LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 10/15 lup. 3
  • “Abalinga Abo Mubatwale nga ba Muwendo Nnyo”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Abalinga Abo Mubatwale nga ba Muwendo Nnyo”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
  • Engeri Akakiiko Akafuzi gye Kategekeddwamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Leero Akakiiko Akafuzi Katambuza Katya Emirimu Gyako?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Bali Bumu mu Kwagala Alipoota y’Olukunŋŋaana Olwa Buli Mwaka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/15 lup. 3
Ekifaananyi ekiraga ab’oluganda nga batudde mu kakiiko k’Akakiiko Akafuzi

“Abalinga Abo Mubatwale nga ba Muwendo Nnyo”

OKUVA mu 1992, Akakiiko Akafuzi kabadde kalonda abakadde abalina obumanyirivu okuyambako obukiiko bw’Akakiiko Akafuzi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwo.a Ab’oluganda abo abalondebwa okuva mu ‘b’endiga endala,’ bayambako ab’oluganda abaweereza ku Kakiiko Akafuzi. (Yok. 10:16) Babeerawo mu nkuŋŋaana ez’obukiiko kwe baba balondeddwa okuweereza ezibaawo buli wiiki, ne babaako ebintu ebikulu bye bategeeza Akakiiko Akafuzi, era ne babaako n’amagezi ge bawa. Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi be basalawo ekirina okukolebwa, naye abayambi baabwe be bassa mu nkola ebiba bisaliddwawo era bakola emirimu gyonna egiba gibaweereddwa. Abayambi abo bawerekerako ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi nga bagenda ku nkuŋŋaana ez’enjawulo oba ku nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna. Ate oluusi batumibwa okukyalira ofiisi z’amatabi nga bakiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu.

Omu ku b’oluganda abadde aweereza ng’omuyambi okuva enteekateeka eyo bwe yatandikibwawo agamba nti: “Bwe ntuukiriza obuvunaanyizibwa bwange, kiyamba ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi okwemalira ku bintu eby’omwoyo.” Ate ow’oluganda omulala amaze emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza ng’omuyambi, agamba nti: “Eno nkizo ya maanyi gye siyinza kugeraageranya ku kintu kirala kyonna.”

Akakiiko Akafuzi kakwasizza ab’oluganda abakola ng’abayambi obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era kasiima nnyo emirimu emirungi ab’oluganda abo gye bakola. Ka ffenna ‘tutwale abantu abalinga abo nga ba muwendo nnyo.’—Baf. 2:29.

a Okumanya ebikwata ku buvunaanyizibwa bw’obukiiko bw’Akakiiko Akafuzi, Laba akasanduuko “Engeri Akakiiko Akafuzi Gye Kalabiriramu Omulimu gw’Obwakabaka” mu ssuula 12 ey’ekitabo God’s Kingdom Rules!

Abayambi ku Bukiiko bw’Akakiiko Akafuzi

Akakiiko k’Abo Abakwanaganya

  • John Ekrann

  • Robert Wallen

Akakiiko Akalabirira Ababeseri

  • Gerald Grizzle

  • Patrick LaFranca

  • Daniel Molchan

  • Ralph Walls

Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo

  • Don Adams

  • Robert Butler

  • Harold Corkern

  • Donald Gordon

  • Robert Luccioni

  • Alex Reinmueller

  • David Sinclair

Akakiiko k’Obuweereza

  • Gary Breaux

  • Joel Dellinger

  • Seth Hyatt

  • Christopher Mavor

  • Baltasar Perla, Jr.

  • William Turner, Jr.

  • Robert Wallen

  • Leon Weaver, Jr.

Akakiiko Akayigiriza

  • Ronald Curzan

  • Kenneth Flodin

  • William Malenfant

  • Mark Noumair

  • David Schafer

Akakiiko Akawandiisi

  • Robert Ciranko

  • James Mantz

  • Izak Marais

  • Gene Smalley

  • John Wischu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share