bwatuukirira, n’obusaasizi bwe bwe butyo. Ku ngeri zino zombi tekuli esinga wadde okujjuuliriza ginnaayo. Wabula zombi zikwatagana bulungi mu ngeri etuukiridde.

15, 16. (a) Lwaki eky’okuba nti Yakuwa mwenkanya tekitegeeza nti talina kisa? (b) Yakuwa bw’anaaba azikiriza ensi eno embi, abaweereza be ab’amazima bajja kuba bakakafu ku ki?

15 Eky’okuba nti Yakuwa mwenkanya tekitegeeza nti talina kisa. Emirundi egisinga obwenkanya bukwata ku kusala misango, era bulijjo omuntu bw’aba azzizza omusango kiba kyetaagisa okumubonereza. Kyokka, obwenkanya bwa Katonda era buzingiramu okulokola abo be kiba kigwanira. Ng’ekyokulabirako, abantu ababi abaali mu bibuga by’e Sodoma ne Ggomola bwe baazikirizibwa, Lutti ne bawala be ababiri baalokolebwa.​—Olubereberye 19:12-26.

16 Tuli bakakafu nti Yakuwa bw’anaaba azikiriza ensi eno embi, ‘ekibiina ekinene’ eky’abasinza ab’amazima, ‘aboozezza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga’ bajja kuwonyezebwawo. Bwe kityo, bajja ‘kuyita mu kibonyoobonyo ekinene.’​—Okubikkulirwa 7:9-14.

Lwaki Tusaanidde Okuba Abasaasizi?

17. Ensonga enkulu lwaki twandiraze obusaasizi y’eruwa?

17 Mazima ddala ebyokulabirako Yakuwa ne Yesu bye bataddewo bituyamba okutegeera obusaasizi obwa nnamaddala. Nga walaga ensonga enkulu lwaki twandiraze obusaasizi, Engero 19:17 wagamba nti: “Asaasira omwavu awola Mukama, era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.” Yakuwa asanyuka nnyo okulaba nga tumukoppa awamu n’Omwana we nga tulaga obusaasizi mu nkolagana yaffe n’abalala. (1 Abakkolinso 11:1) Era bwe tulaga abalala obusaasizi nabo bajja kutulaga obusaasizi.​—Lukka 6:38.

18. Lwaki tusaanidde okunyiikira okulaga obusaasizi?

18 Obusaasizi butwaliramu engeri ennungi nnyingi. Butwaliramu okwagala, ekisa, n’obulungi. Okulaga obusaasizi kiva ku kulumirirwa balala oba okubakwatirwa ekisa. Wadde nga Yakuwa asobola okulaga obusaasizi nga tassizza mutindo gwe ogw’obwenkanya, alwawo okusunguwala era agumiikiriza aboonoonyi ng’abawa ekiseera ekimala okwekenneenya. (2 Peetero 3:9, 10) Bwe kityo, obusaasizi butwaliramu okubeera omugumiikiriza. Olw’okuba obusaasizi buzingiramu engeri endala ennungi nnyingi​—omuli n’ebimu ku bibala by’omwoyo gwa Katonda​—omuntu bw’abulaga kimuyamba okukulaakulanya engeri ezo zonna. (Abaggalatiya 5:22, 23) Nga kikulu nnyo okunyiikira okulaga abalala obusaasizi!

“Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala”

19, 20. Obusaasizi bujaguliza butya ku musango?

19 Omuyigirizwa Yakobo atubuulira lwaki bulijjo twandifubye okulaga abalala obusaasizi. Yawandiika: “Okusaasira kujaguliza ku musango.” (Yakobo 2:13b) Wano Yakobo yali ayogera ku busaasizi abaweereza ba Yakuwa bwe balaga abalala. Obusaasizi bujaguliza ku musango mu ngeri nti ekiseera ky’omuntu ‘okubalirira omuwendo gwe yekka eri Katonda’ bwe kituuka, Yakuwa ajjukira obusaasizi omuntu oyo bwe yalaganga era n’amusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka y’Omwana We. (Abaruumi 14:12) Tewali kubuusabuusa nti emu ku nsonga lwaki Dawudi yalagibwa obusaasizi ng’ayenze ne Basuseba yali nti naye kennyini yali musajja musaasizi. (1 Samwiri 24:4-7) Ku luuyi olulala, “omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira.” (Yakobo 2:13a) Tekyewuunyisa nti “abatalina kusaasira” be bamu ku abo ‘abasaanidde okufa’!​—Abaruumi 1:31, 32.

20 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba: “Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga balisaasirwa.” (Matayo 5:7, NW) Ng’ebigambo ebyo bikiggumiza bulungi nti bwe tuba twagala Katonda atulage obusaasizi naffe tusaanidde okubulaga! Ekitundu ekinaddako kijja kwogera ku ngeri gye tusobola okulaga obusaasizi mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.

Oyize ki?

• Obusaasizi kye ki?

• Obusaasizi bulagibwa butya?

• Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali Katonda omusaasizi era ow’obwenkanya?

• Lwaki tusaanidde okuba abasaasizi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Ekisa Yakuwa ky’akwatirwa abo abali mu bwetaavu kiringa ekyo omukazi ky’akwatirwa omwana we ayonka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Ebyamagero bya Yesu bituyigiriza ki ku busaasizi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Yakuwa yassa omutindo gwe ogw’obwenkanya bwe yalaga Dawudi obusaasizi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Obusaasizi bwa Katonda eri aboonoonyi butuukana bulungi n’obwenkanya bwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share