Okunoonya Obutuukirivu kya Bukuumi
“Musooke munoonye . . . obutuukirivu [bwa Katonda].”—MATAYO 6:33.
1, 2. Kiki mwannyinaffe omu kye yakola ng’asabiddwa okwenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu era lwaki yasalawo bw’atyo?
MWANNYINAFFE omu ow’omu Asia yali akola ng’omuwandiisi mu ofiisi ya gavumenti. Yalinga afaayo okulaba nti atuuka mangu ku mulimu era nga mukozi munyiikivu. Kyokka, baali tebannamutongoza ng’omukozi ow’enkalakkalira. Mukama we yamugamba nti okusobola okumutongoza ku mulimu n’okumukuza, yalina okusooka okwegatta naye. Kino mwannyinaffe yakigaanira ddala wadde nga kyali kiyinza okumuleetera okufiirwa omulimu gwe.
2 Mwannyinaffe oyo kye yakola kyali kya magezi? Awatali kubuusabuusa! Yagoberera okubuulirira kwa Yesu okugamba nti: ‘Musooke munoonye obutuukirivu bwa Katonda.’ (Matayo 6:33) Olw’okuba mwannyinaffe ono yakitwala nga kikulu okugoberera emisingi egy’obutuukirivu, yagaana okwenyigira mu kikolwa eky’obugwenyufu wadde nga kye kyali kigenda okumusobozesa okutongozebwa ku mulimu.—1 Abakkolinso 6:18.
Ensonga Lwaki Kikulu Okunoonya Obutuukirivu
3. Obutuukirivu kye ki?
3 Ekigambo “obutuukirivu” kirina amakulu ag’okuba n’empisa ennungi. Mu Baibuli ekigambo ky’Oluyonaani n’eky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “obutuukirivu,” kirina amakulu ag’okutambulira mu “bugolokofu.” Omuntu si y’alina okweyita omutuukirivu ng’asinziira ku mitindo egigye ku bubwe. (Lukka 16:15) Wabula Yakuwa Katonda y’alaba obutuukirivu bw’omuntu ng’azinziira ku mitindo Gye egy’obutuukirivu.—Abaruumi 1:17; 3:21.
4. Lwaki kikulu Omukristaayo okunoonya obutuukirivu?
4 Lwaki kikulu okunoonya obutuukirivu? Ensonga eri nti, Yakuwa “Katonda ow’obutuukirivu” ayagala abantu abakola eby’obutuukirivu. (Zabbuli 4:1; Engero 2:20-22; Kaabakuuku 1:13) Omuntu yenna akola ebitali bya butuukirivu tasobola kuba mukwano gwe. (Engero 15:8) N’olw’ensonga eyo, Pawulo yakubiriza Timoseewo ‘okwewala okwegomba okw’omu buvubuka, agobererenga obutuukirivu,’ era akulaakulanye n’engeri endala ennungi. (2 Timoseewo 2:22) Ate era bwe yali amenya eby’okulwanyisa eby’omwoyo eyo ye nsonga lwaki yazingiramu ‘n’eky’omu kifuba nga buno bwe butuukirivu.’—Abaefeso 6:14.
5. Abantu abatatuukiridde basobola batya okunoonya obutuukirivu?
5 Amazima gali nti teri muntu atuukiridde. Kino kiri bwe kityo kubanga abantu bonna baasikira obutali butuukirivu okuva ku Adamu. N’olwekyo bonna bazaalibwa n’ekibi era si batuukirivu. Wadde kiri kityo, Yesu yatukubiriza okunoonya obutuukirivu. Kino tuyinza kukikola tutya? Tuyinza okukikola nga tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Olw’okuba Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lwaffe, Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe singa tukkiririza mu ssaddaaka eyo. (Matayo 20:28; Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8, 9, 12, 18) Ate era, Yakuwa akkiriza okusinza kwaffe singa tuyiga emitindo gye egy’obutuukirivu, ne tufuba okugitambulizaako obulamu bwaffe, era ne tumusaba atuyambe okuvvuunuka obunafu bwaffe. (Zabbuli 1:6; Abaruumi 7:19-25; Okubikkulirwa 7:9, 14) Ng’ekyo kizzaamu nnyo amaanyi!
Okuba Omutuukirivu mu Nsi eno Embi
6. Lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakisanga nga kizibu okubeera mu nsi?
6 Abayigirizwa ba Yesu baayolekagana n’ebizibu bwe baali bakola omulimu ogwabaweebwa ogw’okuwa obujulirwa “okutuuka ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Ekitundu kyonna kye baaweebwa okubuuliramu kyali “mu buyinza bwa mubi,” Setaani. (1 Yokaana 5:19, NW) N’olw’ensonga eyo, ensi yali ejjudde omwoyo gwa Setaani era nga kyangu Abakristaayo okufuna omwoyo ogwo omubi. (Abaefeso 2:2) Tekyali kyangu eri Abakristaayo abo okubeera mu nsi efaanana bw’etyo. Ekyandibayambye okugumiikiriza n’okusigala nga bagolokofu, kwe kusooka kunoonya obutuukirivu bwa Katonda. Wadde bangi ku Bakristaayo abo baagumiikiriza, abamu baava “mu kkubo ery’obutuukirivu.”—Engero 12:28; 2 Timoseewo 4:10.
7. Buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina, era lwaki balina okwekuuma?
7 Ate kiri kitya eri Abakristaayo leero? Bo bakisanga nga kyangu okubeera mu nsi? N’akatono! Ate bo basanga obuzibu bwa maanyi nnyo kubanga ensi mbi nnyo n’okusinga bwe kyali mu kyasa ekyasooka. Setaani yasuulibwa ku nsi era alwanyisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta “abaasigalawo [ku zzadde ly’omukazi] abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu.” (Okubikkulirwa 12:12, 17) Alwanyisa n’abo abawagira “ezzadde” eryo. Wadde kiri kityo, Abakristaayo tebasobola kuva mu nsi. Balina okubeera mu nsi naye nga tebali kitundu kyayo. (Yokaana 17:15, 16) Ate era balina okunoonya abo abaagala okuyiga amazima n’okubayamba okufuuka abayigirizwa ba Kristo. (Matayo 24:14; 28:19, 20) N’olwekyo okuva bwe kiri nti Abakristaayo tebasobola kwewala kuba na bantu ba nsi, balina okufuba okulaba nti tebatwalirizibwa mpisa zaabwe mbi. Ka twetegerezeeyo ebintu bina Abakristaayo bye basaanidde okwewala.
Obwenzi
8. Kiki ekyaviirako Abaisiraeri okusinza bakatonda b’Abamowaabu?
8 Ng’olugendo lwabwe olw’emyaka 40 mu ddungu lunaatera okuggwako, Abaisiraeri bangi baava mu kkubo ery’obutuukirivu. Emirundi mingi baali beerabiddeko n’agaabwe nga Yakuwa abalwanirira era nga kati baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Kyokka ku ssaawa eyo envannyuma, baatandika okusinza bakatonda b’Abamowaabu. Lwaki? Kubanga baatwalirizibwa “okwegomba kw’omubiri.” (1 Yokaana 2:16) Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu.”—Okubala 25:1.
9, 10. Lwaki twetaaga okwekuuma tuleme okutwalirizibwa okwegomba okw’omubiri?
9 Ekyo Abaisiraeri kye baakola kiraga nti omuntu bw’ategendereza, okwegomba okw’omubiri kuyinza okumuleetera okwonooneka. Tusaanidde okwegendereza ennyo okuva bwe kiri nti ennaku zino abantu bangi tebalaba kikyamu kyonna kiri mu kukola bwenzi. (1 Abakkolinso 10:6, 8) Alipoota emu okuva mu Amerika egamba nti: “Okuviira ddala emabega okutuuka awo nga mu 1970, kyali tekikkirizibwa mu Amerika abantu okubeera awamu nga si bafumbo. Naye kati abantu bakitwala ng’ekintu ekya bulijjo. Abantu abasukka mu kimu kya kubiri ku abo abafumbiriganwa basooka kubeera wamu nga tebannafumbiriganwa.” Ekikolwa kino n’ebirala eby’obugwenyufu tebiri mu Amerika yokka wabula biri ne mu nsi yonna. Eky’ennaku, n’Abakristaayo abamu beenyigidde mu bikolwa ng’ebyo—ne kibaviirako okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo.—1 Abakkolinso 5:11.
10 Ate era, ebikolwa eby’obugwenyufu bikubirizibwa buli wamu. Ebyo ebiragibwa ku vidiyo ne ku ttivi biraga nti abavubuka bwe beenyigira mu bikolwa eby’obukaba nga tebannafumbiriganwa baba tebalina kikyamu kye bakoze. Okulya ebisiyaga nakyo kitwalibwa ng’ekintu ekya bulijjo. Ebifaananyi bingi ebiragibwa ku ntimbe biraga abantu nga beetaba. Ate era ebifaananyi ng’ebyo bisangibwa ne ku Internet. Ng’ekyokulabirako, munnamawulire omu yagamba nti mutabani we ow’emyaka omusanvu bwe yava ku ssomero, yamugamba nti mukwano gwe yamubuuliddeko nti yalabye abakazi abali obwereere ku mukutu gwa Internet nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kino kyaggya kitaawe enviiri ku mutwe. Naye, baana bameka abalaba ebintu ng’ebyo ku mikutu gya Internet ne babuulirako bazadde baabwe? Ate era, bazadde bameka abamanya emizannyo abaana baabwe gye bazannya ku kompyuta? Emizannyo ng’egyo gitera okukubiriza ebikolwa eby’obugwenyufu, eby’obusamize n’ettemu.
11. Kiki ekiyinza okuyamba ab’omu maka okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu?
11 Ab’omu maka bayinza batya okwewala okulaba ebintu ng’ebyo ebitazimba? Kino bakikola nga banoonya obutuukirivu bwa Katonda, era ne beewala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (2 Abakkolinso 6:14; Abaefeso 5:3) Abazadde bwe bafaayo okumanya buli kintu abaana baabwe kye baba bakola era ne babayigiriza okutya Yakuwa n’okukwata amateeka ge ag’obutuukirivu, basobola okuyamba abaana abo okwewala okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, n’ebintu ebirala ebiyinza okubaleetera okwenyigira mu bikolwa ebitasaana.—Ekyamateeka 6:4-9.a
Akabi Akali mu Kupikirizibwa
12. Kizibu ki ekyabalukawo mu kyasa ekyasooka?
12 Pawulo bwe yali mu Lusitula eky’omu Asiya Omutono, alina omusajja gwe yawonya mu ngeri ey’ekyamagero. Baibuli egamba: “Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu. Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera.” (Ebikolwa 14:11, 12) Kyokka, oluvannyuma abantu abo bennyini be baayagala okutta Pawulo ne Balunabba. (Ebikolwa 14:19) Kya lwatu, okupikirizibwa kwe kwaleetera abantu abo okukola ekintu ng’ekyo. Kirabika abamu ku bantu b’omu kitundu ekyo bwe baafuuka Abakristaayo, baasigala bakyagoberera obulombolombo obumu obwesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu. Eno y’ensonga lwaki Pawulo bwe yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi yabalabula baleme ‘kusinza bamalayika.’—Abakkolosaayi 2:18.
13. Obumu ku bulombolombo Abakristaayo bwe balina okwewala bwe buluwa, era kiki ekiyinza okubayamba okubwewala?
13 Ne leero, Abakristaayo ab’amazima kibeetaagisa okwewala obulombolombo obusibuka mu ddiini ez’obulimba obukontana n’emisingi egy’Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezimu, obulombolombo obukolebwa ng’omwana azaaliddwa oba ng’omuntu afudde, bwesigamiziddwa ku ndowooza enkyamu nti omuntu bw’afa mwoyo gwe gumuvaamu ne gusigala nga mulamu. (Omubuulizi 9:5, 10) Ate mu nsi ezimu, abantu balina enkola ey’okusalako abaana abawala ebitundu byabwe ebimu eby’ekyama.b Omuzadde Omukristaayo bw’akkiriza omwana we n’akolebwako ekintu ng’ekyo aba tamulaze busaasizi na kwagala. (Ekyamateeka 6:6, 7; Abaefeso 6:4) Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo obutekkiriranya singa baba bapikiriziddwa okukola ebintu ng’ebyo? Ekiyinza okubayamba kwe kwesiga Yakuwa. (Zabbuli 31:6) Abo abamwesiga ne bagamba nti: “Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga,” ajja kubawa amaanyi era abakuume—Zabbuli 91:2; Engero 29:25.
Teweerabira Yakuwa
14. Kulabula ki Yakuwa kwe yawa Abaisiraeri nga banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize?
14 Ng’Abaisiraeri banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yabagamba nti: “Weekuumenga oleme kwerabira Mukama Katonda wo, obutakuumanga biragiro bye n’emisango gye n’amateeka ge bye nkulagira leero: bw’onoomalanga okulya n’okkuta, era ng’omaze okuzimba ennyumba ennungi n’okutuula omwo; era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n’effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by’olina nga byaze; kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo.”—Ekyamateeka 8:11-14.
15. Kiki ekinaatuyamba obuteerabira Yakuwa?
15 Naffe ekyo kiyinza okututuukako mu kiseera kino? Yee, kiyinza okututuukako singa bye tukulembeza mu bulamu bwaffe biba bikyamu. Naye ate singa tusooka kunoonya butuukirivu bwa Katonda, okusinza okulongoofu kwe tujja okutwala ng’ekikulu mu bulamu baffe. Tujja kukola nga Pawulo bwe yatukubiriza, ‘twegulire ebbanga’ era tube banyiikivu mu buweereza. (Abakkolosaayi 4:5; 2 Timoseewo 4:2) Kyokka singa tulagajjalira enkuŋŋaana n’okubuulira ne tukulembeza eby’amasanyu, tujja kwerabira Yakuwa mu ngeri nti tujja kuba tumutadde mu kifo eky’okubiri. Pawulo yagamba nti mu nnaku ez’oluvannyuma abantu baliba ‘baagala essanyu okusinga Katonda.’ (2 Timoseewo 3:4) Abakristaayo bafuba okulaba nti eby’amasanyu tebibaleetera kwerabira Katonda.—2 Abakkolinso 13:5.
Weekuume Oleme Kufuna Mwoyo gwa Kyetwala
16. Mwoyo ki omubi Kaawa n’ab’oluganda abamu mu kiseera kya Pawulo gwe baalina?
16 Olw’okuba Kaawa yalina omwoyo gwa kyetwala ng’ayagala okwesalirawo ekituufu n’ekikyamu, Setaani yakozesa akakisa ako n’amusendasenda ajeemere Katonda. (Olubereberye 3:1-6) Ne mu kyasa ekyasooka, ab’oluganda abamu mu kibiina ky’e Kkolinso baalina omwoyo gwa kyetwala. Beetwala nti bamanyi bingi okusinga Pawulo, era mu ngeri ey’okukiina Pawulo yabayita abatume abakulu ennyo.—2 Abakkolinso 11:3-5; 1 Timoseewo 6:3-5.
17. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala omwoyo gwa kyetwala?
17 Mu nsi ey’akakyo kano, abantu bangi ‘bakakanyavu era beegulumiza.’ Eky’ennaku, n’Abakristaayo abamu batandise okweyisa mu engeri eyo. Abamu batuuse n’okuwakanya amazima. (2 Timoseewo 3:4; Abafiripi 3:18) Bwe kituuka ku kusinza okulongoofu, kiba kirungi ne tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa era ne tukolaganira wamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ n’abakadde mu kibiina. Mu ngeri eyo tujja kuba tunoonya obutuukirivu era kijja kutuyamba okwewala omwoyo gwa kyetwala. (Matayo 24:45-47; Zabbuli 25:9, 10; Isaaya 30:21) Okuva bwe kiri nti ekibiina ky’abaafukibwako amafuta ye ‘mpagi n’omusingi eby’amazima,’ Yakuwa ky’ataddewo okutukuuma n’okutuwa obulagirizi. (1 Timoseewo 3:15) Kino bwe tukitegeera kijja kutuyamba okuweereza Yakuwa n’obuwombeefu ‘tuleme kukola kintu kyonna olw’okwagala okwefunira ekitiibwa ekitaliimu.’—Abafiripi 2:2-4; Engero 3:4-6.
Mukoppe Yesu
18. Biki bye tuyinza okukoppa ku Yesu?
18 Ng’eyogera ku Yesu, Baibuli yagamba nti: “Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi.” (Zabbuli 45:7; Abaebbulaniya 1:9) Nga Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! (1 Abakkolinso 11:1) Yesu teyakoma ku kumanya bumanya mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, naye era yagyagala. N’olwekyo, Setaani bwe yamukema ng’ali mu ddungu, Yesu yagaana okuva mu “kkubo ery’obutuukirivu.”—Engero 8:20; Matayo 4:3-11.
19, 20. Birungi ki ebiva mu kunoonya obutuukirivu?
19 Kyo kituufu nti, tusobola okutwalirizibwa okwegomba okw’omubiri. (Abaruumi 7:19, 20) Kyokka, singa obutuukirivu tubutwala ng’ekintu eky’omuwendo, kijja kutuyamba okwewala okukola ekibi. (Zabbuli 119:165) Okwagala obutuukirivu kijja kutuyamba okukola ekituufu singa tuba tukemeddwa. (Engero 4:4-6) Kijjukire nti, buli lwe twekkiriranya ne tukola ekibi, Setaani y’aba awangudde. Nga kiba kirungi obutekkiriranya ne tusobola okusanyusa Yakuwa!—Engero 27:11; Yakobo 4:7, 8.
20 Olw’okuba Abakristaayo ab’amazima banoonya obutuukirivu, ‘bajjudde ebibala eby’obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, Katonda aweebwe ekitiibwa, atenderezebwe.’ (Abafiripi 1:10, 11) Bambala “omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.” (Abaefeso 4:24) Olw’okuba beewaayo eri Yakuwa, tebaliiwo kukola byabwe ku bwabwe wabula baliwo okukola Katonda by’ayagala. (Abaruumi 14:8; 1 Peetero 4:2) Mu buli kye bakola ne kye balowooza bafuba okulaba nti kituukana n’ekyo Katonda ky’ayagala. Bwe bakola bwe batyo basanyusa nnyo Kitaabwe ow’omu ggulu.—Engero 23:24.
[Obugambo obuli wansi]
a Akatabo Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa kalimu amagezi agasobola okuyamba abazadde okukuuma abaana baabwe baleme kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu.
b Okusalako abaana abawala ebitundu byabwe ebimu eby’ekyama, edda kyayitibwanga okukomola abakazi.
Osobola Okunnyonnyola?
• Lwaki kikulu nnyo okunoonya obutuukirivu?
• Abakristaayo abatali batuukirivu bayinza batya okunoonya obutuukirivu?
• Bintu ki Abakristaayo bye basaanidde okwewala?
• Mu ngeri ki okunoonya obutuukirivu gye kiri eky’obukuumi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Tekyali kyangu eri abagoberezi ba Yesu okubeera mu nsi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Singa abaana bayigirizibwa okwagala Yakuwa kibayamba okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Abaisiraeri beerabira Yakuwa oluvannyuma lw’okugaggawala nga bali mu Nsi Ensuubize
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Okufaananako Yesu, n’Abakristaayo bakyawa ebikolwa eby’obutali butuukirivu