Engeri Akakiiko Akafuzi gye Kategekeddwamu
AKAKIIKO Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa katuulwako abasajja abeewaayo eri Katonda abaafukibwako amafuta. Be bakiikirira ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, ekirina obuvunaanyizibwa obw’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo, awamu n’okuwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu nsi yonna.—Mat. 24:14, 45-47.
Akakiiko Akafuzi katuula buli wiiki, era ng’emirundi egisinga katuula ku Lwakusatu. Kino kiyamba ab’oluganda bano okukolera awamu nga bali bumu. (Zab. 133:1) Abo abali ku Kakiiko Akafuzi balina obukiiko obulala bwe batuulako. Buli kamu ku bukiiko obwo kalina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu kutumbula omulimu gw’Obwakabaka nga bwe kiragibwa wammanga.
◼ AKAKIIKO K’ABO ABAKWANAGANYA: Kano katuulako abakwanaganya obukiiko obulala bwonna obuli wansi w’Akakiiko Akafuzi era kalina n’omuwandiisi, nga naye wa ku Kakiiko Akafuzi. Ke kavunaanyizibwa okulaba nti obukiiko bwonna butambuza bulungi emirimu gyabwo, era ke kakola ku bizibu eby’amaanyi ebituuka ku Bajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna, gamba ng’obutyabaga, okuyigganyizibwa n’ebintu ebirala ebiba byetaaga okukolebwako mu bwangu ennyo.
◼ AKAKIIKO AKALABIRIRA ABABESERI: Akakiiko kano ke kalabirira Ababeseri mu nsi yonna mu by’omwoyo ne mu by’omubiri. Akakiiko kano era ke kalonda Ababeseri abapya awamu n’okukola ku nsonga zonna ezikwata ku buweereza bwabwe mu Beseri.
◼ AKAKIIKO AKALABIRIRA OMULIMU GW’OKUKUBA EBITABO: Akakiiko kano ke kalabirira omulimu ogw’okukuba ebitabo ebinnyonnyola Baibuli mu nsi yonna n’okubiweereza. Ke kavunaanyizibwa ku bifo awakubirwa ebitabo, n’ebifo ebirala byonna ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Akakiiko kano era ke kavunaanyizibwa okulaba nti ensimbi eziweebwayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu nsi yonna zikozesebwa mu ngeri esingayo obulungi.
◼ AKAKIIKO K’OBUWEEREZA: Akakiiko kano ke kalabirira omulimu gw’okubuulira era ke kakola ku nsonga ezikwata ku bibiina, bapayoniya, abakadde, n’abalabirizi abatambula. Ke kateekateeka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka era ke kalonda abo abagenda mu Ssomero lya Giriyadi n’eryo Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, wamu n’okusalawo gye balina okuweereza.
◼ AKAKIIKO AKAYIGIRIZA: Akakiiko kano ke kategeka ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana ennene ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ke kateekerateekera ab’omu maka ga Beseri programu z’eby’omwoyo era ke kalabirira amasomero ag’enjawulo, gamba ng’Essomero lya Giriyadi n’Essomero lya Bapayoniya, wamu n’okuteekateeka ebyo ebifulumira ku ntambi eziriko ebifaananyi oba ez’amaloboozi.
◼ AKAKIIKO AKAWANDIIKA: Kano ke kavunaanyizibwa ku kuteeka emmere ey’eby’omwoyo mu buwandiike esobole okukubibwa mu kyapa n’okuweerezebwa eri ab’oluganda n’abantu abalala. Akakiiko kano ke kaddamu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli ebiba bibuuziddwa era ke kategeka ebiwandiiko by’emizannyo awamu n’ebyo ebizimbirwako emboozi. Ke kalabirira n’omulimu gw’okuvvuunula ebitabo mu nsi yonna.
Omutume Pawulo yageraageranya ekibiina ky’abaafukibwako amafuta ku mubiri gw’omuntu, n’alaga nti ebitundu byonna birina omulimu omukulu gwe bikola, byetaaga binnewaabyo, byagalana, era bissa kimu nga bikola omulimu Katonda gwe yabiwa. (Bar. 12:4, 5; 1 Kol. 12:12-31) Omutwe, Yesu Kristo, guyamba ebitundu by’omubiri okufuna bye byetaaga bisobole okukolagana obulungi n’okuliisibwa obulungi mu by’omwoyo. (Bef. 4:15, 16; Bak. 2:19) Akakiiko Akafuzi nako bwe katyo kategekeddwa okutwala obukulembeze, era Yakuwa awa abakatuulako obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu.