LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 8/1 lup. 8-12
  • Osanyukira ‘Amateeka ga Yakuwa’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osanyukira ‘Amateeka ga Yakuwa’?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyama eky’Okufuna Essanyu
  • Amateeka ga Yakuwa Ge Gamusanyusa
  • Afaanana ng’Omuti
  • Ababi Balabika ng’Abali Obulungi
  • “Ekkubo ly’Abatuukirivu” Eriweereddwa Omukisa
  • ‘Sanyukiranga Yakuwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Engeri gy’Osobola Okutuuka ku Buwanguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Sanyukira Obutuukirivu bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Abatuukirivu Bajja Kutendereza Katonda Emirembe Gyonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 8-12

Osanyukira ‘Amateeka ga Yakuwa’?

‘Alina omukisa omuntu asanyukira amateeka ga Yakuwa.’​—ZABBULI 1:1, 2.

1. Lwaki abaweereza ba Yakuwa basanyufu?

YAKUWA ayamba era awa omukisa abaweereza be abeesigwa. Kyo kituufu nti twolekagana n’ebigezo bingi. Kyokka era tulina essanyu erya nnamaddala. Kino tekyewuunyisa, kubanga tuweereza ‘Katonda omusanyufu,’ era omwoyo gwe omutukuvu guleetera emitima gyaffe okubugaana essanyu. (1 Timoseewo 1:11; Abaggalatiya 5:22) Essanyu erya nnamaddala liva mu kusuubira ekintu ekirungi oba okukifuna. Kitaffe ow’omu ggulu atuwa ebirabo ebirungi. (Yakobo 1:17) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti tuli basanyufu.

2. Tugenda kwekenneenya zabbuli ki?

2 Essanyu lyogerwako nnyo mu kitabo kya Zabbuli. Kino bwe kiri naddala mu Zabbuli 1 ne 2. Abagoberezi ba Yesu Kristo abaasooka baakitwala nti Zabbuli ey’okubiri yawandiikibwa Dawudi Kabaka wa Isiraeri. (Ebikolwa 4:25, 26) Omuwandiisi wa Zabbuli esooka atamanyiddwa linnya atandika bw’ati oluyimba lwe olwaluŋŋamizibwa: ‘Alina essanyu omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi.’ (Zabbuli 1:1) Mu kitundu kino n’ekiddako, ka tulabe engeri Zabbuli 1 ne 2 gye zituwa ensonga kwe tusinziira okuba abasanyufu.

Ekyama eky’Okufuna Essanyu

3. Okusinziira ku Zabbuli 1:1, ezimu ku nsonga lwaki omuntu atya Katonda afuna essanyu ze ziruwa?

3 Zabbuli 1 ewa ensonga lwaki omuntu atya Katonda afuna essanyu. Ng’alaga ensonga eziviirako omuntu okufuna essanyu ng’eryo, omuwandiisi wa Zabbuli yayimba bw’ati: ‘Alina essanyu omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, newakubadde okuyimirira mu kkubo ly’abo abalina ebibi, newakubadde okutuula ku ntebe y’abanyoomi.’​—Zabbuli 1:1.

4. Zaakaliya ne Erisabesi baateekawo kyakulabirako ki ekirungi?

4 Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, tuteekwa okutuukiriza Yakuwa by’atwetaagisa. Zaakaliya ne Erisabesi abaazaala Yokaana Omubatiza, “baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro [bye] byonna ne mu by’obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi.” (Lukka 1:5, 6) Naffe tusobola okufuna essanyu singa tweyisa mu ngeri y’emu era ne twewala ‘okutambulira mu kuteesa kw’ababi’ oba amagezi gaabwe amabi.

5. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala ‘ekkubo ly’ababi’?

5 Bwe twesamba endowooza y’abantu ababi, tuba twewala ‘okutambulira mu kkubo ly’abo abalina ebibi.’ Kya lwatu, tetujja kugenda mu bifo gye batera okubeera, kwe kugamba mu bifo omuli eby’okwesanyusaamu eby’obugwenyufu oba ebyo ebyogerwako obubi. Naye kiba kitya singa tukemebwa okwegatta ku babi mu bikolwa byabwe ebivumirirwa mu Byawandiikibwa? Tusaanidde okusaba Katonda okutuyamba okugoberera okubuulira kw’omutume Pawulo: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu butagabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza?” (2 Abakkolinso 6:14) Bwe twesiga Katonda era ne tuba ‘n’omutima omulongoofu,’ tujja kwesamba endowooza n’empisa z’ababi, era tujja kuba n’ebiruubirirwa ebirungi ‘n’okukkiriza okutaliimu bukuusa.’​—Matayo 5:8; 1 Timoseewo 1:5.

6. Lwaki twandyewaze abasekerezi?

6 Okusobola okusanyusa Yakuwa, tetuteekwa ‘kutuula ku ntebe y’abanyoomi.’ Abantu abamu basekerera abo abagoberera amateeka ga Katonda, era naddala ‘mu nnaku zino ez’oluvannyuma,’ Abakristaayo abafuuse bakyewaggula basekerera nnyo abo abagoberera amateeka ge. Omutume Peetero yalabula bakkiriza banne: “Abaagalwa, . . . mumaze okusooka okutegeera kino, nga mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja n’okusekerera, nga batumbula okugobereranga okwegomba kwabwe bo ne boogera nti okusuubiza kw’okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.” (2 Peetero 3:1-4) Singa twewala ‘okutuula ku ntebe y’abanyoomi,’ tujja kusimattuka akabi akajja okubatuukako.​—Engero 1:22-27.

7. Lwaki twandigoberedde okubuulirira okuli mu Zabbuli 1:1?

7 Okuggyako nga tugoberedde okubuulirira okuli mu Zabbuli 1, tuyinza okuddirira mu by’omwoyo. Mu butuufu, obulamu bwaffe buyinza okwonoonekera ddala. Tuyinza okutandika okuddirira mu by’omwoyo singa tugoberera amagezi g’ababi. Era ekivaamu bayinza okufuuka mikwano gyaffe egy’oku lusegere. Era tuyinza okufuukira ddala bakyewaggula abatalina kukkiriza. Kya lwatu, bwe tukola omukwano n’ababi, endowooza yaffe eyinza okwonooneka era kino ne kiviirako enkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda okwonooneka. (1 Abakkolinso 15:33; Yakobo 4:4) Kikafuuwe okukkiriza ekyo okututuukako!

8. Kiki ekinaatuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo?

8 Okusaba kujja kutuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku bintu eby’omwoyo era n’okwewala emikwano emibi. Pawulo yagamba: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.” Omutume yatukubiriza okulowoozanga ku bintu eby’amazima, ebisaanira, eby’obutuukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebisiimibwa, ebirungi n’eby’ettendo. (Abafiripi 4:6-8) Ka tugoberere okubuulirira kwa Pawulo era twesambire ddala ababi.

9. Wadde nga twewala ebikolwa byabwe ebibi, tugezaako tutya okuyamba abantu aba buli ngeri?

9 Wadde nga twewala ebikolwa ebibi, tuwa abantu obujulirwa mu ngeri ey’amagezi, ng’omutume Pawulo bwe yabuulira Ferikisi Gavana Omuruumi ebikwata ku ‘butuukirivu, n’omusango ogugenda okujja.’ (Ebikolwa 24:24, 25; Abakkolosaayi 4:6) Tubuulira abantu aba buli ngeri amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era tubalaga ekisa. Tuli bakakafu nti abo ‘abaagala okufuna obulamu obutaggwaawo’ bajja kufuuka bakkiriza era bakwate amateeka ga Katonda.​—Ebikolwa 13:48.

Amateeka ga Yakuwa Ge Gamusanyusa

10. Kiki ekinaatuyamba okujjukira bye tusoma?

10 Ku bikwata ku muntu omusanyufu, omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; era mu mateeka ge mw’alowooleza emisana n’ekiro.” (Zabbuli 1:2) Ng’abaweereza ba Katonda, ‘tusanyukira amateeka ga Yakuwa.’ Nga twesomesa era nga tufumiitiriza ku bye tusomye, kyandibadde kirungi okusoma mu ‘ddoboozi eriwulikika.’ Bwe tusoma Baibuli mu ngeri eyo, kijja kutuyamba okujjukira bye tusoma.

11. Lwaki twandisomye Baibuli “emisana n’ekiro”?

11 ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ atukubiriza okusoma Baibuli buli lunaku. (Matayo 24:45) Olw’okwagala okumanya obulungi Yakuwa by’atugamba, kiyinza okutwetaagisa okusoma Baibuli “emisana n’ekiro.” Yee, tuyinza n’okugisoma nga tubuliddwa otulo. Peetero yatukubiriza bw’ati: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag’omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu.” (1 Peetero 2:1, 2) Osanyukira okusoma Baibuli buli lunaku era n’okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda era n’ebigendererwa bye ekiro? Omuwandiisi wa zabbuli yakola bw’atyo.​—Zabbuli 63:6.

12. Kiki kye tujja okukola singa tusanyukira amateeka ga Yakuwa?

12 Essanyu lyaffe ery’olubeerera lyesigamye ku kukugoberera amateeka ga Katonda. Ga butuukirivu, era bwe tugakuuma tufuna empeera nnene. (Zabbuli 19:7-11) Omuyigirizwa Yakobo yawandiika bw’ati: “Atunula mu mateeka amatuukirivu ag’eddembe n’a[ga]nyiikiriramu, nga si muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.” (Yakobo 1:25) Bwe tuba nga ddala tusanyukira amateeka ga Yakuwa, olunaku terujja kuyitawo nga tetulowoozezza ku bintu eby’omwoyo. Mazima ddala, tujja ‘kunoonya ebintu bya Katonda eby’omunda’ era tukulembeze obwakabaka bwe mu bulamu bwaffe.​—1 Abakkolinso 2:10-13; Matayo 6:33.

Afaanana ng’Omuti

13-15. Mu ngeri ki gye tuyinza okufaanana omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo z’amazzi?

13 Ng’ayongera okwogera ku muntu omugolokofu, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Alifaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’ensulo z’amazzi, ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, era amalagala gaagwo tegawotoka; na buli ky’akola, akiweerwako omukisa.” (Zabbuli 1:3) Okufaananako abantu abalala abatatuukiridde, naffe abaweereza Yakuwa tufuna ebizibu mu bulamu. (Yobu 14:1) Tuyinza okuyigganyizibwa era okukkiriza kwaffe ne kugezesebwa mu ngeri ezitali zimu. (Matayo 5:10-12) Naye bwe tufuna obuyambi bwa Katonda, tusobola okugumira ebigezo bino, ng’omuti omunywevu bwe gugumira embuyaga ez’amaanyi.

14 Omuti ogusimbiddwa okumpi n’ensulo z’amazzi teguwotoka wadde ne mu biseera eby’ekyeya. Bwe tuba nga tuli bantu abatya Katonda, tufuna amaanyi okuva gy’ali. Pawulo eyasabanga Yakuwa okumuwa obuyambi yagamba: “Nnyinzizza byonna mu oyo [Yakuwa] ampa amaanyi.” (Abafiripi 4:13) Bwe tuyambibwa omwoyo gwa Yakuwa, tetujja kuwotoka, kulekera awo kubala bibala oba okufa mu by’omwoyo. Wabula tujja kweyongera okubala ebibala mu buweereza bwa Katonda era n’okwoleke ebibala eby’omwoyo.​—Yeremiya 17:7, 8; Abaggalatiya 5:22, 23.

15 Mu kukozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “alifaanana,” omuwandiisi wa zabbuli yali ageraageranya. Yali ageraageranya ebintu bibiri eby’enjawulo, kyokka nga birina kye bifaananya. Abantu ba njawulo ku miti, kyokka omuti ogulabika obulungi ogwasimbibwa okumpi n’ensulo y’amazzi gwajjukiza omuwandiisi wa zabbuli embeera ey’eby’omwoyo ennungi ey’abantu ‘abasanyukira amateeka ga Yakuwa.’ Bwe tusanyukira amateeka ga Katonda, tusobola okuwangaala ng’omuti. Yee, tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yokaana 17:3.

16. Lwaki ‘tufuna omukisa mu buli kyonna kye tukola,’ era tugufuna mu ngeri ki?

16 Nga tugoberera ekkubo eggolokofu, Yakuwa atuyamba okugumira ebizibu. Tuli basanyufu era tubala ebibala mu buweereza bwa Katonda. (Matayo 13:23; Lukka 8:15) Olw’okuba ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kukola Yakuwa by’ayagala, ‘tufuna emikisa mu byonna bye tukola.’ Okuva ebigendererwa bye bwe bituukirira ate nga naffe tusanyukira amateeka ge, tuba bulungi mu by’omwoyo. (Olubereberye 39:23; Yoswa 1:7, 8; Isaaya 55:11) Bwe kityo bwe kiba ne bwe tuba twolekagana n’ebizibu.​—Zabbuli 112:1-3; 3 Yokaana 2.

Ababi Balabika ng’Abali Obulungi

17, 18. (a) Omuwandiisi wa zabbuli ababi abageraageranya ku ki? (b) Wadde ng’ababi bali bulungi mu by’enfuna, lwaki tebalina bukuumi bwa lubeerera?

17 Ng’obulamu bw’ababi bwa njawulo nnyo ku bw’abatuukirivu! Ababi bayinza okulabika ng’abali obulungi mu by’enfuna, naye tebali bulungi mu by’omwoyo. Kino kyeyoleka mu bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebiddirira: “Ababi si bwe batyo; naye bali ng’ebisusunku, empewo bye zifuumuula. Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly’abatuukirivu.” (Zabbuli 1:4, 5) Weetegereze nti omuwandiisi wa zabbuli agamba, “ababi si bwe batyo.” Yali ategeeza nti tebalinga abantu abatya Katonda, abageraageranyiziddwa ku muti ogubala ebibala era omuwangaazi.

18 Wadde ng’ababi bayinza okubeera obulungi mu by’enfuna, tebalina bukuumi bwa lubeerera. (Zabbuli 37:16; 73:3, 12) Balinga omusajja Yesu gwe yayogerako mu lugero eyali ayagala Yesu abagabanyizeemu eby’obusika bwabwe. Yesu yagamba abo abaali bamuwuliriza: “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw’omuntu si by’ebintu ebingi by’aba nabyo.” Yesu yannyonnyola olugero luno ng’ayogera ku musajja omugagga eyakungula ebirime bingi n’asalawo okumenya amawanika ge yali alina azimbe agasingako obunene mw’anaatereka ebirime ebyo. Omusajja ono yasalawo okulya, okunywa, n’okusanyuka. Naye Katonda yamugamba: “Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by’otegese binaaba by’ani?” Ng’aggumiza ensonga ye Yesu yagattako: “Bw’atyo bw’ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.”​—Lukka 12:13-21.

19, 20. (a) Nnyonnyola engeri ensigo gye baaziggyangako akakuta era ne baziwewa. (b) Lwaki ababi bageraageranyizibwa ku bisusunku?

19 Ababi ‘si bagagga eri Katonda.’ N’olwekyo, tebawangaala ng’ebisusunku by’ensigo. Mu biseera eby’edda bwe baakungulanga ebirime eby’ensigo, baabyanikanga mu gguuliro. Ekyuma ekiriko amayinja amasongovu oba enjola kyasibibwanga ku nsolo eyakiwalulanga okuyita kungulu ku nsigo ezaanikiddwa kisobozese okususumbulako akakuta ku nsigo. Ng’ekyo kiwedde, baabiyoolanga ne babiwewa. (Isaaya 30:24) Empewo yafuumuulanga ebisusunku naye ensigo ne zigwa wansi mu gguuliro. (Luusi 3:2) Oluvannyuma baakuŋŋuntanga ensigo ezo, ne bazitereka oba ne bazissa. (Lukka 22:31) Naye ebisusunku byo byafuumulwanga empewo.

20 Ng’empewo bwe yafuumuulanga ebisusunku kyokka ensigo ne zisigala, n’ababi bajja kuggibwawo abalungi basigale. Mazima ddala, tuli basanyufu nti ababi bajja kuggibwawo emirembe gyonna. Nga baggiddwawo, abantu abagoberera amateeka ga Yakuwa bajja kufuna emikisa mingi. Mu butuufu, abantu abawulize bajja kufuna ekirabo kya Katonda eky’obulamu obutaggwaawo.​—Matayo 25:34-46; Abaruumi 6:23.

“Ekkubo ly’Abatuukirivu” Eriweereddwa Omukisa

21. Yakuwa ‘amanya atya abatuukirivu’?

21 Zabbuli esooka enfundikira n’ebigambo bino: “Mukama amanyi ekkubo ly’abatuukirivu: naye ekkubo ly’ababi liribula.” (Zabbuli 1:6) Katonda ‘amanya atya abatuukirivu’? Bwe tuba nga tugoberera ekkubo eggolokofu, tuba bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu alaba engeri gye tugobereramu amateeka ge, era n’atusiima. Bwe kityo, tuba tusobola okumubuulira ebitweraliikiriza nga tuli bakakafu nti ajja kutufaako.​—Ezeekyeri 34:11; 1 Peetero 5:6, 7. 

22, 23. Kiki ekijja okutuuka ku babi era n’abatuukirivu?

22 “Ekkubo ly’abatuukirivu” lijja kubeerawo emirembe gyonna, naye ababi abatakkiriza kubuulirirwa bajja kuzikirizibwa olw’okuba Yakuwa abasalidde omusango. Era “ekkubo” oba engeri y’obulamu bwabwe, ejja kuzikirizibwa wamu nabo. Tusobola okussa obwesige mu kutuukirizibwa kw’ebigambo bya Dawudi: “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo. Naye abawombeefu balisikira ensi: era banaasanyukiranga emirembe emingi. Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:10, 11, 29.

23 Nga tuliba basanyufu nnyo okubeera ku nsi emirembe gyonna ng’ababi bonna bazikiriziddwa! Mu kiseera ekyo abawombeefu n’abatuukirivu bajja kufuna emirembe egya nnamaddala kubanga bajja kusanyukiranga “amateeka ga Mukama.” Kyokka, ng’ekyo tekinnabaawo, ‘amateeka ga Yakuwa’ galina okugobererwa. (Zabbuli 2:7a) Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okutegeera ekiragiro kino, era n’engeri gye kitukwatako awamu n’abantu bonna.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki omuntu atya Katonda aba musanyufu?

• Kiki ekiraga nti tusanyukira amateeka ga Yakuwa?

• Omuntu ayinza atya okufaanana ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’amazzi?

• Ekkubo ly’omutuukirivu lyawukana litya ku ly’omubi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Okusaba kujja kutuyamba okwewala emikwano emibi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share