“Mwake n’Omwoyo”
1. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira tusaanidde kugukola tutya?
1 Kitwetaagisa okuba abanyiikivu nga tutuukiriza obuweereza bwaffe bwonna obw’Ekikristaayo era eno y’ensonga lwaki tukubirizibwa ‘okwaka n’omwoyo era n’okuweereza ng’abaddu ba Yakuwa.’ (Bar. 12:11) Kyokka, waliwo ebintu bingi ebiyinza okuddiriza obunyiikivu bwaffe mu buweereza. Tuyinza tutya ‘okuseesa ng’aseesa omuliro’ obunyiikivu bwaffe mu buweereza bw’Obwakabaka?—2 Tim. 1:6, 7.
2. Okubuulira n’obunyiikivu kirina kakwate ki n’okwesomesa Baibuli?
2 Okwesomesa Baibuli: Omubuulizi w’Obwakabaka omulungi y’oyo ayagala amateeka ga Katonda era asiima ennyo amazima agali mu mateeka ago. (Zab. 119:97) Bwe tuyiga amazima agali mu Baibuli nga twesomesa, kitukubiriza okweyongera okuba abanyiikivu. Okwagala kwe tulina eri oyo atuwa amazima ago n’olw’okuba twagala okubuulira abalala amawulire amalungi, kitukubiriza okutendereza Katonda era n’okwatula erinnya lye mu lujjudde. (Beb. 13:15) Mu butuufu, bwe tunyiikira okubuulira amawulire amalungi, kiba kyoleka nti tumanyi bulungi obukulu bwago.
3. Omwoyo gwa Katonda gusobola gutya okutuyamba mu buweereza bwaffe?
3 Saba Katonda Akuwe Omwoyo Gwe: Obuweereza bwaffe okusobola okuba obulungi, tekisinziira ku maanyi gaffe. Omwoyo omutukuvu gwe gutusobozesa okuba abanyiikivu. (1 Peet. 4:11) Okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’oyo Ensibuko ‘y’amaanyi amangi ennyo,’ kijja kutusobozesa okubuulira n’obuvumu. (Is. 40:26, 29-31) Omutume Pawulo bwe yayolekagana n’ebizibu mu buweereza bwe, ‘yafuna obuyambi okuva eri Katonda.’ (Bik. 26:21, 22) Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gusobola okutuyamba okwaka mu buweereza bwaffe, n’olwekyo tusaanidde okusaba Yakuwa agutuwe.—Luk. 11:9-13.
4. Birungi ki ebiyinza okuva mu bunyiikivu, naye ate biki ebirala bye tutalina kubuusa maaso?
4 Omuntu bw’aba omunyiikivu mu kubuulira obubaka bw’Obwakabaka, kikubiriza ne Bakristaayo banne okweyongera okuba abanyiikivu. (2 Kol. 9:2) Abantu bayinza okuwuliriza obubaka bwaffe singa tubabuulira n’ebbugumu era nga twekakasa. Wadde kiri kityo, okubuulira n’obunyiikivu kizingiramu okukozesa amagezi era n’okuba abakkakkamu. (Tit. 3:2) Tulina okussa ekitiibwa mu bantu be tubuulira ne mu ddembe lyabwe ery’okwesalirawo.
5. Kubuulirira ki okwaluŋŋamizibwa kwe tulina okufuba ennyo okugoberera?
5 Ng’abalangirizi b’Obwakabaka, ka bulijjo ‘twake n’omwoyo.’ Era ka tufube okwesomesa n’okunyiikirira okusaba Yakuwa, oyo asobola okutuwa amaanyi amangi ennyo ag’omwoyo omutukuvu era ekyo kijja kutusobozesa okuba abanyiikivu. Mu ngeri eyo, tujja kusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe nga tulina ‘omwoyo omutukuvu, era n’obukakafu obw’amaanyi.’—1 Bas. 1:5.