LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 3/15 lup. 24-28
  • Abatuukirivu Bajja Kutendereza Katonda Emirembe Gyonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abatuukirivu Bajja Kutendereza Katonda Emirembe Gyonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ensibuko y’Essanyu
  • Bakozesa Bulungi eby’Obugagga Byabwe
  • Wa Kisa era Mwenkanya
  • Abatuukirivu Bafuna Emikisa
  • ‘Ajja Kugulumizibwa n’Ekitiibwa’
  • Sanyukira Obutuukirivu bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Osanyukira ‘Amateeka ga Yakuwa’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yakuwa Agwanidde Okutenderezebwa Abantu Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 3/15 lup. 24-28

Abatuukirivu Bajja Kutendereza Katonda Emirembe Gyonna

“Omutuukirivu anajjukirwanga . . . Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”​—ZAB. 112:6, 9.

1. (a) Mikisa ki egirindiridde abo bonna Katonda b’atwala okuba abatuukirivu? (b) Kibuuzo ki ekijjawo?

NG’ABANTU Katonda b’atwala okuba abatuukirivu bajja kufuna emikisa mingi mu biseera by’omu maaso! Kijja kubawa essanyu okuyiga ebisingawo ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo emirembe gyonna. Emitima gyabwe kijja kubugaana essanyu bwe baneeyongera okuyiga ku bintu Katonda bye yatonda. ‘Okuba omutuukirivu’ kye kimu ku bintu ebiyamba omuntu okutuuka ku mikisa ng’egyo, era kyogerwako nnyo mu Zabbuli 112. Naye, Yakuwa, Katonda omutukuvu era omutuukirivu, ayinza atya okutwala abantu aboonoonyi ng’abatuukirivu? Ne bwe tufuba okukola ekituufu, twesanga nga tukoze ensobi, ate ng’oluusi ziba za maanyi.​—Bar. 3:23; Yak. 3:2.

2. Okwagala Yakuwa kw’alina kwamuleetera kukola byamagero ki ebibiri?

2 Kyokka olw’okwagala Yakuwa kw’alina, yassaawo enteekateeka mw’ayitira okutwala abantu aboonoonyi ng’abatuukirivu. Yakikola atya? Okusooka, yakola ekyamagero bwe yakyusa obulamu bw’Omwana we omwagalwa eyali mu ggulu n’abussa mu lubuto lw’omuwala embeerera, asobole okuzaalibwa ng’omuntu atuukiridde. (Luk. 1:30-35) Oluvannyuma Yesu bwe yattibwa abalabe be, Yakuwa yakola ekyamagero ekirala eky’amaanyi. Yamuzuukiza ng’ekitonde eky’omwoyo eky’ekitiibwa.​—1 Peet. 3:18.

3. Lwaki Katonda yali musanyufu okuwa Omwana we empeera ey’obulamu mu ggulu?

3 Yakuwa yawa Omwana we, Yesu, ekintu kye yali talina nga tannafuuka muntu​—obulamu obw’omu ggulu obutasobola kuzikirizibwa. (Beb. 7:15-17, 28) Kino Yakuwa yali musanyufu nnyo okukikola kubanga Yesu yakuuma obwesigwa mu ngeri etuukiridde wadde nga yagezesebwa nnyo. Bw’atyo Yesu yasobozesa Kitaawe okuddamu eby’obulimba Setaani bye yayogera nti abantu baweereza Katonda lwa kwagala kwefunira byabwe, so si lwa kuba nti bamwagala.​—Nge. 27:11.

4. (a) Yesu yatukolera ki bwe yaddayo mu ggulu, era Yakuwa yakola ki? (b) Owulira otya bw’olowooza ku ebyo Yakuwa ne Yesu bye bakukoledde?

4 Bwe yaddayo mu ggulu, Yesu alina ekintu ekirala kye yakola. ‘Yalabika mu maaso ga Katonda ku lwaffe’ ng’alina omuwendo ‘gw’omusaayi gwe gwennyini.’ Kitaffe ow’omu ggulu yakkiriza ssaddaaka ya Yesu eyo ey’omuwendo ‘ng’omutango gw’ebibi byaffe.’ N’olwekyo, tusobola “okuweereza Katonda omulamu mu buweereza obutukuvu” nga tulina ‘omuntu ow’omunda anaaziddwa.’ Bwe kityo, tukkiriziganya n’ebigambo ebisooka ebya Zabbuli 112 (NW) ebigamba nti, “Mutendereze Ya, mmwe abantu”!​—Beb. 9:12-14, 24, NW; 1 Yok. 2:2.

5. (a) Tulina kukola ki okusobola okusigala nga tuli batuukirivu mu maaso ga Katonda? (b) Zabbuli 111 ne Zabbuli 112 zaasengekebwa zitya?

5 Okusobola okusigala nga tuli batuukirivu mu maaso ga Katonda, tulina okweyongera okukkiririza mu kinunulo ky’omusaayi gwa Yesu. Tusaanidde okwebazanga Yakuwa buli lunaku olw’okutulaga okwagala okw’amaanyi bwe kutyo. (Yok. 3:16) Era tulina okusoma ennyo Ekigambo kya Katonda n’okufuba okukolera ku bubaka obukirimu. Zabbuli 112 erimu amagezi amalungi agasobola okuyamba abo bonna abaagala okuba n’omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda. Ebiri mu zabbuli eno bijjuuliriza bulungi ebyo ebiri mu Zabbuli 111. Zombi zitandika nga zigamba nti “Mutendereze Ya, mmwe abantu!” oba nti “Aleruuya!” ne kulyoka kuddako layini 22. Mu Lwebbulaniya olw’edda, buli emu ku layini ezo yali etandika n’emu ku nnukuta 22 eza walifu y’Olwebbulaniya.a

Ensibuko y’Essanyu

6. Lwaki “oyo” atya Katonda ayogerwako mu Zabbuli 112, wa mukisa?

6 “[Musanyufu] oyo atya Mukama, asanyukira ennyo amateeka ge. Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: ezzadde ly’abatuukirivu linaabanga n’omukisa.” (Zab. 112:1, 2) Weetegereze nti omuwandiisi wa zabbuli asooka n’ayogera ku muntu omu, ng’agamba nti “oyo,” ate mu lunyiriri 2 n’ayogera ku bantu bangi, ng’agamba nti “abatuukirivu.” Kino kiraga nti ebiri mu Zabbuli 112 bikwata ne ku kibinja ekirimu abantu abangi. Bwe kityo omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okujuliza Zabbuli 112:9 ng’ayogera ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. (Soma 2 Abakkolinso 9:8, 9.) Nga zabbuli eno eraga bulungi engeri abagoberezi ba Kristo leero gye basobola okufunamu essanyu!

7. Lwaki abaweereza ba Katonda basaanidde okumutya, era ebiragiro bya Katonda osaanidde kubitwala otya?

7 Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 112:1, Abakristaayo ab’amazima bafuna essanyu lingi olw’okutambulira ‘mu kutya Yakuwa.’ Okumutya okwo kubayamba okulwanyisa omwoyo gw’ensi ya Setaani. Era ‘basanyukira nnyo’ okusoma Ekigambo kya Katonda n’okugondera ebiragiro bye. Mu bino mwe muli n’eky’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Bafuba okufuula abantu abayigirizwa mu mawanga gonna, n’okulabula ababi nti olunaku lwa Katonda olw’omusango lujja.​—Ez. 3:17, 18; Mat. 28:19, 20.

8. (a) Abantu ba Katonda baganyuddwa batya mu kuba abanyiikivu? (b) Mikisa ki abo abanaabeera ku nsi gye bajja okufuna?

8 Olw’okuba ebiragiro ng’ebyo bigonderwa, abaweereza ba Katonda leero bawera obukadde nga musanvu. Waliwo omuntu yenna ayinza okugamba nti abantu be si ‘ba maanyi ku nsi’? (Yok. 10:16; Kub. 7:9, 14) Era bajja kweyongera okufuna ‘omukisa’ nga Katonda atuukiriza ebigendererwa bye! Ng’ekibiina, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bajja kuwonyezebwawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ bafuuke “ensi empya obutuukirivu mwe bulituula.” Bwe wanaayita ekiseera, abo abanaaba bawonyeewo ku Kalumagedoni ‘bajja kufuna emikisa’ egisingawo. Bajja kwaniiriza obukadde n’obukadde bw’abantu abanaazuukizibwa. Ng’ekyo kijja kuba kiseera kya ssanyu! Era ekiseera kijja kutuuka abo ‘abasanyukira ennyo’ ebiragiro bya Katonda bafuuke abantu abatuukiridde era bafune ‘eddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda’ emirembe gyonna.​—2 Peet. 3:13; Bar. 8:21.

Bakozesa Bulungi eby’Obugagga Byabwe

9, 10. Abakristaayo ab’amazima bakozesezza batya eby’obugagga byabwe eby’omwoyo, era obutuukirivu bwabwe bunaabeerera butya emirembe gyonna?

9 “Ebintu n’obugagga biri mu nnyumba ye: n’obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna. Eri omutuukirivu [ekitangaala kijja] awali ekizikiza: oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.” (Zab. 112:3, 4) Mu biseera bya Baibuli, abamu ku baweereza ba Katonda baali bagagga nnyo. Kyokka n’abo abakola Katonda by’asiima baba bagagga, wadde nga bayinza okuba nga tebalina bintu bingi. Ekituufu kiri nti abantu abasinga ku abo abasalawo okufuuka abeetoowaze mu maaso ga Katonda baba baavu era abanyoomebwa, nga bwe kyali mu biseera bya Yesu. (Luk. 4:18; 7:22; Yok. 7:49) Naye omuntu k’abe ng’alina ebintu bingi oba bitono, asobola okuba omugagga mu by’omwoyo.​—Mat. 6:20; 1 Tim. 6:18, 19; soma Yakobo 2:5.

10 Eby’obugagga eby’omwoyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe ab’endiga endala bye balina tebabyesigaliza bokka. Bafuuka ‘ekitangaala eri abatuukirivu’ mu nsi ya Setaani eno ekutte ekizikiza. Kino bakikola nga bayamba abalala okuganyulwa mu magezi ag’omuwendo ne mu kumanya okukwata ku Katonda. Abalabe bagezezzaako okukomya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka naye balemereddwa. Era ebirungi ebiva mu mulimu guno ogw’obutuukirivu bijja ‘kubeerera emirembe gyonna.’ Bwe banywerera mu kkubo ery’obutuukirivu, abaweereza ba Katonda baba n’essuubi ery’okuba abalamu ‘emirembe gyonna.’

11, 12. Abantu ba Katonda bakozesa batya eby’obugagga byabwe?

11 Abantu ba Katonda, abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene,’ balaze nti bagabi bwe kituuka ku by’obugagga byabwe. Zabbuli 112:9 wagamba: “Agabye, awadde abaavu.” Emirundi mingi Abakristaayo ab’amazima bayamba Bakristaayo bannaabwe n’abantu abalala ababa mu bwetaavu. Era bakozesa eby’obugagga byabwe okuyamba abalala nga waguddewo obutyabaga. Nga Yesu bwe yalaga, kino nakyo kireeta essanyu.​—Soma Ebikolwa 20:35; 2 Abakkolinso 9:7.

12 Okugatta ku ekyo, lowooza ku nsimbi ezisaasaanyizibwa mu kukuba magazini eno mu nnimi 172, ate nga bangi ku bantu aboogera ennimi ezo baavu. Lowooza ne ku ky’okuba nti magazini eno efulumizibwa mu lulimi lwa bakiggala, ne mu lwa bamuzibe.

Wa Kisa era Mwenkanya

13. Baani abassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kugaba n’ekisa, era tuyinza tutya okubakoppa?

13 “Alaba ebirungi oyo akola eby’ekisa, awola.” (Zab. 112:5) Oteekwa okuba nga wali olabye ku bantu abagabira abalala naye nga tekiva ku kuba nti ba kisa. Abamu bakikola lwa buwaze oba okulaga nti balina ebintu bingi. Tekisanyusa n’akamu omuntu okukuyamba ng’ate bw’akulaga nti oli wa wansi oba nti omukaluubirizza. Naye kireeta essanyu omuntu bw’akuyamba ate n’akikola mu ngeri ey’ekisa. Yakuwa ye Mugabi asingayo okuba ow’ekisa era omusanyufu. (1 Tim. 1:11; Yak. 1:5, 17) Yesu Kristo yakoppera ddala Kitaawe mu kulaga ekisa. (Mak. 1:40-42) N’olwekyo, okusobola okuba abatuukirivu mu maaso ga Katonda, tulina okugaba n’essanyu era n’ekisa, naddala nga tubuulira oba nga tuyamba abalala mu by’omwoyo.

14. Tuyinza tutya ‘okukwata ensonga zaffe mu ngeri ey’obwenkanya’?

14 “Akwata ensonga ze mu ngeri ya bwenkanya.” (Zab. 112:5, NW) Nga bwe kyalagulwa, ab’ekibiina ky’omuwanika omwesigwa bakolera ku mutindo gwa Yakuwa ogw’obwenkanya nga balabirira ebintu bya Mukama waabwe. (Soma Lukka 12:42-44.) Kino kyeyolekera mu bulagirizi obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa obuweebwa abakadde, abalina okutuula mu nsonga nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi mu kibiina. Obwenkanya era bweyolekera mu bulagirizi obwesigamiziddwa ku Baibuli omuddu omwesigwa bwawa ku nzirukanya y’ebibiina byonna, amaka g’abaminsani, n’amaka ga Beseri. Abakadde si be bokka abalina okulaga obwenkanya, wabula n’Abakristaayo bonna balina okubulaga mu nkolagana yaabwe ne bakkiriza bannaabwe era n’abantu abalala, nga mw’otwalidde n’ensonga za bizineesi.​—Soma Mikka 6:8, 11.

Abatuukirivu Bafuna Emikisa

15, 16. (a) Abatuukirivu bakwatibwako batya olw’ebintu ebibi ebiriwo mu nsi? (b) Abaweereza ba Katonda bamaliridde kukola ki?

15 “Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo. Taatyenga bigambo bya bubi: omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama. Omutima gwe [mugumu], taatyenga, okutuusa lw’aliraba by’ayagala nga bituuse ku balabe be.” (Zab. 112:6-8) Embeera tebeerangako mbi nga bw’eri kati ng’ensi ejjudde entalo, ebikolwa eby’obutujju, endwadde, obumenyi bw’amateeka, obwavu, nga mw’otwalidde n’okwonoonebwa kw’obutonde. Abantu abatuukirivu mu maaso ga Katonda nabo bakosebwa olw’ebintu ebyo, naye tebibaleetera kutya kisusse. Mu kifo ky’ekyo, emitima gyabwe ‘minywevu’ era ‘migumu’ olw’okuba bamanyi nti ensi ya Katonda ey’obutuukirivu eneetera okutuuka. Bwe bagwirwa akatyabaga konna, basobola okugumira embeera kubanga bamanyi nti Yakuwa ajja kubayamba. Taleka batuukirivu be ‘kusagaasagana’​—abawa amaanyi ne basobola okuguma.​—Baf. 4:13.

16 Abantu ba Katonda abatuukirivu era bakyayibwa awamu n’okwogerwako eby’obulimba, naye ekyo tekibamalaamu maanyi. Beeyongera bweyongezi kuba banywevu era bamalirivu mu kukola omulimu Yakuwa gwe yabawa ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Tewali kubuusabuusa nti abatuukirivu bajja kwongera okwolekagana n’okuziyizibwa ng’enkomerero esembera. Obukyayi obwo bujja kutuuka ku ntikko nga Setaani Omulyolyomi, Googi ow’e Magoogi, alumba abantu ba Katonda mu nsi yonna. Olwo tujja ‘kulaba abalabe baffe’ bonna nga bawangulirwa mu buswavu obw’ekitalo. Nga kijja kuba kya ssanyu okulaba nga Yakuwa atukuza erinnya lye mu bujjuvu!​—Ez. 38:18, 22, 23.

‘Ajja Kugulumizibwa n’Ekitiibwa’

17. Mu ngeri ki omutuukirivu ‘gy’ajja okugulumizibwa n’ekitiibwa’?

17 Nga kijja kuba kya ssanyu ffenna okutendereza Yakuwa nga tewakyali kuziyizibwa Mulyolyomi awamu n’ensi ye! Guno gwe gumu ku mikisa egy’olubeerera egirindiridde abo abafuba okusigala nga batuukirivu mu maaso ga Katonda. Tebajja kuwangulwa n’akamu kubanga Yakuwa asuubiza nti “ejjembe” ly’abatuukirivu be ‘lijja kugulumizibwa n’ekitiibwa.’ (Zab. 112:9) Omutuukirivu wa Yakuwa ajja kujaguza ng’abalabe b’obufuzi bwa Yakuwa bonna bawanguddwa.

18. Ebigambo ebifundikira Zabbuli 112 binaatuukirizibwa bitya?

18 “Omubi alibiraba alirumwa omwoyo; aliruma obugigi n’amannyo ge, alinyolwa; omubi by’ayagala birifa.” (Zab. 112:10) Abo bonna abagezaako okuziyiza abantu ba Katonda bajja ‘kunyolwa’ olw’okulaga obuggya n’obukyayi. Ekigendererwa kyabwe eky’okwagala okukomya omulimu gwaffe bajja kuzikirira nakyo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekinaatera okutuuka.​—Mat. 24:21.

19. Tuyinza kuba bakakafu ku ki?

19 Onooba omu ku abo abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekyo ekinene? Oba singa olwala oba n’okaddiwa n’ofa ng’ensi ya Setaani tennazikirizibwa, onooba omu ku ‘batuukirivu’ abanaazuukizibwa? (Bik. 24:15) Yee, osobola okuba omu ku bo singa weeyongera okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu era n’okoppa Yakuwa, ng’abo abakiikirirwa “oyo” omutuukirivu ayogerwako mu Zabbuli 112 bwe bakola. (Soma Abaefeso 5:1, 2.) Yakuwa ajja ‘kujjukira’ abantu ng’abo awamu n’ebikolwa byabwe eby’obutuukirivu, era ajja kubalaga okwagala kwe emirembe n’emirembe.​—Zab. 112:3, 6, 9.

[Obugambo obuli wansi]

a Eky’okuba nti zabbuli zino zombi zikwatagana kyeyolekera mu ngeri gye zaasengekebwamu ne mu ebyo ebizirimu. Omusajja “oyo” atya Katonda Zabbuli 112 gw’eyogerako akoppa engeri za Katonda ezoogerwako mu Zabbuli 111, nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 111:3, 4 ne Zabbuli 112:3, 4.

Ebibuuzo eby’Okufumiirizaako

• Nsonga ki ezituleetera okwogerera waggulu nti “Aleruuya”?

• Bintu ki ebireetera Abakristaayo ab’amazima essanyu leero?

• Mugabi wa ngeri ki Yakuwa gw’asanyukira?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Okusobola okusigala nga tuli batuukirivu mu maaso ga Katonda, tulina okukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Ensimbi eziweebwayo ziyamba mu kudduukirira abagwiriddwa obutyabaga ne mu kubunyisa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share