LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 5/15 lup. 23-27
  • Oyoleka Ekitiibwa kya Yakuwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyoleka Ekitiibwa kya Yakuwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • TWAGALA OKWOLEKA EKITIIBWA KYA YAKUWA
  • EBINTU EBITUYAMBA OKWOLEKA EKITIIBWA KYA KATONDA
  • KA TUFUBE OKUKOPPA KATONDA
  • WEEYONGERE OKWOLEKA EKITIIBWA KYA YAKUWA
  • Onooyolesa Ekitiibwa kya Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukulemesa Kufuna Kitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Muwe Yakuwa Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Enkuŋŋaana Ennene eza Disitulikiti n’ez’Ensi Yonna Zitukubiriza Okuwa Katonda Ekitiibwa!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 5/15 lup. 23-27

Oyoleka Ekitiibwa kya Yakuwa?

“Twoleka ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu.”​—2 KOL. 3:18.

WANDIZZEEMU OTYA?

Wadde nga tuli boonoonyi, tuyinza tutya okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa?

Okusaba n’okubeerawo mu nkuŋŋaana bituyamba bitya okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

Tuyinza tutya okweyongera okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

1, 2. Lwaki tusobola okukoppa engeri za Yakuwa?

MU NGERI emu oba endala, ffenna tufaanana bazadde baffe. Eyo ye nsonga lwaki ebiseera ebimu oyinza okuwulira ng’omuntu agamba omwana omulenzi nti, ‘Wafaanana kitaawo,’ oba ng’agamba omwana omuwala nti, ‘Wafaanana maama wo.’ Abaana batera okukoppa bazadde baabwe. Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tusobola okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa? Wadde nga tetumulabangako, tusobola okutegeera engeri ze bwe twetegereza ebintu bye yatonda, era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kye naddala ebyo Omwana we, Yesu Kristo, bye yayogera ne bye yayigiriza. (Yok. 1:18; Bar. 1:20) Bwe kityo, tusobola okukoppa engeri za Yakuwa, ne twoleka ekitiibwa kye.

2 Yakuwa bwe yali tannatonda Adamu ne Kaawa, yali akimanyi nti abantu bandisobodde okukola by’ayagala, okwoleka engeri ze, n’okumuweesa ekitiibwa. (Soma Olubereberye 1:26, 27.) Ng’Abakristaayo, tusaanidde okukoppa engeri za Katonda waffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tusobola okwoleka ekitiibwa kya Katonda, ka tube ba ggwanga ki, nga tulina buyigiriza ki, oba nga tuva mu nsi ki. Lwaki? Kubanga “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”​—Bik. 10:34, 35.

3. Abakristaayo bawulira batya nga baweereza Yakuwa?

3 Abakristaayo abaafukibwako amafuta booleka ekitiibwa kya Yakuwa. Omutume Pawulo, omu ku abo abaafukibwako amafuta, yawandiika nti: “Ffe ffenna abatabikkiddwa ku maaso twoleka ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu, era tukyusibwa mu kifaananyi kye kimu okuva mu kitiibwa ekimu okudda mu kirala.” (2 Kol. 3:18) Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi ng’akutte ebipande okwali Amateeka Ekkumi, yali ayakaayakana mu maaso olw’okuba yali ayogedde ne Yakuwa. (Kuv. 34:29, 30) Wadde ng’Abakristaayo teboogerangako na Katonda nga Musa era nga tebaakaayakana mu maaso, abantu basobola okulaba essanyu lye baba nalyo nga bababuulira ebikwata ku Yakuwa, engeri ze, n’ekigendererwa kye eri abantu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala, ffenna tuli ng’endabirwamu mu ngeri nti twoleka ekitiibwa kya Yakuwa mu bulamu bwaffe ne mu buweereza bwaffe. (2 Kol. 4:1) Naawe oyoleka ekitiibwa kya Yakuwa nga weeyisa mu ngeri gy’asiima era ng’ofuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa?

TWAGALA OKWOLEKA EKITIIBWA KYA YAKUWA

4, 5. (a) Okufaananako Pawulo, kiki kye tulina okulwanyisa? (b) Ekibi kyatuleetera buzibu ki?

4 Ng’abaweereza ba Yakuwa, twagala okumuweesa ekitiibwa n’ettendo mu byonna bye tukola. Kyokka ebiseera ebisinga obungi tulemererwa okukola ekyo kye tuba twagala okukola. Pawulo naye yalina obuzibu obwo. (Soma Abaruumi 7:21-25.) Yalaga bulungi ensonga lwaki ffenna tulina okulwanyisa okwegomba okubi. Pawulo yagamba nti: “Abantu bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Bar. 3:23) Olw’okuba Adamu yayonoona, abantu bonna bazaalibwa nga baddu ba kibi, era ekibi kibafuga nga kabaka omukambwe.​—Bar. 5:12; 6:12.

5 Ekibi kye ki? Ekibi kye kintu kyonna ekikontana n’engeri za Yakuwa, amakubo ge, emitindo gye, n’ebintu by’ayagala. Ekibi kyonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda. Okufaananako omuntu alasa akasaale naye ne wabaawo ekintu ekimulemesa okuteeba ekintu ky’aba ayagala okukuba, ekibi kitulemesa okwoleka ekitiibwa kya Katonda. Oluusi tuyinza okwonoona mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu. (Kubal. 15:27-31) Abantu bonna bazaalibwa n’ekibi era ekibi kibaawula ku Katonda. (Zab. 51:5; Is. 59:2; Bak. 1:21) Abantu abasinga obungi beeyisa mu ngeri ebaawulira ddala ku Katonda, bwe kityo ne bafiirwa enkizo ey’okwoleka ekitiibwa kya Katonda. Tewali kubuusabuusa nti ekibi kye kizibu ekisinga okuba eky’amaanyi abantu kye balina.

6. Wadde nga tuli boonoonyi, lwaki tusobola okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

6 Wadde nga tuli boonoonyi, Yakuwa atuwadde essuubi. (Bar. 15:13) Yakuwa yateekawo enteekateeka okutusobozesa okuva mu bufuge bw’ekibi, ng’eno ye ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo. Bwe tukkiririza mu ssaddaaka eyo, tulekera awo okuba “abaddu b’ekibi,” ne tusobola okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa. (Bar. 5:19; 6:6; Yok. 3:16) Bwe tweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuwa emikisa mu kiseera kino, ate mu kiseera eky’omu maaso, tujja kufuuka abantu abatuukiridde era tufune obulamu obutaggwawo. Nga nkizo ya maanyi nnyo okuba nti Yakuwa atutwala ng’abantu abasobola okwoleka ekitiibwa kye wadde nga tukyali boonoonyi!

EBINTU EBITUYAMBA OKWOLEKA EKITIIBWA KYA KATONDA

7. Bwe tuba ab’okwoleka ekitiibwa kya Katonda, kiki kye tulina okukkiriza?

7 Bwe tuba ab’okwoleka ekitiibwa kya Katonda, tulina okukikkiriza nti tuli boonoonyi. (2 Byom. 6:36) Tulina okukkiriza nti tulina obunafu era ne tufuba okubulwanyisa tusobole okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba n’omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, tuba tulina okukikkiriza nti twetaaga abakadde okutuyamba era ne tubatuukirira batuyambe. (Yak. 5:14, 15) Ekyo kye kintu kye tulina okusooka okukola bwe tuba nga ddala twagala okwoleka ekitiibwa kya Katonda. Buli kiseera tusaanidde okwekebera okukakasa nti tweyisa mu ngeri etuukana n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (Nge. 28:18; 1 Kol. 10:12) Ka tube nga tulina bunafu bwa ngeri ki, tusaanidde okweyongera okubulwanyisa, tusobole okwoleka ekitiibwa kya Katonda.

8. Wadde nga tetutuukiridde, kiki kye tusaanidde okukola?

8 Yesu ye muntu yekka ataakola nsobi era eyayoleka ekitiibwa kya Katonda mu ngeri etuukiridde. Yesu yali atuukiridde, naye ffe tetutuukiridde. Wadde kiri kityo, tusobola okumukoppa era ekyo tusaanidde okufuba okukikola. (1 Peet. 2:21) Bwe tufuba okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa, ekyo Yakuwa aba akiraba era ajja kutuwa emikisa.

9. Bayibuli etuyamba etya okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

9 Bayibuli esobola okutuyamba okumanya engeri gye tusobola okwolekamu ekitiibwa kya Katonda. Tusaanidde okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku bintu bye tusoma. (Zab. 1:1-3) Bwe tusoma Bayibuli buli lunaku, tujja kulaba enkyukakyuka ze twetaaga okukola okusobola okwongera okwoleka ekitiibwa kya Katonda. (Soma Yakobo 1:22-25.) Ebintu bye tuyiga okuva mu Bayibuli binyweza okukkiriza kwaffe era bituyamba okuba abamalirivu okukola ebintu ebisanyusa Yakuwa n’okwewala okukola ebibi eby’amaanyi.​—Zab. 119:11, 47, 48.

10. Okusaba kutuyamba kutya okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima?

10 Bwe tuba ab’okwoleka ekitiibwa kya Katonda, tulina ‘okunyiikirira okusaba.’ (Bar. 12:12) Tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okumuweereza mu ngeri gy’asiima. Tusobola okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu, era atuyambe okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okuziyiza ebikemo, ‘n’okukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.’ (2 Tim. 2:15; Mat. 6:13; Luk. 11:13; 17:5) Ng’omwana bw’aba yeesiga kitaawe, naffe twetaaga okwesiga Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, nga tuli bakakafu nti ajja kusobola okutuyamba. Bwe tusaba Yakuwa atuyambe tusobole okumuweereza mu ngeri gy’asiima, ajja kutuyamba. Tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa ajja kutwetamwa olw’okumusaba enfunda n’enfunda! N’olwekyo, bwe tuba tusaba, ka bulijjo tutendereze Yakuwa, tumwebaze, tumusabe atuwe obulagirizi naddala bwe tuba mu mbeera enzibu, era tumusabe atuyambe okumuweereza mu ngeri eweesa erinnya lye ekitiibwa.​—Zab. 86:12; Yak. 1:5-7.

11. Enkuŋŋaana zaffe zituyamba zitya okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

11 Katonda akwasizza “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” obuvunaanyizibwa okulabirira endiga ze ez’omuwendo. (Mat. 24:45-47; Zab. 100:3) Omuddu omwesigwa ayagala nnyo okutuyamba ffenna okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa. Engeri emu kino gy’akikolamu, kwe kuyitira mu nkuŋŋaana zaffe. Ng’omutunzi w’ekyalaani bw’ayinza okutereeza olugoye lwaffe ne tusobola okulabika obulungi, enkuŋŋaana zaffe zituyamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe ne tusobola okwongera okwoleka engeri ennungi. (Beb. 10:24, 25) Eyo ye nsonga lwaki tulina okufuba okutuuka mu nkuŋŋaana mu budde. Singa tuba n’omuze ogw’okutuuka ekikeerezi mu nkuŋŋaana, ebintu ebimu bijja kutuyitako era tetujja kuziganyulwamu mu bujjuvu.

KA TUFUBE OKUKOPPA KATONDA

12. Tuyinza tutya okukoppa Katonda?

12 Bwe tuba ab’okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa, tulina okufuba ‘okukoppa Katonda.’ (Bef. 5:1) Engeri emu gye tusobola okukoppamu Yakuwa kwe kutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Bwe tugezaako okukola ebintu mu magezi gaffe nga tetufuddeeyo ku ndowooza ya Katonda, tuba tetuwadde Yakuwa kitiibwa era ekyo kiba kya kabi gye tuli. Olw’okuba ensi gye tulimu efugibwa omubi, Sitaani Omulyolyomi, tulina okufuba okukyawa ebyo Yakuwa by’akyawa n’okwagala ennyo ebyo by’ayagala. (Zab. 97:10; 1 Yok 5:19) Tusaanidde bulijjo okukijjukira nti engeri esingayo obulungi ey’okuweerezaamu Katonda, kwe kukolanga ebintu byonna olw’okumuweesa ekitiibwa.​—Soma 1 Abakkolinso 10:31.

13. Lwaki tulina okukyawa ekibi, era ekyo kitukubiriza kukola ki?

13 Tulina okukyawa ekibi kubanga Yakuwa akikyawa. Bwe tuba nga tukyawa ekibi, tujja kwewala ekintu kyonna ekiyinza okutuleetera okukola ekibi. Ng’ekyokulabirako, tusaanidde okwewala obwakyewaggula, kubanga abo abafuuka bakyewaggula baba tebasobola kwoleka kitiibwa kya Katonda. (Ma. 13:6-9) N’olwekyo, tulina okwewalira ddala bakyewaggula oba abantu abeeyita ab’oluganda naye nga tebaweesa Katonda kitiibwa. Tulina okubeewala ka babe ba ŋŋanda zaffe. (1 Kol. 5:11) Okudda awo okuwakanya bakyewaggula oba abantu aboogera obubi ku kibiina kya Yakuwa tekituganyula. Mu butuufu, tusaanidde okwewala okusoma ebitabo byabwe oba ebintu byabwe ku Intaneeti, kubanga ekyo kiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—Soma Isaaya 5:20; Matayo 7:6.

14. Bwe tuba ab’okukoppa Yakuwa, ngeri ki gye tusaanidde okwoleka, era lwaki?

14 Engeri emu gye tuyinza okukoppamu Kitaffe ow’omu ggulu, kwe kwoleka okwagala. (1 Yok. 4:16-19) Mu butuufu, okwagala kwe tulina mu kibiina Ekikristaayo kulaga nti tuli bayigirizwa ba Yesu era nti tuli baweereza ba Yakuwa. (Yok. 13:34, 35) Olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu kiyinza okutuzibuwalira okwoleka okwagala, naye tulina okufuba okukwoleka ekiseera kyonna. Bwe tufuba okwoleka okwagala awamu n’engeri endala ennungi, ekyo kijja kutuyamba okwewala okukola ekibi n’okuyisa abalala mu ngeri etali nnungi.​—2 Peet. 1:5-7.

15. Okwagala kutukubiriza kuyisa tutya abalala?

15 Okwagala kutukubiriza okuyisa abalala obulungi. (Bar. 13:8-10) Ng’ekyokulabirako, omwami ne mukyala we bwe baba nga baagalana, buli omu ajja kufuba okuba omwesigwa eri munne. Bwe tuba nga twagala abakadde mu kibiina era nga tusiima emirimu emirungi gye bakola, ekyo kijja kutukubiriza okubagondera n’okukolera ku bulagirizi bwe batuwa. Abaana bwe baba nga baagala bazadde baabwe, ekyo kijja kubakubiriza okubassaamu ekitiibwa n’okwewala okuboogerako obubi. Bwe tuba nga twagala bantu bannaffe, tetujja kubayisaamu maaso oba okwogera nabo mu ngeri ebatyoboola. (Yak. 3:9) Abakadde abaagala endiga za Katonda, bajja kufuba okuziyisa obulungi.​—Bik. 20:28, 29.

16. Okwagala kutuyamba kutya nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?

16 Tusaanide okwoleka okwagala nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Bwe tuba nga tulina okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa, tetujja kuggwamu maanyi ne bwe kiba nti abantu be tusanga nga tubuulira bagaana okutuwuliriza oba batuyisa bubi. Mu kifo ky’ekyo, tujja kweyongera okubuulira amawulire amalungi. Okwagala era kujja kutukubiriza okweteekateeka obulungi nga tetunnagenda kubuulira n’okufuba okuyigiriza abantu obulungi. Bwe tuba nga ddala twagala Katonda era nga twagala n’abantu be tubuulira, omulimu gw’okubuulira tetujja kugutwala ng’omuguggu. Mu kifo ky’ekyo, tujja kugutwala ng’enkizo ey’amaanyi era tujja kugukola n’essanyu.​—Mat. 10:7.

WEEYONGERE OKWOLEKA EKITIIBWA KYA YAKUWA

17. Okukimanya nti tuli boonoonyi kituganyula kitya?

17 Abantu abasinga obungi mu nsi tebakimanyi nti boonoonyi, naye ffe ekyo tukimanyi bulungi. Ekyo kitukubiriza bulijjo okufuba okulwanyisa okwegomba kwaffe okubi. Eyo ye nsonga lwaki tulina okutendeka omuntu waffe ow’omunda asobole okutulabula amangu ddala nga twakafuna ekirowoozo okukola ekintu ekibi. (Bar. 7:22, 23) Wadde nga tuli banafu, Katonda asobola okutuyamba okukola ekituufu mu mbeera yonna.​—2 Kol. 12:10.

18, 19. (a) Kiki ekinaatuyamba okuziyiza Sitaani ne badayimooni? (b) Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola?

18 Bwe tuba ab’okwoleka ekitiibwa kya Katonda, tulina okuziyiza Sitaani ne badayimooni. Tusobola okubaziyiza singa tukozesa eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda. (Bef. 6:11-13) Sitaani akola kyonna ekisoboka okulaba nti Yakuwa taweebwa kitiibwa ky’agwanidde kuweebwa. Ate era Sitaani akola butaweera okulaba nti ayonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Wadde nga tetutuukiridde, singa ffenna, abato n’abakulu, tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa era ne tweyongera okwoleka ekitiibwa kye, tuba tuwangudde Sitaani! N’olwekyo, ka tweyongere okutendereza Yakuwa, okufaananako ebitonde eby’omu ggulu ebyagamba nti: “Osaanidde ggwe Yakuwa, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’obuyinza kubanga, watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”​—Kub. 4:11.

19 N’olwekyo, ka tube bamalirivu okweyongera okwoleka kitiibwa kya Yakuwa. Yakuwa asanyuka nnyo okulaba abaweereza be bangi abeesigwa nga bafuba okumukoppa n’okwoleka ekitiibwa kye. (Nge. 27:11) Ka tufube okuba n’endowooza ng’eya Dawudi, eyagamba nti: “N[n]aakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; era [nn]aagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna.” (Zab. 86:12) Nga twesunga nnyo ekiseera abantu abawulize lwe bajja okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa mu ngeri etuukiridde era bamutendereze emirembe n’emirembe! Ofuba okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa Katonda leero? Bwe kiba kityo, ojja kuba n’essuubi ery’okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa emirembe n’emirembe.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 27]

Ofuba okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa mu ngeri zino?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share