LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 2/15 lup. 24-28
  • Yagala Obutuukirivu n’Omutima Gwo Gwonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yagala Obutuukirivu n’Omutima Gwo Gwonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Munoonyenga Obutuukirivu bwa Katonda
  • Kebera Ebyokulwanyisa Byo eby’Omwoyo
  • Sigala ng’Olina Omuntu ow’Omunda Omulungi
  • Enjala n’Ennyonta olw’Obutuukirivu
  • Emiganyulo Egiri mu Kwagala Obutuukirivu
  • Abantu ba Yakuwa Baagala Obutuukirivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Sanyukira Obutuukirivu bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okunoonya Obutuukirivu kya Bukuumi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Musooke Munoonyenga “Obutuukirivu Bwe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 2/15 lup. 24-28

Yagala Obutuukirivu n’Omutima Gwo Gwonna

“Wayagala Obutuukirivu.”​—ZAB. 45:7.

1. Kiki ekinaatuyamba okunywerera ku “makubo ag’obutuukirivu”?

NG’AKOZESA Ekigambo kye awamu n’omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa aluŋŋamya abantu be mu “makubo ag’obutuukirivu.” (Zab. 23:3) Kyokka, olw’okuba tetutuukiridde, emirundi mingi tuwaba ne tuva ku makubo ago. Okusobola okuddamu okutambulira mu makubo ago, kyetaagisa okufuba ennyo. Kiki ekinaatuyamba okunywerera ku makubo ag’obutuukirivu? Okufaananako Yesu, naffe tulina okwagala okukola ekituufu.​—Soma Zabbuli 45:7.

2. ‘Amakubo ag’obutuukirivu’ ge galuwa?

2 ‘Amakubo ag’obutuukirivu’ ge galuwa? ‘Amakubo’ gano Yakuwa y’agateekawo nga geesigamiziddwa ku misingi gye egy’obutuukirivu. Mu lulimi Olwebbulaniya n’Oluyonaani, ekigambo “obutuukirivu” kitegeeza “obugolokofu,” oba okunywerera ku mitindo egy’empisa. Okuva bwe kiri nti mu Yakuwa mwe ‘mutuula obutuukirivu,’ abo abamusinza gwe batwala ng’oyo asaanidde okubateerawo emitindo gy’empisa gye balina okugoberera.​—Yer. 50:7, NW.

3. Tuyinza tutya okwongera okuyiga ebikwata ku butuukirivu bwa Katonda?

3 Tetusobola kusanyusa Katonda okuggyako nga tufubye okugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu n’omutima gwaffe gwonna. (Ma. 32:4) Kino okusobola okukikola twetaaga okusooka okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda okuva mu Kigambo kye, Bayibuli. Gye tukoma okuyiga ebimukwatako ne tumusemberera, gye tukoma okwagala obutuukirivu bwe. (Yak. 4:8) Ate era twetaaga okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa nga tuliko ebintu ebikulu bye tusalawo mu bulamu.

Munoonyenga Obutuukirivu bwa Katonda

4. Okunoonya obutuukirivu bwa Katonda kizingiramu ki?

4 Soma Matayo 6:33. Okunoonya obutuukirivu bwa Katonda kisingawo ku kubuulira obubuulizi amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Kino kiri kityo kubanga Yakuwa okusobola okusiima obuweereza bwaffe obutukuvu, engeri gye tweyisaamu buli lunaku erina okuba ng’etuukana n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Kati olwo abo bonna abanoonya obutuukirivu bwa Yakuwa balina kukola ki? Balina “okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.”​—Bef. 4:24.

5. Kiki ekinaatuyamba obutaggwamu maanyi olw’ensobi zaffe?

5 Bwe tuba tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, oluusi tuyinza okuggwaamu amaanyi olw’ensobi zaffe. Kiki ekinaatuyamba obutaggwamu maanyi n’okwagala okukola ebintu eby’obutuukirivu? (Nge. 24:10) Tusaanidde bulijjo okutuukirira Yakuwa mu kusaba “n’emitima egy’amazima nga tuli bakakafu ddala era nga tulina okukkiriza.” (Beb. 10:19-22) Ka tube nga tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, tulina okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo era ne mu ebyo by’akola nga Kabona waffe Asinga Obukulu. (Bar. 5:8; Beb. 4:14-16) Magazini ya Watchtower eyasookera ddala okufulumizibwa yalaga bulungi amaanyi agali mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. (1 Yok. 1:6, 7) Magazini eyo yagamba nti: “Kimanyiddwa bulungi nti bw’otunuulira ekintu ekimyufu ng’okozesa ekirawuli ekimyufu, ekintu ekyo kirabika ng’ekyeru; bwe kityo, wadde ng’ebibi byaffe biringa olugoye olumyufu, Katonda bw’abitunuulira ng’akozesa omusaayi gwa Kristo, birabika ng’ebyeru.” (Jjulaayi 1879, lup. 6) Nga Yakuwa atukoledde ekintu eky’omuwendo ennyo okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we omwagalwa!​—Is. 1:18.

Kebera Ebyokulwanyisa Byo eby’Omwoyo

6. Lwaki kikulu nnyo okukebera ebyokulwanyisa byaffe eby’omwoyo?

6 Buli kiseera, twetaaga okwambala “eky’omu kifuba, obutuukirivu,” kubanga kino kye kimu ku by’okulwanyisa eby’omwoyo ebiva eri Katonda. (Bef. 6:11, 14) Ka tube nga twakeewaayo eri Yakuwa oba nga tumaze emyaka mingi nga tumuweereza, kikulu nnyo okukebera eby’okulwanyisa byaffe eby’omwoyo buli lunaku. Lwaki? Kubanga Omulyolyomi ne badayimooni baasuulibwa wano ku nsi. (Kub. 12:7-12) Sitaani alina obusungu bungi, era akimanyi nti alina akaseera katono. Bwe kityo, akola butaweera okulaba nti alumba abantu ba Katonda. Ekyo tekiraga nti kikulu nnyo okuba ‘n’eky’omu kifuba, obutuukirivu’?

7. Okumanya obukulu bw’okuba ‘n’eky’omu kifuba, obutuukirivu,’ kinaatuleetera kweyisa tutya?

7 Eky’omu kifuba kikuuma omutima obutatuukibwako kabi. Olw’okuba tetutuukiridde, omutima gwaffe ogw’akabonero gutera okutulimba. (Yer. 17:9) Okuva bwe kiri nti omutima gwaffe gwekubidde ku kukola bintu ebibi, kikulu nnyo okugutendeka n’okugufuga. (Lub. 8:21) Bwe tumanya obukulu bw’okuba ‘n’eky’omu kifuba, obutuukirivu,’ tetujja kukiggyako wadde okumala akaseera akatono, oboolyawo nga tulaba oba nga tuwuliriza ebintu Katonda by’akyawa; era tetujja na kulowooza ku kukola bintu bibi. Tetujja kumalira biseera byaffe bingi ku ttivi. Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba okukola ebyo ebisanyusa Yakuwa. Ne bwe twesanga nga tutwaliriziddwa endowooza embi ne tugwa, Yakuwa ajja kutuyamba okuyimuka.​—Soma Engero 24:16.

8. Lwaki twetaaga “engabo ennene ey’okukkiriza”?

8 Ekimu ku byokulwanyisa eby’omwoyo bye tulina ye “engabo ennene ey’okukkiriza.” Engabo eno etuyamba “okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Bef. 6:16) Bwe kityo, okukkiriza kwaffe n’okwagala kwe tulina eri Yakuwa bijja kutuyamba okukola ebintu eby’obutuukirivu n’okusigala mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. Gye tunaakoma okwagala Yakuwa, gye tujja okukoma okwagala obutuukirivu. Ate kiri kitya eri omuntu waffe ow’omunda? Ayinza atya okutuyamba okwagala obutuukirivu?

Sigala ng’Olina Omuntu ow’Omunda Omulungi

9. Okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omulungi kituganyula kitya?

9 Bwe twali tubatizibwa, twasaba Yakuwa atuyambe okuba “n’omuntu ow’omunda omulungi.” (1 Peet. 3:21) Olw’okuba tukkiririza mu kinunulo, omusaayi gwa Yesu gubikka ku bibi byaffe bwe kityo ne tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Kyokka okusobola okusigala nga tulina enkolagana eyo ennungi, kitwetaagisa okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omulungi. Singa omuntu waffe ow’omunda atulumiriza oba atulabula, ekyo kiba kiraga nti omuntu waffe ow’omunda akola bulungi. Era kiba kiraga nti omuntu waffe ow’omunda tannaba kwonooneka. (1 Tim. 4:2) Kyokka waliwo n’engeri endala omuntu ow’omunda gy’ayambamu abo abaagala obutuukirivu.

10, 11. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki tulina okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. (b) Lwaki okwagala obutuukirivu kituleetera essanyu lingi?

10 Bwe tukola ekibi, omuntu waffe ow’omunda ayinza okutulumiriza. Omuvubuka omu yawaba n’ava mu “makubo ag’obutuukirivu.” Yatandika okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu n’okunywa enjaga. Omuntu we ow’omunda yamulumirizanga buli lwe yagendanga mu nkuŋŋaana era yawuliranga ng’omunnanfuusi buli lwe yeenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira, bw’atyo yalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana n’okubuulira. Yagamba nti, “Nnali simanyi nti omuntu wange ow’omunda yandinumirizza olw’ebyo bye nnali nkola.” Yagattako nti, “Nnamala emyaka ena miramba nga nneenyigira mu bikolwa eby’obusirusiru.” Oluvannyuma yatandika okulowooza ku ky’okudda mu mazima. Wadde nga yali alowooza nti Yakuwa tajja kuwulira kusaba kwe, yamusaba amusonyiwe. Nga tewannayita na ddakiika kkumi, maama we yamukyalira era n’amukubiriza okuddamu okugenda mu nkuŋŋaana. Yagenda mu nkuŋŋaana era n’asaba omukadde omu okumuyigiriza Bayibuli. Oluvannyuma lw’ekiseera yabatizibwa, era kati yeebaza nnyo Yakuwa olw’okuwonya obulamu bwe.

11 Si kituufu nti bwe tukola ebikolwa eby’obutuukirivu tufuna essanyu lingi? Gye tunaakoma okukola ebikolwa eby’obutuukirivu, gye tujja okukoma okufuna essanyu eriva mu kukola ebyo ebisanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. Kirowoozeeko! Ekiseera kijja, abantu bonna ku nsi lwe baliba nga balina omuntu ow’omunda omuyonjo; era nga booleka ekifaananyi kya Katonda mu ngeri etuukiridde. N’olwekyo, ka tweyongere okwagala obutuukirivu n’okusanyusa omutima gwa Yakuwa.​—Nge. 23:15, 16.

12, 13. Tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda?

12 Kiki kye tuyinza okukola okusobola okutendeka omuntu waffe ow’omunda? Bwe tuba tusoma Ebyawandiikibwa awamu n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, tusaanidde okukijjukira nti “omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula.” (Nge. 15:28) Lowooza ku ngeri kino gye kiyinza okutuyambamu nga tulonda omulimu ogw’okukola. Omulimu bwe guba gukontana butereevu n’emisingi gy’Ebyawandiikibwa, abasinga obungi ku ffe kitwanguyira okukolera ku bulagirizi bw’omuddu omwesigwa. Naye singa wabaawo omulimu gwe tutakakasa obanga mulungi okukola, kiba kya magezi okunoonyereza ku misingi gya Baibuli egikwata ku nsonga eyo era n’okusaba Katonda atuyambe okusalawo obulungi.a Mu misingi gino mwe muli n’ogwo ogutukubiriza okwewala okwesitazza abalala. (1 Kol. 10:31-33) N’okusingira ddala tulina okulowooza ennyo ku misingi egikwata ku nkolagana yaffe ne Katonda. Yakuwa bw’aba nga wa ddala gye tuli, tujja kusooka kwebuuza, ‘Singa nsalawo okukola omulimu guno, ekyo tekinyiize Yakuwa, ne kinakuwaza omutima gwe?’​—Zab. 78:40, 41.

13 Bwe tuba twetegekera olukuŋŋaana olw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi oba olw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, tulina okufumiitiriza ku bintu bye tusoma. Tutera okwesanga nga tusazaako busaza ku by’okuddamu mu bibuuzo nga tetubifumiitirizzanako? Okutegeka mu ngeri eyo kiyinza obutatuyamba kweyongera kwagala butuukirivu oba kutendeka muntu waffe ow’omunda. Bwe tuba ab’okwagala obutuukirivu, tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okwagala obutuukirivu!

Enjala n’Ennyonta olw’Obutuukirivu

14. Bwe kituuka ku buweereza bwaffe obutukuvu, kiki Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo kye batwagaliza?

14 Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo baagala tube basanyufu mu buweereza bwaffe obutukuvu. Kiki ekinaatuyamba okufuna essanyu? Kwe kwagala obutuukirivu. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, kubanga balikkusibwa.” (Mat. 5:6) Abo abaagala obutuukirivu, ebigambo bino bibayigiriza ki?

15, 16. Abo abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu bayinza kukkusibwa batya?

15 Ensi gye tulimu leero eri mu buyinza bw’omubi. (1 Yok. 5:19) Ebyo ebifulumira mu mpapula z’amawulire biraga nti ebikolwa eby’obukambwe n’ettemu biri ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Ebikolwa ng’ebyo bireetera abantu abatuukirivu okwennyamira. (Mub. 8:9) Ffe abaagala Yakuwa, tukimanyi bulungi nti ye yekka asobola okukkusa abo bonna abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu. Mu kiseera ekitali kya wala, abantu abatatya Katonda bajja kuggibwawo, era abo abaagala obutuukirivu tebajja kuddamu kunakuwala olw’ebikolwa by’abantu ng’abo ababi. (2 Peet. 2:7, 8) Ng’obwo bujja kuba buweerero bwa maanyi!

16 Ng’abaweereza ba Yakuwa era abagoberezi ba Yesu Kristo, tukimanyi nti abo bonna abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu “balikkusibwa.” Balikkusibwa mu bujjuvu okuyitira mu nteekateeka ya Katonda ey’eggulu eriggya n’ensi empya “obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peet. 3:13) N’olwekyo, tetusaanidde kwewuunya wadde okuggwaamu amaanyi olw’okuba ebikolwa ebitali bya butuukirivu bicaase nnyo mu nsi ya Sitaani eno. (Mub. 5:8) Yakuwa, Oyo Ali Waggulu Ennyo, alaba ebyo byonna ebigenda mu maaso era mu kiseera ekitali kya wala ajja kununula abo abaagala obutuukirivu.

Emiganyulo Egiri mu Kwagala Obutuukirivu

17. Egimu ku miganyulo egiri mu kwagala obutuukirivu gye giruwa?

17 Zabbuli 146:8 walaga omuganyulo ogw’amaanyi abo abagoberera ekkubo ery’obutuukirivu gwe bafuna. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mukama ayagala abatuukirivu.” Kirowoozeeko! Bwe twagala obutuukirivu, Omufuzi w’obutonde bwonna ajja kutwagala! Olw’okuba Yakuwa atwagala, tuli bakakafu nti ajja kutulabirira bwe tuneeyongera okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Soma Zabbuli 37:25; Engero 10:3.) Kya ddaaki ensi yonna ejja kujjula abantu abaagala obutuukirivu. (Nge. 13:22) Abantu ba Katonda abasinga obungi, ekirabo kye bajja okufuna olw’okukola ebikolwa eby’obutuukirivu bwe bulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda olulabika obulungi wano ku nsi. Ne mu kiseera kino, abo abaagala obutuukirivu bwa Katonda bafuna emirembe mu mutima, ekiyambye amaka gaabwe n’ebibiina gye bakuŋŋaanira okuba obumu.​—Baf. 4:6, 7.

18. Nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa, kiki kye tulina okukola?

18 Nga bwe tulindirira olunaku olukulu olwa Yakuwa, tulina okweyongera okunoonya obutuukirivu bwe. (Zef. 2:2, 3) N’olwekyo, ka tukirage nti twagala amakubo ga Yakuwa Katonda ag’obutuukirivu. Ekyo kizingiramu okukuumira “eky’omu kifuba, obutuukirivu” mu kifo kyakyo kisobole okukuuma omutima gwaffe ogw’akabonero. Era tusaanidde okusigala nga tulina omuntu ow’omunda omulungi, asanyusa omutima gwa Yakuwa.​—Nge. 27:11.

19. Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola, era kiki ekijja okwogerwako mu kitundu ekiddako?

19 “Amaaso ga [Yakuwa] gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Ng’ebigambo ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi nga tufuba okukola ekituufu mu nsi eno ejjudde obubi, ebikolwa eby’obukambwe, awamu n’obutali butebenkevu! Kyo kituufu nti bwe tufuba okutambulira mu makubo ag’obutuukirivu, ekyo kiyinza okuleetera abantu abeeyawudde ku Katonda okusoberwa. Naye tuganyulwa nnyo bwe tunywerera ku makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu. (Is. 48:17; 1 Peet. 4:4) N’olwekyo, ka tube bamalirivu okweyongera okwagala obutuukirivu n’omutima gwaffe gwonna, era ekyo kijja kutuleetera essanyu lingi. Kyokka, okwagala obutuukirivu n’omutima gwaffe gwonna era kizingiramu okukyawa obujeemu. Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba kino kye kitegeeza.

[Obugambo obuli wansi]

a Osobola okulaba egimu ku misingi gya Bayibuli egikwata ku mirimu mu Watchtower eya Apuli 15, 1999, olupapula 28-30.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki twetaaga okusiima ekinunulo bwe tuba ab’okwagala obutuukirivu?

• Lwaki kikulu nnyo okwambala “eky’omu kifuba, obutuukirivu”?

• Tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa obulungi atuyamba nga tusalawo omulimu ogw’okukola

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share