“Yakuwa Ge Maanyi Gange”
Byayogerwa Joan Coville
Nnazaalibwa mu Jjulaayi 1925 mu kibuga Huddersfield, mu Bungereza. Nnazaalibwa omu nzekka era nnali ndwalalwala nnyo. Bw’atyo kitange yateranga okuŋŋamba nti, “Buli empewo lw’ekufuuwako olwala.” Era bwe kityo bwe kyabanga!
BWE nnali omuto, abakulembeze b’eddiini baasabanga nnyo wabeewo emirembe, naye ate ssematalo ow’okubiri bwe yatandika, ne basaba obuwanguzi. Kino kyannema okutegeera era kyandeetera okwebuuza ebintu bingi. Mu kiseera ekyo kyennyini, Annie Ratcliffe eyali Omujulirwa wa Yakuwa yekka mu kitundu kyaffe we yajjira eka.
Njiga Amazima
Annie yatulekera akatabo akayitibwa Salvation era yayita Maama wange okubeerawo mu kuyiga Baibuli okwali kugenda okubeera ewuwe.a Maama yaŋŋamba tugende ffembi. Nkyajjukira bulungi ebyayogerwa olunaku olwo. Byali bikwata ku kinunulo, era nneewuunya okuba nti byanyumira. Bingi bye nnali nneebuuza byaddibwamu. Bwe ntyo ne wiiki eyaddirira nnaddayo. Ku mulundi ogwo, obunnabbi bwa Yesu obukwata ku kabonero k’ennaku ez’oluvannyuma bwannyonnyolwa. Bwe twalowooza ku mbeera embi nsi mwe yali, nze ne Maama wange twakirabirawo nti ago ge mazima. Ku olwo lwe nnyini, twayitibwa okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
Eyo nnasangayo bapayoniya abavubuka ng’omu ku bo ye Joyce Barber (kati ye Ellis), nga na kati akyaweereza ku Beseri e London wamu ne mwami we Peter. Nnalowooza nti buli muntu yali alina kuweereza nga payoniya. Bwe ntyo nange nnatandika okubuulira essaawa 60 buli mwezi, wadde nga nnali nkyali mu ssomero.
Nga wayise emyezi etaano, nga Febwali 11, 1940, nze ne Maama twabatizibwa ku lukuŋŋaana lw’ekitundu olwali e Bradford. Eky’okuba nti twali tuyingidde mu nzikiriza endala taata teyakifaako, naye ye teyayiga mazima. Mu kiseera we nnabatirizibwa, enkola ey’okubuulira ku nguudo we yatandikirwawo. Nnagyenyigiramu nga mbeera n’ensawo omuli magazini era nga nneetimba n’ebipande. Ku Lwomukaaga olumu, nnaweebwa okukola mu maduuka awaali wayita abantu abangi. Nnali nkyalimu okutya abantu, bwekityo, abaana bonna be nnali nsoma nabo nnalaba ng’abayitira awo we nnali nnyimiridde!
Mu 1940 ekibiina mwe nnali kyayawulwamu. Kumpi bannange bonna bwe twali mu myaka egimu baateekebwa mu kibiina kiri ekirala. Kino kyandeetera okugenda ne nneemulugunyiza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde. Yaŋŋamba nti, “Bw’oba oyagala okufuna abavubuka mikwano gyo, ojja kubafuna bw’onoogenda mu nnimiro n’obabuulira.” Era bwe ntyo bwe nnakola! Mu bbanga si ddene, nnasisinkana Elsie Noble. Yakkiriza amazima era yafuuka mukwano gwange okuva olwo.
Mpeereza nga Payoniya era Nfuna Emikisa
Bwe nnamala okusoma, nnatandika okukolera omubazi w’ebitabo. Kyokka, bwe nnalaba essanyu abo abaali mu buweereza obw’ekiseera kyonna lye baalina, ne nneeyongera okwagala okuweereza Yakuwa nga payoniya. Mu Maayi 1945, nnasanyuka nnyo bwe nnatandika okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Olunaku lwange olwasooka lwonna, enkuba yasiiba etonnya. Kyokka, nnali musanyufu okuba nti lwonna nnali ndumaze nga mbuulira, ng’eby’enkuba sibifuddeeko. Mu butuufu, okuvuga eggaali buli lunaku nga ndi mu kubuulira kyannyamba okweyongera okuba omulamu obulungi. Ndi mutono nnyo era sisukkangako kilo 42, naye siyimirizangamu kuweereza nga payoniya. Ebbanga eryo lyonna, nkirabye mu bulamu bwange nti ddala ‘Yakuwa ge maanyi gange.’—Zab. 28:7.
Okusobola okutandika ebibiina ebipya, nnasindikibwanga mu bibuga ebiwerako omutaali Bajulirwa. Okusooka nnaweereza mu Bungereza okumala emyaka esatu, ate emyaka esatu egyaddirira ne ŋŋenda mu Ireland. Nga ndi mu kibuga Lisburn eky’omu Ireland, nnasoma n’omusajja eyali omumyuka w’omusumba w’ekkanisa y’Abapolotesitante. Ebintu nga bwe yabiyiganga mu Baibuli nga bw’abibuulira ab’omu kkanisa ye. Abamu ku bo baamwemulugunyako eri abakulu b’ekkanisa eyo, era bw’atyo yayitibwa yennyonnyoleko. Yabagamba nti ng’Omukristaayo, yalina obuvunaanyizibwa okutegeeza ekisibo nti yali abayigirizza ebintu ebikyamu bingi. Wadde ng’ab’omu maka ge baagezaako nnyo okumuziyiza, yeewaayo eri Yakuwa era yamuweereza n’obwesigwa okutuusa lwe yafa.
Mu kibuga Larne eky’omu Ireland gye nnaddako okuweereza, nnamala wiiki mukaaga nga nkola nzekka, olw’okuba payoniya munnange yali agenze ku lukuŋŋaana olunene, Theocracy’s Increase, olwali e New York mu 1950. Nnawulira obuzibu bwa maanyi mu kiseera ekyo. Nange nnali njagala nnyo okugenda ku lukuŋŋaana olwo. Naye ate mu wiiki ezo, waliwo ebirungi bingi bye nnafuna mu buweereza. Nnasanga omusajja omukadde eyali yafuna ekimu ku bitabo byaffe emyaka egisoba mu 20 emabega. Ebbanga eryo lyonna, yali akisomye emirundi n’emirundi era ng’ebikirimu abikutte bukusu. Omusajja oyo wamu ne mutabani we ne muwala we bakkiriza amazima.
Ntendekebwa mu Ssomero lya Giriyadi
Mu 1951, nnayitibwa wamu ne bapayoniya abalala kkumi okuva mu Bungereza, okugenda okutendekebwa mu mugigi ogwa 17 ogw’Essomero lya Giriyadi, mu South Lansing, mu New York. Nga nnanyumirwa nnyo bye twayiga mu Baibuli mu myezi egyo! Mu kiseera ekyo, abakazi baali tebannatandika kuwa mboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu bibiina, naye mu Giriyadi baali baziwa. Twali twetya nnyo! Emboozi gye nnasooka okuwa yonna nnagimalako ng’omukono ogukutte empapula okwali bye njogera gukankana. Ow’oluganda Maxwell Friend, omusomesa waffe, yampabula mu ngeri ya kusaaga n’agamba nti: “Okankanye ku ntandikwa nga bwe kiba ku boogezi bonna abalungi, era weeyongedde okukankana okutuusa emboozi yo lw’ewedde.” Twagenda okumala okutendekebwa, nga ffenna tusobola okwogera eri ekibiina awatali kutya. Mu kaseera buseera, omusomo gwali guwedde, era bwe tutyo twasindikibwa okuweereza mu nsi ezitali zimu. Nze nnasindikibwa Thailand!
“Ensi y’Abantu Abamwenya”
Gwali mukisa gwa maanyi okuva eri Yakuwa okuba nti Astrid Anderson gwe bampa okuweereza naye mu Thailand. Okutuukayo, twamala wiiki musanvu ku mmeeri. Ekibuga ekikulu, Bangkok, kyalimu obutale bungi obujjudde abantu, n’emikutu gy’amazzi eminene egikozesebwa ng’enguudo. Mu 1952, ababuulizi b’Obwakabaka mu Thailand baali tebawera 150.
Lwe twasooka okulaba magazini ya Watchtower mu lulimi Olutaayi, muli twagamba, ‘Olulimi olwo tunaasobola okuluyiga?’ Naddala kyali kizibu nnyo okwatula ebigambo mu ddoboozi ettuufu. Ng’ekyokulabirako, ekigambo khaù kiyinza okutegeeza “omuceere” oba “amawulire” okusinziira ku ngeri gy’oba okyogeddemu. Bwe kityo bwe twali twakatandika okubuulira, twagambanga abantu nti, “tubaleetedde omuceere omulungi” mu kifo “ky’amawulire amalungi”! Naye mpolampola—nga n’enseko kw’otadde—twayiga okulwogera obulungi.
Abantu b’omu Thailand ba kisa nnyo. Tekyewuunyisa nti Thailand eyogerwako ng’Ensi y’Abantu Abamwenya. Twasooka kuweereza mu kibuga Khorat (kati ekiyitibwa Nakhon Ratchasima), gye twamala emyaka ebiri. Oluvannyuma, twasindikibwa mu kibuga Chiang Mai. Abantu b’omu ggwanga eryo abasinga ba nzikiriza ya Buddha era tebamanyi Baibuli. Nga ndi mu Khorat, nnasoma n’omusajja eyali akulira Posta. Lumu twakubaganya ebirowoozo ku Ibulayimu ayogerwako mu Baibuli. Olw’okuba erinnya Ibulayimu yali yaliwulirako, nnayogeranga eno bw’akkiriza. Naye nnakizuula nti Ibulayimu gwe nnali njogerako yali mulala nnyo ku gwe yali amanyi. Ye yali alowooza nti njogera ku Abraham Lincoln, eyaliko pulezidenti w’Amerika!
Kyatuwa essanyu lingi okuyigiriza abantu baayo Baibuli, ate nabo ne tubayigako nti kisoboka omuntu okubeera omusanyufu wadde ng’alina ebintu bitono. Kino kyatuyamba nnyo kubanga ennyumba gye twasooka okubeeramu mu Khorat teyaliimu masannyalaze na mazzi. Mu bifo ng’ebyo, ‘twayiga ekyama ekiri mu kuba n’ebingi n’okuba mu bwetaavu.’ Okufaananako omutume Pawulo, twayiga kye kitegeeza ‘okuyinza byonna mu oyo awa amaanyi.’—Baf. 4:12, 13.
Nfuna Munnange Omulala n’Obuweereza Obulala
Emabegako mu 1945, nnali nnagendako e London. Nga ndi eyo, nnagenda okulambula mu British Museum nga ndi ne bapayoniya abalala wamu n’Ababeseri. Omu ku bo yali Allan Coville, eyali anaatera okugenda mu Ssomero lya Giriyadi mu mugigi 11. Yasooka kuweereza mu Bufalansa n’oluvannyuma n’aweereza mu Bubirigi.b Bwe nnali nkyaweereza ng’omuminsani mu Thailand, yansaba mmufumbirwe era ne nzikiriza.
Twafumbiriganirwa Brussels mu Bubirigi, nga Jjulaayi 9, 1955. Nnali nnalowooza dda ku ky’okugendako e Paris nga twakafumbiriganwa, era bwe kityo, Allan yakola enteekateeka ne tugendayo ku lukuŋŋaana olunene mu wiiki eyali eddako. Kyokka, olwali okutuuka, Allan ne bamusaba okukola ng’omutaputa mu lukuŋŋaana olwo. Buli lunaku, yagendanga ku makya nnyo, era nga gye tusula tuddayo kiro. Kituufu, nnagenda e Paris nga twakafumbiriganwa nga bwe nnali njagala, naye okusinga Allan nnalengeranga mulengere—ku pulatifoomu! Wadde kyali kityo, nnali musanyufu okulaba omwami wange ng’aweereza baganda be ne bannyina, era ssaalimu kubuusabuusa nti twandibadde basanyufu bwe twandikulembezza Yakuwa mu bufumbo bwaffe.
Bwe nnafumbirwa, nnalina okutandika okubuulira mu kitundu ekipya—Bubirigi. Ekintu kyokka kye nnali mmanyi ku nsi eyo kwe kuba nti yali ebaddemu nnyo entalo. Naye mu bbanga ttono nnakizuula nti Ababirigi bantu baagazi ba mirembe. Nnalina n’okuyiga Olufalansa kubanga lwe lulimi olwogerwa mu bukiika ddyo bw’eggwanga eryo.
Mu 1955, Bubirigi yalimu ababuulizi nga 4,500. Okumala emyaka kumpi 50, nnaweereza ne Allan ng’akola ng’omulabirizi atambula, era ne tuweereza ne ku Beseri. Emyaka ebbiri n’ekitundu egyasooka, twatambuliranga ku bugaali ne tuyita ku busozi ne mu bikko, ne bwe bwabanga budde bwa nkuba oba bwa musana. Ebbanga lye twamala mu buweereza obwo, twasula mu maka g’ab’oluganda agassuka mu 2,000! Emirundi mingi nnasanganga ab’oluganda abafuba okuweereza Yakuwa wadde nga baabanga banafuye mu mubiri. Ekyokulabirako kyabwe kyannyamba obutalekulira buweereza bwange. Buli wiiki gye twamalanga nga tukyalidde ekibiina twagimalangako nga tuzziddwamu nnyo amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Allan yali munnange nnyo. Ddala ng’Omubuulizi 4:9, 10 bwe wagamba: “Babiri basinga omu, . . . kubanga bwe bagwa omu [ayimusa] munne”!
Emikisa Egiri mu Kuweereza mu ‘Maanyi ga Yakuwa’
Nze ne Allan twayamba abantu bangi okuweereza Yakuwa, era ekyo kyatuwa essanyu lingi. Ng’ekyokulabirako, mu 1983, bwe twali tukyalidde ekibiina ky’Olufalansa mu kibuga Antwerp, mu maka mwe twasula twasangamu Benjamin Bandiwila, ow’oluganda omuvubuka eyali avudde e Zaire (kati eyitibwa Democratic Republic of Congo). Benjamin yali agenze e Bubirigi okweyongera kusoma. Yatugamba nti: “Nneegomba obulamu bwammwe olw’okuba muweereza Yakuwa mu bujjuvu.” Allan yamuddamu nti: “Ogamba nti otwegomba; naye ate osomerera kuba na mulimu mulungi. Tolaba nti awo oba weekuba ndobo?” Ebigambo ebyo byaleetera Benjamin okulowooza ku bigendererwa bye mu bulamu. Bwe yaddayo e Zaire, yatandika okuweereza nga payoniya, era kati ali ku Kakiiko ka Ttabi.
Mu 1999, nnalongoosebwa olw’obulwadde bwe nnalina mu mumiro. Okuva olwo, nzitowa kilo 30 zokka. Ddala ndi ‘kibya kya bbumba’ ekinafu. Naye, ndi musanyufu okuba nti Yakuwa ampadde “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” Bwe nnamala okulongoosebwa, Yakuwa yansobozesa okuddamu okuwerekera Allan ng’akola ng’omulabirizi atambula. (2 Kol. 4:7, NW) Mu Maaki 2004, Allan yafa nga yeebase. Kino kyandeetera ekiwuubaalo kya maanyi, naye kinzizaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa tayinza kumwerabira.
Kati nnina emyaka 83, nga 63 ku gyo ngimaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Na kati nkyenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Nnina omuyizi wa Baibuli gwe nsomeseza awaka, era buli kakisa ke nfuna nkakozesa okwogera ku bigendererwa bya Yakuwa eby’ekitalo. Oluusi ŋŋenda ne nneebuuza, ‘Obulamu bwange bwandibadde butya singa nnali sitandise kuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu 1945?’ Nnali ndwalalwala nnyo, era ekyo nnali nsobola okukyekwasa ne sifuuka payoniya. Naye, ndi musanyufu okuba nti nnayingira obuweereza obwo nga nkyali muwala muto! Ekyo kimpadde omukisa okukiraba mu bulamu bwange nti ddala bwe tukulembeza Yakuwa, afuuka maanyi gaffe.
[[Obugambo obuli wansi]
a Akatabo ako Salvation kaakubibwa mu 1939. Kati tekakyafuluma.
b Ebikwata ku bulamu bw’Ow’oluganda Coville byafulumira mu Watchtower eya Maaki 15, 1961.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Nga ndi ne muminsani munnange, Astrid Anderson (ku ddyo)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Nga ndi ne baze we yabeerera omulabirizi atambula mu 1956
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Nga ndi ne Allan mu 2000