LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 6/1/07 lup. 19-23
  • Okuzuukira kwa Ddala gy’Oli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuzuukira kwa Ddala gy’Oli?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuzuukira​—Ssuubi Lya Ddala
  • Okubudaabudibwa Essuubi ly’Okuzuukira
  • Essuubi Lyo n’Obulamu Bwo Leero
  • Essuubi ery’Okuzuukira Kkakafu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okuzuukira—Njigiriza Ekukwatako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Amaanyi Agali mu Ssuubi ery’Okuzuukira
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Essuubi ly’Okuzuukira—Lirina Makulu Ki gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 6/1/07 lup. 19-23

Okuzuukira kwa Ddala gy’Oli?

“Walibaawo okuzuukira.”​—EBIKOLWA 24:15.

1. Lwaki okufa kulabika ng’ekintu ekitasobola kwewalika?

“MU NSI muno ebintu bibiri birina okubaawo, okufa n’omusolo.” Ebigambo ebyo ebyawandiikibwa omukungu wa Amerika ayitibwa Benjamin Franklin mu 1789, abantu abamu babitwala nga bya magezi nnyo. Kyokka, abantu bangi beewala okusasula musolo. Naye, kwo okufa tewali n’omu asobola kukwewala. Ne bwe tukola tutya, ekiseera kituuka ne tufa. Okufa kutulondoola buli we tulaga. Tewali n’omu ku baagalwa baffe amagombe gwe gataliza. (Engero 27:20) Wadde nga kiri kityo, waliwo ekintu ekizzaamu amanyi.

2, 3. (a) Lwaki waliwo abantu abayinza obutafa wadde nga bangi tebakimanyi? (b) Biki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

2 Ekigambo kya Yakuwa kiwa essuubi eryesigika ery’okuzuukira, essuubi ery’okuddamu okuba abalamu nate. Kino si kirooto bulooto, era tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kukituukiriza. Wadde nga bangi tebakimanyi, abantu abamu tebajja kufa. Lwaki? Kubanga ‘ab’ekibiina ekinene’ abatamanyiddwa muwendo bajja kuyita mu ‘kibonyoobonyo ekinene,’ ekinaatera okutuuka. (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14) Bajja kweyongera okuba abalamu oluvannyuma lw’ekyo, nga balina essuubi ery’okubeera abalamu emirembe gyonna. N’olwekyo, bano tebajja kufa. Ate era, “omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.”​—1 Abakkolinso 15:26.

3 Twetaaga okuba abakakafu nti ddala eriyo okuzuukira ng’omutume Pawulo, eyagamba nti: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Ka twekenneenye ebibuuzo bisatu ebikwata ku kuzuukira. Ekisooka, kiki ekifuula essuubi lino okuba erya ddala? Eky’okubiri, ggwe kennyini oyinza otya okubudaabudibwa essuubi lino ery’okuzuukira? Eky’okusatu, essuubi lino likwata litya ku bulamu bwo leero?

Okuzuukira​—Ssuubi Lya Ddala

4. Lwaki okuzuukira kukulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa?

4 Waliwo ebintu bingi ebituleetera okuba abakakafu nti okuzuukira kwa ddala. Ekisingira ddala, okuzuukira kintu kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. Jjukira nti Setaani yaleetera abantu okwonoona, ne kibaviiramu okufa. Eno ye nsonga lwaki Yesu yayogera ku Setaani nti: “Oyo okuva ku lubereberye ye mussi.” (Yokaana 8:44) Naye Yakuwa yasuubiza nti “omukazi,” oba ekibiina kye eky’omu ggulu ky’atwala nga mukazi we, yandivuddemu “ezzadde” eryandibetense omutwe ‘gw’omusota ogw’edda,’ ne lizikiririza ddala Setaani. (Olubereberye 3:1-6, 15; Okubikkulirwa 12:9, 10; 20:10) Yakuwa bwe yagenda abikkula ebisingawo ku Zadde eryandifuuse Masiya, kyeyoleka bulungi nti ng’oggyeko okuzikiriza Setaani, waliwo ekintu ekirala Ezzadde kye lyandikoze. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.” (1 Yokaana 3:8) Okufa okwaleetebwa ekibi kye twasikira okuva ku Adamu kye kintu ekisingayo obubi mu bikolwa bya Setaani, Yakuwa by’agenda okumalawo ng’ayitira mu Yesu Kristo. Okusobola okutuukiriza kino, ekinunulo kya Yesu n’okuzuukira bikulu nnyo.​—Ebikolwa 2:22-24; Abaruumi 6:23.

5. Lwaki okuzuukira kujja kugulumiza erinnya lya Yakuwa?

5 Yakuwa amaliridde okugulumiza erinnya lye ettukuvu. Setaani asiize erinnya lya Katonda enziro era asaasaanyizza eby’obulimba. Yalimba nti Adamu ne Kaawa ‘tebandifudde’ bwe bandiridde ku kibala Katonda kye yali abagaanyi. (Olubereberye 2:16, 17; 3:4) Okuva olwo, Setaani asaasaanyizza eby’obulimba ebiringa ebyo, gamba ng’enjigiriza egamba nti emmeeme tefa. Kyokka, okuyitira mu kuzuukira, obulimba ng’obwo bwonna Yakuwa ajja kubwanika. Ajja kuwa obukakafu obw’enkomeredde nti ye yekka asobola okulamya n’okuzzaawo obulamu.

6, 7. Yakuwa alina nneewulira ki ku kuzuukiza abantu, era kino tukimanya tutya?

6 Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abantu. Kino Baibuli ekyoleka bulungi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa, Yobu omusajja omwesigwa bye yayogera: “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez’olutabaalo lwange, okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze. Wandimpise, nange nandikuyitabye: wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.” (Yobu 14:14, 15) Ebigambo bino bitegeeza ki?

7 Yobu yali akimanyi nti oluvannyuma lw’okufa kwe, wandiyiseewo ekiseera nga yeebase mu kufa. Ekiseera ekyo yakitwala ng’ennaku omuntu z’ateekwa okumala mu ‘lutabaalo,’ okutuusa lw’ateebwa. Yobu yali mukakafu nti ekiseera kye eky’okuteebwa kyali kijja kutuuka. Lwaki? Kubanga yali amanyi enneewulira Yakuwa gy’alina ku nsonga eno. Yakuwa yandibadde “n’okwegomba” okulaba omuweereza we omwesigwa nate. Yee, Katonda ayagala nnyo okukomyawo abatuukirivu bonna mu bulamu. Yakuwa era ajja kuwa abalala omukisa gw’okubeera mu Lusuku lwe ku nsi emirembe gyonna. (Lukka 23:43; Yokaana 5:28, 29) Okuva bwe kiri nti kino kye kigendererwa kya Katonda, ani ayinza okukimulemesa?

8. Yakuwa yawa atya “obukakafu” ku ssuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso?

8 Essuubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso kkakafu olw’okuba Yesu yazuukizibwa. Bwe yali ayogera mu Asene, Pawulo yagamba nti: “[Katonda] yateekawo olunaku lw’agenda okusaliramu omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa [“obukakafu,” NW] bwe yamuzuukiza mu bafu.” (Ebikolwa 17:31) Abamu ku baali bawuliriza Pawulo baamusekerera bwe yayogera ku kuzuukira. Kyokka, abamu baafuuka bakkiriza. Osanga eky’okuba nti yalaga nti essuubi lino kkakafu kye kyabasikiriza okukkiriza. Yakuwa bwe yazuukiza Yesu, Yakola ekyamagero ekisingirayo ddala okuba eky’amaanyi. Yazuukiza Omwana we ng’ekitonde eky’amaanyi eky’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Yesu ng’amaze okuzuukizibwa yali wa waggulu okusinga ne bwe yali nga tannaba kufuuka muntu. Kati ng’alina omubiri ogutafa era nga y’addirira Yakuwa mu buyinza, Yesu asobola bulungi okukola byonna Kitaawe by’aba amulagidde. Yesu, Yakuwa gw’ajja okukozesa okuzuukiza abalala bonna ab’okufuna obulamu mu ggulu oba ku nsi. Yesu yennyini yayogera nti: “Nze kuzuukira, n’obulamu.” (Yokaana 5:25; 11:25) Bwe yazuukiza Omwana we, Yakuwa yawa obukakafu nti abaweereza be abeesigwa bonna bajja kuzuukizibwa.

9. Baibuli by’eyogera biraga bitya nti okuzuukira kwa ddala?

9 Ekigambo kya Katonda kyogera ku kuzuukira okwaliwo nga n’abantu balaba. Baibuli eyogera ku bantu ab’enjawulo munaana abazuukizibwa ne baba balamu nate ku nsi. Ebyamagero bino tebyakolebwa mu nkukutu, wabula byaliwo mu lujjudde emirundi egisinga nga waliwo n’abalaba. Yesu yazuukiza Lazaalo, eyali amaze ennaku ennya ng’afudde, ng’abakungubazi bonna balaba​—nga mu bano mwe mwali n’ab’omu maka ga Lazaalo, mikwano gye, ne baliraanwa be. Obukakafu obulaga nti Yesu yali atumiddwa Katonda bwali bwa nkukunala ne kiba bannaddiini abaali bayigganya Yesu tebaakiwakanya. Mu kifo ky’ekyo, baakola olukwe batte Yesu ne Laazaalo! (Yokaana 11:17-44, 53; 12:9-11) Yee, tusobola okuba abakakafu nti okuzuukira kwa ddala. Katonda atulaga mu Kigambo kye ebikwata ku kuzuukira okwaliwo edda kisobole okutugumya era tunywezebwe mu kukkiriza.

Okubudaabudibwa Essuubi ly’Okuzuukira

10. Tusobola tutya okubudaabudibwa ebyo Baibuli by’eyogera ku kuzuukira?

10 Oyagala okuzzibwamu amaanyi ng’oyolekaganye n’okufa? Ebiri mu Baibuli ebyogera ku kuzuukira bisobola okubudaabuda. Bw’osoma ebyawandiikibwa ng’ebyo n’ofumiitiriza ku biki ebyaliwo, essuubi ly’okuzuukira liyinza okufuuka erya ddala gy’oli. (Abaruumi 15:4) Zino si ngero bugero. Wabula bintu ebyatuuka ku bantu aba ddala nga ffe, mu bifo n’ebiseera ebimanyiddwa obulungi. Ka tulabeyo ekyokulabirako kimu​—okuzuukira okusooka okwogerwako mu Baibuli.

11, 12. (a) Kikangabwa ki nnamwandu w’e Zalefazi kye yafuna, era kiki kye yasooka okulowooza? (b) Nnyonnyola ekyamagero Yakuwa kye yasobozesa Eriya okukolera nnamwandu.

11 Kuba akafaananyi. Nnabbi Eriya amaze ebbanga nga mugenyi mu maka ga nnamwandu ow’e Zalefazi, era ng’asula mu kisenge ekya waggulu. Ebiseera bibi nnyo. Ekitundu kiguddemu enjala n’ekyeya. Abantu bangi bafa. Yakuwa amaze okukoseza Eriya okukolera nnamwandu ekyamagero olw’okukkiriza kwe. Nnamwandu ne katabani ke babadde basigazizza emmere ya lulya lumu era nga boolekedde okufa enjala. Katonda asobozesa Eriya okubakolera eky’amagero ne kiba nti obutta n’amafuta tebiggwawo. Kyokka, nnamwandu afuna ekikangabwa. Obulwadde bugwira omwana era mangu alekera awo okussa. Kino nga kimukuba enkyukwe! Ng’oggyeko ennaku ey’okuba nti yali yafiirwa bbaawe eyali amulabirira, kati agasseeko ey’okufiirwa omwana we omu yekka gw’abadde alina. Olw’ennaku ennyingi, agamba nti Eriya ne Katonda we Yakuwa be bavuddeko ekizibu kino! Kati nnabbi anaakola ki?

12 Eriya tanenya nnamwandu olw’okumuvunaana mu bukyamu. Mu kifo ky’ekyo amugamba nti: “Mpa omwana wo.” Eriya atwala omulambo waggulu gye yali asula, asaba emirundi mingi omwana asobole okuddamu obulamu. Oluvannyuma lwa byonna, Yakuwa amuddamu! Lowooza ku ssanyu Eriya lyawulira ng’omwana atandise okussa. Amaaso g’omwana gazibuka ne galaga nti ddala azzeemu obulamu. Eriya aleeta omwana eri nnyina era amugamba nti: “Laba, omwana wo mulamu.” Omukazi afuna essanyu eritagambika era agamba nti: “Kaakano mmanyi ng’oli musajja wa Katonda, era ng’ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima.” (1 Bassekabaka 17:8-24) Okukkiriza kwe mu Yakuwa n’omubaka we kweyongera.

13. Lwaki ebyo ebyogera ku Eriya okuzuukiza omwana wa nnamwandu bituzzaamu nnyo amaanyi leero?

13 Awatali kubuusabuusa osobola okubudaabudibwa ennyo singa ofumiitiriza ku bintu ng’ebyo. Nga kyeyoleka bulungi nti Yakuwa asobola okuwangula omulabe waffe okufa! Tebeerezaamu bwe kiriba mu kuzuukira kwa bonna ng’obukadde n’obukadde bw’abantu babugaanye essanyu ng’eryo nnamwandu lye yafuna! Ne mu ggulu essanyu lijja kuba lya maanyi nga Yakuwa awa Omwana we obulagirizi okuzuukiza abantu mu nsi yonna. (Yokaana 5:28, 29) Wali ofiiriddwa omwagalwa wo? Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yakuwa asobola era ajja kuzuukiza abafu!

Essuubi Lyo n’Obulamu Bwo Leero

14. Essuubi ly’okuzuukira lisobola litya okukwatako ku bulamu bwo?

14 Essuubi ly’okuzuukira likwata litya ku bulamu bwo leero? Essuubi lino lisobola okukuzzaamu amaanyi ng’ofunye ebizibu, ng’oyigganyizibwa oba ng’obulamu bwo buli mu kabi. Setaani ayagala otye nnyo okufa, otuuke n’okwekkiriranya singa oba oyolekaganye n’okufa. Jjukira Setaani yagamba Yakuwa nti: “Byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Bwe yayogera bw’atyo, Setaani yatuwaayiriza ffenna nga naawe mw’oli. Kituufu nti ojja kulekera awo okuweereza Katonda singa obulamu bwo buba mu kabi? Bw’ofumiitiriza ku ssuubi ly’okuzuukira, osobola okuba omumalirivu okweyongera okukola Kitaawo ow’omu ggulu by’ayagala.

15. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:28 biyinza bitya okutuzzaamu amaanyi bwe tuba tutuukiddwako akabi?

15 Yesu yagamba nti: “Temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.” (Matayo 10:28) Tetusaanidde kutya Setaani n’abantu b’akolagana nabo. Kituufu, abamu bayinza okukukolako akabi, oba n’okukutta. Kyokka, akabi konna ke bayinza okukutuusaako kaba ka kaseera buseera. Yakuwa asobola era ajja kukyusa embeera yonna enzibu eyinza okutuuka ku baweereza be abeesigwa, era ne bwe kiba kyetaagisa kubazuukiza. Yakuwa yekka gwe tusaanidde okutya, n’okuwa ekitiibwa ekya waggulu ennyo. Ye yekka alina amaanyi okuzikiriza omubiri n’emmeeme mu Ggeyeena. Kya ssanyu nti ekyo Yakuwa si ky’ayagala kikutuukeko. (2 Peetero 3:9) Olw’essuubi ly’okuzuukira, ffe ng’abaweereza ba Katonda bulijjo tusobola okuba abakakafu nti ebiseera byaffe eby’omu maaso bijja kuba birungi. Singa tusigala nga tuli beesigwa, tujja kufuna obulamu obutaggwawo, era tewali Setaani oba abagoberezi be kye basobola kukola kutulemesa kubufuna.​—Zabbuli 118:6; Abaebbulaniya 13:6.

16. Engeri gye tutwalamu essuubi ly’okuzuukira ekwata etya ku ebyo bye tukulembeza mu bulamu?

16 Essuubi ly’okuzuukira bwe liba nga lya ddala gye tuli, lisobola okubaako kye likola ku ngeri gye tutunuuliramu obulamu. Tukimanyi nti ‘ka tube balamu oba bafu, tuli ba Mukama waffe.’ (Abaruumi 14:7, 8) Bwe tuba tulina bye tusalawo mu bulamu, tufaayo ku kubuulirira kwa Pawulo okugamba nti: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Abantu bangi bakola kyonna kye basobola okufuna buli kye baagala. Olw’okuba balaba ng’obulamu bumpi, baagala babunyumirwe mu buli ngeri yonna esoboka, era nga ne bwe kiba nti balina eddiini, awatali kubuusabuusa tekwatagana n’ebyo “Katonda by’ayagala.”

17, 18. (a) Ekigambo kya Yakuwa kiraga kitya nti obulamu bumpi, naye Katonda kiki ky’atwagaliza? (b) Kiki ekituleetera okutendereza Yakuwa buli lunaku?

17 Kituufu, obulamu bumpi. ‘Buyita mangu, naffe ne tubula,’ oboolyawo mu myaka 70 oba 80. (Zabbuli 90:10) Abantu babeerawo akaseera katono ng’omuddo, ng’ekisiikirize ekiggwawo era ng’omukka. (Zabbuli 103:15; 144:3, 4) Naye tekyali kigendererwa kya Katonda nti emyaka gyaffe emitono egisooka gibe gya kukula, kufuna magezi na bumanyirivu mu bulamu, ate emitono egisembayo gibe gya kukaddiwa n’oluvannyuma tufe. Yakuwa yatonda abantu nga beegomba okuba abalamu emirembe gyonna. Baibuli egamba nti: “Yateeka ebiro ebitaggwawo mu mutima gwabwe.” (Omubuulizi 3:11, NW) Tuyinza okugamba nti Katonda yatukolera ettima, okututonda nga twagala ekintu ng’ekyo, kyokka n’atulemesa okukituukako? Nedda, kubanga “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ajja kukozesa okuzuukira okusobozesa abantu abaafa okufuna obulamu obutaggwawo.

18 Essuubi ly’okuzuukira lituwa obukakafu nti tusobola okuba abalamu emirembe gyonna. Tetwandiyaayanidde kukola kino na kiri olw’okwagala okukozesa ensi eno eri okumpi okuggwawo “mu bujjuvu.” (1 Abakkolinso 7:29-31; 1 Yokaana 2:17) Obutafaanana abo abatalina ssuubi n’akamu, tuli basanyufu okukimanya nti singa tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa Katonda, tujja kubeerawo emirembe gyonna nga tumutendereza era tunyumirwe obulamu. N’olwekyo, ka bulijjo tukole kyonna kye tusobola okutendereza Yakuwa, oyo atukakasa nti okuzuukira ddala kujja kubaawo!

Wandizzeemu Otya?

• Okuzuukira tusaanidde kukutwala tutya?

• Nsonga ki ezikakasa nti okuzuukira kwa ddala?

• Mu ngeri ki essuubi ly’okuzuukira gye liyinza okukubudaabuda?

• Essuubi ly’okuzuukira likwata litya ku bulamu bwo leero?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Yobu yali amanyi nti Yakuwa ayagala okuzuukiza abatuukirivu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

“Laba, omwana wo mulamu”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share