Essuubi ly’Okuzuukira—Lirina Makulu Ki gy’Oli?
“Oyanjuluza engalo zo n’okussa buli kintu [e]kiramu bye kyagala.”—ZABBULI 145:16.
1-3. Abantu abamu balina ssuubi ki mu biseera eby’omu maaso? Waayo ekyokulabirako.
KRISTOOFA ow’emyaka omwenda ne mukulu we, baamala essaawa ez’oku makya nga babuulira nnyumba ku nnyumba ne kojja waabwe, muka kojja waabwe wamu ne bakizibwe baabwe babiri okumpi n’ekibuga Manchester, eky’omu Bungereza. Magazini yaffe eyitibwa Awake!, yannyonnyola ebyaliwo ng’egamba: “Olweggulo baatambulako ne bagenda e Blackpool, ekifo ekiri okumpi n’olubalama lw’ennyanja. Kya nnaku nti bonna 6 baali ku abo 12 abaafiira mu kabenje k’emmotoka, poliisi ke yayita ‘ddeka busa.’”
2 Eggulo limu, Kristoofa ne banne baali babaddewo mu Kusoma Ekitabo kw’Ekibiina, era nga ku olwo ensonga eyakubaganyizibwako ebirowoozo yali ekwata ku kufa. Taata we yagamba: “Kristoofa yalinga afumiitiriza nnyo. Ku olwo, yannyonnyola bulungi ebikwata ku nsi empya era n’essuubi lye yalina ery’ebiseera eby’omu maaso. Bwe tweyongera okusoma, Kristoofa yagamba: ‘Omuganyulo oguli mu kuba Omujulirwa wa Yakuwa guli nti wadde ng’okufa kuluma, tukimanyi nti luliba lumu ne tuddamu okulabagana.’ Tewaali n’omu ku ffe eyali amanyi nti ebigambo ebyo byali bigenda kutusigala ku mitima.”a
3 Mu 1940, Omujulirwa omu okuva mu Austria, ayitibwa Franz, yakimanya nti yali agenda kuwanikibwa ku kalabba olw’okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Bwe yali mu kkomera ly’e Berlin, yawandiikira bw’ati maama we: “Okusinziira ku kye mmanyi, singa nnakirizza okuyingira amagye, nnandibadde nkoze ekibi eky’amaanyi ekiŋŋwanira okufa. Ekyo kyandibadde kibi nnyo. Sandibadde na ssuubi lya kuzuukira. . . . Naye kaakano Maama wange omwagalwa, baganda bange ne bannyinaze, leero bansalidde ogw’okufa, era nja kuwanikibwa ku kalabba enkya ku makya. Wadde kiri kityo, mube bagumu. Katonda ampadde amaanyi, nga bwe yakola eri Abakristaayo ab’edda. . . . Bwe munaaba abeesigwa okutuusa okufa, tujja kuddamu okusisinkana mu kuzuukira. . . . Okutuusa lwe tuliddamu okulabagana.”b
4. Ebyokulabirako ebyogeddwako waggulu bikukwatako bitya, era kiki kye tugenda okwekenneenya?
4 Kristoofa ne Franz baatwala essuubi ly’okuzuukira nga kkulu nnyo. Okuzuukira kwali kwa ddala gye bali. Mazima ddala ebikwata ku Kristoofa ne Franz bituzzaamu nnyo amaanyi! Okusobola okweyongera okusiima Yakuwa n’okunyweza essuubi lyaffe ery’okuzuukira, ka twekenneenye ensonga lwaki wajja kubaawo okuzuukira n’engeri kino gye kitukwatako kinnoomu.
Okwolesebwa Okukwata ku Kuzuukira okw’Oku Nsi
5, 6. Yokaana yalaba ki mu kwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa 20:12, 13?
5 Ng’ayolesebwa ebiribaawo mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu Kristo obw’Emyaka Olukumi, Yokaana yalaba ng’abantu bazuukizibwa ku nsi. Yagamba: “Ne ndaba abafu abakulu n’abato, . . . N’ennyanja n’ereeta abafu abalimu, n’okufa n’Amagombe ne bireeta abafu abalimu.” (Okubikkulirwa 20:12, 13) Abo bonna abali emagombe—ka babe “bakulu” oba “bato”—bajja kuzuukizibwa. N’abo abaafiira mu nnyanja nabo bajja kuzuukizibwa mu kiseera ekyo. Okuzuukiza abantu kye kimu ku bigendererwa bya Yakuwa.
6 Obufuzi bwa Kristo obw’emyaka olukumi bujja kutandika nga Setaani asibibwa era n’asuulibwa mu bunnya. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu tewali n’omu ku abo abalizuukizibwa oba abanaawonawo ku kibonyoobonyo ekinene abajja okubuzaabuzibwa Setaani, kubanga ajja kuba asuuliddwa mu bunnya. (Okubikkulirwa 20:1-3) Emyaka olukumi giyinza okulabika ng’emingi ennyo, naye Yakuwa ye agiraba “ng’olunaku olumu.”—2 Peetero 3:8.
7. Kiki ekinaasinziirwako okusalira abantu emisango mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?
7 Okusinziira ku kwolesebwa okwo, ekiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi kijja kuba kiseera kya kusala musango. Omutume Yokaana yawandiikibwa: “Ne ndaba abafu, abakulu n’abato, nga bayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali. . . . Ne basalirwa omusango buli muntu ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” (Okubikkulirwa 20:12, 13) Weetegereze nti abantu tebajja kusalirwa musango kusinziira ku ebyo bye baakola oba bye baalemererwa okukola nga tebannafa. (Abaruumi 6:7) Wabula, bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebiri mu “mizingo” egijja okubikkulwa mu kiseera ekyo. Ebyo omuntu by’anaakola oluvannyuma lw’okuyiga ebiri mu mizingo egyo bye bijja okusinziirwako obanga erinnya lye liwandiikibwa mu ‘kitabo ky’obulamu.’
‘Okuzuukirira Obulamu’ oba ‘Okuzuukirira Omusango’
8. Bintu ki eby’emirundi ebiri abantu bye balizuukirira?
8 Mu kwolesebwa Yokaana kwe yafuna, Yesu ayogerwako ng’alina “ebisumuluzo eby’okufa n’eby’Emagombe.” (Okubikkulirwa 1:18) Aweereza ‘ng’Omukulu w’obulamu,’ era ng’oyo Yakuwa gwe yawa obuyinza okusala omusango “gw’abalamu n’abafu.” (Ebikolwa 3:15; 2 Timoseewo 4:1) Kino anaakikola atya? Ng’azuukiza abo abeebase mu kufa. Yesu yagamba abantu abaali bamuwuliriza: “Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.” Era yagattako nti: “Abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.” (Yokaana 5:28-30) Kati olwo, abasajja n’abakazi abeesigwa ab’omu biseera eby’edda balina ssuubi ki?
9. (a) Abo abanaazuukizibwa banaayigirizibwa ki? (b) Mulimu ki omunene ogulikolebwa?
9 Abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’omu biseera eby’edda bwe balizuukizibwa, bajja kukitegeera nti ebisuubizo bye baali beesunga byatuukirira. Nga bajja kwagala nnyo okuyiga ebikwata ku Zzadde ly’omukazi wa Katonda ayogerwako mu bunnabbi bwa Baibuli obwasooka obuli mu Olubereberye 3:15! Nga kijja kubazzaamu amaanyi okuwulira nti Yesu, Masiya eyasuubizibwa, yakuuma obwesigwa bwe okutuusa okufa, n’asobola okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo! (Matayo 20:28) Abo abalibaaniriza bajja kubayamba okukitegeera nti ekinunulo nteekateeka ya Yakuwa eraga ekisa kye ekitatusaanira. Abo abalizuukizibwa bwe balitegeera ekifo ky’Obwakabaka bwa Katonda mu kutuukiriza ebigendererwa bye ku nsi, kijja kubaleetera okumutendereza. Bajja kuweebwa omukisa okwoleka obwesigwa bwabwe eri Kitaabwe ow’omu ggulu n’Omwana we. Buli muntu anaabeerawo ajja kwenyigira mu mulimu omunene ogw’okuyigiriza obuwumbi n’obuwumbi bw’abo abalizuukizibwa, nabo basobole okusiima enteekateeka ya Katonda.
10, 11. (a) Biki ebinaabaawo mu Myaka Olukumi? (b) Kino kyanditukutteko kitya?
10 Ibulayimu bw’alizuukizibwa, kijja kumusanyusa okubeera wansi w’obufuzi ‘bw’ekibuga’ kye yali alindirira. (Abaebbulaniya 11:10) Nga Yobu ajja kusanyuka nnyo bw’anaakimanya nti obwesigwa bwe bwayamba abaweereza ba Yakuwa abalala okwaŋŋanga ebigezo! Ate nga Danyeri ajja kwagala nnyo okumanya engeri obunnabbi bwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika gye bwatuukirizibwamu!
11 Mazima ddala, abo bonna abanaafuna obulamu mu nsi empya ey’obutuukirivu, ka babe nga bazuukidde oba nga bawonyewo ku kibonyoobonyo ekinene, balina bingi bye bajja okuyiga ku bigendererwa bya Yakuwa eri ensi n’abantu. Olw’okuba tujja kuba n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna nga tutendereza Yakuwa, omulimu gw’okuyigiriza mu Myaka Olukumi gujja kunyuma nnyo. Kyokka, ekinaaba kisinga obukulu kwe kuba nti buli omu ku ffe assa mu nkola ebinaaba mu mizingo. Tunassa mu nkola ebyo bye tunaayiga? Tunaafumiitiriza era ne tukolera ku ebyo ebinaatuyamba okuziyiza Setaani mu kugezesebwa okusembayo ng’agezaako okutuggya ku mazima?
12. Kiki ekinaasobozesa buli omu okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okuyigiriza n’okufuula ensi olusuku lwa Katonda?
12 Tetusaanidde kubuusa maaso miganyulo egiri mu kinunulo kya Kristo. Abo abalizuukizibwa tebajja kuddamu kubonaabona. (Isaaya 33:24) Olw’okuba bajja kuba balamu bulungi, abo abaliba mu nsi empya bajja kusobola okwenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza obuwumbi n’obuwumbi bw’abo abalizuukizibwa. Ate era bajja kuyamba mu kufuula ensi olusuku lwa Katonda, kino kiweese Yakuwa ekitiibwa.
13, 14. Lwaki Setaani ajja kusumululwa mu kiseera ky’okugezesa ekinaasembayo, era biki ebiyinza okutuviiramu kinnoomu?
13 Setaani bw’anaasumululwa okuva mu bunnya okugezesa abantu omulundi ogusembayo, ajja kugezaako okubabuzaabuza. Okusinziira ku Okubikkulirwa 20:7-9, ‘amawanga gonna aganaalimbibwa,’ oba abantu abanaagoberera obulimba bwa Setaani, bajja kuzikirizibwa, kubanga ‘omuliro gujja kukka okuva mu ggulu gubookye.’ Abo abalizuukizibwa mu Bufuzi obw’Emyaka Olukumi, kyokka oluvannyuma ne bazikirizibwa, bajja kuba ng’abaazuukirira omusango. Ate abo abalizuukizibwa ne bakuuma obwesigwa bwabwe, bo bajja kufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. Mazima ddala, bo bajja kuba ‘bazuukiridde bulamu.’—Yokaana 5:29.
14 Essuubi ly’okuzuukira lituzzaamu litya amaanyi ne mu kiseera kino? Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba ab’okuganyulwa mu ssuubi eryo mu biseera eby’omu maaso?
Bye Tusobola Okuyiga Leero
15. Essuubi ly’okuzuukira liyinza litya okukuyamba mu kiseera kino?
15 Gye buvuddeko awo oyinza okuba nga wafiirwa omwagalwa wo era nga kaakano ogezaako okugumiikiriza ekizibu ekyo. Essuubi ly’okuzuukira likugumya era ne likuzaamu amaanyi obutafaananako abo abatamanyi mazima. Pawulo yabuulirira bw’ati Abasessaloniika: “Tetwagala mmwe obutategeera, ab’oluganda, eby’abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng’abalala abatalina ssuubi.” (1 Abasessaloniika 4:13) Okuba akafaananyi ng’oli mu nsi empya, ng’olaba abafu nga bazuukira? Bwe kiba bwe kityo, ojja kubudaabudibwa nnyo bw’onoofumiitiriza ku ssuubi ery’okuddamu okulaba ab’eŋŋanda zo.
16. Oyinza kuwulira otya ng’okuzuukira kutuuse?
16 Mu kiseera kino oyinza okuba ng’olina obulwadde obw’amaanyi olw’ekibi ekyava ku bujeemu bwa Adamu. Tokkiriza bulumi obwo kukwerabiza ssuubi lya kuzuukira n’ery’okuba n’obulamu obulungi mu nsi empya. Bw’olizuukira n’olaba abantu abajjudde essanyu abakwaniriza, mazima ddala ojja kwebaza Katonda olw’ekisa kye ekitatusaanira.
17, 18. Bintu ki ebibiri bye tusaanidde okulowoozaako?
17 Kyokka, ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, waliwo ebintu bibiri bye tusaanidde okulowoozaako. Ekisooka, kwe kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Okufaananako Mukama waffe Yesu Kristo, bwe twefiiriza twoleka okwagala kwaffe eri Yakuwa ne baliraanwa baffe. Ne bwe kiba nti okuyigganyizibwa kutuviirako okufiirwa ebintu byaffe oba eddembe lyaffe, tuli bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa ka kibe kigezo ki kye twolekagana nakyo. Ne bwe kiba nti abatuziyiza batutiisatiisa okututta, essuubi ly’okuzuukira lijja kutubudaabuda era lituyambe okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’Obwakabaka bwe. Yee, bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa kinyweza essuubi lyaffe ery’okufuna emikisa Yakuwa gy’anaawa abatuukirivu.
18 Eky’okubiri kikwata ku ngeri gye tweyisaamu nga twolekaganye n’okukemebwa. Okumanya ebikwata ku ssuubi ly’okuzuukira n’okusiima ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira, bituyamba okuba abamalirivu okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza. Omutume Yokaana yagamba: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi, okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye. Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwegulumiza kw’obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:15-17) Bwe tugeraageranya ebintu by’omu nsi ku ‘bulamu obwa nnamaddala’ bwe tujja okufuna, tetujja kutwalirizibwa. (1 Timoseewo 6:17-19) Singa tukemebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, tetujja kwekkiriranya. Tukimanyi nti ne bwe tufa nga Kalumagedoni tannajja, naye nga tubadde tetukola Katonda by’ayagala, tufaananako n’abantu abatalina ssuubi lya kuzuukira.
19. Nkizo ki gye tutasaanidde kwerabira?
19 Ekisinga byonna, tetusaanidde kwerabira nti tulina enkizo ey’ekitalo ey’okusanyusa omutima gwa Yakuwa kati era n’emirembe gyonna. (Engero 27:11) Bwe tusigala nga tuli beesigwa okutuusa okufa oba okutuusa ku nkomerero y’omulembe guno omubi, tulaga Yakuwa oludda kwe tuli ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okuba mu Lusuku lwa Katonda nga tuwonyeewo ku kibonyoobonyo ekinene oba nga tuzuukiziddwa!
Okukkusa Ebyetaago Byaffe
20, 21. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa wadde nga waliwo ebibuuzo ebimu ebikwata ku kuzuukira bye twetaaga okuddibwamu? Nnyonnyola.
20 Okwekenneenya ebikwata ku kuzuukira tekitusobozesezza kuddamu buli kibuuzo. Gamba, kiki Yakuwa ky’anaakolera abo abafa nga babadde bafumbo? (Lukka 20:34, 35) Abantu banaazuukirira gye baafiira? Abantu balizuukirira kumpi n’ab’omu maka gaabwe? Waliwo n’ebibuuzo ebirala ebikwata ku kuzuukira bye twetaaga okuddibwamu. Wadde kiri kityo, tulina okujjukira ebigambo bya Yeremiya ebigamba: “Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. Kirungi omuntu okusuubiranga n’okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng’ateredde.” (Okukungubaga 3:25, 26) Mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, tujja kusobola okutegeera buli kantu. Lwaki tuli bakakafu ku nsonga eno?
21 Fumiitiriza ku bigambo by’omuwandiisi wa zabbuli eyayogera bw’ati ku Yakuwa: “Oyanjuluza engalo zo n’okkusa buli kintu [e]kiramu bye kyagala.” (Zabbuli 145:16) Bwe tugenda tukaddiwa, bye twagala bigenda bikyuka. Ebintu bye twayagalanga nga tukyali bato, si bye twagala kati. Engeri gye tutunuuliramu obulamu esinziira ku mbeera ze tuyiseemu n’essuubi lye tuba nalyo. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe byonna mu nsi empya.
22. Lwaki tulina ensonga ennungi okutendereza Yakuwa?
22 Ffenna twandifubye okusigala nga tuli beesigwa. ‘Omuwanika kimugwanira okuba omwesigwa.’ (1 Abakkolinso 4:2) Tuli bawanika b’amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe tunyiikirira omulimu ogwo ogw’okubuulira kituyamba okusigala mu kkubo ery’obulamu. Tulina okukijjukiranga nti ffenna tufuna ebizibu ‘ebigwa bitalaze.’ (Omubuulizi 9:11) Okusobola okukendeeza ku ebyo ebikweraliikiriza mu bulamu, fuba okunyweza essuubi ly’olina mu kuzuukira. Kijjukire nti ne bw’ofa ng’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi tebunnaba, kijja kukuzzaamu amaanyi okumanya nti ojja kufuna obuweerero. Mu kiseera kya Yakuwa ekigereke ojja kusobola okwogera nga Yobu eyagamba Omutonzi nti: ‘Olimpita nange ndikuyitaba.’ Ettendo lyonna ka lidde eri Yakuwa, ayagala okuzuukiza abo bonna b’ajjukira!—Yobu 14:15.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! aka Jjulaayi 8, 1988, olupapula 10, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, olupapula 662, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Ojjukira?
• Mu kiseera eky’Emyaka Olukumi abantu banaasalirwa omusango kusinziira ku ki?
• Lwaki abamu bajja ‘kuzuukirira obulamu’ ate abalala ‘bazuukirire omusango’?
• Essuubi ly’okuzuukira liyinza litya okutubudaabuda mu kiseera kino?
• Zabbuli 145:16 etuyamba etya bwe tuba n’ebibuuzo ebitanaddibwamu ebikwata ku kuzuukira?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]
Okukkiririza mu kuzuukira kuyinza kutya okutuyamba mu kiseera kino?