Sanyukira Obutuukirivu bwa Yakuwa
“Agoberera obutuukirivu n’okusaasira alaba obulamu n’obutuukirivu n’ekitiibwa.”—ENGERO 21:21.
1. Amakubo g’abantu agavuddemu akabi leero ge galuwa?
“WALIWO ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” (Engero 16:25) Ng’olugero luno olwa Baibuli lunnyonnyola bulungi nnyo amakubo g’abantu abasinga obungi leero! Okutwalira awamu, abantu baagala kukola ekyo bo kye balowooza nti kye kituufu, nga tebafuddeyo na ku byetaago by’abalala ebikulu. (Engero 21:2) Bagamba nti bassa ekitiibwa mu mateeka n’emitindo gy’ensi, kyokka babyebalama buli lwe bafuna omukisa. Ekyo kiviiriddeko abantu okweyawulayawula, okubuzaabuzibwa n’okusoberwa.—2 Timoseewo 3:1-5.
2. Kiki ekyetaagisa abantu okusobola okuganyulwa?
2 Ffe okusobola okuganyulwa era n’okusobozesa abantu bonna okufuna emirembe n’obutebenkevu, twetaaga amateeka oba emitindo egy’obwenkanya era egy’obutuukirivu, abantu bonna gye bandikkirizza era gye bandigondedde. Kya lwatu, tewali mateeka oba mitindo ebyateekebwawo abantu, ka babe bagezi oba beesimbu batya, ebiyinza okukkirizibwa oba okugonderwa abantu bonna. (Yeremiya 10:23; Abaruumi 3:10, 23) Singa emitindo ng’egyo gibaawo, giyinza kusangibwa wa era gyandibadde gifaanana gitya? Oboolyawo, ekibuuzo ekisinga obukulu kiri, emitindo ng’egyo bwe gibaawo, wandigisanyukidde era n’ogigoberera?
Okufuna Emitindo egy’Obutuukirivu
3. Ani alina ebisaanyizo eby’okututeerawo emitindo egikkirizibwa era egiganyula abantu bonna, era lwaki?
3 Okusobola okufuna emitindo egikkirizibwa era egiganyula buli omu, tulina okutunuulira omuntu atakugirwa langi, mpisa za kitundu oba bya bufuzi, era atalemesebwa bunafu bwa muntu oba obutamanya bya mu maaso. Awatali kubuusabuusa, alina ebisanyizo ebyo ye Mutonzi, omuyinza w’ebintu byonna, Yakuwa Katonda, agamba: “Eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.” (Isaaya 55:9) Okugatta ku ekyo, Baibuli eyogera ku Yakuwa nga “Katonda omwesigwa, ateeyisa mu ngeri etali ya bwenkanya; omutuukirivu era omugolokofu.” (Ekyamateeka 32:4, NW) Mu Baibuli, tusangamu ebigambo bino, ‘Yakuwa mutuukirivu.’ (Okuva 9:27; 2 Ebyomumirembe 12:6; Zabbuli 11:7; 129:4; Okukungubaga 1:18; Okubikkulirwa 19:2) Yee, twesiga Yakuwa okututeerawo emitindo egisingirayo ddala obulungi kubanga mwesigwa, mwenkanya era mutuukirivu.
4. Ekigambo “obutuukirivu” kizingiramu ki?
4 Kya lwatu, ekigambo “obutuukirivu” si kiganzi nnyo leero. Mu butuufu abantu bangi bakitunuulira bubi, nga bakikwataganya n’omuntu eyeetwala okuba owa waggulu oba munnaddiini. Kyokka, obutuukirivu obwogerwako mu Baibuli buzingiramu, obwenkanya, obugolokofu, empisa ennungi; obutabaako musango; obutaba na kibi; okugoberera emisingi egiri mu mateeka ga Katonda oba emitindo gy’empisa egikkirizibwa; okukola ekituufu oba eky’obwenkanya. Tewandisanyukidde mateeka oba mitindo ebizingiramu engeri ezo zonna ennungi?
5. Nnyonnyola obutuukirivu nga bwe bulagibwa mu Baibuli.
5 Ekitabo Encyclopaedia Judaica kyogera bwe kiti ku butuukirivu: “Obutuukirivu si kintu ekiteeberezebwa wabula kizingiramu okukola eky’obwenkanya era ekituufu mu nkolagana zaffe zonna.” Ng’ekyokulabirako, obutuukirivu bwa Katonda, si ngeri bugeri ey’omunda gy’alina, gamba ng’obutukuvu. Wabula, obutuukirivu bwe bwoleka engeri ze mu ngeri entuufu era ey’obwenkanya. Kiyinza okugambibwa nti olw’okuba Yakuwa mutukuvu, buli ky’akola kyonna n’ekimusibukako kituukirivu. Nga Baibuli bw’egamba: ‘Yakuwa mutuukirivu mu makubo ge gonna, era wa kisa mu mirimu gye gyonna.’—Zabbuli 145:17.
6. Kiki Pawulo kye yayogera ku Bayudaaya abamu abataali bakkiriza mu kiseera kye, era lwaki?
6 Omutume Pawulo yaggumiza ensonga eno mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo b’omu Rooma. Ng’ayogera ku Bayudaaya abamu abataali bakkiriza, yawandiika: ‘Olw’obutamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe kityo ne bagezaako okunoonya obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.’ (Abaruumi 10:3) Lwaki Pawulo yaboogerako nga ‘abataamanya butuukirivu bwa Katonda’? Baali tebayigiriziddwa Mateeka, kwe kugamba, emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu? Mazima ddala baali bayigiriziddwa. Kyokka, abasinga obungi tebaatunuulira butuukirivu ng’omutindo ogubawa obulagirizi mu ngeri y’okukolaganamu ne bantu bannaabwe, wabula baabutunuulira ng’engeri ennungi omuntu gy’aba nayo kinnoomu era eyinza okufunibwa ng’akutte butiribiri amateeka g’eddiini. Okufaananako abakulembeze b’eddiini mu kiseera kya Yesu, baategeera bubi amakulu g’obwenkanya n’obutuukirivu.—Matayo 23:23-28.
7. Obutuukirivu bwa Yakuwa bweyoleka butya?
7 Okwawukanira ddala ku ekyo, obutuukirivu bwa Yakuwa bweyoleka bulungi mu byonna by’akola. Wadde obutuukirivu bwe bumwetaagisa obutabuusa maaso bibi by’abo aboonoona mu bugenderevu, ekyo tekimufuula Katonda atafaayo, atwetaagisa ebingi, gwe tulina okutya era atatuukirikika. Wabula, ebikolwa bye eby’obutuukirivu bisobozesa abantu okumutuukirira era n’okununulibwa mu bizibu ebiva mu kibi. N’olwekyo, kituukirawo bulungi, Yakuwa okuyitibwa “Katonda omutuukirivu era Omulokozi.”—Isaaya 45:21.
Obutuukirivu n’Obulokozi
8, 9. Amateeka gaayoleka gatya obutuukirivu bwa Katonda?
8 Okusobola okutegeera akakwate akaliwo wakati w’obutuukirivu bwa Katonda n’ekikolwa kye eky’okwagala eky’obulokozi, lowooza ku Mateeka ge yawa eggwanga lya Isiraeri okuyitira mu Musa. Tewaliiwo kubuusabuusa kwonna nti Amateeka ago gaali matuukirivu. Mu bigambo bye ebyasembayo, Musa yajjukiza Abaisiraeri: “Ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n’emisango egy’ensonga ng’amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?” (Ekyamateeka 4:8) Oluvannyuma lw’ebyasa by’emyaka, Kabaka Dawudi owa Isiraeri yagamba: “Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala.”—Zabbuli 19:9.
9 Okuyitira mu Mateeka, Yakuwa yamanyisa bulungi emitindo gye egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Amateeka gaawa kalonda yenna akwata ku ngeri Abaisiraeri gye bandyeyisizzaamu, si mu nsonga za ddiini zokka, naye era ne mu by’obusuubuzi, eby’obufumbo, eby’endya wamu n’eby’obuyonjo era ne mu kusala emisango. Era Amateeka gaalimu ebibonerezo eby’amaanyi eri abo abaagamenya, nga mw’otwalidde n’ekibonerezo ky’okuttibwa mu mbeera ezimu.a Naye, ebyo Katonda bye yali abeetaaza okuyitira mu Mateeka, byali bikakali era migugu eri abantu, ne bibaggyako eddembe n’essanyu lyabwe, ng’abantu bangi bwe bagamba leero?
10. Abo abaali baagala Yakuwa baalina ndowooza ki ku mateeka ge?
10 Abo abaali baagala Yakuwa baafuna essanyu ppitirivu mu mateeka ge ag’obutuukirivu. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi teyakkiriza bukkiriza nti amateeka ga Yakuwa ga mazima era ga butuukirivu, naye era yagaagala era n’agasiima nnyo. Yawandiika bw’ati ku ‘mateeka ga Yakuwa n’emisango gye’: ‘Gasaanira okuyaayaanirwa okusinga ezaabu, era n’ezaabu ennyingi ennungi: gawoomerera okusinga omubisi gw’enjuki n’ebisenge byagwo. Era galabula omuddu wo: mu kugeekuuma mulimu empeera ennene.’—Zabbuli 19:7, 10, 11.
11. Amateeka gaali gatya ‘omutwazi atuusa ku Kristo’?
11 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Pawulo yayogera ku mugaso gw’amateeka ogusingawo n’obukulu. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaggalatiya, yagamba: “Amateeka [ga]ali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okukkiriza.” (Abaggalatiya 3:24) Mu kiseera kya Pawulo, omutwazi (omusomesa, Kingdom Interlinear) yali muweereza oba muddu mu maka amanene. Gwali mulimu gwe okulabirira abaana n’okubawerekera nga bagenda ku ssomero. Mu ngeri y’emu, Amateeka gaakuuma Abaisiraeri obutatwalirizibwa mpisa za bugwenyufu n’ebikolwa by’eddiini eby’amawanga ag’omuliraano. (Ekyamateeka 18:9-13; Abaggalatiya 3:23) Okugatta ku ekyo, Amateeka gaayamba Abaisiraeri okutegeera embeera yaabwe ey’ekibi era nti baali beetaaga okusonyiyibwa n’obulokozi. (Abaggalatiya 3:19) Enteekateeka z’okuwaayo ssaddaaka zaalaga nti waaliwo obwetaavu bw’ekinunulo era ne zisobozesa abantu okubaako kye basinziirako okutegeera Masiya ow’amazima. (Abaebbulaniya 10:1, 11, 12) N’olwekyo, wadde Yakuwa yayoleka obutuukirivu bwe okuyitira mu Mateeka, yakikola ng’afaayo ku ebyo ebiganyula abantu n’obulokozi bwabwe obw’olubeerera.
Abo Katonda Baatwala Okuba Abatuukirivu
12. Abaisiraeri bandiganyuddwa batya nga bagoberedde Amateeka?
12 Okuva Amateeka ga Yakuwa bwe gaali amatuukirivu mu buli ngeri, Abaisiraeri bandibadde batuukirivu mu maaso ga Katonda bwe bandigagondedde. Bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Eyasuubizibwa, Musa yajjukiza bw’ati Abaisiraeri: “Kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira.” (Ekyamateeka 6:25) Okugatta ku ekyo, Yakuwa yasuubiza: “Mwekuumenga amateeka gange n’emisango gyange; ebyo omuntu bw’anaabikolanga, anaabanga mulamu olw’ebyo: nze Mukama.”—Eby’Abaleevi 18:5; Abaruumi 10:5.
13. Yakuwa teyali mwenkanya okwetaaza abantu be okukwata Amateeka amatuukirivu? Nnyonnyola.
13 Eky’ennaku, ng’eggwanga, Abaisiraeri baalemererwa ‘okukwata ebiragiro bya Yakuwa,’ era bwe kityo ne bafiirwa emikisa egyasuubizibwa. Baalemererwa okukwata ebiragiro bya Katonda byonna kubanga Amateeka ga Katonda gaali matuukirivu ng’ate bo tebaali batuukirivu. Kino kitegeeza nti Katonda si mwenkanya oba si mutuukirivu? Kya lwatu nedda. Pawulo yawandiika: “Kale tunaayogera tutya? Katonda si mwenkanya? Ekyo tekiyinzika n’akamu!” (Abaruumi 9:14, NW) Ekituufu kiri nti, nga n’Amateeka tegannaweebwa bantu era n’oluvannyuma lw’okugabawa, Katonda yatwalanga abantu kinnoomu okubeera abatuukirivu wadde nga baali tebatuukiridde era nga boonoonyi. Olukalala lw’abantu ng’abo abaatya Katonda lulimu Nuuwa, Ibulayimu, Yobu, Lakabu, ne Danyeri. (Olubereberye 7:1; 15:6; Yobu 1:1; Ezeekyeri 14:14; Yakobo 2:25) Kati ekibuuzo kiri nti: Katonda yasinziira ku ki okutwala abantu bano okuba abatuukirivu?
14. Baibuli etegeeza ki bw’eyogera nti omuntu ‘mutuukirivu’?
14 Baibuli bw’egamba nti omuntu ‘mutuukirivu,’ eba tetegeeza butegeeza nti talina kibi oba nti atuukiridde. Wabula, kiba kitegeeza nti atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe mu maaso ga Katonda n’abantu. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yayitibwa ‘omusajja omutuukirivu,’ era ‘atalina kabi mu mirembe gye,’ kubanga ‘yakola byonna nga Katonda bwe yamulagira. Bw’atyo bwe yakola.’ (Olubereberye 6:9, 22; Malaki 3:18) Zekkaliya ne Erisabesi, bazadde ba Yokaana Omubatiza, “baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by’obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi.” (Lukka 1:6) Omusajja ataali Muisiraeri ayitibwa Koluneeriyo, eyali omukungu mu magye ga Italy, yayogerwako nga “omuntu omutuukirivu atya Katonda.”—Ebikolwa 10:22.
15. Obutuukirivu bulina kakwate na ki?
15 Ate era, obutuukirivu mu bantu, bulina akakwate n’ekiri mu mutima gw’omuntu, kwe kugamba, okuba n’okukkiriza, okusiima n’okwagala Yakuwa n’ebisuubizo bye—so si kukola bukozi ekyo Katonda ky’atwetaaza. Ebyawandiikibwa bigamba nti Ibulayimu ‘yakkiriza Yakuwa era Yakuwa n’amubala okuba omutuukirivu.’ (Olubereberye 15:6) Ibulayimu teyakkiriza bukkiriza nti Katonda gy’ali naye era yakkiriza n’ebisuubizo bye ebikwata ku ‘zzadde.’ (Olubereberye 3:15; 12:2; 15:5; 22:18) Okusinziira ku kukkiriza ng’okwo n’ebikolwa ebituukana nakwo, Yakuwa yali asobola okuba n’enkolagana ennungi ne Ibulayimu era n’okumuwa omukisa, awamu n’abalala abeesigwa wadde nga baali tebatuukiridde.—Zabbuli 36:10; Abaruumi 4:20-22.
16. Okukkiririza mu kinunulo kivuddemu ki?
16 Mu nkomerero, obutuukirivu mu bantu bwesigama ku kukkiririza mu kinunulo kya ssaddaaka ya Yesu Kristo. Pawulo yawandiika bw’ati ku Bakristaayo b’omu kyasa ekyasooka: “Baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw’okununulibwa okuli mu Kristo Yesu.” (Abaruumi 3:24) Awo Pawulo yali ayogera ku abo abaalondebwa okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Naye era, ekinunulo kya Yesu kyaggulirawo abalala bangi ekkubo ery’okubeera abatuukirivu mu maaso ga Katonda. Omutume Yokaana yalaba mu kwolesebwa “ekibiina ekinene omuntu ky’atayinza kubala . . . nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru.” Ebyambalo ebyeru biraga nti bayonjo era batuukirivu mu maaso ga Katonda kubanga “ba[a]yoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.”—Okubikkulirwa 7:9, 14.
Sanyukira Obutuukirivu bwa Yakuwa
17. Mitendera ki egiteekwa okugobererwa nga tunoonya obutuukirivu?
17 Wadde nga Yakuwa atuwadde Omwana we, Yesu Kristo, abantu mwe bayinza okuyitira okufuna obutuukirivu mu maaso ge, obutuukirivu obwo tebujja bwokka. Omuntu alina okukkiririza mu kinunulo, n’atuukanya obulamu bwe ne Katonda by’ayagala, ne yeewaayo eri Yakuwa era n’alaga okwewaayo kwe ng’abatizibwa mu mazzi. Oluvannyuma lw’ekyo, omuntu alina okweyongera okunoonya obutuukirivu, awamu n’engeri endala ez’eby’omwoyo. Timoseewo, Omukristaayo omubatize eyalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, yakubirizibwa bw’ati Pawulo: “Gobereranga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.” (1 Timoseewo 6:11; 2 Timoseewo 2:22) Yesu naye yaggumiza obukulu bw’okweyongera okufuba bwe yagamba: “Mweyongere okusooka okunoonya obwakabaka n’obutuukirivu bwe.” Tuyinza okufuba ennyo okunoonya emikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda, naye era tufuba mu ngeri y’emu okunoonya amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu?—Matayo 6:33, NW.
18. (a) Lwaki si kyangu okugoberera obutuukirivu? (b) Kiki kye tuyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Lutti?
18 Kya lwatu, si kyangu okunoonya obutuukirivu. Kiri kityo kubanga tetutuukiridde era mu butonde twagala okukola ebitali bya butuukirivu. (Isaaya 64:6) Ate era, twetooloddwa abantu abatafaayo n’akamu ku makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu. Embeera zaffe zifaanagana nnyo n’eza Lutti, eyali mu kibuga ekibi ekya Sodomu. Omutume Peetero yannyonnyola lwaki Yakuwa yalaba nga kisaanira okuwonya Lutti mu kuzikirizibwa okwali kubindabinda. Peetero yagamba: “Omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo, olw’okulaba n’olw’okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw’ebikolwa byabwe eby’obujeemu.” (2 Peetero 2:7, 8) Bwe kityo, buli omu ku ffe ayinza okwebuuza: ‘Nsemba mu mutima gwange ebikolwa eby’obugwenyufu ebiriwo? Eby’amasanyu n’emizannyo ebiganzi ennyo eri abantu kyokka nga bijjudde ettemu tebinnyumira bunyumizi kyokka, oba okufaananako Lutti nnyolwa olw’ebikolwa ng’ebyo ebitali bya butuukirivu?’
19. Tuyinza kuganyulwa tutya singa tusanyukira obutuukirivu bwa Katonda?
19 Mu kiseera kino ekizibu ennyo, okusanyukira obutuukirivu bwa Yakuwa kireeta obukuumi n’obutebenkevu. Ng’addamu ebibuuzo bino: “Mukama anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani?” Kabaka Dawudi yagamba: “Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu.” (Zabbuli 15:1, 2) Bwe tweyongera okunoonya obutuukirivu bwa Katonda era n’okubusanyukira, tuyinza okubeera n’enkolagana ennungi naye era ne tweyongera okusiimibwa n’okufuna emikisa gye. Mu ngeri eyo, tufuna okumatira mu bulamu, twewa ekitiibwa, era tufuna emirembe mu birowoozo. Yakuwa yagamba: “Agoberera obutuukirivu n’okusaasira alaba obulamu n’obutuukirivu n’ekitiibwa.” (Engero 21:21) Ate era, bwe tufuba nga bwe tusobola okukola ebintu eby’obwenkanya era ebituufu, tuba tujja kubeera n’enkolagana ennungi n’abalala era n’obulamu obulungi—mu by’empisa ne mu by’omwoyo. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Balina essanyu abakolera ku bwenkanya, abakola eby’obutuukirivu mu biro byonna.”—Zabbuli 106:3, NW.
[Obugambo obuli wansi]
a Okutegeera kalonda yenna akwata ku Mateeka ga Musa, laba ekitundu “Some Features of the Law Covenant” (Ebintu Ebimu mu Ndagaano y’Amateeka), ku mpapula 214-20 mu Muzingo 2 ogwa Insight on the Scriptures, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Obutuukirivu kye ki?
• Obulokozi bulina kakwate ki n’obutuukirivu bwa Katonda?
• Katonda asinziira ku ki okutwala abantu okuba abatuukirivu?
• Tuyinza tutya okusanyukira obutuukirivu bwa Yakuwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Kabaka Dawudi yalaga nti ayagala nnyo amateeka ga Katonda
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Nuuwa, Ibulayimu, Zekkaliya, Erisabesi, ne Koluneeriyo, Katonda yabatwala okuba abatuukirivu. Omanyi lwaki?