Bali Bumu mu Kwagala Alipoota y’Olukunŋŋaana Olwa Buli Mwaka
NGA Okitobba 3, 2009 ku makya, kyali kiseera kya ssanyu nnyo eri abo bonna abaali bakuŋŋaanidde mu Kizimbe ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’Enkuŋŋaana Ennene ekiri mu kibuga Jersey eky’omu Amerika. Abantu abasukka mu 5,000 baali bazze mu lukuŋŋaana olwa buli mwaka olw’omulundi ogwa 125 olw’ekibiina kya Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Ate era waaliwo n’ab’oluganda abalala bangi abaweereza mu maka ga Beseri mu Amerika ne mu Canada abaali bagoberera programu y’olukuŋŋaana olwo nga bayungiddwa ku vidiyo. Okutwalira awamu, abaweereza ba Yakuwa 13,235 be baanyumirwa olukuŋŋaana olwo olwamala essaawa esatu.
Geoffrey Jackson ali ku Kakiiko Akafuzi ye yakolanga ssentebe w’olukuŋŋaana. Yaluggulawo ng’ayaniriza Ababeseri abaali batendekeddwa obulungi okuyimba ennyimba okuva mu katabo kaffe ak’ennyimba akapya. Ow’oluganda David Splane, nga naye ali ku Kakiiko Akafuzi, ye yayimbisa abayimbi abo era yayogera ku kifo ennyimba kye zirina mu kusinza okw’amazima. N’abalala bonna baasabibwa okuyimba ennyimba ssatu empya; abayimbi be baasookanga okuziyimba n’oluvannyuma ne bayimbira wamu n’abalala bonna. Wadde ng’ab’oluganda abatendeke baakozesebwa okuyimba ku lukuŋŋaana luno olw’enjawulo, tekisaanidde kuba bwe kityo mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene.
Alipoota Okuva ku Matabi
Ab’oluganda okuva ku bukiiko bw’amatabi butaano baawa alipoota. Kenneth Little yagamba nti mu kiseera ekitali kya wala, magazini ezisinga obungi eza Amerika ne Canada zijja kuba nga zikubibwa Canada, era nti kino kigenda kwongera ku muwendo gw’ebitabo ebikubibwa ku ttabi eryo emirundi kumi. Kino okusobola okubaawo, ekyuma ekipya ekikuba ebitabo kijja kukolanga okumala essaawa 16 buli lunaku, ng’ab’oluganda abamu bakola misana okumala essaawa munaana ata ng’abalala bakola kiro.
Reiner Thompson yayogera ku ngeri omulimu gw’Obwakabaka gye gutambulamu mu Dominican Republic, ate ye Albert Olih n’ayogera ku ngeri omulimu gwaffe gye gukolebwamu mu Nigeria. Emile Kritzinger okuva e Mozambique yagamba nti wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa baayigganyizibwa okumala ebbanga ddene mu nsi eyo, baamala ne batongozebwa mu mwaka 1992. Gye buvuddeko awo, omuwendo gw’ababuulizi gweyongera nnyo mu nsi ezo zonna essatu. Viv Mouritz eyava ku ofiisi y’ettabi lya Australia yayogera ku kukulaakulana okuli mu nsi ya East Timor, eri wansi w’ettabi lya Australia.
Obukiiko bw’Akakiiko Akafuzi
Mu 1976, emirimu gyonna egikolebwa Abajulirwa ba Yakuwa gyatandika okulabirirwa obukiiko mukaaga obw’Akakiiko Akafuzi. Oluvannyuma, ab’oluganda ab’endiga endala nabo baalondebwa okukola ng’abayambi ku bukiiko buno. Kati ab’oluganda 23 be bayambako ku mirimu egikolebwa obukiiko buno. Mukaaga ku bayambi bano baabuuzibwa ebibuuzo. Bonna awamu bamaze emyaka 341 mu buweereza obw’ekiseera kyonna—okutwalira awamu buli omu amaze emyaka nga 57.
Don Adams, eyatandika okuweereza ku Beseri mu 1943, yagamba nti Akakiiko k’Abo Abakwanaganya katuulwako abo abakwanaganya obukiiko obulala obutaano okukakasa nti bukola bulungi emirimu gyabwo. Akakiiko kano ke kakola ku bizibu eby’amaanyi ebituuka ku Bajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna gamba ng’obutyabaga, okuyigganyizibwa, n’ebintu ebirala ebiba byetaaga okukolebwako mu bwangu.
Dan Molchan yayogera ku ngeri Akakiiko Akalabirira Ababeseri gye kakolamu emirimu gyako nga kalabirira Ababeseri abawerera ddala 19,851 mu nsi yonna mu by’omubiri ne mu bw’omwoyo. David Sinclair yayogera ku ngeri Akakiiko Akakola ogw’Okukuba Ebitabo gye kalabiriramu omulimu gw’okugula ebintu ebikozesebwa ku matabi mu kukuba ebitabo. Robert Wallen, eyaakamala emyaka nga 60 ng’aweereza ku Beseri, yayogera ku ngeri Akakiiko k’Obuweereza gye kalabiriramu emirimu egikolebwa abantu ba Yakuwa mu buweereza bw’ennimiro ne mu bibiina. William Malenfant yayogera ku mulimu ogw’amaanyi Akakiiko Akayigiriza gwe kakola nga kateekateeka enkuŋŋaana ennene. Oluvannyuma, John Wischuk yayogera ku ngeri Akakiiko Akawandiika gye kalabiriramu omulimu gw’okuteekateeka ebitabo byaffe bisobole okukubibwa mu kyapa.a
Ekyawandiikibwa ky’Omwaka 2010 Kissa Essira ku Kwagala
Emboozi essatu ezaddirira zaaweebwa ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi. Gerrit Lösch yatandika n’ekibuuzo, “Oyagala okwagalibwa abalala?” Yagamba nti abantu bonna beetaaga okwagalibwa, era ffenna tuwulira bulungi bwe tulagibwa okwagala. Tuliwo lwa kwagala kubanga okwagala kwe kwakubiriza Yakuwa okututonda. Ensonga esinga obukulu etuleetera okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza kwe kuba nti twagala Yakuwa.
Okwagala okwa nnamaddala tetukoma ku kukulaga bannaffe naye era tukulaga n’abalabe baffe. (Mat. 5:43-45) Abo abaali bawuliriza baakubirizibwa okufumiitiriza ennyo ku ebyo Yesu bye yayitamu ku lwaffe, ng’akubibwa, ng’asekererwa, ng’awandulirwa amalusu, era ng’afumitibwa. Wadde nga yayisibwa bubi nnyo, yasabira abasirikale abaamukomerera. Kino tekyandituleetedde okwongera okumwagala? Oluvannyuma, Ow’oluganda Lösch yalangirira ekyawandiikibwa ky’omwaka 2010: 1 Abakkolinso 13:7, 8, ‘Okwagala kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.’ Ng’oggyeko okuba n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna, tulina n’essuubi ery’okwagala n’okwagalibwa emirembe gyonna.
Ovuga ng’Amafuta Ganaatera Okuggwamu?
Samuel Herd yatandika emboozi ye n’ekyokulabirako. Watya singa mukwano gwo akusaba mugende mwenna ku lugendo lwa mayiro 30. Nga muli mu mmotoka mugenda, weetegereza akalimi k’amafuta era okiraba nti ganaatera okuggwamu. Otegeeza mukwano gwo nti emmotoka enaatera okuggwamu amafuta. Naye ye akugamba nti tofaayo; tukyalinamu lita nga nnya mu tanka. Oluvannyuma lw’akaseera katono amafuta gaggweramu ddala. Kiba kituufu okweyongera okuvuga ng’okiraba nti ‘amafuta ganaatera okuggwamu’? Nga kiba kya magezi okukakasa nti tanka y’emmotoka yo eba ejjudde buli kiseera! Mu ngeri ey’akabonero, twetaaga okujjuza tanka zaffe amafuta, ng’amafuta ago kwe kumanya okukwata ku Yakuwa.
N’olwekyo, kitwetaagisa okwongerangamu amafuta era nga kino tukikola buli kiseera. Waliwo engeri nnya kino mwe tusobola okukikolera. Esooka, kwe kwesomesa, okufuba okutegeera Baibuli nga tugisoma buli lunaku. Tetulina kukoma ku kugisoma busomi, naye era tulina okufuba okutegeera ebyo bye tusoma. Ey’okubiri, okukozesa obulungi akawungeezi k’Okusinza kw’Amaka. Tanka zaffe tufuba okulaba nti tuzijjuza buli wiiki oba tuziteekamu obufuta butono? Ey’okusatu, kwe kubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okuzenyigiramu. Ey’okuna, kwe kufunanga ekiseera okufumiitiriza ku makubo ga Yakuwa nga tewali kitutaataaganya. Zabbuli 143:5 wagamba nti: “N[z]ijukira ennaku ez’edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: nfumiitiriza omulimu ogw’engalo zo.”
“Abatuukirivu Balyakaayakana ng’Enjuba”
John Barr yawa emboozi ey’okusatu eyasembayo, n’annyonnyola olugero lwa Yesu olw’eŋŋaano n’omuddu. (Mat. 13:24-30, 38, 43) Olugero olwo lukwata ku “makungula” ‘ng’abaana b’obwakabaka’ bakuŋŋaanyizibwa era nga n’omuddo ogufaanana ng’eŋŋaano gwawulibwamu gusobole okwokebwa.
Ow’oluganda Barr yakiraga bulungi nti ekiseera kyandituuse okukuŋŋaanyizibwa okwo ne kukoma. Yajuliza Matayo 24:34, awagamba nti: “Omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.” Yasoma ebigambo bino emirundi ebiri: “Yesu kye yali ategeeza kiri nti abamu ku baafukibwako amafuta abaliraba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene, balina okuba nga baabaawoko mu kiseera kye kimu n’abamu ku bannaabwe abaalaba ng’akabonero ak’okubeerawo kwa Kristo katandise okweyoleka mu 1914.” Kituufu nti tetumanyidde ddala buwanvu bwa ‘mulembe guno,’ naye tusaanidde okukijjukira nti gulimu abaafukibwako amafuta abo ab’emirundi ebiri abaabaawoko mu kiseera kye kimu. Wadde ng’abaafukibwako amafuta ba myaka gya njawulo, abo abali mu mulembe ogwo balina okuba nga baabaawoko mu kiseera kye kimu mu nnaku ez’oluvannyuma. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti abaafukibwako amafuta abato abaabaawoko mu kiseera kye kimu n’abaafukibwako amafuta abaalaba ku ntandikwa y’akabonero k’okubeerawo kwa Kristo nga katandise okweyoleka mu 1914 tebajja kufa kuggwaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika!
‘Abaana b’obwakabaka’ beesunga okuweebwa empeera yaabwe mu ggulu, naye ffenna kitwetaagisa okusigala nga tuli beesigwa, nga twakaayakana okutuukira ddala ku nkomerero. Nga tulina enkizo ya maanyi okuba nti tulaba okukuŋŋaanyizibwa ‘kw’eŋŋaano’ mu kiseera kyaffe.
Oluvannyuma lw’okuyimba oluyimba olusembayo, Theodore Jaracz ali ku Kakiiko Akafuzi yaggalawo n’okusaba. Ng’olukuŋŋaana olwo olwa buli mwaka lwazzaamu nnyo ab’oluganda amaanyi!
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku mirimu egikolebwa obukiiko omukaaga obw’Akakiiko Akafuzi, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2008, olupapula 29.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
ESSOMERO LY’ABAKADDE
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ku lukuŋŋaana luno, Anthony Morris, ali ku Kakiiko Akafuzi, yalangirira nti okutendeka abakadde kujja kweyongera mu maaso. Okuva mu 2008, wazze wabaawo essomero ly’abakadde abali mu Amerika, e Patterson eky’omu ssaza lya New York. Essomero ery’omulundi ogwa 72 lyali lyakaggwa, era nga mu kiseera ekyo, abakadde bonna awamu abaali baakatendekebwa baali 6,720. Kyokka, wakyaliwo bangi nnyo abatannaba kutendekebwa. Mu Amerika mwokka mulimu abakadde abasukka mu 86,000. N’olw’ensonga eyo, Akakiiko Akafuzi kakkiriza wabeewo essomero eddala mu Brooklyn, New York, okuva nga Ddesemba 7, 2009.
Okumala emyezi ebiri, abalabirizi bana abakyalira ebibiina bajja kutendekebwa e Patterson okuba abasomesa. Bano bajja kutwalibwa okusomesa e Brooklyn, ate abalala bana batandike okutendekebwa e Patterson. Bwe banaamala okutendekebwa nabo bajja kutwalibwa okusomesa e Brooklyn, ate bali abana abaasookayo batwalibwe okusomesa mu masomero ag’okutegekebwa mu Bizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene oba mu Bizimbe by’Obwakabaka. Okutendeka abasomesa kwa kugenda mu maaso okutuusa nga baweredde ddala 12 basobole okusomesa mu masomero mukaaga mu Amerika buli wiiki mu lulimi Olungereza. Era wajja kubaawo abasomesa abalala bana abajja okutendekebwa okusomesa mu lulimi Olusipanisi. Essomero lino terigenda kudda mu kifo kya Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka; ekigendererwa kyalyo kwe kuyamba abakadde okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Okutandika n’omwaka gw’obuweereza 2011, amasomero gano gajja kutandikibwawo mu bitundu ebirala eby’ensi nga gaba mu Bizimbe by’Enkuŋŋaana Ennene oba mu Bizimbe by’Obwakabaka.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]
Olukuŋŋaana lwaggulwawo n’okuyimba ennyimba okuva mu katabo kaffe ak’ennyimba akapya, “Muyimbire Yakuwa”