Oyinza Otya Okulaganga Obusaasizi?
“Tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.”—ABAGGALATIYA 6:10.
1, 2. Olugero lw’Omusamaliya omulungi lutuyigiriza ki ku busaasizi?
BWE YALI ayogera ne Yesu, omusajja omu eyali amanyi ennyo Amateeka yamubuuza nti: “Muliraanwa wange ye ani?” Yesu yamuddamu ng’akozesa olugero luno: “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko; n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulako katono okufa. Awo kabona yali ng’aserengetera mu kkubo eryo nga tamanyiridde; kale bwe yamulaba, n’amwebalama n’ayitawo. N’Omuleevi bw’atyo bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’amulaba, n’amwebalama n’ayitawo. Naye Omusamaliya bwe yali ng’atambula, n’ajja w’ali: awo bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, n’amusemberera, n’amusiba ebiwundu bye, ng’afukamu amafuta n’omwenge; n’amussa ku nsolo ye, n’amuleeta mu kisulo ky’abagenyi, n’amujjanjaba. Awo bwe bwakya enkya n’atoola eddinaali bbiri, n’aziwa nnannyini nnyumba n’amugamba nti Mujjanjabe; n’ekintu kyonna ky’oliwaayo okusukkawo, bwe ndikomawo ndikusasula.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’amubuuza nti: “Kale olowooza otya, aluwa ku abo abasatu, eyali muliraanwa w’oyo eyagwa mu batemu?” Omusajja n’addamu nti: “Oli eyamukolera eby’ekisa.”—Lukka 10:25, 29-37a.
2 Ng’engeri Omusamaliya oyo gye yayambamu omusajja gwe baali bakubye eraga bulungi nnyo obusaasizi obwa nnamaddala! Okulumirirwa, oba okukwatirwa omusajja ono eyali obubi ekisa, kyaleetera Omusamaliya okubaako ky’akola okumuyamba. N’ekirala, Omusamaliya ono yali talina ky’amanyi ku musajja oyo. Bwe kityo, okulaga obusaasizi tekiriiko ggwanga, ddiini, oba buwangwa. Bwe yamala okuwa ekyokulabirako ky’Omusamaliya omulungi, Yesu yagamba omusajja eyali amubuuzizza nti: “Naawe genda okole bw’otyo.” (Lukka 10:37b) Tusobola okukolera ku kubuulirira okwo ne tufubanga okulaga abalala obusaasizi. Naye tuyinza kukikola tutya? Tuyinza tutya okulaganga abalala obusaasizi mu bulamu bwaffe obwa bulijjo?
‘Bwe Wabaawo ow’Oluganda ng’Ali Bwereere’
3, 4. Lwaki twandifubye okulaga obusaasizi naddala mu kibiina Ekikristaayo?
3 Omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) N’olwekyo, ka tusooke tulabe engeri gye tuyinza okweyongera okulaga obusaasizi eri bakkiriza bannaffe.
4 Ng’akubiriza Abakristaayo ab’amazima okulaga bakkiriza bannaabwe obusaasizi, omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Oyo atali musaasizi ajja kusalirwa omusango awatali kusaasirwa.” (Yakobo 2:13, NW) Yakobo atubuulira engeri ezimu mwe tuyinza okulagira abalala obusaasizi. Gamba nga mu Yakobo 1:27 wagamba nti: “Eddiini ennongoofu eteriimu kko mu maaso ga Katonda Kitaffe ye eno, okulambulanga abafuuzi ne bannamwandu mu bunaku bwabwe, n’okwekuumanga obutaba na mabala ag’omu nsi.” Yakobo 2:15, 16 wagamba: “Bwe wabaawo ow’oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng’emmere eya buli lunaku tebamala, era omu ku mmwe bw’abagamba nti Mugende n’emirembe mubugume, mukkute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?”
5, 6. Tuyinza tutya okweyongera okukola ebikolwa eby’obusaasizi mu kibiina gye tukuŋŋaanira?
5 Okufaayo ku balala n’okuyamba abo abali mu bwetaavu ke kamu ku bubonero obwawulawo eddiini ey’amazima. Okusinziira ku nzikiriza yaffe, tekiba kirungi kusaasira busaasizi balala n’okubaagaliza obulungi naye nga tewali kye tukozeewo kubayamba. Mu kifo ky’ekyo, ekisa kituleetera okuyamba abo abali mu bwetaavu obw’amaanyi. (1 Yokaana 3:17, 18) Yee, okutegekerayo omulwadde eky’okulya, okukolerako abakaddiye emirimu gy’awaka, okuwa abalala entambula ebatwala mu nkuŋŋaana, n’obutaba bakodo eri abo abali mu bwetaavu bye bimu ku bikolwa ebingi eby’obusaasizi bye tusaanidde okukola.—Ekyamateeka 15:7-10.
6 Ekikulu okusinga n’okuyamba bakkiriza bannaffe mu by’omubiri mu kibiina Ekikristaayo ekyeyongera obunene enkya n’eggulo, kwe kubayamba mu by’omwoyo. Tukubirizibwa ‘okugumyanga abalina omwoyo omunafu, n’okuyambanga abatalina maanyi.’ (1 Abasessaloniika 5:14) “Abakazi abakadde” bakubirizibwa ‘okuyigiriza ebirungi.’ (Tito 2:3) Ng’eyogera ku balabirizi Abakristaayo, Baibuli egamba nti: “[Buli omu] aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga.”—Isaaya 32:2.
7. Tuyigira ki ku bayigirizwa b’omu Antiyokiya ekya Busuuli mu kulaga obusaasizi?
7 Ng’oggyeko okulabirira bannamwandu, enfuuzi, n’abo abeetaaga obuyambi n’okubazzaamu amaanyi, ebibiina eby’omu kyasa ekyasooka byakolanga enteekateeka okuyamba bakkiriza bannaabwe mu bitundu ebirala. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Agabo bwe yalagula nti waali ‘wanaatera okubaawo enjala ey’amaanyi mu nsi yonna,’ abayigirizwa ab’omu Antiyokiya ekya Busuuli “ne baateesa buli omu ku bo, okusinziira ku busobozi bwe, aweeyo obuyambi eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya.” Obuyambi baabuweereza eri abakadde baayo ‘nga babuyisa mu Balunabba ne Sawulo.’ (Ebikolwa 11:28-30, NW) Ate kiri kitya leero? ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ yateekawo abukiiko obukola ku kudduukirira ab’oluganda ababa bakoseddwa obutyabaga nga kibuyaga, musisi, oba ssunami. (Matayo 24:45) Bwe tuwagira enteekateeka eno kyeyagalire nga tuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu ebikalu, tuba tulaga obusaasizi.
“Bwe Munaasosolanga mu Bantu”
8. Obusosoze butulemesa butya okulaga obusaasizi?
8 Ng’alabula ku kimu ku bitulemesa okulaga obusaasizi n’okutuukiriza ‘etteeka eriringa kabaka w’amateeka,’ etteeka ery’okwagala, Yakobo yagamba nti: “Bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng’aboonoonyi.” (Yakobo 2:8, 9) Okukolera omuntu ekisa olw’okuba mugagga oba wa waggulu kitulemesa okulaba obwetaavu ‘bw’omwavu ng’akaaba.’ (Engero 21:13) Okusosola kuleetera omuntu obutalaga mwoyo gwa busaasizi. N’olwekyo, okwewala okusosola kituyamba okuba abasaasizi.
9. Lwaki tekiba kikyamu okuwa ekitiibwa eky’ensusso abo be kigwanira?
9 Obutasosola kitegeeza nti tetulina kubaako muntu yenna gwe tukolera kisa kya nsusso? Si bwe kiri. Ng’ayogera ku muweereza munne Epafuloddito, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo b’omu Firipi nti: “Abafaanana ng’oyo mubassengamu ekitiibwa.” Lwaki? “Kubanga yabulako katono afe olw’omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.” (Abafiripi 2:25, 29, 30) Olw’okuba yali muweereza mwesigwa nnyo, Epafuloddito yali agwanidde okuweebwa ekitiibwa eky’ensusso. Ne mu 1 Timoseewo 5:17, wagamba nti: “Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, [naddala abo] abafuba mu kigambo n’okuyigiriza.” Omuntu ayoleka ennyo ebibala by’omwoyo mu kibiina agwana okuweebwa ekitiibwa eky’ensusso. Okukola ekyo tekuba kusosola.
‘Amagezi Agava Waggulu Gajjudde Obusaasizi’
10. Lwaki tusaanidde okufuga olulimi lwaffe?
10 Ng’ayogera ku lulimi, Yakobo yagamba nti: “Bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta. Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakole[b]wa mu kifaananyi kya Katonda: mu kamwa akamu mwe muva okutendereza n’okukolima.” Ku nsonga eno Yakobo yayongera n’agamba nti: “Bwe muba n’obuggya obukambwe n’okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima. Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. Kubanga awaba obuggya n’okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.”—Yakobo 3:8-10a, 14-17.
11. Tuyinza tutya okulaga obusaasizi mu ngeri gye tukozesaamu olulimi lwaffe?
11 N’olwekyo, engeri gye tukozesaamu olulimi y’eraga obanga ddala tulina amagezi “agajjudde okusaasira.” Watya singa okuyomba oba obuggya butuleetera okwewaana, okulimba, oba okusaasaanya eŋŋambo? Mu Zabbuli 94:4 wagamba nti: “Abakozi b’obubi bonna beenyumiriza.” Ng’ebigambo ebibi byonoona mangu nnyo erinnya ly’omuntu atalina ky’akoze! (Zabbuli 64:2-4) Ate era, lowooza ku kabi akayinza okubaawo singa “omujulirwa ow’obulimba ayogera eby’okuwaayiriza.” (Engero 14:5; 1 Bassekabaka 21:7-13) Bw’amala okwogera ku kukozesa obubi olulimi, Yakobo agamba nti: “Baganda bange, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo.” (Yakobo 3:10b) Obusaasizi obwa nnamaddala butwetaagisa okukozesa olulimi mu ngeri ennungi, ey’eddembe era eraga okutegeera bwe tuba twogera n’abalala. Yesu yagamba: “Mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw’omusango.” (Matayo 12:36) Nga kikulu nnyo okulaga obusaasizi mu ngeri gye tukozesa olulimi lwaffe!
‘Musonyiwe Abantu Ebyonoono Byabwe’
12, 13. (a) Kiki kye tuyiga mu lugero lw’omuddu mukama we gwe yali abanja ssente ennyingi? (b) Kitegeeza ki okusonyiwa ow’oluganda ‘emirundi nsanvu mu musanvu’?
12 Olugero lwa Yesu olw’omuddu mukama we gwe yali abanja eddinaali 60,000,000 lulaga engeri endala gye tusobola okulagamu obusaasizi. Olw’okuba yali tasobola kusasula bbanja eryo, omuddu yasaba mukama we amusaasire. Mukama w’omuddu oyo ‘yamusaasira’ era n’amusonyiwa ebbanja eryo. Naye ate omuddu oyo bwe yava awo n’asanga muddu munne gwe yali abanja ddinaali ekikumi kyokka n’amusibisa mu kkomera awatali kumusaasira n’akatono. Mukama waabwe bwe yawulira ebyo, n’ayita omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti: “Ggwe omuddu omubi, n[n]akusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira: naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?” Olwamala okwogera ebyo n’alagira asibibwe mu kkomera. Yesu yafundikira olugero lwe ng’agamba nti: “Bw’atyo Kitange ali mu ggulu bw’alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.”—Matayo 18:23-35.
13 Ng’olugero olwo lukiggumiza bulungi nti okuba omusaasizi kitwaliramu okuba omwetegefu okusonyiwa! Yakuwa atusonyiye ebibi bingi nnyo. Naffe tetusaanidde ‘kusonyiwa bantu ebyonoono byabwe’? (Matayo 6:14, 15) Yesu nga tannagera lugero lwa muddu atasaasira, Peetero yamubuuza nti: “Mukama wange, muganda wange bw’annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? okutuusa emirundi musanvu?” Yesu yamuddamu nti: “Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi [nsanvu mu musanvu].” (Matayo 18:21, 22) Yee, omuntu ow’ekisa aba mwetegefu okusonyiwa “emirundi nsanvu mu musanvu,” kwe kugamba, okusonyiwa tekuliiko kkomo.
14. Okusinziira ku Matayo 7:1-4, tuyinza tutya okulaga abalala obusaasizi buli lunaku?
14 Ng’alaga engeri endala ey’okulaga obusaasizi, Yesu yagamba mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi nti: “Temusalanga musango, muleme okusalirwa. Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe . . . Ekikutunuuliza ki akantu akali mu liiso lya muganda wo, naye n’otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe?” (Matayo 7:1-4) N’olwekyo, tusobola okulaga abalala obusaasizi buli lunaku nga tugumiikiriza ensobi zaabwe awatali kwemulugunya oba kubakolokota.
‘Bonna Tubakolenga Bulungi’
15. Lwaki obusaasizi tetulina kubulaga bakkiriza bannaffe bokka?
15 Wadde ng’ekitabo kya Yakobo kiraga nti kikulu nnyo okulaga obusaasizi eri bakkiriza bannaffe, tekitegeeza nti obusaasizi bulina kukoma mu kibiina Ekikristaayo mwokka. Zabbuli 145:9 wagamba nti: “Mukama mulungi eri bonna; n’okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.” Tukubirizibwa ‘okugobereranga Katonda’ era ‘n’okukolanga bonna obulungi.’ (Abaefeso 5:1; Abaggalatiya 6:10) Kituufu nti tetulina kwagala “nsi newakubadde ebiri mu nsi,” naye tufaayo ku bwetaavu bw’abantu mu nsi.—1 Yokaana 2:15.
16. Biki bye tulina okulowoozaako nga tulaga obusaasizi?
16 Ng’Abakristaayo, tetulonzalonza kuyamba abo ababa bakoseddwa ‘ebigwawo obugwi’ oba ababa bali mu bizibu eby’amaanyi. (Omubuulizi 9:11) Awatali kubuusabuusa, tujja kubayamba okusinziira ku busobozi bwaffe. (Engero 3:27) Naye tulina okwegendereza okulaba nti obuyambi bwe tubawa tebubaleetera kufuuka bagayaavu. (Engero 20:1, 4; 2 Abasessaloniika 3:10-12) N’olwekyo, okulaga obusaasizi mu ngeri entuufu kizingiramu okulumirirwa omuntu n’okukozesa amagezi nga tumuyamba.
17. Ngeri ki esingayo obulungi ey’okulagamu obusaasizi eri abo abatali mu kibiina Ekikristaayo?
17 Engeri esingayo obulungi ey’okulagamu obusaasizi eri abo abatali ba mu kibiina Kikristaayo kwe kubayigiriza amazima ga Baibuli. Lwaki? Kubanga abantu abasinga obungi leero batambulira mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Olw’okuba tebamanyi bwe bayinza kuvvuunuka bizibu bye balina era tebalina ssuubi lya biseera bya mu maaso, abantu abasinga ‘bakooye era basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.’ (Matayo 9:36) Ekigambo kya Katonda kisobola okubeera ‘ettabaaza eri ebigere byabwe,’ nga kibayamba okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo mu bulamu. Era kisobola okuba ‘omusana eri ekkubo lyabwe’ kubanga Baibuli ebalaga Katonda byagenda okukola, kino ne kibayamba okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. (Zabbuli 119:105) Nga nkizo ya maanyi okutuusa obubaka buno obw’amazima ku abo ababwagala! Okuva bwe kiri nti “ekibonyoobonyo ekinene” kinaatera okutuuka, kino kye kiseera okubeera abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. (Matayo 24:3-8, 21, 22, 36-41; 28:19, 20) Teriiyo kikolwa kya busaasizi kisinga ekyo.
Muweeyo “Ebiri Munda”
18, 19. Lwaki bulijjo tusaanidde okunyiikira ennyo okulaga obusaasizi?
18 Yesu yagamba nti: “Ebiri munda mubiwengayo okuba [eby’obusaasizi].” (Lukka 11:41) Ekikolwa kyonna okuba eky’obusaasizi, kirina kutuva munda—nga tukikola n’omutima ogwa kyeyagalire era ogw’okwagala. (2 Abakkolinso 9:7) Mu nsi ejjudde ettima, okwerowoozaako n’obutafa ku balala nga babonaabona, okulaga obusaasizi mu ngeri eyo ddala kiba kizzaamu amaanyi!
19 N’olwekyo, ka bulijjo tunyiikire okulaga abalala obusaasizi. Gye tukoma okulaga obusaasizi gye tukoma okuba nga Katonda. Kino kituyamba okuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza.—Matayo 5:7.
Oyize Ki?
• Lwaki kikulu okulaga obusaasizi naddala eri bakkiriza bannaffe?
• Tuyinza tutya okulaga obusaasizi mu kibiina Ekikristaayo?
• Tuyinza tutya okulaga obusaasizi eri abo abatali ba mu kibiina?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Omusamaliya yalaga obusaasizi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Abakristaayo bakolera abalala ebikolwa eby’obusaasizi bingi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Engeri esinga obulungi ey’okulaga obusaasizi eri abo abatali ba mu kibiina kwe kubayigiriza amazima